Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 27, 2011. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Maayi 2 okutuuka mu wiiki etandika nga Jjuuni 27, 2011.
1. Kiki kye tuyigira ku ky’okuba nti Yakuwa yali yeetaagisa Yobu okusabira abo abaali bamukoze obubi? (Yob. 42:8) [w98-E 8/15 lup. 30 kat. 5]
2. ‘Ssaddaaka ez’obutuukirivu’ Abakristaayo ze bawaayo leero ze ziruwa? (Zab. 4:5) [w06 6/1 lup. 30 kat. 10]
3. Ensigo za Dawudi zamutereeza zitya? (Zab. 16:7) [w04 12/1 lup. 23 kat. 9]
4. Mu ngeri ki ‘eggulu gye lyogeramu ekitiibwa kya Katonda’? (Zab. 19:1) [w04 10/1 lup. 24 kat. 8]
5. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 27:14, biraga kakwate ki akaliwo wakati w’essuubi n’obuvumu? [w06 10/1 lup. 25 kat. 3, 6]
6. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:21 bitukwatako bitya bwe kituuka ku ngeri gye tukolaganamu ne baganda baffe? [w88-E 8/15 lup. 17 kat. 8]
7. Ku bikwata ku kulaga okusiima, kiki kye tuyinza okuyigira ku Muleevi omu eyali mu buwaŋŋanguse? (Zab. 42:1-3) [w06 7/1 lup. 9 kat. 3]
8. Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala obutuukirivu n’okukyawa obubi? (Zab. 45:7) [cf-E lup. 58-59 kat. 8-10]
9. ‘Omwoyo gw’okwagala okuyamba’ Dawudi gwe yasaba gwali gw’ani? (Zab. 51:12) [w06 7/1 lup. 9 kat. 10]
10. Tuyinza tutya okuba ng’omuzeyituuni mu nnyumba ya Katonda? (Zab. 52:8) [w06 7/1 lup. 11 kat. 2]