Abaana Bye Beetaaga Okuva eri Abazadde
Abazadde bonna beenyigira mu kintu ekisukulumye okutegeera kw’omuntu. Buli omu abaako ky’awaayo okuva mu mubiri gwe. N’ekivaamu, omwana atandika okukulira mu lubuto lwa nnyina. N’olwekyo tekyewuunyisa nti omwana bw’azaalibwa abantu bakyogerako “ng’ekyamagero.”
Kya lwatu, okuzaala abaana eba ntandikwa butandikwa ey’obuvunaanyizibwa bw’abazadde. Abaana bwe baba bakyali bawere, beetaaga nnyo obuyambi bwa bazadde baabwe kumpi mu buli kimu. Naye bwe bagenda bakula beetaaga ekisingawo ku byetaago by’omubiri. Beetaaga obuyambi okusobola okukula mu birowoozo, mu by’omwoyo, n’okuba n’empisa ennungi.
Okusobola okukula obulungi, abaana beetaaga okwagalibwa bazadde baabwe. Wadde nga kikulu okubagamba ebigambo ebyoleka okwagala, ebigambo ebyo bisaanidde okubaako ebikolwa. Abazadde basaanidde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi. Abaana beetaaga obulagirizi n’emisingi eby’okutambulizaako obulamu bwabwe. Bino babyetaaga okuviira ddala nga bakyali bato. Ebizibu eby’amaanyi bisobola okubaawo singa abaana balwawo okufuna obuyambi ng’obwo.
Emisingi egisingayo obulungi gisangibwa mu Bayibuli. Okubuulirira okwesigamiziddwa ku Bayibuli kwa muganyulo nnyo. Kusobola okuyamba abaana okukitegeera nti ebyo bye bayigirizibwa si by’abantu, wabula bya Mutonzi waabwe, Kitaabwe ow’omu ggulu. Era abaana basobola okussa ekitiibwa mu kubuulirira okwo okubaweebwa.
Bayibuli ekubiriza abazadde okufuba ennyo okuyamba abaana baabwe okutegeera emisingi emituufu, okugijjukira era n’okugigoberera. Naye, abaana bwe bagenda bakula, emirundi mingi abazadde bakisanga nga kizibu okwogera nabo ku bintu ebisinga obukulu. Ekitabo, Yigira Ku Muyigiriza Omukulu, kitegekeddwa okuyamba abazadde okuziyiza embeera ng’eyo okubaawo. Kirimu ebintu eby’omwoyo bye musobola okusomera awamu n’abaana bammwe. Ng’oggyeko ekyo, ekitabo kino kijja kusobozesa abaana okukubaganya ebirowoozo n’abo be baba basoma nabo ekitabo kino.
Mujja ku kyetegereza nti ekitabo kino kikubiriza abaana okubaako kye baddamu. Kirimu ebibuuzo bingi ebituukirawo. Bw’onoobituukako, ojja kulabawo akasaze kano (—). Kalaga nti osaanidde okusiriikiriramu okubirize omwana abeeko ky’addamu. Abaana nabo baagala okuwa endowooza zaabwe. Bwe bataweebwa kakisa kuwa ndowooza zaabwe, beetamwa mangu.
N’ekisinga obukulu, ebibuuzo bino bijja kukuyamba okutegeera ekyo omwana wo ky’alowooza. Kyo kituufu, omwana ayinza okuddamu ekikyamu. Naye ebyo ebiddirira buli kibuuzo bitegekeddwa okuyamba omwana okuyiga okulowooza obulungi.
Ekintu eky’enjawulo ekiri mu kitabo kino bye bifaananyi ebisukka mu 230. Ebisinga obungi ku bino biriko ebibuuzo ebikubiriza omwana okwogera ky’alowooza, ng’asinziira ku ekyo ky’alaba ne ky’asomye. N’olwekyo, wekkaanye ebifaananyi ebyo ng’oli n’omwana. Bisobola okukuyamba okuggumiza ensonga enkulu eziba ziyigirizibwa.
Omwana bw’ayiga okusoma, mukubirize okukusomera ekitabo kino oba okukyesomera. Gy’anaakoma okukisoma, gy’ajja okukoma okutegeera okubuulirira okulungi okukirimu. Naye okusobola okunyweza okwagala wakati wo n’omwana wo, era n’okweyongera okuwaŋŋana ekitiibwa, musaanidde okukisomeranga awamu obutayosa.
Emyaka si mingi nnyo emabega, kyali tekisuubirwa nti abaana basobola okwolekagana n’eby’obusamize, ebikolwa eby’obukaba, n’empisa endala embi ennyo. N’olw’ekyo beetaaga obukuumi, era ekitabo kino kiwa obukuumi ng’obwo mu ngeri eteesitazza naye nga kituukira ku nsonga. Wadde kiri kityo, kirungi abaana okubategeeza nti kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, y’Ensibuko y’amagezi gonna. Kino Yesu Omuyigiriza Omukulu kye yakolanga. Tusuubira nti ekitabo kino kijja kukuyamba gwe n’ab’omu maka go okukola enkyukakyuka mu bulamu bwamwe musobole okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, kibaviiremu okufuna emikisa egy’olubeerera.