LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 15
  • Yesu y’Ani?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu y’Ani?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yesu Kristo Ekisumuluzo ky’Okumanya Okukwata ku Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Yesu Kristo Ebibuuzo Ebimukwatako Biddibwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 15
Essomo 15. Yesu ng’atambulira mu nnimiro.

ESSOMO 15

Yesu y’Ani?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Yesu y’omu ku bantu abasinga okumanyibwa mu byafaayo. Naye ng’oggyeeko okumanya erinnya lye, abantu bangi tebalina bingi bye bamanyi ku Yesu era balina endowooza za njawulo ku ekyo Yesu ky’ali. Kiki Bayibuli ky’etutegeeza ku Yesu?

1. Yesu y’ani?

Yesu kitonde kya mwoyo era abeera mu ggulu. Yakuwa Katonda yasooka kutonda Yesu nga tannatonda kintu kirala kyonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “omubereberye w’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Ate era Bayibuli Yesu emuyita ‘Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka’ kubanga Yesu ye yekka Katonda gwe yatonda obutereevu. (Yokaana 3:16) Yakuwa bwe yali atonda ebintu ebirala byonna, Yesu yakolera wamu naye. (Soma Engero 8:30.) Yesu alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yesu akola ng’omwogezi wa Katonda, kubanga Katonda ayitira mu Yesu okutuusa obubaka bwe eri ebitonde bye ebirala byonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “Kigambo.”​—Yokaana 1:14.

2. Lwaki Yesu yajja ku nsi?

Emyaka nga 2,000 emabega, Yakuwa yakola ekyamagero. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, yateeka obulamu bwa Yesu mu lubuto lw’omuwala embeerera ayitibwa Maliyamu. Bw’atyo Yesu n’azaalibwa ku nsi ng’omuntu. (Soma Lukka 1:34, 35.) Yesu yajja ku nsi okuba Masiya oba Kristo eyasuubizibwa, n’okulokola abantu.a Obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya bwatuukirira ku Yesu, ekyo ne kisobozesa abantu okukimanya nti Yesu ye “Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”​—Matayo 16:16.

3. Kati Yesu ali ludda wa?

Oluvannyuma lwa Yesu okufa, yazuukizibwa ng’alina omubiri ogw’omwoyo n’addayo mu ggulu. Bwe yaddayo mu ggulu, “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo.” (Abafiripi 2:9) Kati Yesu alina obuyinza bungi era y’addirira Yakuwa mu buyinza.

YIGA EBISINGAWO

Manya ebisingawo ebikwata ku ekyo Yesu ky’ali era n’ensonga lwaki kikulu nnyo okuyiga ebimukwatako.

Yesu ne Yokaana nga bayimiridde mu mazzi nga Yesu yaakabatizibwa era nga bawuliriza eddoboozi okuva mu ggulu.

4. Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna

Bayibuli eyigiriza nti wadde nga Yesu kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekiri mu ggulu, ali wansi w’obuyinza bwa Katonda era Kitaawe, Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ssaako VIDIYO olabe engeri ekifo Yesu ky’alina gye kyawukana ku kya Katonda omuyinza w’ebintu byonna.

VIDIYO: Yesu Kristo Ye Katonda? (3:22)

Ebyawandiikibwa bino wammanga bituyamba okutegeera enjawulo eriwo wakati wa Yakuwa ne Yesu. Soma buli kyawandiikibwa, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

Soma Lukka 1:30-32.

  • Malayika yalaga atya enjawulo eriwo wakati wa Yesu ne Yakuwa Katonda, “Oyo Asingayo Okuba Waggulu”?

Soma Matayo 3:16, 17.

  • Yesu bwe yali abatizibwa, eddoboozi eryava mu ggulu lyagamba ki?

  • Olowooza eddoboozi eryo lyali ly’ani?

Soma Yokaana 14:28.

  • Ku taata n’omwana, ani aba asinga obukulu?

  • Okuba nti Yesu yayita Yakuwa Kitaawe, kiraga ki?

Soma Yokaana 12:49.

  • Yesu akitwala nti ye ne Kitaawe be bamu? Ggwe olowooza otya?

5. Kyeyoleka bulungi nti Yesu ye Masiya

Bayibuli erimu obunnabbi bungi obwayamba abantu okumanya Masiya, kwe kugamba, oyo Katonda gwe yalonda okulokola abantu. Ssaako VIDIYO olabe obumu ku bunnabbi obwatuukirira ku Yesu ng’ali ku nsi.

VIDIYO: Obunnabbi Bwatuukirira ku Yesu (3:03)

Soma obunnabbi bwa Bayibuli buno, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

Soma Mikka 5:2 olabe wa Masiya gye yalina okuzaalibwa.b

  • Obunnabbi obwo bwatuukirira ku Yesu?​—Matayo 2:1.

Soma Zabbuli 34:20 ne Zekkaliya 12:10 olabe obunnabbi obukwata ku kufa kwa Masiya.

  • Obunnabbi obwo bwatuukirira?​—Yokaana 19:33-37.

  • Ddala kisoboka okuba nti Yesu ye yaleetera ebintu ebyo okutuukirira?

  • Ekyo kikukakasa ki ku Yesu?

6. Tuganyulwa bwe tuyiga ebikwata ku Yesu

Bayibuli eraga nti kikulu nnyo okuyiga ebikwata ku Yesu n’ekifo ky’alina. Soma Yokaana 14:6 ne 17:3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki kikulu nnyo okuyiga ebikwata ku Yesu?

Yesu ng’ayigiriza abantu.

Yesu yatuggulirawo ekkubo eritusobozesa okufuuka mikwano gya Katonda. Yayigiriza amazima agakwata ku Yakuwa era okuyitira mu ye tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo

ABAMU BAGAMBA NTI: “Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu Yesu.”

  • Omuntu bw’akugamba bw’atyo, oyinza kumuddamu otya?

MU BUFUNZE

Yesu kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. Mwana wa Katonda era ye Masiya.

Okwejjukanya

  • Lwaki Yesu ayitibwa “omubereberye w’ebitonde byonna”?

  • Biki Yesu kye yakola bwe yali nga tannajja ku nsi?

  • Tumanya tutya nti Yesu ye Masiya?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ebisingawo ebikwata ku kifo Yesu ky’alina nga Masiya.

“Obunnabbi Obukwata ku Masiya Bukakasa nti Yesu Ye Masiya?” (Kiri ku mukutu)

Laba obanga Bayibuli eyigiriza nti Katonda yazaala Yesu mu ngeri y’emu abantu gye bazaalamu abaana.

“Lwaki Yesu Ayitibwa Mwana wa Katonda?” (Kiri ku mukutu)

Laba ensonga lwaki enjigiriza egamba nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu si ya mu Byawandiikibwa.

“Yesu Katonda?” (Watchtower, Apuli 1, 2009)

Laba engeri obulamu bw’omukazi omu gye bwakyuka oluvannyuma lw’okunoonyereza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Yesu.

“Omukazi Omuyudaaya Alaga Ensonga Lwaki Yakyusa Eddiini Gye Yalimu (Awake!, Maayi 2013)

a Mu ssomo erya 26 ne 27 tujja kulaba ensonga lwaki abantu beetaaga okulokolebwa era n’engeri Yesu gy’atulokolamu.

b Soma Ebyongerezeddwako 2 olabe obunnabbi obwalaga ekiseera kyennyini Masiya we yandirabikidde ku nsi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share