1 Samwiri
27 Naye Dawudi n’agamba mu mutima gwe nti: “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi ka nzirukire+ mu nsi y’Abafirisuuti; olwo Sawulo ajja kulekera awo okunnoonya mu Isirayiri yonna,+ era nja kuba nsimattuse mu mukono gwe.” 2 Awo Dawudi n’abasajja 600+ abaali naye ne bagenda eri Akisi+ kabaka wa Gaasi, mutabani wa Mawoki. 3 Dawudi n’abasajja be ne babeera ne Akisi e Gaasi, buli omu ng’ali n’ab’omu maka ge. Dawudi yali ne bakazi be bombi, Akinowamu+ ow’e Yezuleeri ne Abbigayiri+ Omukalumeeri, eyali mukyala wa Nabbali. 4 Oluvannyuma lw’ekiseera baagamba Sawulo nti Dawudi yali addukidde e Gaasi, Sawulo n’ataddamu kumunoonya.+
5 Awo Dawudi n’agamba Akisi nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, bampe ekifo mu kamu ku bubuga obutono mbeere omwo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga kya kabaka?” 6 Awo Akisi kwe kumuwa Zikulagi+ ku lunaku olwo, era eyo ye nsonga lwaki Zikulagi kibuga kya bakabaka ba Yuda n’okutuusa leero.
7 Ebbanga Dawudi lye yamala mu nsi y’Abafirisuuti lyali omwaka gumu n’emyezi ena.+ 8 Dawudi yagendanga n’abasajja be ne bazinda Abagesuli,+ Abagiruzi, n’Abamaleki,+ olw’okuba baabeeranga mu kitundu ekyali kiva e Teramu ne kituukira ddala e Ssuuli+ ne ku nsi ya Misiri. 9 Buli Dawudi lwe yatabaalanga ekitundu ekyo, teyalekangamu musajja wadde omukazi nga mulamu,+ naye yatwalanga endiga, ente, endogoyi, eŋŋamira, n’ebyambalo, era oluvannyuma yaddangayo eri Akisi. 10 Akisi bwe yamubuuzanga nti: “Mwazinze kitundu ki leero? Dawudi yamudangamu nti: “Twazinze mu bukiikaddyo* bwa Yuda,+ mu bukiikaddyo bw’ekitundu ky’Abayerameeri,+ ne mu bukiikaddyo bw’ekitundu ky’Abakeeni.”+ 11 Dawudi teyalekangawo musajja wadde omukazi nga mulamu, baleme okutwalibwa e Gaasi, kubanga yagamba nti: “Baleme okutuloopa nga bagamba nti, ‘Dawudi yakoze bw’ati ne bw’ati.’” (Bw’atyo Dawudi bwe yakolanga ebbanga lyonna lye yamala mu nsi y’Abafirisuuti.) 12 Akisi yakkirizanga ebyo Dawudi bye yamugambanga, era yagambanga mu mutima gwe nti: “Mazima ddala akyayiddwa abantu be Abayisirayiri, era anaabanga muweereza wange ebbanga lyonna.”