LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Samwiri 12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Samwiri ayogera eri abantu ng’abasiibula (1-25)

        • ‘Temugoberera bitaliimu nsa’ (21)

        • Yakuwa tajja kwabulira bantu be (22)

1 Samwiri 12:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “Mpulirizza eddoboozi lyammwe mu.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 8:5; 10:24; 11:14, 15

1 Samwiri 12:2

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “atambulira mu maaso gammwe.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 8:20
  • +1Sa 8:1, 3
  • +1Sa 3:19

1 Samwiri 12:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 9:16, 17; 10:1
  • +Kbl 16:15
  • +Ma 16:19
  • +Kuv 22:4; Lev 6:4

1 Samwiri 12:5

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “temulina kye musanze mu mukono gwange.”

1 Samwiri 12:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 6:26

1 Samwiri 12:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 46:6
  • +Kuv 2:23
  • +Kuv 3:9, 10
  • +Yos 11:23

1 Samwiri 12:9

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “n’abatunda.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 32:18, 30; Bal 2:12, 14
  • +Bal 4:2
  • +Bal 10:7; 13:1
  • +Bal 3:12

1 Samwiri 12:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bal 2:18; 3:9
  • +Bal 10:10, 15
  • +Bal 3:7
  • +Bal 2:13

1 Samwiri 12:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bal 6:32
  • +Bal 11:1
  • +Beb 11:32
  • +Lev 26:6

1 Samwiri 12:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 11:1
  • +1Sa 8:5, 19
  • +Bal 8:23; 1Sa 8:7; Is 33:22

1 Samwiri 12:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 9:16, 17; 10:24

1 Samwiri 12:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 10:12; 17:19
  • +Yos 24:14
  • +Ma 13:4; 28:2

1 Samwiri 12:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:14, 17; Ma 28:15; Yos 24:20

1 Samwiri 12:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 8:7; Kos 13:11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 59

1 Samwiri 12:18

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 66

1 Samwiri 12:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 7:5; 12:23

1 Samwiri 12:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 31:29; Yos 23:6; 1Sa 12:15
  • +Ma 6:5

1 Samwiri 12:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 32:21; Yer 2:11
  • +Zb 115:4, 5; Yer 16:19

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2011, lup. 13-14

1 Samwiri 12:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sk 6:13; Zb 94:14; Bar 11:1
  • +Yos 7:9; Zb 23:3; 106:8; Yer 14:21; Ezk 20:14
  • +Kuv 19:5; Ma 7:7

1 Samwiri 12:23

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 31

1 Samwiri 12:24

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “mu mazima.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 12:14; Zb 111:10; Mub 12:13
  • +Ma 10:12, 21

1 Samwiri 12:25

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yos 24:20
  • +Ma 28:15, 36

Ebirala

1 Sam. 12:11Sa 8:5; 10:24; 11:14, 15
1 Sam. 12:21Sa 8:20
1 Sam. 12:21Sa 8:1, 3
1 Sam. 12:21Sa 3:19
1 Sam. 12:31Sa 9:16, 17; 10:1
1 Sam. 12:3Kbl 16:15
1 Sam. 12:3Ma 16:19
1 Sam. 12:3Kuv 22:4; Lev 6:4
1 Sam. 12:6Kuv 6:26
1 Sam. 12:8Lub 46:6
1 Sam. 12:8Kuv 2:23
1 Sam. 12:8Kuv 3:9, 10
1 Sam. 12:8Yos 11:23
1 Sam. 12:9Ma 32:18, 30; Bal 2:12, 14
1 Sam. 12:9Bal 4:2
1 Sam. 12:9Bal 10:7; 13:1
1 Sam. 12:9Bal 3:12
1 Sam. 12:10Bal 2:18; 3:9
1 Sam. 12:10Bal 10:10, 15
1 Sam. 12:10Bal 3:7
1 Sam. 12:10Bal 2:13
1 Sam. 12:11Bal 6:32
1 Sam. 12:11Bal 11:1
1 Sam. 12:11Beb 11:32
1 Sam. 12:11Lev 26:6
1 Sam. 12:121Sa 11:1
1 Sam. 12:121Sa 8:5, 19
1 Sam. 12:12Bal 8:23; 1Sa 8:7; Is 33:22
1 Sam. 12:131Sa 9:16, 17; 10:24
1 Sam. 12:14Ma 10:12; 17:19
1 Sam. 12:14Yos 24:14
1 Sam. 12:14Ma 13:4; 28:2
1 Sam. 12:15Lev 26:14, 17; Ma 28:15; Yos 24:20
1 Sam. 12:171Sa 8:7; Kos 13:11
1 Sam. 12:191Sa 7:5; 12:23
1 Sam. 12:20Ma 31:29; Yos 23:6; 1Sa 12:15
1 Sam. 12:20Ma 6:5
1 Sam. 12:21Ma 32:21; Yer 2:11
1 Sam. 12:21Zb 115:4, 5; Yer 16:19
1 Sam. 12:221Sk 6:13; Zb 94:14; Bar 11:1
1 Sam. 12:22Yos 7:9; Zb 23:3; 106:8; Yer 14:21; Ezk 20:14
1 Sam. 12:22Kuv 19:5; Ma 7:7
1 Sam. 12:241Sa 12:14; Zb 111:10; Mub 12:13
1 Sam. 12:24Ma 10:12, 21
1 Sam. 12:25Yos 24:20
1 Sam. 12:25Ma 28:15, 36
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 12:1-25

