Ebirimu
WIIKI YA JJANWALI 29, 2018–FEBWALI 4, 2018
WIIKI YA FEBWALI 5-11, 2018
Kuzuukira ki okwaliwo okwaleetera Abakristaayo okuba abakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira? Okuzuukira okwo n’okukkiriza okw’amaanyi abaweereza ba Yakuwa ab’edda kwe baalina kwandikukutteko kutya? Ebitundu bino bijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira.
13 Okyajjukira?
WIIKI YA FEBWALI 12-18, 2018
18 Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okufuuka ‘ab’Amagezi Basobole Okufuna Obulokozi’
WIIKI YA FEBWALI 19-25, 2018
23 Abaana—“Mweyongere Okukolerera Obulokozi Bwammwe”
Mu bantu abangi ababatizibwa buli mwaka mubaamu abaana abatiini n’abo abanaatera okuyingira emyaka egy’obutiini. Okubatizibwa kuviirako omuntu okufuna emikisa mingi naye era kuleetera omuntu obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Abazadde muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa? Mmwe abaana ababatize, nammwe abaluubirira okubatizibwa, muyinza mutya okunyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa?
28 Ebyafaayo—Nnaleka Ebintu ne Ngoberera Mukama Waffe
32 Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi 2017