EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OMUBUULIZI 7-12
“Jjukiranga Omutonzi Wo ow’Ekitalo ng’Okyali Muvubuka”
Kola kyonna ekisoboka okuweereza Omutonzi wo ng’okyali muvubuka
Abavubuka bangi balamu bulungi era balina amaanyi ge basobola okukozesa okuweereza Katonda mu ngeri ezitali zimu
Abavubuka basaanidde okukozesa amaanyi gaabwe n’ebiseera byabwe okuweereza Katonda nga tebannakaddiwa
Sulemaani yalaga ebizibu omuntu by’afuna ng’akaddiye
Olunyiriri 3: “Abakyala abalingiza mu madirisa nga tebakyalaba bulungi”
Amaaso gaba tegakyalaba bulungi
Olunyiriri 4: “Abawala bayimba mu ddoboozi ery’ekimpoowooze”
Amatu gaba tegakyawulira bulungi
Olunyiriri 5: “Ekibala ekyagazisa omuntu okulya kyatika”
Omuntu aba takyawoomerwa mmere