LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 6 lup. 9
  • Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okwanjula Ebyawandiikibwa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okufundikira Obulungi
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okulaga Omuganyulo
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 6 lup. 9

ESSOMO 6

Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa

Ekyawandiikibwa

Yokaana 10:33-36

MU BUFUNZE: Tosoma busomi kyawandiikibwa n’ogenda ku nsonga eddako. Kakasa nti abakuwuliriza balaba engeri ekyawandiikibwa ky’osomye gye kikwataganamu n’ensonga gy’oyogerako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Nokolayo ebigambo ebikulu. Ng’omaze okusoma ekyawandiikibwa, nokolayo ebigambo ebikwatagana obutereevu n’ensonga gy’oyogerako. Kino osobola okukikola ng’oddamu okusoma ebigambo ebyo oba ng’obuuza ekibuuzo ekinaayamba abakuwuliriza okulaba ebigambo ebikulu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo.

    Eky’okukola

    Bw’osalawo okukozesa ebigambo ebirala okunnyonnyola ekyawandiikibwa ky’osomye, kakasa nti abakuwuliriza basobola bulungi okulaba engeri ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo gye bikwataganamu n’ensonga enkulu.

  • Ggumiza ensonga gy’oyagala bajjukire. Bw’oyanjula ekyawandiikibwa era n’olaga ensonga lwaki ogenda kukisoma, nnyonnyola engeri ebigambo ebikulu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo gye bikwataganamu n’ensonga eyo.

    Eky’okukola

    Bw’oba onnyonnyola ekyawandiikibwa, tobikka Bayibuli yo. Ekyo kiyamba abakuwuliriza okulaba engeri ebigambo by’oyogera gye bikwataganamu n’ekyawandiikibwa ekyo.

  • Nnyonnyola mu engeri ennyangu. Weewale okunnyonnyola kalonda yenna atakwatagana na nsonga nkulu. Ng’osinziira ku ekyo abakuwuliriza kye bamanyi ku nsonga gy’oyogerako, salawo bintu bimeka by’onooyogerako okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share