Ebirimu
WIIKI EYA OKITOBBA 1-7, 2018
3 Omanyi Byonna Ebizingirwamu?
WIIKI EYA OKITOBBA 8-14, 2018
8 Tolamula Balala ng’Osinziira ku Ndabika ey’Okungulu
Ekitundu ekisooka kiraga ebyo ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okumanya ekituufu. Era kiraga emisingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba mu nsonga eyo. Ekitundu eky’okubiri kyogera ku mbeera za mirundi esatu ezitera okuleetera abantu okulamula abalala nga basinziira ku ekyo kye balaba n’amaaso gaabwe. Era kiraga ebiyinza okutuyamba okwoleka obwenkanya nga tukolagana n’abalala.
13 Ebyafaayo—Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa
WIIKI EYA OKITOBBA 15-21, 2018
18 Abantu Abagabi Baba Basanyufu
WIIKI EYA OKITOBBA 22-28, 2018
23 Kolera Wamu ne Yakuwa Buli Lunaku
Yakuwa yatonda abantu ng’ayagala babeere bulungi era nga basanyufu. Bw’okola ebintu ebituukana n’ebigendererwa bya Yakuwa, oba musanyufu. Ebitundu bino biraga emiganyulo egiri mu kuba abagabi.