LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g19 Na. 2 lup. 4-5
  • Emiganyulo Egiri mu Kwefuga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emiganyulo Egiri mu Kwefuga
  • Zuukuka!—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKWEFUGA KYE KI?
  • LWAKI KIKULU OKWEFUGA?
  • ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OKWEFUGA
  • Yiga Okwefuga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Okusobola Okufuna Empeera, Weefuge!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ku Kumanya Kwammwe Mugatteeko Okwefuga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okwefuga—Kwetaagisa Okusobola Okusiimibwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
Zuukuka!—2019
g19 Na. 2 lup. 4-5
Maama ng’agaana omwana we okutoola swiiti mu dduuka

EKY’OKUYIGA 1

Emiganyulo Egiri Mu Kwefuga

OKWEFUGA KYE KI?

Okwefuga kuzingiramu

  • okuba omugumiikiriza

  • okufuga enneewulira

  • okukola ekintu n’okimaliriza ne bwe kiba nga tekikunyumira

  • okukulembeza eby’abalala

LWAKI KIKULU OKWEFUGA?

Abaana abeefuga basobola okwewala okutwalirizibwa ebikemo, ne bwe biba nga bisikiriza. Ku luuyi olulala abaana abateefuga batera

  • okuba ab’obusungu

  • okwennyamira

  • okunywa ssigala, okukozesa obubi omwenge, oba okukozesa ebiragalalagala

  • okusalawo obubi bwe kituuka ku bye balya

Okunoonyereza okumu kwalaga nti abaana abeefuga bwe bakula tebatera kutawaanyizibwa ndwadde, kugwa mu bizibu bya ssente, era batera okugondera amateeka. Okunoonyereza okwo kwaleetera Profesa Angela Duckworth owa yunivasite y’e Pennsylvania okugamba nti: “Okwefuga tekubangako kubi.”

ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OKWEFUGA

Yiga okugaana omwana ebintu ebimu era kitegeeze.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda.”​—Matayo 5:37.

Oluusi abazadde bwe bagaana okuwa abaana baabwe abato ekintu ekimu oba bwe babagaana okukola ekintu ekimu, abaana abo bayinza okusalawo okuleekaana oba okukaaba. Singa abazadde bekkiriranya, kiyinza okuleetera abaana okulowooza nti ako ke kakodyo ke bayinza okukozesa okusobola okufuna oba okukola kye baagala.

Ku luuyi olulala, singa omuzadde anywerera ku ekyo ky’agaanye omwana kiyamba omwana okuyiga ekintu kino ekikulu: Tetusobola kufuna buli kimu kye tuba twagala. David Walsh, omukugu mu mbeera z’abantu, agamba nti: “Abantu abayiga ekintu ekyo baba basanyufu. Tekiba kikolwa kya kwagala okuleetera abaana baffe okukula nga balowooza nti basobola okufuna buli kimu kye baagala.”a

Bw’obaako ebintu ebimu by’ogaana okuwa omwana wo oba by’omugaana okukola kimuyamba ng’akuze. Ng’ekyokulabirako, singa ekiseera kituuka n’akemebwa okukozesa ebiragalalagala oba okwegatta n’omuntu nga tannayingira mu bufumbo, oba okukola ebintu ebirala eby’omutawaana, aba asobola okwefuga n’atakola bintu ebyo.

Yamba omwana wo okumanya ebiva mu kukola ebintu ebirungi ne mu kukola ebintu ebibi.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.”​—Abaggalatiya 6:7.

Abaana bo beetaaga okukimanya nti buli kye tukola kirina ekikivaamu, era nti bwe bateefuga bajja kugwa mu mitawaana. Ng’ekyokulabirako, omwana wo bw’aba anyiiganyiiga kiyinza okuviirako abalala okumwewala. Ku luuyi olulala bw’aba nga yeefuga ne bw’aba ng’ayisiddwa bubi oba bw’aba omugumiikiriza abalala bajja kumwagala. Yamba omwana wo okukitegeera nti bwe yeefuga ebivaamu biba birungi.

Yigiriza omwana wo okumanya by’asaanidde okukulembeza.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’​—Abafiripi 1:10.

Ng’oggyeeko okutuyamba okwewala okukola ebintu ebibi, okwefuga era kutusobozesa okukola ebintu bye tutaagala naye nga byetaaga okukolebwa. Kikulu omwana wo okuyiga okumanya ebintu ebisinga obukulu era n’aba nga by’akulembeza. Ng’ekyokulabirako, omwana wo alina okusooka okukola ebimuweereddwa ku ssomero oluvannyuma n’alyoka azannya.

Bateerewo ekyokulabirako ekirungi.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.”​—Yokaana 13:15.

Omwana wo ajja kulaba engeri gye weeyisaamu nga waliwo ebikunyiizizza. Yamba omwana wo okukiraba nti okwefuga kuvaamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, omwana wo bw’akola ebikunyiiza, osigala ng’oli mukkakkamu oba ova mu mbeera?

a Biggiddwa mu kitabo No: Why Kids​—of All Ages—Need to Hear It and Ways Parents Can Say It.

Maama ng’agaana omwana we okutoola swiiti mu dduuka

MUTENDEKE KATI

Okugaana omwana wo okukola ebintu ebimu kati kijja kumuyamba okwefuga mu biseera eby’omu maaso, gamba ng’akemeddwa okukozesa ebiragalalagala oba okwenyigira mu mize emirala emibi

Bateerewo Ekyokulabirako

  • Omwana wange akiraba nti nsigala nga ndi mukkakkamu ne bwe mba nga njolekagana n’embeera enzibu ennyo?

  • Omwana wange nnamutegeeza ensonga lwaki nfuba okusigala nga ndi mukkakkamu?

  • Omwana wange antwala ng’omuntu ateefuga era asunguwala amangu oba ng’omuntu eyeefuga?

Abazadde Abamu Kye Bagamba

“Wadde nga muwala waffe yasunguwalanga tetwamukkirizanga kumalako balala mirembe. Bwe yalemererwanga okwefuga, twamuggyanga mu banne okutuusa lwe yakkakkananga.”​—Theresa.

“Abaana baffe bwe baakolanga ebintu ebirungi, nze ne mukyala wange twabategeezanga nti kye baabanga bakoze kitusanyusizza. Twabasiimanga buli lwe beefuganga nga wabaddewo embeera ebasoomoozezza.”​—Wayne.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share