LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okukungubaga 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obusungu bwa Yakuwa bubuubuukidde Yerusaalemi

        • Tewali kusaasira (2)

        • Yakuwa alinga omulabe we (5)

        • Sayuuni bakikaabira (11-13)

        • Abayitawo bakudaalira ekibuga ekyali kirabika obulungi (15)

        • Abalabe ba Sayuuni bajaganya olw’okuba kigudde (17)

Okukungubaga 2:1

Marginal References

  • +Kuk 2:15
  • +1By 28:2; Zb 132:7; Is 60:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 9

Okukungubaga 2:2

Marginal References

  • +Ma 28:52; Mi 5:11
  • +Ezk 21:26, 27
  • +Is 39:7; 43:28

Okukungubaga 2:3

Footnotes

  • *

    Oba, “aggyeewo amaanyi ga Isirayiri gonna.”

Marginal References

  • +Zb 74:10, 11
  • +Ma 32:22; Is 42:25; Yer 7:20

Okukungubaga 2:4

Marginal References

  • +Ma 28:63; Is 63:10; Yer 21:5
  • +2Sk 25:21
  • +Yer 4:4
  • +Yer 10:20

Okukungubaga 2:5

Marginal References

  • +Yer 30:14

Okukungubaga 2:6

Footnotes

  • *

    Oba, “Azikirizza.”

Marginal References

  • +2Sk 25:8, 9; 2By 36:19; Is 63:18; 64:11
  • +Kuk 1:4
  • +Yer 52:24, 27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 9

Okukungubaga 2:7

Marginal References

  • +Lev 26:31; Yer 26:6; 52:12, 13; Ezk 24:21; Mi 3:12
  • +2By 36:19
  • +Zb 74:4

Okukungubaga 2:8

Footnotes

  • *

    Obut., “kumira.”

Marginal References

  • +2Sk 25:10; Yer 39:8
  • +2Sk 21:13; Is 28:17

Okukungubaga 2:9

Footnotes

  • *

    Oba, “bulagirizi.”

Marginal References

  • +Nek 1:3; Yer 14:2
  • +Ma 28:15, 36; 2Sk 24:15; 25:7; Kuk 4:20; Ezk 12:13; Dan 1:3, 6
  • +Zb 74:9; Yer 23:16; Ezk 7:26

Okukungubaga 2:10

Marginal References

  • +Is 3:26
  • +Yer 6:26; Ezk 7:18

Okukungubaga 2:11

Marginal References

  • +Kuk 3:48
  • +Yer 14:17
  • +Yer 11:22; Kuk 2:19; 4:4

Okukungubaga 2:12

Marginal References

  • +Ma 28:49, 51; 2Sk 25:3; Is 3:1; Yer 18:21

Okukungubaga 2:13

Marginal References

  • +Yer 14:17; Dan 9:12
  • +Yer 30:12

Okukungubaga 2:14

Marginal References

  • +Yer 2:8; 27:14; Ezk 13:2, 3
  • +Yer 23:14
  • +Yer 23:32; 27:9; Mi 3:5; Zef 3:4

Okukungubaga 2:15

Marginal References

  • +Ezk 25:2, 6
  • +1Sk 9:8; Yer 25:9
  • +Zb 48:2; Ezk 16:14

Okukungubaga 2:16

Marginal References

  • +Yer 51:34
  • +Mi 4:11
  • +Ob 13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 9

Okukungubaga 2:17

Footnotes

  • *

    Obut., “ejjembe.”

Marginal References

  • +Yer 18:11; Mi 2:3
  • +2Sk 23:27
  • +Lev 26:14, 17; Ma 28:15
  • +Ezk 5:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 9

Okukungubaga 2:18

Footnotes

  • *

    Obut., “muwala w’eriiso lyo.”

Okukungubaga 2:19

Marginal References

  • +Is 51:20; Kuk 4:9; Ezk 5:16

Okukungubaga 2:20

Footnotes

  • *

    Oba, “ebibala by’enda yaabwe.”

Marginal References

  • +Lev 26:29; Ma 28:53; Yer 19:9; Kuk 4:10; Ezk 5:10
  • +Ezk 9:6, 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 9

Okukungubaga 2:21

Marginal References

  • +Ma 28:49, 50; 2By 36:17
  • +Yer 9:21; 18:21
  • +Yer 13:14; 21:7; Kuk 3:43; Ezk 5:11; 9:6

Okukungubaga 2:22

Footnotes

  • *

    Oba, “nnazaala nga balamu bulungi.”

Marginal References

  • +Ma 16:16
  • +Zef 1:18
  • +Ma 28:18

General

Kung. 2:1Kuk 2:15
Kung. 2:11By 28:2; Zb 132:7; Is 60:13
Kung. 2:2Ma 28:52; Mi 5:11
Kung. 2:2Ezk 21:26, 27
Kung. 2:2Is 39:7; 43:28
Kung. 2:3Zb 74:10, 11
Kung. 2:3Ma 32:22; Is 42:25; Yer 7:20
Kung. 2:4Ma 28:63; Is 63:10; Yer 21:5
Kung. 2:42Sk 25:21
Kung. 2:4Yer 4:4
Kung. 2:4Yer 10:20
Kung. 2:5Yer 30:14
Kung. 2:62Sk 25:8, 9; 2By 36:19; Is 63:18; 64:11
Kung. 2:6Kuk 1:4
Kung. 2:6Yer 52:24, 27
Kung. 2:7Lev 26:31; Yer 26:6; 52:12, 13; Ezk 24:21; Mi 3:12
Kung. 2:72By 36:19
Kung. 2:7Zb 74:4
Kung. 2:82Sk 25:10; Yer 39:8
Kung. 2:82Sk 21:13; Is 28:17
Kung. 2:9Nek 1:3; Yer 14:2
Kung. 2:9Ma 28:15, 36; 2Sk 24:15; 25:7; Kuk 4:20; Ezk 12:13; Dan 1:3, 6
Kung. 2:9Zb 74:9; Yer 23:16; Ezk 7:26
Kung. 2:10Is 3:26
Kung. 2:10Yer 6:26; Ezk 7:18
Kung. 2:11Kuk 3:48
Kung. 2:11Yer 14:17
Kung. 2:11Yer 11:22; Kuk 2:19; 4:4
Kung. 2:12Ma 28:49, 51; 2Sk 25:3; Is 3:1; Yer 18:21
Kung. 2:13Yer 14:17; Dan 9:12
Kung. 2:13Yer 30:12
Kung. 2:14Yer 2:8; 27:14; Ezk 13:2, 3
Kung. 2:14Yer 23:14
Kung. 2:14Yer 23:32; 27:9; Mi 3:5; Zef 3:4
Kung. 2:15Ezk 25:2, 6
Kung. 2:151Sk 9:8; Yer 25:9
Kung. 2:15Zb 48:2; Ezk 16:14
Kung. 2:16Yer 51:34
Kung. 2:16Mi 4:11
Kung. 2:16Ob 13
Kung. 2:17Yer 18:11; Mi 2:3
Kung. 2:172Sk 23:27
Kung. 2:17Lev 26:14, 17; Ma 28:15
Kung. 2:17Ezk 5:11
Kung. 2:19Is 51:20; Kuk 4:9; Ezk 5:16
Kung. 2:20Lev 26:29; Ma 28:53; Yer 19:9; Kuk 4:10; Ezk 5:10
Kung. 2:20Ezk 9:6, 7
Kung. 2:21Ma 28:49, 50; 2By 36:17
Kung. 2:21Yer 9:21; 18:21
Kung. 2:21Yer 13:14; 21:7; Kuk 3:43; Ezk 5:11; 9:6
Kung. 2:22Ma 16:16
Kung. 2:22Zef 1:18
Kung. 2:22Ma 28:18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okukungubaga 2:1-22

Okukungubaga

א [Alefu]

2 Yakuwa abisse ku muwala wa Sayuuni ekire eky’obusungu bwe.

Obulungi bwa Isirayiri abusudde ku nsi okuva mu ggulu.+

Tajjukidde ntebe ya bigere bye+ ku lunaku olw’obusungu bwe.

ב [Besu]

 2 Ebifo byonna Yakobo mw’abeera Yakuwa abizikirizza awatali kusaasira.

Mu busungu bwe, amenye ebigo bya muwala wa Yuda.+

Assizza wansi era n’atyoboola obwakabaka+ n’abakungu be.+

ג [Gimeri]

 3 Mu busungu bwe obubuubuuka atemye buli jjembe lya Isirayiri.*

Yaggyayo omukono gwe ogwa ddyo ng’omulabe azze,+

Obusungu bwe bwabuubuukira Yakobo ng’omuliro ogwokya byonna ebigwetoolodde.+

ד [Dalesi]

 4 Awese omutego gwe ng’omulabe; okufaananako omulabe, ateeseteese omukono gwe ogwa ddyo okulumba;+

Yattanga abo bonna abaali basanyusa amaaso gaffe.+

Yafuka obusungu bwe ng’omuliro+ mu weema ya muwala wa Sayuuni.+

ה [Ke]

 5 Yakuwa afuuse ng’omulabe;+

Azikirizza Isirayiri.

Azikirizza eminaala gye gyonna;

Azikirizza ebigo byonna.

Aleetedde muwala wa Yuda okukungubaga ennyo n’okukuba ebiwoobe.

ו [Wawu]

 6 Amenye ensiisira ye+ ng’amenya akasiisira ak’omu nnimiro.

Akomezza* embaga ye.+

Yakuwa aleetedde embaga ne ssabbiiti okwerabirwa mu Sayuuni,

Era mu busungu bwe obungi tafuddeeyo ku kabaka ne kabona.+

ז [Zayini]

 7 Yakuwa yeesambye ekyoto kye;

Yeesambye ekifo kye ekitukuvu.+

Awaddeyo ebisenge by’eminaala gya Sayuuni mu mukono gw’omulabe.+

Baaleekanira mu nnyumba ya Yakuwa,+ nga bwe kiba ku lunaku lw’embaga.

