Ebirimu
WIIKI YA OKITOBBA 23-29, 2017
Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwefuga. Abantu bayinza batya okumukoppa? Era biki by’oyinza okukola okusobola okuyiga okwefuga?
WIIKI YA OKITOBBA 30, 2017–NOOVEMBA 5, 2017
Kitegeeza ki okubeera omusaasizi? Yakuwa ne Yesu bataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka engeri eyo. Tuyinza tutya okubakoppa? Era birungi ki ebivaamu singa tubakoppa?
13 Ebyafaayo—Nfunye Enkizo Okukolera Awamu n’Abasajja Abakulu mu by’Omwoyo
WIIKI YA NOOVEMBA 6-12, 2017
18 “Ekigambo kya Katonda Waffe Kibeerawo Emirembe Gyonna”
WIIKI YA NOOVEMBA 13-19, 2017
23 “Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”
Lwaki kyewuunyisa okuba nti buli lukya Bayibuli yeeyongera okuvvuunulwa mu nnimi endala nnyingi? Era tuyinza tutya okulaga nti tusiima enkizo ey’okusoma Ekigambo kya Katonda mu lulimi lwe tutegeera obulungi? Ebitundu bino bijja kutuyamba okweyongera okwagala Bayibuli n’Oyo eyagiwandiisa.
WIIKI YA NOOVEMBA 20-26, 2017
28 “Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”
Kikulu Abakristaayo okuba abavumu. Ebyokulabirako by’abo abaayoleka obuvumu mu biseera by’edda bituganyula bitya? Abavubuka, abazadde, bannyinaffe abakulu, n’ab’oluganda ababatize bayinza batya okwoleka obuvumu ne bakola ebirungi?