Kazzaako Empeta ku Ngalo Zaabwe
“TUNUULIRA engalo zange. Ozirabako eky’enjawulo?” Omusajja yalaga engalo ze eri omukazi, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, eyazitunuulira era n’alabirawo nti empeta y’obugole teyaliiko. Yannyonnyola nti ye ne mukyala we baali tebakyategeeragana, n’olwekyo ne basalawo okugattululwa mu bufumbo. “Nedda!” bw’atyo Omujulirwa bwe yagamba. “Twala akatabo kano mukasome. Kajja kubayamba mu bufumbo bwammwe.” Awo, n’amuwa akatabo akeesigamiziddwa ku Baibuli akayitibwa Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo.a
Nga wayiseewo ennaku, omusajja oyo yaddayo eri Omujulirwa nga musanyufu. Yamulaga engalo ze. Ku luno yali ayambadde empeta ye ey’obugole. Yamugamba nti ye ne mukyala we baali basomye akatabo Okumanya era nga kati baali basanyufu nnyo. Akatabo kaali kazizzaako empeta ku ngalo zaabwe.
Okubuulirira kwa Baibuli kuyinza okuyamba omwami n’omukyala okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Kiri kityo kubanga eyawandiisa Baibuli ye Mutonzi waffe, agamba: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”—Isaaya 48:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.