Yali wa mu Lunyiriri lwa Kayaafa
Ebiseera ebimu, ebintu eby’edda ebizuulibwa bituyamba okukakasa nti abantu aboogerwako mu Bayibuli baaliyo ddala. Ng’ekyokulabirako, mu 2011, omwekenneenya omu Omuisiraeri yawandiika ebikwata ku ssanduuko eya seminti eyazuulibwa. Ssanduuko eyo yali emaze emyaka nga 2,000 era yasangibwamu ebisigalira by’omuntu.
Ssanduuko eyo yaliko ebigambo bino: “Miriyamu muwala wa Yesuwa mutabani wa Kayaafa, kabona wa Maaziya ow’omu Besu-Imuli.” Kayaafa ye yali kabona w’Abayudaaya asinga obukulu mu kiseera Yesu we baamuwozesereza era ne bamutta. (Yok. 11:48-50) Munnabyafaayo ayitibwa Flavius Josephus yamwogerako nga “Yusufu, eyali ayitibwa Kayaafa.” N’olwekyo, ebisigalira by’omuntu ebyali mu ssanduuko eyo biyinza okuba nga byali by’omu ku b’eŋŋanda za kabona oyo. Waliwo n’essanduuko gye baazuula nga tebannazuula eyo eyalimu ebisigalira bya Miriyamu. Ssanduuko eyo yaliko ebigambo, “Yusufu mutabani wa Kayaafa.”a Ssanduuko eyo erowoozebwa okuba nga yali ya kabona oyo asinga obukulu. Bwe kityo, Miriyamu yalina oluganda ku Kayaafa.
Okusinziira ku ebyo ebyayogerwa ekitongole ky’omu Isiraeri ekivunaanyizibwa ku kutereka ebintu eby’edda (Israel Antiquities Authority), ssanduuko omwali ebisigalira bya Miriyamu baagiggya ku babbi abaali bagibbye.
Ebyo ebikwata ku ssanduuko omwali ebisigalira bya Miriyamu birina ekintu ekirala kye bituyigiriza. Ebigambo ebiriko byogera ku “Maaziya,” nga kino kye kibinja ekyali kisembayo mu bibinja 24 ebya bakabona abaaweerezanga mu mpalo mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. (1 Byom. 24:18) Ekitongole kya Israel Antiquities Authority kyagamba nti ebigambo ebiri ku ssanduuko eyo biraga nti “abantu b’omu lunyiriri lwa Kayaafa baalina akakwate n’ekibinja kya Maaziya.”
Ku ssanduuko eyo era kuliko ekigambo Besu-Imuli. Ekitongole kya Israel Antiquities Authority kyagamba nti: “Besu-Imuli liyinza okuba nga lyali linnya ly’ennyumba ya bakabona, abaana ba Immeeri (Ezera 2:36-37; Nekkemiya 7:39-42) abaali bava mu lunyiriri omwali bakabona b’ekibinja kya Maaziya. Oba kiyinzika okuba nga Besu-Imuli kye kifo Miriyamu gye yali asibuka.” Ka kibe kityo oba nedda, ssanduuko y’ebisigalira bya Miriyamu etuyamba okukakasa nti abantu aboogerwako mu Bayibuli baaliyo ddala.
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssanduuko eyalimu ebisigalira bya Kayaafa, laba ekitundu “Kabona Asinga Obukulu Eyasalira Yesu ogw’Okufa,” mu Watchtower eya Jjanwali 15, 2006, olupapula 10-13.