ESSOMO 54
Yakuwa Yagumiikiriza Yona
Abantu b’omu kibuga Nineeve ekya Bwasuli baali bakola ebintu ebibi ennyo. Yakuwa yatuma nnabbi we Yona okugenda mu kibuga Nineeve okulabula abantu abo okukyusa enneeyisa yaabwe. Naye Yona yadduka n’asalawo okugenda mu kitundu ekirala. Yalinnya ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi.
Ekyombo bwe kyali kisaabala ku nnyanja, omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta era abalunnyanja baatya nnyo. Baasaba bakatonda baabwe era ne beebuuza nti: ‘Lwaki omuyaga guno guzze?’ Oluvannyuma, Yona yabagamba nti: ‘Obuzibu buvudde ku nze. Waliwo ekintu Yakuwa kye yaŋŋamba okukola naye ne sikikola. Munsuule mu nnyanja, era ennyanja ejja kuteeka.’ Abalunnyanja baali tebaagala kusuula Yona mu nnyanja naye Yona yabagamba bamusuulemu. Bwe baamusuulamu, ennyanja yateeka.
Yona yalowooza nti yali agenda kufa. Bwe yali abbira, yasaba Yakuwa. Yakuwa yasindika ekyennyanja ekinene ne kimira Yona, naye tekyamutta. Yona bwe yali mu lubuto lw’ekyennyanja, yasaba Yakuwa n’amugamba nti: ‘Yakuwa nsuubiza okukugonderanga.’ Yakuwa yakuumira Yona mu lubuto lw’ekyennyanja okumala ennaku ssatu era oluvannyuma ekyennyanja ne kimusesema ku lukalu.
Yakuwa bwe yamala okununula Yona, kyali kitegeeza nti Yona yali takyetaaga kugenda Nineeve? Nedda. Yakuwa yaddamu n’agamba Yona okugenda e Nineeve. Ku mulundi guno, Yona yagondera Yakuwa. Yagenda e Nineeve n’agamba abantu baayo nti: ‘Mu nnaku 40, ekibuga Nineeve kigenda kuzikirizibwa.’ Kiki abantu b’omu Nineeve kye baakola? Baawuliriza Yona ne balekera awo okukola ebintu ebibi. Kabaka wa Nineeve yagamba abantu be nti: ‘Tukoowoole Katonda era twenenye. Oboolyawo ayinza obutatuzikiriza.’ Yakuwa bwe yalaba ng’abantu b’omu Nineeve beenenyezza, teyabazikiriza.
Yona yasunguwala olw’okuba ekibuga Nineeve tekyazikirizibwa. Kirowoozeeko: Yakuwa yali alaze Yona ekisa, naye Yona ye teyali mwetegefu kulaga bantu b’omu Nineeve kisa. Nga munyiivu nnyo, Yona yagenda n’atuula wabweru w’ekibuga mu kisiikirize ky’ekiryo. Ekiryo bwe kyakala, Yona yanyiiga nnyo. Awo Yakuwa yagamba Yona nti: ‘Ofaayo nnyo ku kimera ekyo okusinga bw’ofaayo ku bantu b’omu Nineeve. Abantu abo mbasaasidde ne sibazikiriza.’ Kiki Yakuwa kye yali ayigiriza Yona? Abantu b’omu Nineeve baali ba muwendo nnyo okusinga ekimera.
“Yakuwa . . . abagumiikiriza mmwe, kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”—2 Peetero 3:9