OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Nywerera ku Mitindo gya Yakuwa egy’Empisa
Yakuwa Katonda y’alina obuyinza okuteerawo abantu emitindo gy’empisa gye balina okugoberera. Ng’ekyokulabirako, ye yasalawo nti obufumbo bulina kubeera wakati w’omusajja omu n’omukazi omu, era nti bulina kuba bwa lubeerera. (Mat 19:4-6, 9) Avumirira ebikolwa byonna eby’obugwenyufu. (1Ko 6:9, 10) Ate era yateerawo abantu be emitindo gy’ennyambala n’okwekolako, egibaawula ku bantu abalala.—Ma 22:5; 1Ti 2:9, 10.
Leero abantu bangi tebaagala kugoberera mitindo gya Yakuwa. (Bar 1:18-32) Bagoberera endowooza z’abantu abasinga obungi mu nnyambala, mu kwekolako, ne mu nneeyisa. Abantu bangi beenyumiririza mu bintu ebibi bye bakola, era bavumirira abo abagoberera emitindo gya Katonda egy’empisa.—1Pe 4:3, 4.
Olw’okuba tuli Bajulirwa ba Yakuwa, tulina okunywerera ku mitindo gye egy’empisa. (Bar 12:9) Tusaanidde okuyamba abantu okumanya ebyo Yakuwa by’ayagala ne by’atayagala. Naye era naffe tulina okulaga mu bulamu bwaffe nti tunyweredde ku mitindo gye egy’empisa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tusalawo olugoye olw’okwambala oba engeri gye tuneekolako, tusaanidde okwebuuza nti: ‘Kye nnonzeewo kituukana n’emitindo gya Yakuwa oba egy’ensi? Engeri gye nnyambalamu n’engeri gye nneekolako eraga abalala nti ndi Mukristaayo ow’amazima?’ Oba bwe tuba tusalawo programu ya ttivi oba firimu ey’okulaba, tuyinza okwebuuza nti: ‘Kinaasanyusa Yakuwa bwe nnaalaba programu eno? Programu eno etumbula ndowooza y’ani? Eby’okwesanyusaamu bye nnondawo biyinza okunviirako obutanywerera ku mitindo gya Yakuwa? (Zb 101:3) Biyinza okwesitazza ab’omu maka gange oba abalala?’—1Ko 10:31-33.
Lwaki kikulu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa? Kristo Yesu anaatera okuzikiriza abantu bonna ababi. (Ezk 9:4-7) Abo bokka abakola Katonda by’ayagala be bajja okuwonawo. (1Yo 2:15-17) N’olwekyo, ka tunywerere ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa, abantu abatulaba basobole okumugulumiza.—1Pe 2:11, 12.
Engeri gye nnyambalamu n’engeri gye nneekolako eraga nti ndi muntu wa ngeri ki?
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, BEERA MUKWANO GWA YAKUWA—OMUSAJJA OMU, OMUKAZI OMU, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
Lwaki kya magezi okugoberera emitindo gya Yakuwa egy’empisa?
Lwaki abazadde basaanidde okutandika okuyigiriza abaana baabwe emitindo gya Yakuwa egy’empisa nga bakyali bato?
Ffenna, abato n’abakulu, tuyinza tutya okuyamba abantu okuganyulwa mu bulungi bwa Yakuwa?