LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yuda emenya endagaano gye yakola ne Katonda (1-17)

        • Bakatonda bangi ng’ebibuga (13)

      • Yeremiya alinga omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa (18-20)

      • Yeremiya ayigganyizibwa ab’omu kibuga ky’ewaabwe (21-23)

Yeremiya 11:2

Footnotes

  • *

    Kirabika wano bagamba Yeremiya.

Yeremiya 11:3

Marginal References

  • +Ma 27:26; 28:15

Yeremiya 11:4

Marginal References

  • +Kuv 24:3
  • +Kuv 13:3; Ma 4:20
  • +Lev 26:3, 12

Yeremiya 11:5

Footnotes

  • *

    Oba, “Kibeere bwe kityo.”

Marginal References

  • +Lub 15:18; Kuv 3:8; Lev 20:24; Ma 6:3

Yeremiya 11:7

Footnotes

  • *

    Obut., “nnakeeranga ne mbakuutira.”

Marginal References

  • +Yer 7:13; 25:4; 35:15

Yeremiya 11:8

Marginal References

  • +Is 65:2; Yer 7:24, 26; Ezk 20:8; Zek 7:11, 12

Yeremiya 11:10

Marginal References

  • +Bal 2:11, 17; 1Sa 8:8; 2Sk 22:17
  • +2By 28:22, 23
  • +Ma 31:16; 2Sk 17:6, 7; Kos 6:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 9

Yeremiya 11:11

Marginal References

  • +2Sk 22:16; Yer 6:19; Ezk 7:5
  • +Is 1:15; Yer 14:12; Ezk 8:18; Mi 3:4

Yeremiya 11:12

Footnotes

  • *

    Oba, “be banyookerereza omukka gwa ssaddaaka.”

Marginal References

  • +Ma 32:37, 38; Yer 2:28

Yeremiya 11:13

Marginal References

  • +Yer 7:9, 10

Yeremiya 11:14

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku Yeremiya.

Marginal References

  • +Yer 7:16; 14:11

Yeremiya 11:15

Footnotes

  • *

    Zino ssaddaaka ezaaweebwangayo mu yeekaalu.

Yeremiya 11:17

Marginal References

  • +Is 5:2; Yer 2:21
  • +Yer 19:5, 15

Yeremiya 11:19

Marginal References

  • +Yer 18:18

Yeremiya 11:20

Footnotes

  • *

    Oba, “enneewulira ez’omunda ennyo.” Obut., “ensigo.”

Marginal References

  • +1By 28:9; Yer 17:10; 20:12

Yeremiya 11:21

Marginal References

  • +Yer 1:1
  • +Is 30:10; Am 2:12; 7:16

Yeremiya 11:22

Marginal References

  • +2By 36:17; Kuk 2:21
  • +Yer 18:21

Yeremiya 11:23

Marginal References

  • +Yos 21:8, 18

General

Yer. 11:3Ma 27:26; 28:15
Yer. 11:4Kuv 24:3
Yer. 11:4Kuv 13:3; Ma 4:20
Yer. 11:4Lev 26:3, 12
Yer. 11:5Lub 15:18; Kuv 3:8; Lev 20:24; Ma 6:3
Yer. 11:7Yer 7:13; 25:4; 35:15
Yer. 11:8Is 65:2; Yer 7:24, 26; Ezk 20:8; Zek 7:11, 12
Yer. 11:10Bal 2:11, 17; 1Sa 8:8; 2Sk 22:17
Yer. 11:102By 28:22, 23
Yer. 11:10Ma 31:16; 2Sk 17:6, 7; Kos 6:7
Yer. 11:112Sk 22:16; Yer 6:19; Ezk 7:5
Yer. 11:11Is 1:15; Yer 14:12; Ezk 8:18; Mi 3:4
Yer. 11:12Ma 32:37, 38; Yer 2:28
Yer. 11:13Yer 7:9, 10
Yer. 11:14Yer 7:16; 14:11
Yer. 11:17Is 5:2; Yer 2:21
Yer. 11:17Yer 19:5, 15
Yer. 11:19Yer 18:18
Yer. 11:201By 28:9; Yer 17:10; 20:12
Yer. 11:21Yer 1:1
Yer. 11:21Is 30:10; Am 2:12; 7:16
Yer. 11:222By 36:17; Kuk 2:21
Yer. 11:22Yer 18:21
Yer. 11:23Yos 21:8, 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 11:1-23

Yeremiya

11 Bino Yakuwa bye yagamba Yeremiya: 2 “Muwulire mmwe ebigambo by’endagaano eno!

“Bibuulire* abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi 3 obagambe nti: ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Akolimirwe oyo atagondera bigambo bya ndagaano eno,+ 4 bye nnalagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri,+ okuva mu kyoto mwe basaanuusiza ekyuma,+ nga ŋŋamba nti, ‘Mugondere eddoboozi lyange, era mukole ebintu byonna bye mbalagira; mujja kufuuka abantu bange era nange nja kuba Katonda wammwe,+ 5 ntuukirize kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ gye mulimu kaakano.’”’”

