LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nekkemiya 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abantu bakkiriza okukwata Amateeka (1-39)

        • “Tetujja kulagajjaliranga nnyumba ya Katonda waffe” (39)

Nekkemiya 10:1

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:63.

Marginal References

  • +Nek 9:38

Nekkemiya 10:5

Marginal References

  • +Ezr 2:1, 39

Nekkemiya 10:6

Marginal References

  • +Ezr 8:1, 2

Nekkemiya 10:9

Marginal References

  • +Ezr 3:9; Nek 12:8

Nekkemiya 10:12

Marginal References

  • +Nek 12:24

Nekkemiya 10:14

Marginal References

  • +Nek 7:6, 11

Nekkemiya 10:28

Footnotes

  • *

    Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “buli yenna eyali omukulu ekimala.”

Marginal References

  • +Nek 8:1; 9:2

Nekkemiya 10:30

Marginal References

  • +Kuv 34:15, 16; Ma 7:3, 4

Nekkemiya 10:31

Footnotes

  • *

    Eyinza okuba nga yalinga ŋŋaano oba ssayiri.

Marginal References

  • +Kuv 20:10
  • +Kuv 12:16; Kbl 29:1, 12
  • +Kuv 23:10, 11; Lev 25:4, 5
  • +Ma 15:1-3

Nekkemiya 10:32

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

Marginal References

  • +Kuv 30:13

Nekkemiya 10:33

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, emigaati egy’okulaga.

Marginal References

  • +Lev 24:5-7
  • +Kuv 29:40, 41
  • +Kbl 28:9
  • +Kbl 28:11-13; 1By 23:31
  • +Ma 16:16
  • +Lev 16:15

Nekkemiya 10:34

Marginal References

  • +Lev 1:7; 6:12, 13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 31

Nekkemiya 10:35

Marginal References

  • +Kuv 23:19; Kbl 18:8, 13; Ma 26:2

Nekkemiya 10:36

Marginal References

  • +Kuv 13:2; Kbl 18:15
  • +Kbl 18:8, 11; 1Ko 9:13

Nekkemiya 10:37

Footnotes

  • *

    Oba, “bisenge ebiriirwamu.”

Marginal References

  • +Kbl 15:20
  • +Lev 27:30
  • +Kbl 18:8, 12; Ma 18:1, 4
  • +2By 31:11
  • +Kbl 18:21

Nekkemiya 10:38

Footnotes

  • *

    Oba, “bisenge ebiriirwamu.”

Marginal References

  • +Kbl 18:26

Nekkemiya 10:39

Footnotes

  • *

    Oba, “bisenge ebiriirwamu.”

Marginal References

  • +Ma 12:5, 6
  • +Ma 14:23
  • +Nek 13:10, 11

General

Nek. 10:1Nek 9:38
Nek. 10:5Ezr 2:1, 39
Nek. 10:6Ezr 8:1, 2
Nek. 10:9Ezr 3:9; Nek 12:8
Nek. 10:12Nek 12:24
Nek. 10:14Nek 7:6, 11
Nek. 10:28Nek 8:1; 9:2
Nek. 10:30Kuv 34:15, 16; Ma 7:3, 4
Nek. 10:31Kuv 20:10
Nek. 10:31Kuv 12:16; Kbl 29:1, 12
Nek. 10:31Kuv 23:10, 11; Lev 25:4, 5
Nek. 10:31Ma 15:1-3
Nek. 10:32Kuv 30:13
Nek. 10:33Lev 24:5-7
Nek. 10:33Kuv 29:40, 41
Nek. 10:33Kbl 28:9
Nek. 10:33Kbl 28:11-13; 1By 23:31
Nek. 10:33Ma 16:16
Nek. 10:33Lev 16:15
Nek. 10:34Lev 1:7; 6:12, 13
Nek. 10:35Kuv 23:19; Kbl 18:8, 13; Ma 26:2
Nek. 10:36Kuv 13:2; Kbl 18:15
Nek. 10:36Kbl 18:8, 11; 1Ko 9:13
Nek. 10:37Kbl 15:20
Nek. 10:37Lev 27:30
Nek. 10:37Kbl 18:8, 12; Ma 18:1, 4
Nek. 10:372By 31:11
Nek. 10:37Kbl 18:21
Nek. 10:38Kbl 18:26
Nek. 10:39Ma 12:5, 6
Nek. 10:39Ma 14:23
Nek. 10:39Nek 13:10, 11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nekkemiya 10:1-39

Nekkemiya

10 Abo abaagikakasa nga bagiteekako akabonero kaabwe+ be bano:

Nekkemiya gavana* mutabani wa Kakaliya,

Ne Zeddeekiya, 2 Seraya, Azaliya, Yeremiya, 3 Pasukuli, Amaliya, Malukiya, 4 Kattusi, Sebaniya, Maluki, 5 Kalimu,+ Meremoosi, Obadiya, 6 Danyeri,+ Ginnesoni, Baluki, 7 Mesulamu, Abiya, Miyamini, 8 Maaziya, Birugayi, ne Semaaya, era abo baali bakabona.

9 N’Abaleevi bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, Binnuyi ow’oku baana ba Kenadadi, Kadumyeri,+ 10 ne baganda baabwe bano: Sebaniya, Kodiya, Kerita, Peraya, Kanani, 11 Mikka, Lekobu, Kasukabiya, 12 Zakkuli, Serebiya, Sebaniya,+ 13 Kodiya, Bani, ne Beninu.

