LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ll ekitundu 3 lup. 8-9
  • Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?
  • Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Similar Material
  • Abalala Batusinga
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Baawuliriza Sitaani—Biki Ebyavaamu?
    Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Ekitundu 3
    Wuliriza Katonda
See More
Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
ll ekitundu 3 lup. 8-9

EKITUNDU 3

Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?

Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa ebirungi bingi. Olubereberye 1:28

Yakuwa yatonda Kaawa, omukazi eyasooka, n’amuwa Adamu

Yakuwa yatonda omukazi eyasooka, Kaawa, era gwe yawa Adamu okuba mukyala we.​—Olubereberye 2:21, 22.

Yakuwa yabatonda nga balina emibiri egituukiridde, nga tebaliiko kakyamu konna.

Adamu ne Kaawa nga bali mu Lusuku lwa Katonda

Baali babeera mu lusuku Edeni​—ekifo ekyali kirabika obulungi ennyo nga mulimu omugga, emiti egiriko ebibala, n’ebisolo.

Yakuwa yayogeranga nabo; yabayigirizanga. Singa baamuwuliriza, bandibaddewo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda wano ku nsi.

Waliwo omuti Katonda gwe yabagaana okulyako. Olubereberye 2:16, 17

Omuti ogwali mu lusuku Yakuwa gwe yagaana Adamu ne Kaawa okulyako

Mu lusuku mwalimu omuti Yakuwa gwe yalaga Adamu ne Kaawa n’abagamba nti singa balya ku bibala byago, bandifudde.

Malayika omubi ayitibwa Sitaani Omulyolyomi ayogera ne Kaawa ng’ayitira mu musota

Omu ku bamalayika yajeemera Katonda. Malayika oyo omubi ye Sitaani Omulyolyomi.

Sitaani yali tayagala Adamu ne Kaawa bagondere Yakuwa. Bwe kityo, yayitira mu musota n’agamba Kaawa nti singa alya ku bibala by’omuti ogwo, teyandifudde wabula yandibadde nga Katonda. Ekyo kyali kya bulimba.​—Olubereberye 3:1-5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share