LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 24 lup. 62-lup. 63 kat. 7
  • Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • A7-C Obuweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya (Ekitundu 1)
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Masiya Yatuukiriza Obunnabbi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Yesu Abuulira Ebikwata ku Bwakabaka
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Ekiseera Kye Kyali nga Tekinnaba Kutuuka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 24 lup. 62-lup. 63 kat. 7
Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana nga bazudde Yesu

ESSUULA 24

Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya

MATAYO 4:23-25 MAKKO 1:35-39 LUKKA 4:42, 43

  • YESU ATAMBULA MU GGALIRAAYA N’ABAYIGIRIZWA BANA

  • OKUBUULIRA KWE N’EBYAMAGERO BIMANYIBWA WONNA

Yesu n’abayigirizwa be abana babadde n’eby’okukola bingi ku lunaku luno mu Kaperunawumu. Akawungeezi, abantu b’omu Kaperunawumu bamuleetera abalwadde baabwe abawonye. Yesu tafunye budde bwa kubeerako yekka.

Ku lunaku oluddako ng’obudde tebunnasaasaana, Yesu afuluma ebweru yekka. Afuna ekifo ekisirifu n’atandika okusaba Kitaawe. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ‘Simooni n’abo abali naye’ bakitegeerako nti Yesu taliiwo, era batandika okumunoonya. Simooni Peetero ayinza okuba nga y’abakulembeddemu kubanga Yesu yasuze mu maka ge.​—Makko 1:36; Lukka 4:38.

Bwe basanga Yesu, Peetero amugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.” (Makko 1:37) Awatali kubuusabuusa, abantu b’omu Kaperunawumu baagala Yesu asigale mu kitundu kyabwe. Basiimye nnyo ebyo Yesu by’abakoledde, era “bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako.” (Lukka 4:42) Naye, Yesu yajja ku nsi kukola byamagero byokka? Ye abaffe, anaabuulira mu kitundu kino mwokka? Kiki Yesu ky’ayogera ku nsonga eno?

Yesu ng’ayogera ne Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana ng’asonze ku kibuga ekiri okumpi

Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Tugende awalala mu bubuga obuliraanye wano nayo nsobole okubuulirayo kubanga kino kye kyandeeta.” Era Yesu agamba abantu abaali baagala asigale nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”​—Makko 1:38; Lukka 4:43.

Ensonga enkulu eyaleeta Yesu ku nsi kwe kubuulira Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo bujja kutukuza erinnya lya Kitaawe era bumalewo endwadde zonna. Yesu awonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero basobole okumanya nti Katonda ye yamutuma. Emyaka mingi emabega, Musa naye yakola ebyamagero okusobola okukakasa abantu nti Katonda ye yali amutumye.​—Okuva 4:1-9, 30, 31.

Bwe kityo, Yesu n’abayigirizwa be abana bava e Kaperunawumu ne bagenda okubuulira mu bibuga ebirala. Abayigirizwa abo abana ye Peetero ne muganda we Andereya, Yokaana ne muganda we Yakobo. Wiiki emu emabega Yesu be yasooka okulonda, bamugoberere ekiseera kyonna.

Okubuulira kwa Yesu mu Ggaliraaya ng’ali wamu n’abayigirizwa be abana kuvaamu ebirungi bingi! Mu butuufu, ‘amawulire agakwata ku ebyo by’akola gabuna mu Busuuli yonna,’ mu kitundu eky’ebibuga ekkumi ekiyitibwa Dekapoli, era ne gatuuka n’emitala w’Omugga Yoludaani. (Matayo 4:24, 25) Abantu bangi okuva mu bitundu ebyo, ne mu Buyudaaya, bagoberera Yesu n’abayigirizwa be. Bangi bamuleetera abalwadde baabwe n’abawonya, era n’abo abaliko dayimooni azibagobako.

  • Kiki ekibaawo enkeera, oluvannyuma lw’olunaku Yesu lwe yabadde n’eby’okukola ebingi e Kaperunawumu?

  • Lwaki Yesu yatumibwa ku nsi, era lwaki akola eby’amagero?

  • Baani abagenda ne Yesu okubuulira e Ggaliraaya, era abantu bakwatibwako batya olw’ebyo by’akola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share