LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 52
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Zuukuka, Ggwe Sayuuni! (1-12)

        • Ebigere by’abo abaleeta amawulire amalungi birabika bulungi (7)

        • Abakuumi ba Sayuuni baleekaanira wamu (8)

        • Abasitula ebintu bya Yakuwa balina okuba abayonjo (11)

      • Omuweereza wa Yakuwa ajja kugulumizibwa (13-15)

        • Endabika ye yayonoonebwa (14)

Isaaya 52:1

Marginal References

  • +Kag 2:4
  • +Is 51:17
  • +Is 61:3
  • +Is 35:8; 60:21; Kub 21:27

Isaaya 52:2

Marginal References

  • +Is 51:14; 61:1

Isaaya 52:3

Marginal References

  • +Is 50:1
  • +Is 45:13

Isaaya 52:4

Marginal References

  • +Lub 46:5-7

Isaaya 52:5

Marginal References

  • +Zb 137:3; Yer 50:17
  • +Zb 74:10; Bar 2:24

Isaaya 52:6

Marginal References

  • +Ezk 20:44

Isaaya 52:7

Marginal References

  • +Is 40:9; Nak 1:15; Bik 8:4; Bar 10:15; Bef 6:14, 15
  • +Luk 2:14; Bik 10:36; Bef 2:17
  • +Zb 93:1; Is 33:22; Mi 4:7; Mat 24:14; Kub 11:15, 17

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 126-127

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2005, lup. 24-25

    2/1/1997, lup. 3-4, 5-6

Isaaya 52:8

Footnotes

  • *

    Oba, “balikiraba liiso ku liiso.”

Isaaya 52:9

Marginal References

  • +Is 61:4
  • +Is 66:13
  • +Is 44:23

Isaaya 52:10

Footnotes

  • *

    Oba, “obuwanguzi bwa Katonda waffe.”

Marginal References

  • +Is 51:9
  • +Zb 22:27; Is 49:6

Isaaya 52:11

Marginal References

  • +Is 48:20; Yer 50:8; 51:6; Zek 2:6
  • +Lev 5:2; Ezk 44:23
  • +2Ko 6:17; Kub 18:4
  • +Lev 10:3; Kbl 3:6, 8; Ezr 1:7; 8:30

Indexes

  • Research Guide

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 106-107

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 89

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1992, lup. 5-6

    12/1/1989, lup. 5

Isaaya 52:12

Marginal References

  • +Kuv 13:21; 1By 14:15
  • +Is 58:8

Isaaya 52:13

Marginal References

  • +Is 42:1; 61:1; Baf 2:5-7
  • +Zb 2:6; 110:1; Is 9:6; Mat 28:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2009, lup. 24-25

Isaaya 52:15

Footnotes

  • *

    Oba, “tebalyogera kigambo.”

Marginal References

  • +Zb 2:2
  • +Zb 2:10; 72:11
  • +Bar 15:20, 21

General

Is. 52:1Kag 2:4
Is. 52:1Is 51:17
Is. 52:1Is 61:3
Is. 52:1Is 35:8; 60:21; Kub 21:27
Is. 52:2Is 51:14; 61:1
Is. 52:3Is 50:1
Is. 52:3Is 45:13
Is. 52:4Lub 46:5-7
Is. 52:5Zb 137:3; Yer 50:17
Is. 52:5Zb 74:10; Bar 2:24
Is. 52:6Ezk 20:44
Is. 52:7Is 40:9; Nak 1:15; Bik 8:4; Bar 10:15; Bef 6:14, 15
Is. 52:7Luk 2:14; Bik 10:36; Bef 2:17
Is. 52:7Zb 93:1; Is 33:22; Mi 4:7; Mat 24:14; Kub 11:15, 17
Is. 52:9Is 61:4
Is. 52:9Is 66:13
Is. 52:9Is 44:23
Is. 52:10Is 51:9
Is. 52:10Zb 22:27; Is 49:6
Is. 52:11Is 48:20; Yer 50:8; 51:6; Zek 2:6
Is. 52:11Lev 5:2; Ezk 44:23
Is. 52:112Ko 6:17; Kub 18:4
Is. 52:11Lev 10:3; Kbl 3:6, 8; Ezr 1:7; 8:30
Is. 52:12Kuv 13:21; 1By 14:15
Is. 52:12Is 58:8
Is. 52:13Is 42:1; 61:1; Baf 2:5-7
Is. 52:13Zb 2:6; 110:1; Is 9:6; Mat 28:18
Is. 52:15Zb 2:2
Is. 52:15Zb 2:10; 72:11
Is. 52:15Bar 15:20, 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 52:1-15

