Oluyimba 106
Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa
Printed Edition
1. Ani mukwano gwo,
Gw’osembeza gy’oli?
Ani afuuka mukwano gwo?
Ani akumanyi?
Beebo abeesiga
Ggwe n’Ekigambo kyo.
Be bonna abamaliridde,
Obutakuvaako.
2. Ani mukwano gwo,
Akutuukirira?
Ani akusanyusa ennyo,
Gw’omanyi n’erinnya?
Beebo abafaayo,
Okukugondera.
Be bonna ’boogera ’mazima,
Abeesimbu ddala.
3. Tukubikkulira
Emitima gyaffe.
Tubudaabudibwa; Tunyweza
Omukwano gwaffe.
Tuyaayaanira nnyo,
’Kuba mikwano gyo.
Ow’omukwano asinga ggwe,
Tayinza kubaayo.
(Era laba Zab. 139:1; 1 Peet. 5:6, 7.)