LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • yc essomo 9 lup. 20-21
  • Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa
  • Yigiriza Abaana Bo
  • Similar Material
  • Yakuwa Atuma Yeremiya Okubuulira
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yeremiya Teyalekulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Beera Muvumu nga Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Omusajja Atatya
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Yigiriza Abaana Bo
yc essomo 9 lup. 20-21

ESSOMO 9

Yeremiya Teyalekera Awo Kwogera ku Yakuwa

Yeremiya yeetooloddwa abantu abakambwe

Lwaki abantu bakambuwalira Yeremiya?

Yeremiya ng’asikibwa okuva mu kinnya ekiwanvu ekirimu ettosi

Yakuwa yanunula Yeremiya

Ebiseera ebimu abantu batusekerera oba batukambuwalira bwe tubabuulira ebikwata ku Yakuwa. Kino kiyinza okutuleetera okuwulira nga twagala kulekera awo okwogera ku Katonda. Wali owuliddeko bw’otyo?— Bayibuli etutegeeza ebikwata ku muvubuka omu eyali ayagala ennyo Yakuwa, naye eyabulako akatono okulekera awo okumwogerako. Omuvubuka oyo yali ayitibwa Yeremiya. Ka tulabe ebimukwatako.

Yeremiya bwe yali akyali muvubuka, Yakuwa yamutuma okulabula abantu balekere awo okukola ebintu ebibi. Ekyo kyazibuwalira nnyo Yeremiya okukola, era yatya nnyo. Yagamba Yakuwa nti: ‘Simanyi kya kwogera. Nkyali muto.’ Naye Yakuwa yamugamba nti: ‘Totya. Nja kukuyamba.’

Bwe kityo Yeremiya yatandika okulabula abantu nti bwe batalekera awo kukola bintu bibi bagenda kubonerezebwa. Olowooza abantu baawuliriza Yeremiya ne balekera awo okukola ebintu ebibi?— Nedda. Abamu baamusekerera, abalala ne bamukambuwalira nnyo. Ate abalala baali baagala na kumutta! Olowooza Yeremiya yawulira atya?— Yatya nnyo era n’agamba nti: ‘Sigenda kuddamu kwogera ku Yakuwa.’ Kati olwo yalekera awo okumwogerako?— Yeeyongera okumwogerako. Yali ayagala nnyo Yakuwa era yali tayinza kulekera awo kumwogerako. Era olw’okuba Yeremiya teyalekera awo kwogera ku Yakuwa, Yakuwa yamukuuma abantu ababi ne batamutta.

Ng’ekyokulabirako, lumu abasajja ababi baasuula Yeremiya mu kinnya ekiwanvu ekyalimu ettosi. Teyalina mmere wadde amazzi. Abasajja abo baali baagala Yeremiya afiire mu kinnya ekyo. Naye Yakuwa yamuyamba n’akivaamu!

Kiki ky’oyigira ku Yeremiya?— Wadde ng’oluusi yatyanga, teyalekera awo kwogera ku Yakuwa. Bw’oyogera ku Yakuwa, naawe abantu abamu bayinza okukusekerera oba okukukambuwalira. Oyinza okuwulira ng’oswadde oba oyinza okutya. Naye tolekeranga awo kwogera ku Yakuwa. Ajja kukuyamba nga bwe yayamba Yeremiya.

SOMA MU BAYIBULI

  • Yeremiya 1:4-8; 20:7-9; 26:8-19, 24; 38:6-13

EBIBUUZO:

  • Kiki Yakuwa kye yagamba Yeremiya okukola?

  • Lwaki Yeremiya yali kumpi okulekera awo okwogera ku Yakuwa?

  • Yakuwa yayamba atya Yeremiya?

  • Kiki ky’oyigidde ku Yeremiya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share