LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 30
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abamaleki balumba Zikulagi ne bakyokya (1-6)

        • Dawudi afuna amaanyi okuva eri Yakuwa (6)

      • Dawudi awangula Abamaleki (7-31)

        • Dawudi anunula abaali bawambiddwa (18, 19)

        • Etteeka erikwata ku munyago Dawudi lye yassaawo (23, 24)

1 Samwiri 30:1

Footnotes

  • *

    Oba, “ebukiikaddyo.”

Marginal References

  • +Yos 15:21, 31; 1Sa 27:5, 6
  • +Lub 36:12; Kuv 17:14; 1Sa 15:2; 27:8

1 Samwiri 30:2

Marginal References

  • +1Sa 27:3

1 Samwiri 30:5

Marginal References

  • +1Sa 25:42, 43

1 Samwiri 30:6

Marginal References

  • +Zb 18:6; 31:1, 9; 34:19; 143:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2022, lup. 2

1 Samwiri 30:7

Marginal References

  • +1Sa 22:20; 1Sk 2:26
  • +1Sa 23:9

1 Samwiri 30:8

Marginal References

  • +Kbl 27:21; Bal 20:28; 1Sa 23:2, 11; 28:6
  • +1Sa 30:18; Zb 34:19

1 Samwiri 30:9

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +1Sa 23:13; 27:2

1 Samwiri 30:10

Marginal References

  • +1Sa 30:21

1 Samwiri 30:12

Footnotes

  • *

    Obut., “omwoyo gwe ne gumuddamu.”

1 Samwiri 30:14

Footnotes

  • *

    Oba, “Negebu.”

  • *

    Oba, “Negebu.”

Marginal References

  • +2Sa 8:18; 1Sk 1:38; 1By 18:17; Ezk 25:16; Zef 2:5
  • +Yos 14:13

1 Samwiri 30:17

Marginal References

  • +Kuv 17:14

1 Samwiri 30:18

Marginal References

  • +1Sa 30:3

1 Samwiri 30:19

Marginal References

  • +1Sa 30:8; Zb 34:19

1 Samwiri 30:21

Marginal References

  • +1Sa 30:10

1 Samwiri 30:23

Marginal References

  • +1Sa 30:8

1 Samwiri 30:24

Marginal References

  • +1Sa 30:10
  • +Kbl 31:27; Yos 22:8; Zb 68:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 32

1 Samwiri 30:26

Footnotes

  • *

    Obut., “mukisa.”

1 Samwiri 30:27

Footnotes

  • *

    Oba, “bukiikaddyo.”

Marginal References

  • +Yos 19:4, 8
  • +Yos 15:20, 48; 21:8, 14

1 Samwiri 30:28

Marginal References

  • +Yos 15:20, 50; 21:8, 14

1 Samwiri 30:29

Marginal References

  • +1Sa 27:10; 1By 2:9
  • +Bal 1:16; 1Sa 15:6

1 Samwiri 30:30

Marginal References

  • +Kbl 21:3; Yos 19:1, 4; Bal 1:17

1 Samwiri 30:31

Marginal References

  • +Yos 14:13; 2Sa 2:1

General

1 Sam. 30:1Yos 15:21, 31; 1Sa 27:5, 6
1 Sam. 30:1Lub 36:12; Kuv 17:14; 1Sa 15:2; 27:8
1 Sam. 30:21Sa 27:3
1 Sam. 30:51Sa 25:42, 43
1 Sam. 30:6Zb 18:6; 31:1, 9; 34:19; 143:5
1 Sam. 30:71Sa 22:20; 1Sk 2:26
1 Sam. 30:71Sa 23:9
1 Sam. 30:8Kbl 27:21; Bal 20:28; 1Sa 23:2, 11; 28:6
1 Sam. 30:81Sa 30:18; Zb 34:19
1 Sam. 30:91Sa 23:13; 27:2
1 Sam. 30:101Sa 30:21
1 Sam. 30:142Sa 8:18; 1Sk 1:38; 1By 18:17; Ezk 25:16; Zef 2:5
1 Sam. 30:14Yos 14:13
1 Sam. 30:17Kuv 17:14
1 Sam. 30:181Sa 30:3
1 Sam. 30:191Sa 30:8; Zb 34:19
1 Sam. 30:211Sa 30:10
1 Sam. 30:231Sa 30:8
1 Sam. 30:241Sa 30:10
1 Sam. 30:24Kbl 31:27; Yos 22:8; Zb 68:12
1 Sam. 30:27Yos 19:4, 8
1 Sam. 30:27Yos 15:20, 48; 21:8, 14
1 Sam. 30:28Yos 15:20, 50; 21:8, 14
1 Sam. 30:291Sa 27:10; 1By 2:9
1 Sam. 30:29Bal 1:16; 1Sa 15:6
1 Sam. 30:30Kbl 21:3; Yos 19:1, 4; Bal 1:17
1 Sam. 30:31Yos 14:13; 2Sa 2:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 30:1-31

1 Samwiri

30 Dawudi n’abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi+ oluvannyuma lw’ennaku ssatu, baasanga Abamaleki+ baazinze Negebu* ne Zikulagi, era nga baalumbye Zikulagi ne bakyokya omuliro. 2 Baali bawambye abakazi+ n’abantu abalala bonna abaakirimu abato n’abakulu. Tebatta muntu n’omu, naye baabatwala ne bagenda. 3 Dawudi n’abasajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokeddwa omuliro, era ng’abakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe bawambiddwa. 4 Dawudi n’abasajja abaali naye ne batema emiranga, okutuusa lwe baggweeramu ddala amaanyi agakaaba. 5 N’abakazi ba Dawudi bombi, Akinowamu ow’e Yezuleeri ne Abbigayiri eyali mukyala wa Nabbali Omukalumeeri, baali bawambiddwa.+ 6 Dawudi yanakuwala nnyo, kubanga abantu baali bagamba nti bagenda kumukuba amayinja. Abantu bonna baali banyiivu nnyo olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali bawambiddwa. Naye Dawudi yafuna amaanyi olw’obuyambi bwa Yakuwa Katonda we.+

