ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .
Yesu Yasuubiza Omumenyi w’Amateeka Obulamu mu Ggulu?
Bangi beebuuza ekibuuzo ekyo olw’ekyo Yesu kye yasuubiza omumenyi w’amateeka eyali akomereddwa okumpi naye. Yesu yamugamba nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Weetegereze nti Yesu teyayogera wa Olusuku olwo we lwandibadde. Kati olwo Yesu yali ategeeza nti omumenyi w’amateeka oyo yandigenze mu ggulu n’abeera eyo naye?
Ka tusooke tulabe obanga omumenyi w’amateeka oyo yalina ebisaanyizo by’okugenda mu ggulu. Abantu abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu balina okuba nga baabatizibwa n’amazzi era n’omwoyo omutukuvu, ekitegeeza baba baafuuka abayigirizwa ba Yesu abaazaalibwa omulundi ogw’okubiri. (Yokaana 3:3, 5) Ekirala, balina okuba nga batambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Katonda egy’empisa, nga beesigwa, era nga ba kisa. (1 Abakkolinso 6:9-11) Ate era balina okusigala nga beesigwa eri Katonda ne Kristo obulamu bwabwe bwonna nga bakyali ku nsi. (Lukka 22:28-30; 2 Timoseewo 2:12) Bwe batuukiriza ebisaanyizo ebyo kiba kiraga nti bagwanidde okuzuukirira obulamu obw’omu ggulu era nti bajja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe banaaweebwa mu ggulu, obw’okuweereza nga bakabona n’okufuga ensi nga bali wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.—Okubikkulirwa 20:6.
Kyokka, omusajja oyo yali mumenyi w’amateeka, era yafa ng’omumenyi w’amateeka. (Lukka 23:32, 39-41) Kyo kituufu yalaga nti assa ekitiibwa mu Yesu, bwe yagamba nti: “Onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” (Lukka 23:42) Wadde kyali kityo, teyali muyigirizwa wa Yesu eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri, era teyakiraga mu bulamu bwe nti yali mwesigwa era nti atya Katonda. Ddala Yesu yandisuubizza omusajja ng’oyo okufugira awamu n’abagoberezi be abaasigala nga beesigwa okutuukira ddala ku nkomerero?—Abaruumi 2:6, 7.
Lowooza ku kino: Omuntu eyabba ssente zo bw’akusaba omusonyiwe, oyinza okumusonyiwa. Naye oyinza okumwesiga n’omuwa bizineesi yo agiddukanye oba amaka go agalabirire? Obuvunaanyizibwa ng’obwo obuwa oyo yekka gwe weesigira ddala. Mu ngeri y’emu, abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu balina okweyisa mu ngeri eraga nti bajja kukuuma emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu nga bafuga ensi. (Okubikkulirwa 2:10) Wadde ng’omumenyi w’amateeka yeenenya ku ssaawa envannyuma, teyatuukiriza kisaanyizo ekyo.
Naye Yesu teyagamba omumenyi w’amateeka nti yandibadde naye mu ggulu ku lunaku olwo lwennyini? Nedda, kubanga ne Yesu kennyini teyagenda mu ggulu ku lunaku olwo. Mu kifo ky’ekyo, yali “munda mu ttaka” oba mu ntaana, okumala ennaku ssatu. (Matayo 12:40; Makko 10:34) Ate era oluvannyuma lw’okuzuukira, yamala ennaku 40 ku nsi n’alyoka agenda mu ggulu. (Ebikolwa 1:3, 9) N’olwekyo, omumenyi w’amateeka tayinza kuba nga yali ne Yesu mu ggulu ku lunaku olwo.
Kati olwo, Olusuku lwa Katonda omumenyi w’amateeka lwe yasuubizibwa okubeeramu lunaabeera wa? Oluvannyuma lw’okuzuukira, ajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda wano ku nsi, era Yesu y’ajja okugifuga. (Ebikolwa 24:15; Okubikkulirwa 21:3, 4) Okumanya ebisingawo ebikwata ku Lusuku lwa Katonda n’ebyo by’osaanidde okukola okusobola okulubeeramu, tuukirira Omujulirwa wa Yakuwa yenna.