LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obufuzi bwa Yekowaasi (1-3)

      • Yekowaasi addaabiriza yeekaalu (4-14)

      • Yekowaasi ava ku kusinza okw’amazima (15-22)

      • Yekowaasi attibwa (23-27)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:1

Marginal References

  • +2Sk 11:21
  • +Lub 21:14; 2Sa 3:10; 2Sk 12:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:2

Marginal References

  • +2Sk 12:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:4

Footnotes

  • *

    Obut., “omutima gwa Yekowaasi ne gwagala.”

Marginal References

  • +2Sk 22:3-5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:5

Marginal References

  • +2Sk 12:4, 5; 2By 29:1, 3; 34:9, 10
  • +2Sk 12:6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:6

Marginal References

  • +2Sk 12:7
  • +Kuv 30:12-16
  • +Kbl 1:50

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:7

Marginal References

  • +2By 22:2, 3
  • +2By 28:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:8

Marginal References

  • +Mak 12:41
  • +2Sk 12:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:9

Marginal References

  • +Kuv 30:12-16; Nek 10:32; Mat 17:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:10

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “okutuusa bonna lwe baawaayo.”

Marginal References

  • +1By 29:9

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:11

Marginal References

  • +2Sk 12:10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:12

Marginal References

  • +2Sk 12:11, 12; 2By 34:10, 11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:14

Marginal References

  • +Kuv 37:16; Kbl 7:84
  • +Kbl 28:3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:16

Marginal References

  • +1Sk 2:10
  • +2By 23:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:18

Footnotes

  • *

    Obut., “ne wabaawo obusungu ku.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:19

Marginal References

  • +2Sk 17:13, 14; 2By 36:15, 16; Yer 7:25, 26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:20

Footnotes

  • *

    Obut., “ne gwambala.”

Marginal References

  • +2By 23:11
  • +Ma 29:24, 25; 1By 28:9; 2By 15:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:21

Marginal References

  • +Yer 11:19
  • +Mat 23:35; Luk 11:51

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:22

Marginal References

  • +Lub 9:5; Zb 94:1; Yer 11:20; Beb 10:30

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:23

Marginal References

  • +2Sk 12:17
  • +2By 24:17, 18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:24

Marginal References

  • +Lev 26:17, 37; Ma 32:30

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:25

Footnotes

  • *

    Oba, “endwadde nnyingi.”

  • *

    Oba, “gw’omwana wa.”

Marginal References

  • +2By 24:20, 21
  • +2Sk 12:20
  • +2Sa 5:9; 1Sk 2:10
  • +2By 21:16, 20; 28:27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:26

Marginal References

  • +2Sk 12:21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:27

Marginal References

  • +2By 24:20
  • +2By 24:13

General

2 Byom. 24:12Sk 11:21
2 Byom. 24:1Lub 21:14; 2Sa 3:10; 2Sk 12:1
2 Byom. 24:22Sk 12:2
2 Byom. 24:42Sk 22:3-5
2 Byom. 24:52Sk 12:4, 5; 2By 29:1, 3; 34:9, 10
2 Byom. 24:52Sk 12:6
2 Byom. 24:62Sk 12:7
2 Byom. 24:6Kuv 30:12-16
2 Byom. 24:6Kbl 1:50
2 Byom. 24:72By 22:2, 3
2 Byom. 24:72By 28:24
2 Byom. 24:8Mak 12:41
2 Byom. 24:82Sk 12:9
2 Byom. 24:9Kuv 30:12-16; Nek 10:32; Mat 17:24
2 Byom. 24:101By 29:9
2 Byom. 24:112Sk 12:10
2 Byom. 24:122Sk 12:11, 12; 2By 34:10, 11
2 Byom. 24:14Kuv 37:16; Kbl 7:84
2 Byom. 24:14Kbl 28:3
2 Byom. 24:161Sk 2:10
2 Byom. 24:162By 23:1
2 Byom. 24:192Sk 17:13, 14; 2By 36:15, 16; Yer 7:25, 26
2 Byom. 24:202By 23:11
2 Byom. 24:20Ma 29:24, 25; 1By 28:9; 2By 15:2
2 Byom. 24:21Yer 11:19
2 Byom. 24:21Mat 23:35; Luk 11:51
2 Byom. 24:22Lub 9:5; Zb 94:1; Yer 11:20; Beb 10:30
2 Byom. 24:232Sk 12:17
2 Byom. 24:232By 24:17, 18
2 Byom. 24:24Lev 26:17, 37; Ma 32:30
2 Byom. 24:252By 24:20, 21
2 Byom. 24:252Sk 12:20
2 Byom. 24:252Sa 5:9; 1Sk 2:10
2 Byom. 24:252By 21:16, 20; 28:27
2 Byom. 24:262Sk 12:21
2 Byom. 24:272By 24:20
2 Byom. 24:272By 24:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:1-27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

24 Yekowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka,+ era yafugira emyaka 40 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Zibiya ow’e Beeru-seba.+ 2 Yekowaasi yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa ekiseera kyonna Yekoyaada kabona+ kye yamala nga mulamu. 3 Yekoyaada yamuwasiza abakazi babiri, era yazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala.

