LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bt sul. 7 lup. 58-66
  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
  • ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Abo Abaasaasaana” (Bik. 8:4-8)
  • “Nange Mumpe Obuyinza Buno” (Bik. 8:9-25)
  • “Ddala Otegeera by’Osoma?” (Bik. 8:26-40)
  • Yoleka Omwoyo gw’Obwapayoniya
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yogera mu Ngeri eya Bulijjo
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
bt sul. 7 lup. 58-66

ESSUULA 7

Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”

Firipo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira amawulire amalungi

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 8:4-40

1, 2. Biki ebyava mu kugezaako okulemesa Abakristaayo mu kyasa ekyasooka okubuulira amawulire amalungi?

WABALUSEEWO okuyigganyizibwa okw’amaanyi era Sawulo atandise “okutigomya” ekibiina. Ekigambo ekyavvuunulwa okutigomya, mu Luyonaani kitegeeza okutulugunya ennyo. (Bik. 8:3) Abayigirizwa baddukidde mu bitundu ebitali bimu, era eri abamu, ekigendererwa kya Sawulo eky’okusaanyaawo Obukristaayo kirabika ng’ekijja okutuukirira. Kyokka wabaawo ekintu ekitasuubirwa ekiva mu kusaasaana kw’Abakristaayo. Kintu ki ekyo?

2 Abo abasaasaanye batandika okulangirira “amawulire amalungi ag’ekigambo kya Katonda” mu bitundu gye baddukidde. (Bik. 8:4) Kirowoozeeko! Ng’oggyeeko okuba nti okuyigganyizibwa tekulemesezza mawulire malungi kubuulirwa, era kuyambyeko mu kugabunyisa. Abo abayigganya abayigirizwa bwe babaleetedde okusaasaana mu bitundu ebitali bimu, mu butamanya babaviiriddeko okubuulira amawulire amalungi mu bitundu eby’ewala. Nga bwe tugenda okulaba, ekintu ekifaananako ng’ekyo kibaddewo ne mu kiseera kyaffe.

“Abo Abaasaasaana” (Bik. 8:4-8)

3. (a) Firipo yali ani? (b) Lwaki kyenkana ekitundu ky’e Samaliya kyali tekibuulirwangamu, naye kiki Yesu kye yagamba ekyandibaddewo mu kitundu ekyo?

3 Omu ku “abo abaasaasaana” yali Firipo.a (Bik. 8:4; laba akasanduuko “Firipo ‘Omubuulizi w’Enjiri.’”) Firipo yagenda Samaliya, ekibuga kyenkana ekyali kitabuulirwangamu. Ekibuga ekyo kyali kubanga mu kusooka Yesu yali yagamba abayigirizwa be nti: “Temuyingira mu kibuga kyonna eky’Abasamaliya; naye mugende eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” (Mat. 10:5, 6) Kyokka Yesu yali akimanyi nti oluvannyuma lw’ekiseera amawulire amalungi gandibuuliddwa mu bujjuvu mu Samaliya. N’olwekyo, bwe yali addayo mu ggulu yagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”— Bik. 1:8.

4. Abasamaliya baatwala batya obubaka Firipo bwe yababuulira, era kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako ekyo?

4 Firipo yakiraba nti ekitundu ky’e Samaliya kyali ‘kituuse okukungulwa.’ (Yok. 4:35) Obubaka bwe yabuulira abantu baayo bwabazzaamu nnyo amaanyi, era ekyo tekyewuunyisa. Abayudaaya baali tebakolagana na Basamaliya. Mu butuufu, bangi baali tebabaagalira ddala. Kyokka Abasamaliya baakiraba nti amawulire amalungi gaali gawa abantu bonna essuubi awatali kusosola. Ate era baakiraba nti gaali ga njawulo nnyo ku ndowooza z’Abafalisaayo ezaali zitumbula obusosoze. Firipo bwe yabuulira Abasamaliya, yakiraga nti yali tatwaliriziddwa busosoze bw’abo abaali babanyooma. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Abasamaliya bangi nnyo baawuliriza Firipo.—Bik. 8:6.

5-7. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri okusaasaana kw’Abakristaayo gye kuviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa.

