LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Ekyamateeka 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Ebiweebwayo tebirina kubaako bulemu (1)

      • Engeri y’okukwatamu ensonga za bakyewaggula (2-7)

      • Emisango emizibu okulamula (8-13)

      • Obulagirizi eri kabaka anaabanga alondeddwa (14-20)

        • Kabaka alina okukoppolola Amateeka (18)

Ekyamateeka 17:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 22:20; Ma 15:21; Mal 1:8

Ekyamateeka 17:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 4:23; 13:6-9

Ekyamateeka 17:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 4:19
  • +Ma 13:12-15

Ekyamateeka 17:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 7:51

Ekyamateeka 17:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 13:6, 10

Ekyamateeka 17:6

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “akamwa ka.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 18:16; Yok 8:17; 1Ti 5:19; Beb 10:28
  • +Kbl 35:30; Ma 19:15

Ekyamateeka 17:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 13:5; 1Ko 5:13

Ekyamateeka 17:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kbl 35:11
  • +Ma 12:5; 1Sk 3:16, 28; Zb 122:2, 5

Ekyamateeka 17:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 7:15, 16
  • +Ma 19:17; 21:5

Ekyamateeka 17:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mal 2:7
  • +Ma 5:32; 12:32

Ekyamateeka 17:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 11:2; Beb 10:28
  • +Ma 13:5; 1Ko 5:13

Ekyamateeka 17:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 13:11; 19:20

Ekyamateeka 17:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 8:5, 20; 10:19

Ekyamateeka 17:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sa 9:17; 10:24; 16:12, 13

Ekyamateeka 17:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 20:1; 2Sa 8:4; Zb 20:7; Nge 21:31
  • +Is 31:1

Ekyamateeka 17:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sk 11:1-3; Nek 13:26
  • +Yob 31:24, 28; 1Ti 6:9

Ekyamateeka 17:18

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “mu muzingo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 31:9, 26; 2Sk 22:8

Ekyamateeka 17:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2By 34:18
  • +Zb 1:2; 119:97

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 8-13

    10/1/2000, lup. 17-18

Ebirala

Ma. 17:1Lev 22:20; Ma 15:21; Mal 1:8
Ma. 17:2Ma 4:23; 13:6-9
Ma. 17:3Ma 4:19
Ma. 17:3Ma 13:12-15
Ma. 17:4Yok 7:51
Ma. 17:5Ma 13:6, 10
Ma. 17:6Mat 18:16; Yok 8:17; 1Ti 5:19; Beb 10:28
Ma. 17:6Kbl 35:30; Ma 19:15
Ma. 17:7Ma 13:5; 1Ko 5:13
Ma. 17:8Kbl 35:11
Ma. 17:8Ma 12:5; 1Sk 3:16, 28; Zb 122:2, 5
Ma. 17:91Sa 7:15, 16
Ma. 17:9Ma 19:17; 21:5
Ma. 17:11Mal 2:7
Ma. 17:11Ma 5:32; 12:32
Ma. 17:12Nge 11:2; Beb 10:28
Ma. 17:12Ma 13:5; 1Ko 5:13
Ma. 17:13Ma 13:11; 19:20
Ma. 17:141Sa 8:5, 20; 10:19
Ma. 17:151Sa 9:17; 10:24; 16:12, 13
Ma. 17:16Ma 20:1; 2Sa 8:4; Zb 20:7; Nge 21:31
Ma. 17:16Is 31:1
Ma. 17:171Sk 11:1-3; Nek 13:26
Ma. 17:17Yob 31:24, 28; 1Ti 6:9
Ma. 17:18Ma 31:9, 26; 2Sk 22:8
Ma. 17:192By 34:18
Ma. 17:19Zb 1:2; 119:97
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 17:1-20

Ekyamateeka

17 “Towangayo eri Yakuwa Katonda wo ssaddaaka ey’ente oba ey’endiga eriko obulemu oba ekikyamu kyonna, kubanga ekyo kya muzizo eri Yakuwa Katonda wo.+