ח [Kesu]

 8 Yakuwa amaliridde okuzikiriza bbugwe w’omuwala wa Sayuuni.+

Aleeze omuguwa ogupima.+

Omukono gwe tagukugidde kuzikiriza.*

Aleetera ekigo ne bbugwe okukungubaga.

Byonna binafuye.

ט [Tesu]

 9 Enzigi ze zisse wansi mu ttaka.+

Azikirizza era amenye ebisiba bye.

Kabaka we n’abakungu be bali mu mawanga.+

Tewali n’omu agoberera mateeka;* ne bannabbi tebafuna kwolesebwa okuva eri Yakuwa.+

י [Yodi]

10 Abakadde ba muwala wa Sayuuni batuula wansi ku ttaka ne basirika.+

Bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe era bambala ebibukutu.+

Abawala embeerera ab’omu Yerusaalemi bakutamye ne bateeka emitwe gyabwe ku ttaka.

כ [Kafu]

11 Amaaso gange gakooye olw’okukaaba.+

Ebyenda bintokota.

Ekibumba kyange kiyiise ku ttaka, olw’okugwa kwa muwala w’abantu bange,+

N’olw’abaana abato n’abawere abazirikira mu bibangirizi by’ekibuga.+

ל [Lamedi]

12 Babuuza bannyaabwe nti, “Emmere n’omwenge biri wa?”+

Olw’okuba bazirikira mu bibangirizi by’ekibuga ng’omuntu atuusiddwako ebisago,

Ng’obulamu bugenda bubaggwaamu nga bali mu mikono gya bannyaabwe.

מ [Memu]

13 Nkuwe kyakulabirako ki,

Oba nkufaananye ki ggwe muwala wa Yerusaalemi?

Nkugeraageranye ku ki okukubudaabuda ggwe muwala wa Sayuuni embeerera?

Kubanga ekiwundu kyo kinene okwenkana ennyanja.+ Ani ayinza okukuwonya?+

נ [Nuni]

14 Bannabbi bo bye baalaba mu kwolesebwa ku lulwo byali bya bulimba era tebyalimu nsa,+

Tebaayanika nsobi zo oleme okutwalibwa mu buwambe,+

Naye baakubuuliranga okwolesebwa okw’obulimba era okubuzaabuza.+

ס [Sameki]

15 Abo bonna abayitawo ku luguudo bakuba mu ngalo okwoleka obunyoomi.+

Bafuuwa oluwa olw’okwewuunya+ era ne banyeenyeza muwala wa Yerusaalemi omutwe, nga bagamba nti:

“Kino kye kibuga kye baayogerangako nti, ‘Kyalungiwa ne kituukirira, essanyu ly’ensi yonna’?”+

פ [Pe]

16 Abalabe bo bonna bakujerega.

Bafuuwa oluwa era ne baluma obugigi ne bagamba nti: “Tumumize.+

Luno lwe lunaku lwe tubadde tulindirira!+ Lutuuse era tululabye!”+

ע [Ayini]

17 Yakuwa akoze nga bwe yayagala;+ atuukirizza kye yagamba,+

Kye yalagira edda.+

Amenye awatali kusaasira.+

Aleetedde omulabe okukuwangula n’ajaganya; agulumizza amaanyi* g’abalabe bo.

צ [Sade]

18 Ggwe bbugwe wa muwala wa Sayuuni, omutima gw’abantu gukaabirira Yakuwa,

Amaziga ka gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro.

Teweewummuzaamu, eriiso lyo* toliwummuza.

ק [Kofu]

19 Situka! Kaaba ekiro, ng’ebisisimuka byakatandika.

Tegeeza Yakuwa byonna ebikuli ku mutima ng’okaaba amaziga.

Wanika emikono gyo gy’ali olw’obulamu bw’abaana bo,

Abazirikira olw’enjala ku buli luguudo.+

ר [Lesu]

20 Laba, Ai Yakuwa, tunula ku oyo gw’obonerezza.

Mazima ddala abakazi balye abaana baabwe,* abaana baabwe be baazaala?+

Era ne bakabona ne bannabbi battirwe mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu?+

ש [Sini]

21 Emirambo gy’abalenzi n’abasajja abakadde giri mu nguudo.+

Bawala bange embeerera n’abavubuka battiddwa ekitala.+

Osse ku lunaku olw’obusungu bwo; osse awatali kusaasira.+

ת [Tawu]

22 Oyita entiisa okuva ku njuyi zonna, nga gy’obeera nti ogiyitira olunaku olw’embaga.+

Ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa, tewali n’omu yasimattuka wadde okuwonawo;+

Abo be nnazaala* ne nkuza omulabe wange abazikirizza.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share