Awo ne nziramu nti: “Amiina,* Ai Yakuwa.”

6 Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi: ‘Muwulire ebigambo by’endagaano eno, era mubikolereko. 7 Nnakuutira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri n’okutuusa leero, nnabakuutira enfunda n’enfunda* nti: “Mugondere eddoboozi lyange.”+ 8 Naye tebaawuliriza wadde okuntegera okutu; wabula buli omu yagugubira ku ebyo omutima gwe omubi bye gwagala.+ Kyennava mbaleetako ebigambo byonna ebiri mu ndagaano eno olw’okuba tebaagondera bye nnabalagira.’”

9 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi beekobaanye. 10 Baddidde ensobi ez’edda eza bajjajjaabwe, abaagaana okugondera ebigambo byange.+ Nabo bagoberedde bakatonda abalala era ne babaweereza.+ Ab’ennyumba ya Isirayiri n’eya Yuda bamenye endagaano yange gye nnakola ne bajjajjaabwe.+ 11 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba, ŋŋenda kubatuusaako akabi+ ke batajja kuwona. Bwe banankoowoola mbayambe, sijja kubawuliriza.+ 12 Olwo nno ab’omu bibuga bya Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi baligenda eri bakatonda be bawa ssaddaaka* babakoowoole babayambe,+ naye tebalisobola kubalokola mu kiseera eky’obuyinike bwabwe. 13 Kubanga ggwe Yuda bakatonda bo baaze; benkana ebibuga byo obungi, era ebyoto bye muzimbidde katonda aswaza, eby’okuweerako ssaddaaka eri Bbaali,+ byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’

14 “Kale ggwe* tosabira bantu bano. Tonkoowoola ku lwabwe wadde okubasabira,+ kubanga sijja kubawuliriza ne bwe banankoowoola nga bali mu buyinike.

15 Abantu bange be njagala ennyo bagwana okubeera mu nnyumba yange

Nga bangi ku bo bakoze ebintu ebibi?

Bwe baliwaayo ssaddaaka ez’ensolo,* baliwona akabi akalikutuukako?

Olijaganya mu kiseera ekyo?

16 Waliwo Yakuwa lwe yakuyitanga omuzeyituuni ogutinta,

Ogulabika obulungi era oguliko ebibala ebirungi.

N’okubwatuka okw’amaanyi, agukumyeko omuliro,

Era bamenye amatabi gaagwo.

17 “Yakuwa ow’eggye eyakusimba+ agambye nti akabi kajja kukutuukako olw’ebibi ebikoleddwa ab’ennyumba ya Isirayiri n’ab’ennyumba ya Yuda, abamusunguwazizza nga bawaayo ssaddaaka eri Bbaali.”+

18 Yakuwa yantegeeza nsobole okumanya;

Mu kiseera ekyo wansobozesa okulaba bye baali bakola.

19 Nnali ng’omwana gw’endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa.

Saamanya nti baali bansalira nkwe+ nga bagamba nti:

“Ka tuzikirize omuti n’ebibala byagwo,

Era ka tumuzikirize ave mu nsi y’abalamu,

Erinnya lye lireme kuddamu kujjukirwa.”

20 Naye Yakuwa ow’eggye alamula mu butuukirivu;

Akebera ebirowoozo eby’omunda ennyo* n’omutima.+

Ka ndabe ng’owoolera eggwanga ku bo,

Kubanga ggwe gwe nkwasizza ensonga zange.

21 Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’ayogera ku bantu b’omu Anasosi+ abaagala okukutta era abagamba nti: “Tolagulira mu linnya lya Yakuwa,+ bw’okola bw’otyo tujja kukutta”; 22 kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Laba, ŋŋenda kubabonereza. Abavubuka bajja kuttibwa n’ekitala,+ ate batabani baabwe ne bawala baabwe bajja kufa enjala.+ 23 Tewali n’omu ku bo aliwonawo, kubanga ndituusa akabi ku bantu b’omu Anasosi+ mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share