5 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, leero okuyigganyizibwa tekulemesezza bantu ba Katonda kubuulira mawulire malungi. Emirundi mingi okuwaliriza Abakristaayo okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala, gamba ng’okubatwala mu makomera, oba mu nsi endala, kisobozesezza amawulire ag’Obwakabaka okubuulirwa mu bitundu gye baba batwaliddwa. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baawa obujulirwa mu nkambi z’abasibe ezaateekebwawo Abanazi. Omusajja omu Omuyudaaya eyasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa mu emu ku nkambi ezo yagamba nti: “Obuvumu n’obukkakkamu Abajulirwa ba Yakuwa abaali basibiddwa bye baayoleka, byandeetera okuba omukakafu nti eddiini yaabwe egoberera ebyo ebiri mu Byawandiikibwa. Eyo ye nsonga lwaki nange nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa.”

6 Mu mbeera ezimu, n’abamu ku abo abaali bayigganya Abajulirwa ba Yakuwa baabuulirwa amawulire amalungi era ne bawuliriza. Ng’ekyokulabirako, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Franz Desch bwe yatwalibwa mu nkambi y’abasibe ey’omu Austria eyitibwa Gusen, yayiga Bayibuli n’omu ku basirikale abaali bakuuma enkambi eyo. Lowooza ku ssanyu ow’oluganda oyo n’omusajja oyo gwe yayigiriza lye baafuna nga wayiseewo emyaka bwe baasisinkana ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, nga bombi kati babuulizi b’amawulire amalungi!

7 Ekintu ekifaananako bwe kityo kizze kibaawo nga Abajulirwa ba Yakuwa baddukidde mu nsi endala olw’okuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, emyaka nga 40 emabega Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi bwe baddukira e Mozambique baabuulira n’obunyiikivu abantu b’omu nsi eyo. Ate era okuyigganyizibwa bwe kwabalukawo ne mu Mozambique, omulimu gw’okubuulira gwasigala gugenda mu maaso. Ow’oluganda ayitibwa Francisco Coana yagamba nti: “Kyo kituufu nti abamu ku ffe twasibibwa emirundi egiwerako olw’okubuulira. Naye abantu bangi bwe baawuliriza obubaka bw’Obwakabaka kyatukakasa nti Katonda yali atuyamba nga bwe yayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka.”

8. Enkyukakyuka mu by’obufuzi n’embeera y’eby’enfuna bikutte bitya ku mulimu gw’okubuulira?

8 Kya lwatu nti okuyigganyizibwa kwokka si kwe kuviiriddeko Obukristaayo okubunyisibwa mu bitundu ebitali bimu. Mu myaka egiyise, enkyukakyuka mu by’obufuzi ne mu mbeera y’eby’enfuna biviiriddeko abantu ab’ennimi ez’enjawulo mu nsi ezitali zimu okubuulirwa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abantu abamu badduse mu nsi ezirimu entalo oba ezitali bulungi mu by’enfuna, ne bagenda mu nsi endala era ne batandika okuyiga Bayibuli. Okuba nti abanoonyi b’obubudamu bangi baddukidde mu nsi ezitali zimu, kiviiriddeko amawulire amalungi okubuulirwa mu nnimi ezitali zimu mu nsi gye baddukidde. Ofuba okubuulira abantu mu kitundu gy’obeera ‘abava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi?’—Kub. 7:9.

“Nange Mumpe Obuyinza Buno” (Bik. 8:9-25)

Simooni eyali omufuusa ng’ajja eri omutume ng’akutte akasawo akalimu ssente. Omutume ng’atadde emikono ku muyigirizwa omupya. Emabega, Omukristaayo omulala ng’awonya omuwala omulema era abaliwo basanyufu.

“Simooni bwe yalaba ng’abatume bassa emikono gyabwe ku bantu ne bafuna omwoyo, n’asuubiza okubawa ssente.”—Ebikolwa 8:18

9. Simooni yali ani, era kiki ekyamuleetera okuwuliriza Firipo bye yali ayigiriza?

9 Firipo yakola ebyamagero bingi mu Samaliya. Ng’ekyokulabirako, yawonya abaaliko obulemu, era yagoba emyoyo emibi ku bantu. (Bik. 8:6-8) Waaliwo omusajja omu eyakwatibwako ennyo olw’ebyamagero Firipo bye yali akola. Omusajja oyo yali ayitibwa Simooni, era yakolanga eby’obufuusa. Abantu baali bamutwala nti wa kitiibwa nnyo, era bwe baabanga bamwogerako baagambanga nti: “Omusajja ono ge Maanyi ga Katonda.” Kyokka kati Simooni yali yeerabirako n’agage amaanyi ga Katonda aga ddala agaali geeyolekera mu byamagero Firipo bye yali akola. Era oluvannyuma Simooni yafuuka omukkiriza. (Bik. 8:9-13) Kyokka waliwo ekintu ekyabaawo ekyalaga ekiruubirirwa Simooni kye yalina. Kintu ki ekyo?