2 “Bwe wanaalabikanga mu ggwe mu kimu ku bibuga Yakuwa Katonda wo by’akuwa, omusajja oba omukazi akola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa Katonda wo n’amenya endagaano ye,+ 3 n’awaba n’atandika okusinza bakatonda abalala n’okubavunnamira, oba n’avunnamira enjuba oba omwezi oba eggye lyonna ery’oku ggulu,+ ekintu kye saalagira;+ 4 bwe bakikubuuliranga oba bw’okiwuliranga, okinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kikakasibwanga nti ddala kituufu+ ekintu ekyo eky’omuzizo kikoleddwa mu Isirayiri, 5 omusajja oba omukazi anaabanga akoze ekintu ekyo ekibi omutwalanga wabweru w’enzigi z’ekibuga kyo n’akubibwa amayinja n’afa.+ 6 Oyo anaabanga ow’okuttibwa, attibwenga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.+ Tattibwenga nga waliwo obujulizi bwa muntu omu.+ 7 Abajulizi be banaasookanga okumukuba amayinja okumutta, n’abantu abalala bonna ne balyoka bamukuba. Oggyangawo ekibi mu mmwe.+

8 “Bwe wanaabangawo ensonga enzibu ennyo mu kimu ku bibuga byo n’ekulema okulamula, ensonga ezingiramu okuyiwa omusaayi,+ oba enkaayana, oba okukola ekikolwa eky’obukambwe, oba ensonga endala yonna, ositukanga n’ogenda mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda.+ 9 Ogendanga eri bakabona Abaleevi n’eri omulamuzi+ aliba alamula mu kiseera ekyo, n’obeebuuzaako, ne bakuwa ensala y’omusango.+ 10 Okolanga nga bwe banaabanga basazeewo nga bali mu kifo Yakuwa ky’anaalonda. Ofubanga okukola byonna bye banaabanga bakulagidde. 11 Okolanga ng’amateeka ge banaakulaganga bwe gali, era nga bwe banaabanga basazeewo.+ Tovanga ku ekyo kye banaabanga basazeewo n’okyukira ku ddyo oba ku kkono.+ 12 Omuntu anaawaganyalanga n’agaana okuwuliriza kabona aweereza mu maaso ga Yakuwa Katonda wo oba okuwuliriza omulamuzi, anattibwanga.+ Oggyangawo ekibi mu Isirayiri.+ 13 Abantu bonna banaakiwuliranga ne batya, era tebaddengamu kuwaganyala.+

14 “Bw’onootuuka mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’ogitwala era n’ogibeeramu, n’ogamba nti, ‘Ka nneeteerewo kabaka ng’amawanga gonna aganneetoolodde bwe gakola,’+ 15 weeteerangawo kabaka Yakuwa Katonda wo gw’alironda.+ Kabaka gw’olyeteerawo alina kuba omu ku baganda bo. Tolikkirizibwa kweteerawo mugwira atali muganda wo. 16 Naye kabaka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi,+ oba okuzzaayo abantu e Misiri okwongera okufuna embalaasi,+ kubanga Yakuwa yabagamba nti, ‘Temuddangayo e Misiri.’ 17 Era tawasanga bakazi bangi, omutima gwe guleme okukyuka;+ era teyeefuniranga ffeeza na zzaabu mungi.+ 18 Bw’anaatuulanga ku ntebe y’obwakabaka bwe, aneewandiikiranga mu kitabo* Amateeka gano ng’agakoppolola mu ekyo bakabona Abaleevi kye batereka.+

19 “Era anaabeeranga nakyo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe,+ ayige okutya Yakuwa Katonda we n’okukwata ebigambo byonna eby’Amateeka gano n’ebiragiro bino ng’abikolerako.+ 20 Olwo omutima gwe tegujja kwekulumbaliza ku baganda be era tajja kukyuka kuva ku biragiro kudda ku ddyo oba ku kkono, asobole okufuga ekiseera ekiwanvu mu bwakabaka bwe, ye ne batabani be, mu Isirayiri.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza