LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Ekyamateeka 30
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okukomawo eri Yakuwa (1-10)

      • Ebiragiro bya Yakuwa si bizibu nnyo (11-14)

      • Okweroboza obulamu oba okufa (15-20)

Ekyamateeka 30:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “n’obikomyawo mu mutima gwo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 11:26-28; 28:2, 15
  • +1Sk 8:47; Nek 1:9; Ezk 18:28; Yow. 2:13
  • +2Sk 17:6; 2By 36:20

Ekyamateeka 30:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 55:7; 1Yo 1:9
  • +Ma 4:29

Ekyamateeka 30:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 29:14
  • +Kuk 3:22
  • +Ezr 1:2, 3; Zb 147:2; Yer 32:37; Ezk 34:13

Ekyamateeka 30:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 28:64; Zef 3:20

Ekyamateeka 30:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nek 1:9

Ekyamateeka 30:6

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “alikomola.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 32:37, 39
  • +Ma 6:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 13

Ekyamateeka 30:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:2, 3; Yer 25:12; Kuk 3:64; Bar 12:19

Ekyamateeka 30:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 65:21, 22; Mal 3:10
  • +Yer 32:37, 41

Ekyamateeka 30:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nek 1:9; Bik 3:19

Ekyamateeka 30:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 45:19

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2010, lup. 10

Ekyamateeka 30:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 10:6

Ekyamateeka 30:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 10:8
  • +Mat 7:21; Yak 1:25

Ekyamateeka 30:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 11:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2010, lup. 10

Ekyamateeka 30:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 6:5
  • +Lev 18:5
  • +Lev 25:18; Ma 30:5

Ekyamateeka 30:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 29:18; Beb 3:12
  • +Ma 4:19

Ekyamateeka 30:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 8:19; Yos 23:15; 1Sa 12:25

Ekyamateeka 30:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 11:26; 27:26; 28:2, 15
  • +Ma 32:47
  • +Yos 24:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2018 lup. 14-15

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2010, lup. 28

    6/1/2006, lup. 25

    8/1/1999, lup. 11-12

    7/1/1996, lup. 3-6

Ekyamateeka 30:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 10:12
  • +Ma 4:4
  • +Lub 12:7; 15:18

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2018 lup. 14-15

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2010, lup. 28

    1/1/2010, lup. 10

    6/1/2006, lup. 25-27

    8/1/1999, lup. 11-12

Ebirala

Ma. 30:1Ma 11:26-28; 28:2, 15
Ma. 30:11Sk 8:47; Nek 1:9; Ezk 18:28; Yow. 2:13
Ma. 30:12Sk 17:6; 2By 36:20
Ma. 30:2Is 55:7; 1Yo 1:9
Ma. 30:2Ma 4:29
Ma. 30:3Yer 29:14
Ma. 30:3Kuk 3:22
Ma. 30:3Ezr 1:2, 3; Zb 147:2; Yer 32:37; Ezk 34:13
Ma. 30:4Ma 28:64; Zef 3:20
Ma. 30:5Nek 1:9
Ma. 30:6Yer 32:37, 39
Ma. 30:6Ma 6:5
Ma. 30:7Lub 12:2, 3; Yer 25:12; Kuk 3:64; Bar 12:19
Ma. 30:9Is 65:21, 22; Mal 3:10
Ma. 30:9Yer 32:37, 41
Ma. 30:10Nek 1:9; Bik 3:19
Ma. 30:11Is 45:19
Ma. 30:12Bar 10:6
Ma. 30:14Bar 10:8
Ma. 30:14Mat 7:21; Yak 1:25
Ma. 30:15Ma 11:26
Ma. 30:16Ma 6:5
Ma. 30:16Lev 18:5
Ma. 30:16Lev 25:18; Ma 30:5
Ma. 30:17Ma 29:18; Beb 3:12
Ma. 30:17Ma 4:19
Ma. 30:18Ma 8:19; Yos 23:15; 1Sa 12:25
Ma. 30:19Ma 11:26; 27:26; 28:2, 15
Ma. 30:19Ma 32:47
Ma. 30:19Yos 24:15
Ma. 30:20Ma 10:12
Ma. 30:20Ma 4:4
Ma. 30:20Lub 12:7; 15:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 30:1-20

Ekyamateeka

30 “Ebigambo bino byonna bwe birimala okukutuukako, omukisa n’ebikolimo bye ntadde mu maaso go,+ n’obijjukira*+ ng’oli mu mawanga gonna Yakuwa Katonda wo gy’aliba akusaasaanyirizza,+ 2 n’okomawo eri Yakuwa Katonda wo+ n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna,+ n’owuliriza eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero, ggwe n’abaana bo, 3 Yakuwa Katonda wo alikomyawo abawambe bo+ n’akusaasira+ era n’akukuŋŋaanya okuva mu mawanga gonna Yakuwa Katonda wo gy’aliba akusaasaanyirizza.+ 4 Abantu bo ne bwe balisaasaana okutuukira ddala ensi gy’ekoma, Yakuwa Katonda wo alikukuŋŋaanya n’akukomyawo.+ 5 Yakuwa Katonda wo alikuleeta mu nsi bakitaabo gye baafuna, era oligitwala; alikukolera ebirungi era alikwaza okusinga bakitaabo.+ 6 Yakuwa Katonda wo alirongoosa* omutima gwo n’ogw’ezzadde lyo,+ osobole okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, olyoke obeere mulamu.+ 7 Ebikolimo bino byonna Yakuwa Katonda wo alibireeta ku balabe bo abaakukyawa era abaakuyigganya.+

8 “Era oliddamu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, era n’okwata ebiragiro bye byonna bye nkuwa leero. 9 Yakuwa Katonda wo alikuwa ebintu bingi okuva mu mirimu gyonna egy’emikono gyo,+ n’ayaza abaana bo n’ensolo zo n’ebibala by’ettaka lyo, kubanga Yakuwa aliddamu okukusanyukira n’akukolera ebirungi nga bwe yasanyukira bajjajjaabo.+ 10 Kubanga oliwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo n’okwata ebiragiro bye n’amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky’Amateeka, era olikomawo eri Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna.+

11 “Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.+ 12 Tekiri mu ggulu nti onoogamba nti, ‘Ani anaalinnya mu ggulu akituleetere, tusobole okukiwulira era tukikolereko?’+ 13 Era tekiri mitala wa nnyanja nti onoogamba nti, ‘Ani anaagenda emitala w’ennyanja akituleetere, tusobole okukiwulira era tukikolereko?’ 14 Ekigambo kiri kumpi nnyo naawe, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo,+ osobole okukikolerako.+

15 “Laba, nteeka leero mu maaso go obulamu n’ebirungi, okufa n’ebibi.+ 16 Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wo bye nkuwa leero, n’oyagalanga Yakuwa Katonda wo,+ n’otambuliranga mu makubo ge, era n’okwatanga ebiragiro bye n’amateeka ge, onooba mulamu+ era onooyala, era Yakuwa Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy’ogenda okutwala.+

17 “Naye omutima gwo bwe gulikyuka+ n’otowuliriza, era n’osendebwasendebwa n’ovunnamira bakatonda abalala n’obaweereza,+ 18 mbagamba leero nti mujja kusaanawo.+ Temujja kuwangaala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani. 19 Mpita eggulu n’ensi okuba abajulizi gye muli leero nti ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo;+ weeroboze obulamu olyoke obeere mulamu+ ggwe ne bazzukulu bo,+ 20 ng’oyagala Yakuwa Katonda wo,+ ng’owuliriza eddoboozi lye, era ng’omunywererako,+ kubanga ye bwe bulamu bwo, era ku bubwe ojja kuwangaala mu nsi Yakuwa gye yalayira okuwa bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza