Ebikolwa
22 “Ab’oluganda ne bataata, muwulirize nga mbannyonnyola bwe byali.”+ 2 Bwe baawulira ng’ayogera gye bali mu Lwebbulaniya, ne beeyongera okusirika, n’abagamba nti: 3 “Ndi Muyudaaya+ enzaalwa y’e Taluso eky’omu Kirikiya,+ era nnasomesebwa Gamalyeri+ mu kibuga kino. Nnayigirizibwa okukwata butiribiri Amateeka ga bajjajjaffe,+ era nga ndi muweereza wa Katonda omunyiikivu nga nammwe bwe muli leero.+ 4 Nnayigganyanga abo abagoberera Ekkubo lino ne ntuuka n’okubatta, nga nsiba abasajja n’abakazi ne mbateeka mu kkomera,+ 5 era ekyo kabona asinga obukulu n’ekibiina ky’abakadde basobola okukiwaako obujulirwa. Ate era nnafuna amabaluwa okuva gye bali ngatwale eri baganda baffe ab’omu Ddamasiko, era nnali ŋŋenda okukwata abayigirizwa abaali eyo mbaleete e Yerusaalemi nga basibe, babonerezebwe.
6 “Naye bwe nnali ŋŋenda nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, awo nga mu ttuntu, amangu ago ekitangaala okuva mu ggulu ne kyaka okunneetooloola,+ 7 ne ngwa wansi ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?’ 8 Ne nziramu nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ N’aŋŋamba nti: ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’ 9 Abasajja be nnali nabo baalaba ekitangaala naye tebaawulira ddoboozi ly’oyo eyali ayogera nange. 10 Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki Mukama wange?’ Mukama waffe n’aŋŋamba nti: ‘Situka ogende e Ddamasiko, era eyo gy’onootegeezebwa ebintu byonna by’olina okukola.’+ 11 Naye olw’okuba nnali nzibye amaaso olw’ekitangaala eky’amaanyi kye nnalaba, abo abaali nange be bankwata ku mukono ne bantuusa e Ddamasiko.
12 “Awo Ananiya, omusajja eyali atya Katonda okusinziira ku Mateeka, era ng’ayogerwako bulungi Abayudaaya ab’omu kitundu ekyo, 13 n’ajja n’ayimirira we nnali n’aŋŋamba nti: ‘Ow’oluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu kiseera ekyo ne ntunula ne mmulaba.+ 14 N’aŋŋamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze okumanya by’ayagala n’okulaba omutuukirivu,+ n’okuwulira eddoboozi eriva mu kamwa ke, 15 kubanga ojja kuba mujulirwa we eri abantu bonna obategeeze ebintu by’olabye ne by’owulidde.+ 16 Kaakano lwaki olwa? Yimuka obatizibwe era weenaazeeko ebibi byo+ olw’okukoowoola erinnya lye.’+
17 “Naye bwe nnali nkomyewo mu Yerusaalemi+ nga ndi mu yeekaalu nsaba, ne nfuna okwolesebwa, 18 ne ndaba Mukama waffe ng’aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mu Yerusaalemi mu bwangu, kubanga tebajja kukkiriza bujulirwa bw’ompaako.’+ 19 Ne ŋŋamba nti: ‘Mukama wange, bamanyi bulungi nnyo nti nnasibanga abo abakukkiriza ne mbakubira mu makuŋŋaaniro;+ 20 era Siteefano omujulirwa wo bwe yali attibwa, nze nnaliwo nga nnyimiridde nga mpagira ekikolwa ekyo era nga nkuuma ebyambalo eby’okungulu eby’abo abaamutta.’+ 21 Naye n’aŋŋamba nti: ‘Genda, kubanga nja kukutuma mu mawanga agali ewala.’”+
22 Ne bamuwuliriza okutuusa lwe yayogera ebigambo ebyo, ne boogerera waggulu nga bagamba nti: “Omusajja oyo mumutte kubanga tasaanidde kuba mulamu!” 23 Olw’okuba baali baleekana era nga bakasuka ebyambalo byabwe eby’okungulu nga bwe bafuumuula enfuufu mu bbanga,+ 24 omuduumizi w’amagye n’alagira nti Pawulo atwalibwe mu nkambi y’abasirikale, bamukube embooko nga bwe bamubuuza ebibuuzo, asobole okumanyira ddala ensonga lwaki baali baleekaana nti attibwe. 25 Bwe baamala okusiba Pawulo nga bagenda okumukuba, n’agamba omukulu w’ekibinja ky’abasirikale eyali ayimiridde awo nti: “Kikkirizibwa mu mateeka okukuba Omuruumi* nga tannasalirwa musango?”*+ 26 Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale bwe yawulira ekyo, n’agenda eri omuduumizi w’amagye n’amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Kubanga omusajja ono Muruumi.” 27 Omuduumizi w’amagye n’agenda awaali Pawulo n’amubuuza nti: “Mbuulira, oli Muruumi?” N’addamu nti: “Yee.” 28 Omuduumizi w’amagye n’amugamba nti: “Nze okufuna obutuuze mu Rooma nnasasula ssente nnyingi nnyo.” Pawulo n’amugamba nti: “Naye nze nnazaalibwa ndi Muruumi.”+
29 Amangu ago abasajja abaali bagenda okumubuuza ebibuuzo ng’eno bwe bamutulugunya ne bamuleka; omuduumizi w’amagye n’atya nnyo ng’ategedde nti Muruumi ate nga yali amusibye n’enjegere.+
30 Olw’okuba yali ayagala okumanya ensonga lwaki Abayudaaya baali bamuvunaana, ku lunaku olwaddako yamusumulula, n’alagira bakabona abakulu n’ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya bakuŋŋaane. Awo n’aleeta Pawulo n’amuyimiriza wakati waabwe.+