1 Samwiri

12 Awo Samwiri n’agamba Abayisirayiri bonna nti: “Nkoze* byonna bye mwansaba, era mbalondedde kabaka ow’okubafuga.+ 2 Kaakano kabaka ow’okubakulembera*+ wuuno! Naye nze nkaddiye mmeze n’envi, era batabani bange bali wano nammwe;+ mbadde mbakulembera okuva mu buto bwange okutuusa kaakano.+ 3 Nzuuno. Munnumirize mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta:+ Ani gwe nnali nzigyeeko ente ye oba endogoyi ye?+ Ani gwe nnali ndyazaamaanyizza oba ani gwe nnali njooze? Ani gwe nnali nzigyeeko enguzi ne nkola ebitali bya bwenkanya?+ Bwe mba nga nnakikola, nja kubibaddizaawo.”+ 4 Awo ne baddamu nti: “Totulyazaamaanyangako era totujoogangako era totwalangako kintu kya muntu yenna.” 5 N’abagamba nti: “Yakuwa mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta anjulira olwa leero nti temulina kye munvunaana.”* Awo ne baddamu nti: “Yee, mujulirwa.”

6 Samwiri n’agamba abantu nti: “Yakuwa eyakozesa Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi ya Misiri,+ ye mujulirwa. 7 Kaakano mujje mbalumirize mu maaso ga Yakuwa nga nsinziira ku bintu byonna eby’obutuukirivu Yakuwa by’abakoledde mmwe ne bajjajjammwe.

8 “Yakobo olwatuuka mu Misiri,+ bajjajjammwe ne batandika okukoowoola Yakuwa abayambe,+ Yakuwa n’atuma Musa+ ne Alooni okuggya bajjajjammwe e Misiri babaleete babeere mu kifo kino.+ 9 Naye beerabira Yakuwa Katonda waabwe, n’abawaayo*+ mu mukono gwa Sisera+ omukulu w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti,+ era ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu,+ ne babalwanyisa. 10 Baakoowoola Yakuwa abayambe+ ne bagamba nti, ‘Twonoonye,+ kubanga tulese Yakuwa ne tuweereza Babbaali+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi;+ naye kaakano tununule mu mukono gw’abalabe baffe, tukuweereze.’ 11 Awo Yakuwa n’atuma Yerubbaali+ ne Bedani ne Yefusa+ ne Samwiri+ n’abanunula mu mukono gw’abalabe bammwe bonna abaali babeetoolodde, musobole okubeera mu mirembe.+ 12 Bwe mwalaba nga Nakasi+ kabaka w’Abaamoni abalumbye, ne muŋŋamba nti, ‘Twagala kuba na kabaka anaatufuganga!’+ so ng’ate Yakuwa Katonda wammwe ye Kabaka wammwe.+ 13 Kale kaakano kabaka gwe mwali mwagala wuuno, gwe mwasaba; Yakuwa abalondedde kabaka anaabafuganga.+ 14 Bwe munaatyanga Yakuwa+ ne mumuweereza,+ ne mugondera eddoboozi lye,+ era ne mutajeemera biragiro bya Yakuwa, era mmwe ne kabaka wammwe abafuga ne mugoberera Yakuwa Katonda wammwe, kijja kuba kirungi. 15 Naye bwe mutaagondere ddoboozi lya Yakuwa, ne mujeemera ebiragiro bya Yakuwa, Yakuwa ajja kubabonereza mmwe ne bakitammwe.+ 16 Kale kaakano, mujje mulabe ekintu kino ekyewuunyisa Yakuwa ky’agenda okukola nga mulaba. 17 Kino si kiseera kya makungula ga ŋŋaano? Ŋŋenda kukoowoola Yakuwa abwatuse eggulu era atonnyese enkuba, mulyoke mumanye era mutegeere nti mukoze kintu kibi nnyo mu maaso ga Yakuwa okusaba muweebwe kabaka.”+

18 Awo Samwiri n’akoowoola Yakuwa, Yakuwa n’abwatusa eggulu era n’atonnyesa enkuba ku lunaku olwo, abantu bonna ne batya nnyo Yakuwa ne Samwiri. 19 Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti: “Sabira abaweereza bo eri Yakuwa Katonda wo,+ kubanga tetwagala kufa; kubanga ku bibi byaffe byonna twongeddeko n’ekibi kino eky’okusaba tuweebwe kabaka.”

20 Awo Samwiri n’agamba abantu nti: “Temutya. Kituufu mukoze ekibi kino eky’amaanyi, naye temulekeranga awo kugoberera Yakuwa,+ era muweerezenga Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna.+ 21 Temumuvangako ne mugoberera ebitaliimu nsa,+ ebitagasa,+ era ebitasobola kulokola, kubanga tebiriimu nsa. 22 Yakuwa tajja kwabulira bantu be+ olw’erinnya lye ekkulu,+ kubanga Yakuwa yabafuula bantu be.+ 23 Sisobola kulekera awo kubasabira kubanga mba nnyonoonye mu maaso ga Yakuwa, era nja kweyongera okubayigiriza ekkubo eddungi era ettuufu. 24 Naye mutyenga Yakuwa,+ mumuweerezenga n’obwesigwa* n’omutima gwammwe gwonna, kubanga abakoledde ebintu ebikulu.+ 25 Naye bwe munaawaganyala ne mukola ebintu ebibi, mujja kuzikirizibwa+ mmwe awamu ne kabaka wammwe.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza