LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Bassekabaka 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Eriya adduka Yezebeeri (1-8)

      • Yakuwa alabikira Eriya e Kolebu (9-14)

      • Eriya afuka amafuta ku Kazayeeri, ku Yeeku, ne ku Erisa (15-18)

      • Erisa alondebwa okusikira Eriya (19-21)

1 Bassekabaka 19:1

Marginal References

  • +1Sk 16:29; 21:25
  • +1Sk 16:31
  • +1Sk 18:40

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 101

1 Bassekabaka 19:2

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 101

1 Bassekabaka 19:3

Marginal References

  • +Kuv 2:15; 1Sa 27:1
  • +Lub 21:31
  • +Yos 15:21, 28

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 101-102

1 Bassekabaka 19:4

Marginal References

  • +Kbl 11:15; Yob 3:21; Yon 4:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2019, lup. 15-16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 15

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 102-103

1 Bassekabaka 19:5

Marginal References

  • +Dan 10:8-10; Bik 12:7
  • +Zb 34:7; Beb 1:7, 14

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 103

1 Bassekabaka 19:6

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 103

1 Bassekabaka 19:7

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 103

1 Bassekabaka 19:8

Marginal References

  • +Kuv 3:1; 19:18; Mal 4:4

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 103-104

1 Bassekabaka 19:9

Marginal References

  • +Beb 11:32, 38

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 104

1 Bassekabaka 19:10

Marginal References

  • +Kuv 20:4, 5; Kbl 25:11; Zb 69:9
  • +Ma 29:24, 25; Bal 2:20; 1Sk 8:9; 2Sk 17:15
  • +1Sk 18:4
  • +1Sk 19:2; Bar 11:2, 3

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 104

1 Bassekabaka 19:11

Marginal References

  • +Kuv 33:22
  • +Zb 50:3; Is 29:6
  • +1Sa 14:15; Yob 9:6; Zb 68:8; Nak 1:5

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 37-38, 43

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 104-106

1 Bassekabaka 19:12

Marginal References

  • +Ma 4:11
  • +Kuv 34:5, 6

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 37-38, 43

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 104-107

1 Bassekabaka 19:13

Marginal References

  • +Kuv 3:6

1 Bassekabaka 19:14

Marginal References

  • +Ma 31:20; Zb 78:37; Is 1:4; Yer 22:9
  • +Bar 11:2, 3

1 Bassekabaka 19:15

Marginal References

  • +2Sk 8:7, 8; Am 1:4

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 106-107

1 Bassekabaka 19:16

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Katonda Bwe Bulokozi.”

Marginal References

  • +2Sk 9:1-3, 30-33
  • +2Sk 2:9, 15

1 Bassekabaka 19:17

Marginal References

  • +2Sk 8:12; 10:32; 13:3
  • +2Sk 9:14, 24; 10:6, 7, 23, 25
  • +2Sk 2:23, 24

1 Bassekabaka 19:18

Marginal References

  • +Bar 11:4
  • +Kuv 20:5
  • +Kos 13:2

Indexes

  • Research Guide

    Okukkiriza Kwabwe, lup. 107

1 Bassekabaka 19:19

Marginal References

  • +2Sk 2:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2014, lup. 12

1 Bassekabaka 19:21

Marginal References

  • +Kuv 24:13; 2Sk 2:3; 3:11

General

1 Bassek. 19:11Sk 16:29; 21:25
1 Bassek. 19:11Sk 16:31
1 Bassek. 19:11Sk 18:40
1 Bassek. 19:3Kuv 2:15; 1Sa 27:1
1 Bassek. 19:3Lub 21:31
1 Bassek. 19:3Yos 15:21, 28
1 Bassek. 19:4Kbl 11:15; Yob 3:21; Yon 4:3
1 Bassek. 19:5Dan 10:8-10; Bik 12:7
1 Bassek. 19:5Zb 34:7; Beb 1:7, 14
1 Bassek. 19:8Kuv 3:1; 19:18; Mal 4:4
1 Bassek. 19:9Beb 11:32, 38
1 Bassek. 19:10Kuv 20:4, 5; Kbl 25:11; Zb 69:9
1 Bassek. 19:10Ma 29:24, 25; Bal 2:20; 1Sk 8:9; 2Sk 17:15
1 Bassek. 19:101Sk 18:4
1 Bassek. 19:101Sk 19:2; Bar 11:2, 3
1 Bassek. 19:11Kuv 33:22
1 Bassek. 19:11Zb 50:3; Is 29:6
1 Bassek. 19:111Sa 14:15; Yob 9:6; Zb 68:8; Nak 1:5
1 Bassek. 19:12Ma 4:11
1 Bassek. 19:12Kuv 34:5, 6
1 Bassek. 19:13Kuv 3:6
1 Bassek. 19:14Ma 31:20; Zb 78:37; Is 1:4; Yer 22:9
1 Bassek. 19:14Bar 11:2, 3
1 Bassek. 19:152Sk 8:7, 8; Am 1:4
1 Bassek. 19:162Sk 9:1-3, 30-33
1 Bassek. 19:162Sk 2:9, 15
1 Bassek. 19:172Sk 8:12; 10:32; 13:3
1 Bassek. 19:172Sk 9:14, 24; 10:6, 7, 23, 25
1 Bassek. 19:172Sk 2:23, 24
1 Bassek. 19:18Bar 11:4
1 Bassek. 19:18Kuv 20:5
1 Bassek. 19:18Kos 13:2
1 Bassek. 19:192Sk 2:8
1 Bassek. 19:21Kuv 24:13; 2Sk 2:3; 3:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Bassekabaka 19:1-21