Isaaya

52 Zuukuka! Zuukuka! Yambala amaanyi,+ ggwe Sayuuni!+

Yambala ebyambalo byo ebirungi ennyo,+ ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu!

Kubanga oyo atali mukomole n’oyo atali mulongoofu tebaliddamu kukuyingiramu.+

 2 Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule, ggwe Yerusaalemi.

Weesumulule enjegere ezikuli mu bulago ggwe muwala wa Sayuuni eyawambibwa.+

 3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Mwatundibwa nga tewali asasudde,+

Era mulinunulibwa nga tewali ssente zisasuddwa.”+

 4 Kubanga bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Mu kusooka abantu bange baagenda e Misiri okubeera eyo ng’abagwira;+

Oluvannyuma Bwasuli yabanyigiriza awatali nsonga.”

 5 “Kati olwo nkolewo ki?” Yakuwa bw’agamba.

“Kubanga abantu bange baatwalibwa ku bwereere.

Abo ababafuga beewaana,”+ Yakuwa bw’agamba,

“Era erinnya lyange livvoolwa okuzibya obudde.+

 6 Olw’ensonga eyo abantu bange balimanya erinnya lyange;+

Olw’ensonga eyo ku lunaku olwo balimanya nti nze njogera.

Laba, nze nzuuyo!”

 7 Ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi nga birabika bulungi ku nsozi,+

Oyo alangirira emirembe,+

Oyo aleeta amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi,

Oyo alangirira obulokozi,

Oyo agamba Sayuuni nti: “Katonda wo afuuse Kabaka!”+

 8 Wulira! Abakuumi bo bayimusizza amaloboozi gaabwe.

Baleekaanira wamu olw’essanyu,

Kubanga Yakuwa bw’aliddamu okukuŋŋaanya ab’omu Sayuuni, balikiraba bulungi.*

 9 Mujaganye, muleekaanire wamu olw’essanyu, mmwe amatongo ga Yerusaalemi,+

Kubanga Yakuwa agumizza abantu be;+ anunudde Yerusaalemi.+

10 Yakuwa ayolesezza omukono gwe omutukuvu mu maaso g’amawanga gonna;+

Ensi yonna eriraba ebikolwa bya Katonda waffe eby’obulokozi.*+

11 Muveeyo, muveeyo, mufulume,+ temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu!+

Mukifulumemu,+ mwekuume nga muli balongoofu,

Mmwe abasitudde ebintu bya Yakuwa.+

12 Temulivaayo nga mupapa,

Era temuliddukayo buddusi,

Kubanga Yakuwa alibakulemberamu,+

Era Katonda wa Isirayiri alibavaako ennyuma ng’abakuuma.+

13 Laba! Omuweereza wange+ by’alikola alibikozesa magezi.

Aliyimusibwa waggulu,

Alissibwa waggulu era aligulumizibwa nnyo.+

14 Nga bwe waaliwo bangi abaamutunuulira ne beewuunya

—Kubanga endabika ye yayonoonebwa okusinga ey’omuntu omulala yenna,

Endabika ye ey’ekitiibwa yayonoonebwa okusinga ey’abantu—

15 Bw’atyo bw’alyewuunyisa amawanga mangi.+

Bakabaka balibunira* mu maaso ge,+

Kubanga baliraba ekyo kye batabuulirwangako

Era ne balowooza ku ekyo kye batawulirangako.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share