10. (a) Kiki Peetero ne Yokaana kye baakola mu Samaliya? (b) Kiki Simooni kye yakola bwe yalaba ng’abayigirizwa abapya bafuna omwoyo omutukuvu oluvannyuma lwa Peetero ne Yokaana okubassaako emikono?

10 Abatume bwe baakimanya nti omuwendo gw’abakkiriza gwali gweyongera obungi mu Samaliya, baatumayo Peetero ne Yokaana. (Laba akasanduuko “Peetero Akozesa ‘Ebisumuluzo by’Obwakabaka.’”) Peetero ne Yokaana bwe baatuukayo, baateeka emikono ku bayigirizwa abapya era abayigirizwa abo ne bafuna omwoyo omutukuvu.b Ekyo Simooni yakyewuunya nnyo era n’akyegomba. Yagamba abatume nti: “Nange mumpe obuyinza buno, buli muntu gwe nteekako emikono asobole okufuna omwoyo omutukuvu.” Yabasuubiza okubawa ssente asobole okufuna amaanyi gano agava eri Katonda!—Bik. 8:14-19.

11. Kiki Peetero kye yagamba Simooni, era Simooni yaddamu atya?

11 Peetero yagamba Simooni nti: “Ssente zo ka zizikirire naawe, kubanga oyagala okufuna ekirabo kya Katonda ng’owaayo ssente. Tolina mugabo gwonna mu nsonga eno, kubanga omutima gwo si mwesimbu mu maaso ga Katonda.” Peetero era yagamba Simooni okwenenya era asabe Yakuwa amusonyiwe. Yamugamba nti: “Weegayirire Yakuwa akusonyiwe ekigendererwa ekibi ekiri mu mutima gwo.” Kirabika Simooni teyali muntu mubi; yali ayagala okukola ekituufu, naye yali tannategeera bulungi mazima. Yeegayirira abatume n’abagamba nti: “Munneegayiririre Yakuwa, ku bye mwogedde byonna waleme kubaawo na kimu kintuukako.”—Bik. 8:20-24.

12. Okugulirira ebifo oba enkizo kulina kifo ki mu Kristendomu?

12 Ebyo Peetero bye yagamba Simooni birimu eky’okuyiga ekikulu eri Abakristaayo bonna leero. Tulina okwewala okutunda oba okugulirira enkizo mu kibiina. Ebyafaayo biraga nti enkola eno ey’okugulirira ebifo oba enkizo bulijjo ebaddengawo mu Kristendomu. Ng’ekyokulabirako, ekitabo The Encyclopædia Britannica (1878) kigamba nti: ‘Ebyafaayo ebikwata ku kulondebwa kwa Ppaapa biraga nti tewabangawo kulondebwa kwa Ppaapa kutaliimu kugulirira. Era emirundi mingi okugulirira okwo kubaddenga kukolebwa kyere.’

13. Mu ngeri ki Abakristaayo gye basaanidde okwewala okugula oba okutunda enkizo?

13 Abakristaayo balina okwewala omuze ogw’okugulirira oba okutunda enkizo mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, tebasaanidde kuwa birabo oba okuwaanawaana abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala enkizo mu kibiina, nga balina ekigendererwa eky’okuganja gye bali basobole okubaako enkizo ze babawa. Ku luuyi olulala, abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala enkizo basaanidde okwekuuma baleme kwekubiira ku ludda lw’abagagga. Mu mbeera ezo zombi okwo kuba kugulirira. Mu butuufu, abaweereza ba Katonda bonna basaanidde okwetwala ‘okuba aba wansi’ era ne balindirira omwoyo gwa Yakuwa okubasobozesa okufuna enkizo. (Luk. 9:48) Abo ‘abeenoonyeza ekitiibwa’ tebalina kifo mu kibiina kya Yakuwa.—Nge. 25:27.

PEETERO AKOZESA “EBISUMULUZO BY’OBWAKABAKA”

Yesu yagamba Peetero nti: “Nja kukuwa ebisumuluzo by’Obwakabaka obw’omu ggulu.” (Mat. 16:19) Yesu yali ategeeza ki? Mu kukozesa ekigambo “ebisumuluzo,” Yesu yalaga nti Peetero yandigguliddewo abantu ab’ebiti ebyenjawulo omukisa ogw’okufuna okumanya era n’okufuga mu Bwakabaka bwa Masiya. Ddi Peetero lwe yakozesa ebisumuluzo ebyo?

