Zabbuli ey’okwebaza.
100 Mukubire Yakuwa emizira mmwe ensi yonna.+
 2 Muweereze Yakuwa n’essanyu.+
Mujje mu maaso ge nga mwogerera waggulu mu ddoboozi ery’essanyu.
 3 Mumanye nti Yakuwa ye Katonda.+
Ye yatutonda era tuli babe.+
Tuli bantu be era tuli ndiga ez’omu ddundiro lye.+
 4 Mujje mu miryango gye mumwebaze,+
Mujje mu mpya ze n’okutendereza.+
Mumwebaze; mutendereze erinnya lye.+
 5 Kubanga Yakuwa mulungi;+
Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,
N’obwesigwa bwe bwa mirembe na mirembe.+