1 Bassekabaka

19 Awo Akabu+ n’abuulira Yezebeeri+ byonna Eriya bye yali akoze, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala.+ 2 Yezebeeri n’atuma omubaka eri Eriya n’amugamba nti: “Bakatonda bambonereze nnyo era bongere ku kibonerezo kyange, singa enkya ekiseera nga kino kinaatuuka nga sinnakufuula nga buli omu ku abo be wasse!” 3 Eriya n’atya nnyo, n’asituka n’adduka awonye obulamu bwe.+ N’atuuka e Beeru-seba+ ekya Yuda,+ n’aleka eyo omuweereza we. 4 N’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’agenda n’atuula wansi w’akati, n’asaba afe. N’agamba nti: “Kimala! Kaakano Ai Yakuwa, ggyawo obulamu bwange,+ kubanga sisinga bajjajjange.”

5 N’agalamira ne yeebaka wansi w’akati. Naye malayika n’amukwatako+ n’amugamba nti: “Golokoka olye.”+ 6 Bwe yatunula, n’alaba omugaati omwetooloovu nga guli ku mayinja agookya okumpi n’awaali omutwe gwe, era nga waliwo n’ensumbi y’amazzi. N’alya n’anywa n’addamu n’agalamira. 7 Oluvannyuma lw’ekiseera, malayika wa Yakuwa yakomawo n’amukwatako n’amugamba nti: “Golokoka olye, kubanga olugendo lw’ogenda okutambula luwanvu nnyo.” 8 N’agolokoka n’alya era n’anywa, amaanyi ge yafuna mu ebyo bye yalya ne gamusobozesa okutambula ennaku 40 emisana n’ekiro, okutuusa lwe yatuuka ku Kolebu, olusozi lwa Katonda ow’amazima.+

9 Ng’ali eyo, yayingira mu mpuku+ n’asula omwo; awo Yakuwa n’amugamba nti: “Okola ki wano Eriya?” 10 Eriya n’amuddamu nti: “Mbadde munyiikivu nnyo ku lwa Yakuwa Katonda ow’eggye;+ naye abantu b’omu Isirayiri bavudde ku ndagaano yo,+ bamenye ebyoto byo, basse bannabbi bo n’ekitala,+ era nze nzekka asigaddewo. Kaakano baagala okuggyawo obulamu bwange.”+ 11 Naye n’amugamba nti: “Fuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Yakuwa.” Era laba! Yakuwa yali ayitawo,+ era embuyaga ey’amaanyi ennyo yali eyabuluzaamu ensozi era ng’eyasa enjazi mu maaso ga Yakuwa,+ naye Yakuwa teyali mu mbuyaga. Oluvannyuma lw’embuyaga waaliwo musisi,+ naye Yakuwa teyali mu musisi. 12 Oluvannyuma lwa musisi waaliwo omuliro,+ naye Yakuwa teyali mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro waaliwo eddoboozi erya wansi era erikkakkamu.+ 13 Eriya olwaliwulira, ne yeebikka ekyambalo+ kye mu maaso n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku. Eddoboozi ne limubuuza nti: “Okola ki wano Eriya?” 14 Eriya n’addamu nti: “Mbadde munyiikivu nnyo ku lwa Yakuwa Katonda ow’eggye; naye abantu b’omu Isirayiri bavudde ku ndagaano yo,+ bamenye ebyoto byo, basse bannabbi bo n’ekitala, era nze nzekka asigaddewo. Kaakano baagala okuggyawo obulamu bwange.”+

15 Yakuwa n’amugamba nti: “Ddayo, era genda mu ddungu ly’e Ddamasiko, bw’onootuuka, ofuke amafuta ku Kazayeeri+ abe kabaka wa Busuuli. 16 Ate era ojja kufuka amafuta ku Yeeku+ muzzukulu wa Nimusi abe kabaka wa Isirayiri, era ofuke amafuta ne ku Erisa* mutabani wa Safati ow’e Aberu-mekola abe nnabbi mu kifo kyo.+ 17 Oyo anaasimattuka ekitala kya Kazayeeri,+ Yeeku ajja kumutta;+ n’oyo anaasimattuka ekitala kya Yeeku, Erisa ajja kumutta.+ 18 Nkyalina abantu 7,000 mu Isirayiri,+ ng’abo be bantu bonna abatavunnamidde Bbaali+ era abatamunywegedde.”+

19 Awo Eriya n’ava eyo n’asanga Erisa mutabani wa Safati ng’alimisa emigogo gy’ente 12 nga gimukulembeddemu, ye ng’ali n’ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda we yali n’amusuulako ekyambalo kye.+ 20 Erisa n’aleka awo ente, n’adduka okugoberera Eriya, n’amugamba nti: “Ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere.” Awo Eriya n’amugamba nti: “Ddayo; waliwo kye nkoze okukuziyiza?” 21 Erisa n’addayo n’addira ente bbiri n’aziwaayo nga ssaddaaka, n’akozesa ebintu bye yali alimisa okufumba ennyama yaazo, n’agigabula abantu ne balya. Oluvannyuma yayimuka n’agoberera Eriya n’atandika okumuweereza.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share