  • Peetero yakozesa ekisumuluzo ekisooka ku Pentekooti 33 E.E., bwe yakubiriza Abayudaaya n’abakyufu okwenenya n’okubatizibwa. Abantu nga 3,000 be baabatizibwa ne baba n’essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka.—Bik. 2:1-41.

  • Ekisumuluzo eky’okubiri kyakozesebwa nga wayise ekiseera kitono nga Siteefano amaze okuttibwa. Ku olwo Peetero ne Yokaana bassa emikono ku Basamaliya abaali baakabatizibwa, ne bafuna omwoyo omutukuvu.—Bik. 8:14-17.

  • Peetero yakozesa ekisumuluzo eky’okusatu mu 36 E.E. Mu mwaka ogwo, yasobozesa ab’Amawanga abataali bakomole okufuna essuubi ery’okufuga mu ggulu. Ekyo kyaliwo oluvannyuma lwa Peetero okubuulira Koluneeriyo Munnaggwanga ataali mukomole eyasooka okufuuka omuyigirizwa wa Yesu.—Bik. 10:1-48.

“Ddala Otegeera by’Osoma?” (Bik. 8:26-40)

14, 15. (a) “Omwesiyopiya omulaawe” yali ani era Firipo yamutuukako atya? (b)  Omwesiyopiya yakola ki oluvannyuma lwa Firipo okumunnyonnyola ebyawandiikibwa, era lwaki tuyinza okugamba nti teyabatizibwa lwa kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege? (Laba obugambo obuli wansi.)

14 Oluvannyuma malayika wa Yakuwa yagamba Firipo okugenda mu kkubo eryali liva e Yerusaalemi okudda e Gaaza. Firipo bw’aba nga yali yeebuuza ensonga lwaki malayika yamugamba okugenda mu kkubo eryo, eky’okuddamu yakifuna bwe yasisinkana Omwesiyopiya omulaawe eyali “asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika.” (Laba akasanduuko “Mu Ngeri Ki Gye Yali ‘Omulaawe?’”) Omwoyo gwa Yakuwa gwaleetera Firipo okugenda awaali eggaali ly’omusajja oyo, era bwe yalituukako yamubuuza nti: “Ddala otegeera by’osoma?” Omwesiyopiya yamuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?”—Bik. 8:26-31.

15 Omwesiyopiya yagamba Firipo okulinnya eggaali lye. Era oluvannyuma baatandika okukubaganya ebirowoozo! Omwesiyopiya oyo yali yeebuuza ani yali “endiga” oba “omuweereza” ayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya. (Is. 53:1-12) Firipo yayamba Omwesiyopiya oyo okukitegeera nti obunnabbi obwo bwali bwatuukirizibwa ku Yesu Kristo. Okufaananako abo abaabatizibwa ku Pentekooti 33 E.E., Omwesiyopiya oyo eyali Omuyudaaya omukyufu yamanyirawo kye yali ateekeddwa okukola. Yagamba Firipo nti: “Laba! Amazzi gaago; kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” Awatali kulonzalonza Firipo yabatiza Omwesiyopiya oyo!c (Laba akasanduuko “Okubatizibwa mu ‘Mazzi Amangi.’”) Oluvannyuma omwoyo gwa Yakuwa gwatwala Firipo mu kifo ekirala, mu Asudodi, ne yeeyongera okubuulira amawulire amalungi.—Bik. 8:32-40.

MU NGERI KI GYE YALI “OMULAAWE”?

Ekigambo “omulaawe” ekyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani eu·nouʹkhos, kiyinza okutegeeza omusajja eyaggibwako obusobozi bw’okuzaala, oba kiyinza okutegeeza omukungu w’omu lubiri ow’eddaala erya waggulu. Abaami b’omu lubiri abaakuumanga bakyala ba kabaka bayinza okuba nga baalaayibwanga, naye abaami abalala oba abakungu abalala, gamba ng’abasenero oba abawanika, tebaalaayibwanga. Omwesiyopiya Firipo gwe yabatiza yali mukungu ow’ekika kino kubanga yali alabirira ggwanika lya kabaka. Tuyinza n’okugamba nti ye yali akulira eby’ensimbi.

