LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 117 lup. 270-lup. 271 kat. 3
  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Mu Kisenge Ekya Waggulu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Kristo Aliibwamu Olukwe era Akwatibwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 117 lup. 270-lup. 271 kat. 3
Yesu ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe ng’ali n’abatume be abeesigwa kumi n’omu

ESSUULA 117

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe

MATAYO 26:21-29 MAKKO 14:18-25 LUKKA 22:19-23 YOKAANA 13:18-30

  • AKIRAGA NTI YUDA Y’AGENDA OKUMULYAMU OLUKWE

  • YESU ATANDIKAWO OMUKOLO GW’EKIJJUKIZO

Yesu ayigirizza abatume be ebikwata ku bwetoowaze ng’abanaaza ebigere. Kati, oboolyawo nga bamaze okulya ekijjulo ky’embaga ey’Okuyitako, ajuliza ebigambo bya Dawudi eby’obunnabbi bino: “Mukwano gwange ennyo gwe mbadde nneesiga, era abadde alya ku mmere yange, anneefuulidde.” Oluvannyuma agamba nti: “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”​—Zabbuli 41:9; Yokaana 13:18, 21.

Buli omu ku batume atunula ku munne, era buli omu abuuza Yesu nti: “Ye nze Mukama wange?” Yuda Isukalyoti naye ayogera kye kimu. Peetero agamba Yokaana, atudde okumpi ne Yesu, amubuuze ani oyo gw’ayogerako. Bwe kityo, Yokaana abuuza Yesu nti: “Mukama waffe, ani oyo?”​—Matayo 26:22; Yokaana 13:25.

Yesu amuddamu nti: “Y’oyo gwe ŋŋenda okuwa ekitundu ky’omugaati kye ŋŋenda okukoza.” Yesu akoza omugaati n’aguwa Yuda, ng’agamba nti: “Omwana w’omuntu agenda, ng’ebyawandiikibwa bwe bimwogerako, naye zisanze omuntu oyo alyamu Omwana w’omuntu olukwe! Kyandisinzeeko singa omuntu oyo teyazaalibwa.” (Yokaana 13:26; Matayo 26:24) Awo Sitaani ayingira mu Yuda. Omusajja ono, kati atakyalina mutima mulungi, asalawo okukola ekyo Omulyolyomi ky’ayagala bw’atyo n’afuuka “omwana w’okuzikirira.”​—Yokaana 6:64, 70; 12:4; 17:12.

Yesu agamba Yuda nti: “Ky’okola kikole mu bwangu.” Abatume abalala balowooza nti Yesu agamba Yuda, oyo akwata akasanduuko mwe batereka ssente, nti: “‘Gula ebintu bye twetaaga ku mbaga,’ oba nti abeeko ky’awa abaavu.” (Yokaana 13:27-30) Mu kifo ky’ekyo, Yuda afuluma n’agenda okulyamu Yesu olukwe.

Akawungeezi kano kennyini kwe baliiridde ekijjulo ky’embaga ey’Okuyitako, Yesu atandikawo omukolo omulala. Akwata omugaati, n’asaba essaala ey’okwebaza, n’agumenyamu, n’awa abatume be okulya. Agamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Lukka 22:19) Omugaati guyisibwa era abatume balyako.

Oluvannyuma Yesu akwata ekikopo ky’envinnyo, n’asaba essaala nga yeebaza, era n’akiwa abatume. Buli omu ku batume anywa ku kikopo ekyo, era Yesu n’agamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.”​—Lukka 22:20.

Mu ngeri eyo, Yesu atandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe abagoberezi be gwe bajjanga okukwata buli mwaka ku lunaku lwa Nisaani 14. Omukolo ogwo gujja kubajjukizanga ekyo Yesu ne Kitaawe kye bakoze okuyamba abantu abeesigwa okununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Omukolo guno mukulu nnyo n’okusinga embaga ey’Okuyitako Abayudaaya gye babaddenga bakwata, kubanga gwoleka okununulibwa okw’olubeerera eri abantu bonna abeesigwa.

Yesu agamba nti omusaayi gwe ‘gugenda kuyiibwa ku lw’abangi basobole okusonyiyibwa ebibi.’ Mu bantu abo abangi abasonyiyibwa ebibi mwe muli abatume be abeesigwa n’abalala abalinga bo. Abantu abo be bajja okubeera naye mu Bwakabaka bwa Kitaawe.​—Matayo 26:28, 29.

  • Bunnabbi ki Yesu bw’ajuliza obukwata ku w’omukwano, era abukwataganya na ki?

  • Kiki Yesu ky’agamba Yuda okukola, era abatume abalala balowooza ki ku bigambo bya Yesu ebyo?

  • Mukolo ki Yesu gw’atandikawo, era gulina kigendererwa ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share