7 Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali+ kabona, mutabani wa Akimereki nti: “Nkwegayiridde ndeetera wano efodi.”+ Abiyasaali n’atwalira Dawudi efodi. 8 Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa+ nti: “Mpondere ekibinja ky’abazigu abo? Nnaabasanga?” Awo n’amuddamu nti: “Bawondere, ojja kubasanga, era ojja kununula byonna bye baanyaze.”+

9 Amangu ago Dawudi n’agenda n’abasajja 600+ abaali naye, ne batuuka ku Kiwonvu* Besoli, abasajja abamu we baasigala. 10 Dawudi yeeyongera okubawondera n’abasajja 400, naye abasajja 200 abaali bakooye ennyo nga tebasobola kusomoka Kiwonvu Besoli ne basigala awo.+

11 Awo ne basanga omusajja Omumisiri ku ttale ne bamutwala eri Dawudi, ne bamuwa emmere n’alya era ne bamuwa n’amazzi ag’okunywa, 12 n’ekitundu ky’ekitole ky’ettiini n’ebitole bibiri eby’ezzabbibu enkalu. Bwe yamala okulya, n’addamu amaanyi,* kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. 13 Awo Dawudi n’amubuuza nti: “Mukama wo y’ani, era oli wa wa?” N’amuddamu nti: “Ndi Mumisiri era ndi muddu w’omusajja Omwamaleki, naye mukama wange yandeka olw’okuba nnalwala ennaku ssatu emabega. 14 Twazinze mu bukiikaddyo* bw’ekitundu ky’Abakeresi+ n’ekitundu kya Yuda ne mu bukiikaddyo* bw’ekitundu kya Kalebu,+ era ne twokya Zikulagi omuliro.” 15 Awo Dawudi n’amubuuza nti: “Onontwala awali ekibinja ky’abazigu abo?” N’amuddamu nti: “Bw’ondayirira mu linnya lya Katonda nti tojja kunzita, era nti tojja kumpaayo mu mukono gwa mukama wange, nja kukutwala awali ekibinja ky’abazigu abo.”

16 Awo n’amutwala gye baali, era baali basaasaanye wonna mu kitundu we baali, nga balya, nga banywa, era nga bajaganya olw’omunyago omungi gwe baali baggye mu nsi y’Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda. 17 Dawudi n’abatta okuva ku makya nga busaasaana okutuusa akawungeezi; tewali n’omu eyawonawo+ okuggyako abasajja 400 abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18 Dawudi yanunula byonna Abamaleki bye baali batutte,+ era n’anunula ne bakazi be bombi. 19 Tewali na kimu ku byabwe ekyabula, ka kibe kitono oba kinene. Baanunula abaana baabwe ab’obulenzi n’ab’obuwala, n’ebintu ebyali binyagiddwa;+ Dawudi yanunula ebintu byonna bye baali batutte. 20 Dawudi yatwala ebisibo n’amagana gonna, era baabitwala nga bye bikulembeddemu ensolo zaabwe. Baagamba nti: “Guno munyago gwa Dawudi.”

21 Oluvannyuma Dawudi yatuuka awaali abasajja 200 abaali bakooye ennyo ne batasobola kugenda naye, era abaali basigadde okumpi n’Ekiwonvu Besoli.+ Abasajja baavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, era Dawudi bwe yabatuukako n’ababuuza bwe baali. 22 Kyokka, abasajja bonna ababi era abatalina mugaso mu abo abaali bagenze ne Dawudi ne bagamba nti: “Nga bwe bataagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tuleese, wabula buli omu akwate mukazi we ne batabani be agende.” 23 Naye Dawudi n’agamba nti: “Baganda bange, ebyo Yakuwa by’atuwadde temubikola bwe mutyo, kubanga atukuumye era n’agabula mu mukono gwaffe ekibinja ky’abazigu abaatulumba.+ 24 Ani anakkiriziganya nammwe ku ekyo? Omugabo gw’oyo eyagenda mu lutalo gujja kuba gwe gumu n’ogw’oyo eyasigala awali emigugu.+ Bonna bajja kugabanira wamu.”+ 25 Okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo, ekyo Dawudi yakifuula tteeka era kiragiro mu Isirayiri.

26 Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi n’atoola ku munyago n’aweereza abakadde ba Yuda abaali mikwano gye, ng’agamba nti: “Kino kye kirabo* kye mbaweerezza, ekivudde ku bye twanyaze ku balabe ba Yakuwa.” 27 Yaweereza n’ab’omu Beseri,+ n’ab’omu Lamosi eky’omu Negebu,* n’ab’omu Yattiri,+ 28 n’ab’omu Aloweri, n’ab’omu Sifumosi, n’ab’omu Esutemowa,+ 29 n’ab’omu Lakali, n’ab’omu bibuga bya Bayerameeri,+ n’ab’omu bibuga by’Abakeeni,+ 30 n’ab’omu Koluma,+ n’ab’omu Bolasani, n’ab’omu Asaki, 31 n’ab’omu Kebbulooni,+ era ne mu bifo byonna Dawudi n’abasajja be gye baateranga okugenda.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share