Omwesiyopiya oyo era yali mukyufu, kwe kugamba, yali muntu ow’eggwanga eddala eyali yasalawo okufuuka omuweereza wa Yakuwa. Mu butuufu, yali ava Yerusaalemi kusinza Yakuwa. (Bik. 8:27) Ekyo kitulaga nti Omwesiyopiya oyo tayinza kuba nga yali mulaawe mu mubiri, kubanga Amateeka ga Musa gaali galaga nti omusajja eyalaayibwanga teyalina kujja mu kibiina kya Isirayiri.—Ma. 23:1.

OKUBATIZIBWA MU ‘MAZZI AMANGI’

Abakristaayo basaanidde kubatizibwa batya? Abamu balowooza nti kimala okuyiwa oba okumansira amazzi ku mutwe gw’omuntu. Kyokka Omwesiyopiya omulaawe yabatizibwa mu ‘mazzi mangi.’ Bayibuli egamba nti: “Firipo n’omulaawe ne bakka mu mazzi.” (Bik. 8:36, 38) Singa okuyiwa oba okumansira amazzi ku mutwe gw’omulaawe oyo kyali kimala, yandibadde tayimiriza ggaali lye wali mazzi mangi. Amazzi matono nnyo ge gandibadde geetaagisa, gamba ng’ago agaabanga mu nsawo ey’eddiba. Mu butuufu ateekwa okuba nga yalina ensawo eyo okuva bwe kiri nti ‘ekkubo’ lye yali ayitamu lyali ‘liyita mu ddungu.’—Bik. 8:26.

Okusinziira ku kitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo by’Oluyonaani ekyawandiikibwa Liddell ne Scott, ekigambo ky’Oluyonaani ba·ptiʹzo, mu Luganda ekivvuunulwa “okubatiza,” kirina amakulu ‘ag’okunnyika.’ Okubatizibwa okwogerwako mu Bayibuli kutuukagana n’amakulu gano. Ng’ekyokulabirako, Yokaana 3:23 wagamba nti Yokaana “yali abatiriza mu Enoni okumpi n’e Salimu kubanga eyo waaliyo amazzi mangi.” Mu ngeri y’emu, Bayibuli bw’eba eyogera ku kubatizibwa kwa Yesu egamba nti: “Amangu ddala nga yaakava mu mazzi yalaba eggulu nga libikkuka.” (Mak. 1:9, 10) N’olwekyo kituukirawo Abakristaayo ab’amazima okubatizibwa nga bannyikibwa mu mazzi.

16, 17. Bamalayika beenyigira batya mu mulimu gw’okubuulira leero?

16 Leero Abakristaayo balina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ogulinga ogwo Firipo gwe yakola. Ng’ekyokulabirako, emirundi mingi bwe baba nga baliko gye balaga, abantu be basanga bababuulira mbagirawo amawulire agakwata ku Bwakabaka. Mu mbeera ezisinga, okusisinkana omuntu ayagala okuwuliriza amawulire amalungi tekijjaawo mu butanwa. Ekyo kisuubirwa okubaawo kubanga Bayibuli ekyoleka bulungi nti bamalayika bawa abaweereza ba Katonda obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gasobole okutuuka mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Yesu yagamba nti bamalayika bandyenyigidde mu mulimu gw’okubuulira. Mu lugero olukwata ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yagamba nti mu kiseera ky’amakungula, kwe kugamba, mu kiseera ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno, “abakunguzi be bamalayika.” Yagattako nti bamalayika bandibadde baggya mu bwakabaka bwe “ebintu byonna ebyesittaza n’abantu abakola eby’obujeemu.” (Mat. 13:37-41) Ate era yagamba nti bamalayika bandibadde bakuŋŋaanya abo abandibadde n’essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka, era oluvannyuma bandibadde bakuŋŋaanya ‘n’ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala,’ Yakuwa b’ayagala okuleeta mu kibiina kye.—Kub. 7:9; Yok. 6:44, 65; 10:16.

17 Ekikakasa nti bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okubuulira kwe kuba nti abamu ku abo be tubuulira bagamba nti we tubatuukirako baba basabye Katonda abawe obulagirizi mu by’omwoyo. Lowooza ku kyokulabirako kino: Lumu ababuulizi babiri baagenda okubuulira nga bali wamu n’omwana omuto. Awo nga mu ttuntu, ababuulizi abo baali banaatera okumaliriza omulimu gw’okubuulira, naye nga ye omwana ayagala nnyo beeyongereyo ku nnyumba eyali eddako. Mu butuufu omwana oyo yagenda yekka ku nnyumba eyo n’akonkona! Omukazi eyalimu bwe yaggulawo oluggi, ababuulizi baagenda ne boogera naye. Beewuunya nnyo omukazi oyo bwe yabagamba nti yali yaakamala okusaba Katonda abeeko omuntu gw’asindika amuyambe okutegeera Bayibuli. Baakola enteekateeka okutandika okumuyigiriza Bayibuli!

