Oluyimba 56
Wulira Okusaba Kwange
Printed Edition
1. Wuliriza ’luyimba lwange.
Ggwe Katonda era Kitange.
Erinnya lyo, nga lya kitalo!
(CHORUS)
Ompuliranga, nga nkusaba.
2. Nkwebaza nnyo lw’okumbeesaawo,
Obulamu, ggwe obumpadde.
Ntambulire mu kitangaala.
(CHORUS)
Ompuliranga, nga nkusaba.
3. Njagala nnyo ’kola kituufu!
Nsanyukira nnyo ekisa kyo.
Mpa amaanyi nnyinze ’binnema.
(CHORUS)
Ompuliranga, nga nkusaba.
(Era laba Kuv. 22:27; Zab. 106:4; Yak. 5:11.)