4 Awo Yekowaasi n’ayagala* okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa.+ 5 N’akuŋŋaanya bakabona n’Abaleevi n’abagamba nti: “Mugende mu bibuga bya Yuda musolooze ssente mu Isirayiri yonna ez’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe+ buli mwaka, era ekyo mukikole mu bwangu.” Kyokka Abaleevi ne batakikola mu bwangu.+ 6 Awo kabaka n’ayita Yekoyaada kabona omukulu n’amugamba nti:+ “Lwaki tewagamba Baleevi kuleeta omusolo omutukuvu okuva mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Musa+ omuweereza wa Yakuwa gwe yalagira, omusolo omutukuvu ogwa weema ey’Obujulirwa+ ekibiina kya Isirayiri gwe kirina okuwa? 7 Kubanga abaana ba Asaliya+ omukazi omubi, baakozesa eryanyi ne bayingira mu nnyumba ya Katonda ow’amazima+ ne baggyamu ebintu ebitukuvu byonna eby’omu nnyumba ya Yakuwa ne babikozesa mu kusinza Babbaali.” 8 Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko+ ne bagiteeka wabweru ku mulyango gw’ennyumba ya Yakuwa.+ 9 Ne balangirira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi abantu baleete eri Yakuwa omusolo+ Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima gwe yalagira mu ddungu Abayisirayiri okuwa. 10 Awo abaami bonna n’abantu bonna ne basanyuka,+ ne baleeta eby’okuwaayo ne babiteeka mu ssanduuko okutuusa lwe yajjula.*

11 Buli Abaleevi lwe baaleetanga essanduuko eri kabaka, ne balaba nga mulimu ssente nnyingi, ng’omuwandiisi wa kabaka n’oyo eyayambangako kabona omukulu bajja baziggyamu,+ ng’essanduuko bagizzaayo mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, era baakuŋŋaanya ssente nnyingi nnyo. 12 Kabaka ne Yekoyaada ssente ezo baazikwasanga abaalabiriranga omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa, bo ne basasulanga abatemi b’amayinja ne baffundi okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa,+ era n’abaweesi b’ekyuma n’ekikomo okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa. 13 Abo abaali ab’okulabirira omulimu ne batandika okukola, era omulimu gw’okuddaabiriza ne gugenda mu maaso nga bagulabirira bulungi, ennyumba ya Katonda ow’amazima ne bagizzaawo nga bwe yali edda, ne baginyweza n’ebeerera ddala ŋŋumu. 14 Olwali okugimaliriza, ne baleeta eri kabaka ne Yekoyaada ssente ezaali zifisseewo, ne bazikozesa okukola ebintu eby’okukozesa mu nnyumba ya Yakuwa, ebintu ebikozesebwa mu buweereza ne mu kuwaayo ebiweebwayo n’ebikopo n’ebintu ebya zzaabu n’ebya ffeeza.+ Era baawangayo ssaddaaka ezookebwa+ mu nnyumba ya Yakuwa bulijjo ennaku zonna Yekoyaada ze yamala nga mulamu.

15 Yekoyaada bwe yali ng’akaddiye era ng’amatidde emyaka gy’obulamu bwe, n’afa. Yafa nga wa myaka 130. 16 Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi gye baaziikanga bakabaka,+ olw’ebirungi bye yali akoledde Isirayiri,+ ne Katonda ow’amazima, n’ennyumba ya Katonda.

17 Yekoyaada bwe yamala okufa, abaami ba Yuda ne bajja ne bavunnamira kabaka; kabaka n’abawuliriza. 18 Ne baleka ennyumba ya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe ne batandika okusinza ebikondo n’ebifaananyi; Katonda n’asunguwalira* Yuda ne Yerusaalemi olw’ekibi kyabwe. 19 Yakuwa n’abatumiranga bannabbi okubakomyawo gy’ali; ne babalabulanga naye ne bagaana okuwuliriza.+

20 Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku* Zekkaliya mutabani wa Yekoyaada+ kabona, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’abagamba nti: “Bw’ati Katonda ow’amazima bw’agamba, ‘Lwaki mumenya ebiragiro bya Yakuwa? Ebintu tebijja kubagendera bulungi? Olw’okuba mulese Yakuwa, naye ajja kubaleka.’”+ 21 Kyokka ne beekobaana+ ne bamukubira amayinja mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa+ nga bakolera ku kiragiro kya kabaka. 22 Bw’atyo Kabaka Yekowaasi n’atajjukira kwagala okutajjulukuka Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kwe yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali afa yagamba nti: “Yakuwa akubonereze olw’ekyo ky’okoze.”+

23 Awo omwaka bwe gwali gutandika, eggye lya Busuuli lyajja okulwanyisa Yekowaasi, ne lirumba Yuda ne Yerusaalemi.+ Ne batta abaami bonna+ ab’abantu, era ebintu byonna bye baabanyagako ne babiweereza kabaka wa Ddamasiko. 24 Wadde ng’eggye lya Busuuli ery’abalumba lyalimu abantu batono, Yakuwa yawaayo mu mukono gwabwe eggye lya Yuda eryali eddene ennyo,+ kubanga baali balese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe; bwe batyo Abasuuli ne babonereza Yekowaasi. 25 Bwe baagenda (baamuleka alina ebisago eby’amaanyi*), abaweereza be ne bamwekobaanira olw’okuyiwa omusaayi gw’abaana ba* Yekoyaada+ kabona, ne bamuttira ku kitanda kye.+ Bw’atyo n’afa era ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka.+

26 Bano be baamwekobaanira:+ Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 27 Ebikwata ku baana be n’ebyo ebyalangirirwa nti bijja kumutuukako,+ era n’ebikwata ku ngeri gye yaddaabirizaamu ennyumba ya Katonda ow’amazima,+ byawandiikibwa mu biwandiiko eby’Ekitabo kya Bakabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share