Ow’oluganda ne mukyala we abali mu mulimu gw’okubuulira nga bakuba akade akali ku nnyumba y’omukyala ali munda ng’asaba.

“Ai Katonda, nnyamba”

18. Lwaki bulijjo enkizo gye tulina ey’okubuulira tusaanidde okugitwala nga ya muwendo?

18 Olw’okuba oli mu kibiina Ekikristaayo, olina enkizo ey’okukolera awamu ne bamalayika mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero ku kigero ekitabangawo. Bulijjo enkizo eyo gitwalenga nti ya muwendo nnyo. Bw’oneeyongera okubuulira “amawulire amalungi agakwata ku Yesu,” ojja kufuna essanyu lingi nnyo.—Bik. 8:35.

FIRIPO “OMUBUULIZI W’ENJIRI”

Abagoberezi ba Yesu bwe baasaasaana olw’okuyigganyizibwa, Firipo yagenda Samaliya. Kya lwatu nti yali akolera wamu n’akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka, kubanga “abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nti ab’omu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.” N’ekyavaamu abayigirizwa abo abapya baafuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.—Bik. 8:14-17.

Firipo ng’ali n’Omwesiyopiya omulaawe mu ggaali.

Oluvannyuma lw’ebyo ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume essuula 8 okubaawo, Firipo addamu okwogerwako omulundi gumu gwokka. Nga wayise emyaka nga 20 bukya Firipo abuulira mu Samaliya, omutume Pawulo n’abo be yali nabo ku lugendo lwe olw’okusatu olw’obuminsani baali bagenda Yerusaalemi era baayimirirako e Potolemaayi. Lukka agamba nti, “Ku lunaku olwaddako twavaayo ne tugenda e Kayisaliya, ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo omubuulizi w’enjiri, eyali omu ku basajja omusanvu abaalondebwa abatume mu Yerusaalemi, ne tubeera naye. Omusajja oyo yalina abawala bana abataali bafumbo, abaayogeranga obunnabbi.”—Bik. 21:8, 9.

Kirabika kati Firipo yali akkalidde mu kitundu mwe yali abuulira era yalina omukyala n’abaana. Kituukirawo okuba nti Lukka amwogerako ‘ng’omubuulizi w’enjiri.’ Ebyawandiikibwa bikozesa ebigambo ebyo nga byogera ku abo abava mu kitundu ky’ewaabwe ne bagenda okubuulira mu bifo ebitabuulirwangamu. Awatali kubuusabuusa Firipo yasigala munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Okuba nti yalina bawala be bana abaayogeranga obunnabbi kiraga nti yayamba ab’omu maka ge okwagala Yakuwa n’okumuweereza.

a Ono si ye mutume Firipo. Nga bwe twalaba mu Ssuula 5, ono ye Firipo eyali omu ku ‘basajja omusanvu abeesigika’ abaalondebwa okugabira bannamwandu abaali boogera Oluyonaani n’abaali boogera Olwebbulaniya emmere mu Yerusaalemi.—Bik. 6:1-6.

b Kirabika mu kiseera ekyo abayigirizwa abapya baafukibwangako omwoyo omutukuvu nga babatizibwa. Ekyo kyabasobozesa okuba n’essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu mu ggulu nga bakabaka era nga bakabona. (2 Kol. 1:21, 22; Kub. 5:9, 10; 20:6) Kyokka ku luno abayigirizwa abapya omwoyo omutukuvu tebaagufuna nga babatizibwa. Peetero ne Yokaana baamala kubassaako mikono ne balyoka bagufuna era ne baba nga basobola n’okukola ebyamagero bye gwasobozesanga abayigirizwa okukola.

c Omwesiyopiya oyo teyabatizibwa lwa kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege. Okuva bwe kiri nti yali Muyudaaya omukyufu, yali amanyi Ebyawandiikibwa, omuli n’obunnabbi obukwata ku Masiya. Okuva bwe kiri nti kati yali ategedde ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa, yali asobola okubatizibwa awatali kulonzalonza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share