14 Ne bano abaali bakulira abantu: Palosi, Pakasu-mowaabu,+ Eramu, Zattu, Bani, 15 Bunni, Azugaadi, Bebayi, 16 Adoniya, Biguvayi, Adini, 17 Ateri, Keezeekiya, Azzuli, 18 Kodiya, Kasumu, Bezayi, 19 Kalifu, Anasosi, Nebayi, 20 Magupiyasi, Mesulamu, Keziri, 21 Mesezaberi, Zadooki, Yadduwa, 22 Peratiya, Kanani, Anaya, 23 Koseya, Kananiya, Kassubu, 24 Kalokesi, Piruka, Sobeki, 25 Lekumu, Kasabuna, Maaseya, 26 Akiya, Kanani, Anani, 27 Maluki, Kalimu, ne Bbaana.

28 Abantu abalala bonna—bakabona, Abaleevi, abakuumi b’oku miryango, abayimbi, abaweereza b’oku yeekaalu,* na buli eyeeyawula ku bantu ab’omu bitundu ebitwetoolodde okukwata Amateeka ga Katonda ow’amazima,+ ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, buli eyali asobola okutegeera ekirayiro*— 29 beegatta ku baganda baabwe, n’ab’ebitiibwa mu bo, ne balayira ekirayiro ekyali kisobola okubaleetako ekikolimo singa tebatambulira mu Mateeka ga Katonda ow’amazima agaaweebwa okuyitira mu Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima, era singa tebakolera ku biragiro byonna ebya Yakuwa Mukama waffe, ne ku bye yasalawo, ne ku mateeka ge. 30 Abantu b’omu bitundu ebitwetoolodde tetujja kubawanga bawala baffe, ne batabani baffe tetujja kubawasizanga bawala baabwe.+

31 Abantu b’omu bitundu ebitwetooledde bwe banaaleetanga ebintu byabwe n’emmere* eya buli kika okubitunda ku lunaku lwa Ssabbiiti, tetujja kubagulangako kintu kyonna ku lunaku lwa Ssabbiiti+ oba ku lunaku olutukuvu.+ Era tujja kuwummuzanga ettaka mu mwaka ogw’omusanvu+ era tusonyiwenga ne be tubanja bonna.+

32 Ate era tweteerawo etteeka buli omu ku ffe okuwangayo kimu kya kusatu ekya sekeri* buli mwaka zikozesebwe ku mirimu gy’omu nnyumba* ya Katonda waffe,+ 33 ku bintu bino: emigaati egipangibwa,*+ n’ekiweebwayo ky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ebya Ssabbiiti+ n’eby’oku kuboneka kw’omwezi,+ embaga ezaalagirwa,+ ebintu ebitukuvu, ebiweebwayo olw’ekibi+ okutangirira ebibi bya Isirayiri, ne ku mulimu gwonna ogw’ennyumba ya Katonda waffe.

34 Ate era twakuba akalulu ku bikwata ku nku bakabona n’Abaleevi n’abantu ze baalina okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe, ng’ennyumba za bakitaffe bwe zaali, mu kiseera ekigereke buli mwaka, ez’okukozesanga ku kyoto kya Yakuwa Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka.+ 35 Era tweyama okuleetanga mu nnyumba ya Yakuwa buli mwaka ebibala ebibereberye eby’ettaka lyaffe, n’ebibala ebibereberye ebya buli muti,+ 36 n’okuleetanga abaana baffe ab’obulenzi ababereberye n’ebibereberye by’ensolo zaffe+—nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka—era n’ebibereberye by’amagana gaffe n’eby’ebisibo byaffe. Tujja kubireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe, eri bakabona abaweereza mu nnyumba ya Katonda waffe.+ 37 Era nti obuwunga bwaffe obulimu empulunguse obw’emmere eneesookanga okukungulwa,+ n’ebintu bye tuwaayo, n’ebibala eby’emiti egya buli kika,+ n’omwenge omusu, n’amafuta,+ tujja kubireetanga eri bakabona mu materekero* g’ennyumba ya Katonda waffe,+ era tuleetenga eri Abaleevi ekimu eky’ekkumi eky’ebyo ebiva mu ttaka lyaffe,+ kubanga Abaleevi be balina okuweebwa ekimu eky’ekkumi eky’ebyo ebiva mu bibuga byaffe byonna bye tulimiramu.

38 Kabona, omwana wa Alooni, anaabeeranga n’Abaleevi bwe banaabanga baweebwa ekimu eky’ekkumi; Abaleevi banaaleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe,+ mu bisenge* eby’etterekero, ekimu eky’ekkumi okuva ku kimu eky’ekkumi. 39 Mu bisenge* ebyo Abayisirayiri n’abaana b’Abaleevi mwe banaaleetanga ebiweebwayo+ eby’emmere ey’empeke, n’omwenge omusu, n’amafuta,+ era eyo y’ebeera ebikozesebwa mu kifo ekitukuvu, ne bakabona ababa baweereza, n’abakuumi b’oku miryango, n’abayimbi. Tetujja kulagajjaliranga nnyumba ya Katonda waffe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share