Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya Ebirimu 2 EBYOMUMIREMBE EBIRIMU 1 Sulemaani asaba okuweebwa amagezi (1-12) Obugagga bwa Sulemaani (13-17) 2 Enteekateeka z’okuzimba yeekaalu (1-18) 3 Sulemaani atandika okuzimba yeekaalu (1-7) Awasinga Obutukuvu (8-14) Empagi ebbiri ez’ekikomo (15-17) 4 Ekyoto, Ttanka, n’ebbenseni (1-6) Ekikondo ky’ettaala, emmeeza, n’empya (7-11a) Okumaliriza ebintu by’omu yeekaalu (11b-22) 5 Okuteekateeka okutongoza yeekaalu (1-14) Essanduuko ereetebwa mu yeekaalu (2-10) 6 Sulemaani ayogera eri abantu (1-11) Essaala ya Sulemaani ng’atongoza yeekaalu (12-42) 7 Yeekaalu ejjula ekitiibwa kya Yakuwa (1-3) Emikolo egy’okutongoza yeekaalu (4-10) Yakuwa alabikira Sulemaani (11-22) 8 Ebizimbe ebirala Sulemaani bye yazimba (1-11) Enteekateeka ey’okusinza ku yeekaalu eteekebwawo (12-16) Ebyombo bya Sulemaani (17, 18) 9 Kabaka omukazi ow’e Seba akyalira Sulemaani (1-12) Eby’obugagga bya Sulemaani (13-28) Sulemaani afa (29-31) 10 Abayisirayiri bajeemera Lekobowaamu (1-19) 11 Obufuzi bwa Lekobowaamu (1-12) Abaleevi abeesigwa bajja mu Yuda (13-17) Ab’enju ya Lekobowaamu (18-23) 12 Sisaki alumba Yerusaalemi (1-12) Enkomerero y’obufuzi bwa Lekobowaamu (13-16) 13 Abiya, kabaka wa Yuda (1-22) Abiya awangula Yerobowaamu (3-20) 14 Abiya afa (1) Asa, kabaka wa Yuda (2-8) Asa awangula Abeesiyopiya 1,000,000 (9-15) 15 Asa aleetawo enkyukakyuka (1-19) 16 Asa akola endagaano ne Busuuli (1-6) Kanani anenya Asa (7-10) Asa afa (11-14) 17 Yekosafaati, kabaka wa Yuda (1-6) Omulimu gw’okuyigiriza (7-9) Amagye ga Yekosafaati (10-19) 18 Yekosafaati akola omukwano ne Akabu (1-11) Mikaaya alagula okuwangulwa (12-27) Akabu attirwa e Lamosi-gireyaadi (28-34) 19 Yeku anenya Yekosafaati (1-3) Yekosafaati aleetawo enkyukakyuka (4-11) 20 Amawanga gateekateeka okulumba Yuda (1-4) Yekosafaati asaba Yakuwa amuyambe (5-13) Yakuwa addamu okusaba kwe (14-19) Yuda erokolebwa mu ngeri ey’ekyamagero (20-30) Enkomerero y’obufuzi bwa Yekosafaati (31-37) 21 Yekolaamu, kabaka wa Yuda (1-11) Eriya aweereza obubaka mu bbaluwa (12-15) Yekolaamu afa bubi (16-20) 22 Akaziya, kabaka wa Yuda (1-9) Asaliya yeddiza entebe y’obwakabaka (10-12) 23 Yekoyaada abaako ky’akolawo; Yekowaasi afuulibwa kabaka (1-11) Asaliya attibwa (12-15) Yekoyaada aleetawo enkyukakyuka (16-21) 24 Obufuzi bwa Yekowaasi (1-3) Yekowaasi addaabiriza yeekaalu (4-14) Yekowaasi ava ku kusinza okw’amazima (15-22) Yekowaasi attibwa (23-27) 25 Amaziya, kabaka wa Yuda (1-4) Olutalo n’Abeedomu (5-13) Amaziya asinza ebifaananyi (14-16) Alwana ne Yekowaasi kabaka wa Isirayiri (17-24) Amaziya afa (25-28) 26 Uzziya, kabaka wa Yuda (1-5) Obuwanguzi bw’eggye lya Uzziya (6-15) Uzziya akubwa ebigenge olw’amalala (16-21) Uzziya afa (22, 23) 27 Yosamu, kabaka wa Yuda (1-9) 28 Akazi, kabaka wa Yuda (1-4) Awangulwa Busuuli ne Isirayiri (5-8) Odedi alabula Isirayiri (9-15) Yuda etoowazibwa (16-19) Akazi asinza ebifaananyi; afa (20-27) 29 Keezeekiya, kabaka wa Yuda (1, 2) Keezeekiya aleetawo enkyukakyuka (3-11) Yeekaalu erongoosebwa (12-19) Obuweereza bw’oku yeekaalu buzzibwawo (20-36) 30 Keezeekiya akwata Okuyitako (1-27) 31 Keezeekiya amalawo okusinza okw’obulimba (1) Bakabona n’Abaleevi baweebwa omugabo gwabwe (2-21) 32 Sennakeribu atiisatiisa Yerusaalemi (1-8) Sennakeribu anyooma Yakuwa (9-19) Malayika atta eggye lya Bwasuli (20-23) Keezeekiya alwala; afuna amalala (24-26) Ebintu Keezeekiya bye yakola; afa (27-33) 33 Manase, kabaka wa Yuda (1-9) Manase yeenenya (10-17) Manase afa (18-20) Amoni, kabaka wa Yuda (21-25) 34 Yosiya, kabaka wa Yuda (1, 2) Yosiya aleetawo enkyukakyuka (3-13) Ekitabo ky’Amateeka kizuulibwa (14-21) Obunnabbi bwa Kuluda obukwata ku kuzikirizibwa (22-28) Yosiya asomera abantu ekitabo (29-33) 35 Yosiya ateekateeka okukwata Okuyitako (1-19) Yosiya attibwa Falaawo Neko (20-27) 36 Yekoyakazi, kabaka wa Yuda (1-3) Yekoyakimu, kabaka wa Yuda (4-8) Yekoyakini, kabaka wa Yuda (9, 10) Zeddeekiya, kabaka wa Yuda (11-14) Yerusaalemi kizikirizibwa (15-21) Kuulo ayisa ekiragiro okuddamu okuzimba yeekaalu (22, 23)