2 Samwiri
6 Dawudi era n’akuŋŋaanya abalwanyi bonna ab’omu Isirayiri abasingayo obulungi, abasajja 30,000. 2 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagenda e Bbaale-yuda okuggyayo Essanduuko ya Katonda ow’amazima;+ mu maaso g’Essanduuko eyo abantu we bakoowoolera erinnya lya Yakuwa ow’eggye,+ atuula waggulu wa* bakerubi.+ 3 Kyokka Essanduuko ya Katonda ow’amazima baagitambuliza ku kigaali ekipya+ nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu+ eyali ku lusozi; era batabani ba Abinadaabu, Uzza ne Akiyo, be baali abagoba b’ekigaali ekyo ekipya.
4 Bwe batyo ne baggya Essanduuko ya Katonda ow’amazima mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, era Akiyo yali akulembeddemu Essanduuko. 5 Dawudi n’ab’ennyumba ya Isirayiri yonna baali bajaganya mu maaso ga Yakuwa nga bakuba ebivuga ebya buli ngeri eby’emiti gy’emiberosi, entongooli, ebivuga eby’enkoba+ ebirala, obugoma obutono,+ ensaasi, n’ebitaasa.+ 6 Naye bwe baatuuka ku gguuliro lya Nakoni, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata Essanduuko ya Katonda ow’amazima+ kubanga ente zaali zigenda kugisuula. 7 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Uzza, Katonda ow’amazima n’amuttira+ awo olw’obutawa tteeka lya Katonda kitiibwa,+ n’afiira awo okumpi n’Essanduuko ya Katonda ow’amazima. 8 Dawudi n’asunguwala* olw’okuba obusungu bwa Yakuwa bwali bubuubuukidde Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Pereezi-uzza n’okutuusa leero. 9 Dawudi yatya nnyo Yakuwa+ ku lunaku olwo, era n’agamba nti: “Essanduuko ya Yakuwa eneetwalibwa etya gye mbeera?”+ 10 Dawudi n’atayagala kutwala Ssanduuko ya Yakuwa mu Kibuga kya Dawudi+ gye yali abeera. Naye n’agitwala mu nnyumba ya Obedi-edomu+ Omugitti.
11 Essanduuko ya Yakuwa yabeera mu nnyumba ya Obedi-edomu Omugitti okumala emyezi esatu, era Yakuwa n’awa Obedi-edomu n’ab’omu nnyumba ye bonna emikisa.+ 12 Awo ne bategeeza Kabaka Dawudi nti: “Yakuwa awadde ennyumba ya Obedi-edomu n’ebibye byonna omukisa olw’Essanduuko ya Katonda ow’amazima.” Awo Dawudi n’agenda n’aggya Essanduuko ya Katonda ow’amazima mu nnyumba ya Obedi-edomu n’agitwala mu Kibuga kya Dawudi ng’ajaganya.+ 13 Abaali basitudde+ Essanduuko ya Yakuwa bwe baali baakatambulako ebigere mukaaga, Dawudi n’asaddaaka ente ennume n’ennyana engevvu.
14 Dawudi n’azina n’amaanyi ge gonna mu maaso ga Yakuwa, era yali ayambadde* efodi eya kitaani.+ 15 Dawudi n’ab’ennyumba ya Isirayiri yonna ne batwala Essanduuko+ ya Yakuwa nga bakuba emizira+ era nga bafuuwa eŋŋombe.+ 16 Naye Essanduuko ya Yakuwa bwe yatuuka mu Kibuga kya Dawudi, Mikali+ muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa n’alaba Kabaka Dawudi ng’abuukabuuka era ng’azinira mu maaso ga Yakuwa, n’amunyooma mu mutima gwe.+ 17 Bwe batyo ne baleeta Essanduuko ya Yakuwa ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde.+ Awo Dawudi n’awaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa+ ne ssaddaaka ez’emirembe.+ 18 Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, n’ayagaliza abantu emikisa mu linnya lya Yakuwa ow’eggye. 19 Ate era yagabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isirayiri eby’okulya. Buli musajja na buli mukazi yamuwa omugaati omwetooloovu, ekitole ky’entende, n’ekitole ky’ezzabbibu enkalu, oluvannyuma buli omu n’addayo ewuwe.
20 Dawudi bwe yaddayo ewuwe okwagaliza ab’omu nnyumba ye emikisa, Mikali+ muwala wa Sawulo n’afuluma okumusisinkana n’amugamba nti: “Nga kabaka wa Isirayiri yeewadde ekitiibwa kingi olwa leero, bwe yeebikkulidde mu maaso g’abazaana b’abaweereza be, ng’omu ku basajja abasirusiru bwe yeebikkula mu lujjudde!”+ 21 Awo Dawudi n’agamba Mikali nti: “Njagulizza mu maaso ga Yakuwa eyannonda mu kifo ky’okulonda kitaawo n’ab’ennyumba ye bonna, era eyannonda okukulembera abantu ba Yakuwa Abayisirayiri.+ N’olwekyo nja kujaguliza mu maaso ga Yakuwa, 22 era nja kwetoowaza n’okusingako awo mbeere wa wansi ne mu maaso gange nze kennyini. Naye abazaana b’oyogeddeko bajja kunzisaamu ekitiibwa.” 23 Mikali+ muwala wa Sawulo n’atazaala mwana okutuusa lwe yafa.