Yobu
30 “Kaakano be nsinga obukulu,
Bansekerera,+
Nga ne bakitaabwe sandibakkirizza
Kubeera na mbwa ezaakuumanga ekisibo kyange.
2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
Amaanyi gabaweddemu.
3 Bakozze olw’obwavu n’olw’okulumwa enjala;
Bakeketa ettaka ekkalu
Eryayonoonebwa ne lirekebwa awo.
4 Banoga enkunga mu bisaka;
Era emirandira gy’obuti y’emmere yaabwe.
5 Bagobebwa mu kitundu;+
Abantu babakubira enduulu ng’ababbi.
6 Babeera mu nkonko,*
Ne mu binnya eby’omu ttaka ne mu njazi.
7 Bakaabira mu bisaka
Ne beekuma wamu mu myennyango.
8 Bagobebwa mu nsi
Ng’abaana b’abo abatalina magezi n’abatalina mugaso.
11 Olw’okuba Katonda anzigyeeko eby’okulwanyisa* n’antoowaza,
Kye baagala kye bakolera mu maaso gange.
12 Ku mukono gwange ogwa ddyo basituka ng’ekibinja okunnumba;
Bandeetera okudduka
Era bateeka enkonge ez’okuzikiriza mu kkubo lyange.
14 Bajja nga balinga abayita mu kituli ekigazi ekiri mu kisenge;
Banjolekera ng’eno bwe bazikiriza.
15 Entiisa embuutikidde;
Ekitiibwa kyange kigenda ng’ekitwalibwa empewo,
N’obulokozi bwange bubulawo ng’ekire.
18 Ekyambalo kyange kifufunyadde olw’amaanyi amangi;
Era kintuga ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 Katonda ansudde mu bitosi;
Nfuuse nfuufu na vvu.
20 Nkukaabirira onnyambe, naye tonnyanukula;+
Nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 Onkambuwalidde;+
Onnwanyisa n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 Onsitula n’ontwalira mu mpewo;
N’onjuuyayuuya mu mbuyaga.
23 Mmanyi ng’ojja kuntwala mu kufa,
Mu nnyumba abantu bonna abalamu gye balisisinkana.
24 Naye tewali n’omu ayinza kukuba muntu amenyese,+
Ng’awanjaga mu kiseera eky’akatyabaga.
25 Saakaabiranga abo abaali mu buzibu?
Abaavu tebankwasanga ennaku?+
26 Wadde nga nnali nsuubira birungi, ebibi bye byajja;
Nnalindirira ekitangaala, naye ekizikiza kye kyajja.
27 Omutima gwange gwali mweraliikirivu;
Nnayolekagana n’ekiseera eky’obuyinike.
28 Ntambula nnyiikadde;+ tewali kitangaala.
Nga ndi wakati mu bantu nsituka ne nsaba bannyambe.
29 Ebibe bifuuse baganda bange,
Era ndi mukwano gw’abaana ba maaya.+
31 Entongooli yange ekozesebwa mu kukungubaga kwokka,
N’endere yange efuuyirwa abo abakaaba amaziga.