“Mwagalenga Yakuwa, Mmwe Mmwenna Abeesigwa gy’Ali”
Okufa kwa Yesu Kujja Kujjukirwa nga Apuli 4
1 Emyaka mingi egiyise, eggwanga lya Ukraine bwe lyali likyali wansi w’obufuzi bw’Abakominisiti, ab’obuyinza baalinnyanga kagere ab’oluganda, naddala ng’olunaku olukwatirwako eky’Ekiro kya Mukama waffe lunaatera okutuuka kubanga baalinga baagala okumanya ekifo ab’oluganda kye bandikuŋŋaaniddemu. Ekizibu kino kyabangawo nnyo olw’okuba ab’obuyinza baalinga bamanyi ennaku z’omwezi omukolo guno lwe gukwatibwa. Ab’oluganda baakola batya? Mu nnyumba ya mwannyinaffe omu mwalimu ekisenge ekya wansi ekyali kyanjaddemu amazzi. Olw’okuba ab’obuyinza baali tebasuubira bantu kukuŋŋaanira mu kisenge ng’ekyo ekyalimu amazzi agakoma mu mavviivi, ab’oluganda baatindira ebibaawo mu kisenge ekyo kibasobozese okubaako we batuula waggulu w’amazzi. Newakubadde baalina okutuula nga bakutaamirizza olw’obumpi bw’ekisenge, baasobola okukuza Ekijjukizo awatali kutaataaganyizibwa.
2 Obumalirivu baganda baffe ab’omu Ukraine bwe baalaga mu kugondera ekiragiro eky’okujjukira okufa kwa Yesu, bwoleka bulungi okwagala kwe balina eri Katonda. (Luk. 22:19; 1 Yok. 5:3) Buli lwe tuba twolekaganye n’ebizibu mu bulamu bwaffe, ka tuzzibwemu amaanyi ebyokulabirako ng’ebyo era tubeere bamalirivu okubeerawo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama waffe nga Apuli 4. Bwe tukola bwe tutyo, twoleka endowooza efaananako ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyayimba bw’ati: “Mwagalenga Yakuwa, mmwe mmwenna abeesigwa gy’ali.”—Zab. 31:23, NW.
3 Yamba Abalala Okweyongera Okwagala Katonda: Okwagala Katonda era kutukubiriza okuyita abalala okubeerawo ku mukolo ogwo. Ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali twakubirizibwa okukola olukalala lw’abantu be twagala okuyita ku Kijjukizo. Ofuba okutuukirira buli muntu gw’otadde ku lukalala olwo? Waayo ebiseera okubannyonnyola obukulu bw’omukolo ogwo. Bw’onoobajjukiza olunaku n’ekiseera Ekijjukizo we kinaabeererawo era n’obategeeza nti osobola okubakimako, kiyinza okubakubiriza okubeerawo.
4 Ku mukolo gwennyini, faayo nnyo okwaniriza obulungi abazze, bakimanye nti tuli basanyufu nnyo okubalaba. Onoobayamba otya okweyongera okwagala Yakuwa? Ddamu ebibuuzo bye balina. Bategeeze ku nteekateeka ey’okuyiga Baibuli bwe kiba kisoboka. Bayite okubeerawo mu nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki. Okusingira ddala, abakadde bajja kufaayo nnyo ku Bakristaayo abatakyabuulira abannajja ku mukolo. Bayinza okukola enteekateeka okukyalira abalinga abo era ne babakubiriza okuddamu okubuulira, oboolyawo nga bakozesa ebimu ku ebyo ebinaaba byogeddwako mu mboozi y’Ekijjukizo.—Bar. 5:6-8.
5 Okweyongera Okunyweza Okwagala kwe Tulina eri Yakuwa: Okufumiitiriza ku kirabo eky’ekinunulo kuyinza okutuleetera okweyongera okwagala Yakuwa n’Omwana we. (2 Kol. 5:14, 15) Omujulirwa omu amaze emyaka mingi ng’abeerawo ku Kijjukizo yagamba bw’ati: “Twesunga nnyo Ekijjukizo. Buli mwaka kyeyongera okuba ekikulu ennyo gye tuli. Nzijukira nga nnyimiridde ntunuulira omulambo gwa taata wange nga yaakafa emyaka 20 egiyise, era ekyo kyandeetera okusiima ennyo ekinunulo. Emabegako ekinunulo kyali kintu kye nnali mmanyi obumanya. Kyo kituufu nnali mmanyi ebyawandiikibwa ebikwata ku kinunulo era n’okubinnyonnyola! Naye nnamala kulabira ddala nnaku ey’okufiirwa olwo omutima gwange ne gulyoka gusiima ekyo ekijja okutuukirizibwa okuyitira mu kinunulo ekyo eky’omuwendo.”—Yok. 5:28, 29.
6 Ng’Ekijjukizo eky’omwaka guno kinaatera okutuuka, teekateeka omutima gwo. (2 Byom. 19:3) Fumiitiriza ku byawandiikibwa ebirina okusomebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo, ebiragiddwa mu katabo Okwekkenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2004 ne ku kalenda eya 2004. Abamu banyumirwa okwejjukanya essuula 112-16 mu kitabo Greatest Man mu kusoma kwabwe okw’amaka. Abalala bakola okunoonyereza okusingawo nga bakozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. (Mat. 24:45-47) Mu kusaba kwaffe ka tulage nti tusiima ekirabo ky’ekinunulo. (Zab. 50:14, 23) Yee, mu kiseera kino eky’Ekijjukizo, ka tweyongere okufumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’atulaze era naffe tulage ebikolwa ebyoleka nti tumwagala.—Mak. 12:30; 1 Yok. 4:10.