LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 31
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 31
Essomo 31. Yesu Kristo ng’atudde ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu.

ESSOMO 31

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Ekintu ekisinga obukulu Bayibuli ky’eyogerako bwe Bwakabaka bwa Katonda. Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka obwo okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda ensi. Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Tumanya tutya nti bufuga kati? Biki Obwakabaka obwo bye bumaze okukola? Era biki bye bujja okukola mu biseera eby’omu maaso? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu ssomo lino ne mu masomo abiri agaddako.

1. Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era Kabaka waabwo y’ani?

Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti Yakuwa Katonda gye yassaawo. Kabaka waabwo ye Yesu Kristo era afugira mu ggulu. (Matayo 4:17; Yokaana 18:36) Bayibuli egamba nti Yesu ‘ajja kufuga nga Kabaka emirembe gyonna.’ (Lukka 1:32, 33) Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kufuga abantu bonna ku nsi.

2. Baani abanaafuga ne Yesu?

Yesu tajja kufuga yekka. Abantu ‘okuva mu buli kika n’olulimi n’eggwanga, bajja kufuga ensi nga bakabaka.’ (Okubikkulirwa 5:9, 10) Bantu bameka abanaafuga ne Yesu Kristo? Okuva mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, abantu bukadde na bukadde bafuuse abagoberezi be. Naye ku bantu abo, abantu 144,000 bokka be bajja okugenda mu ggulu bafugire wamu ne Yesu. (Soma Okubikkulirwa 14:1-4.) Abagoberezi ba Yesu abalala bonna bajja kubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda.​—Zabbuli 37:29.

3. Lwaki Obwakabaka bwa Katonda busingira wala gavumenti z’abantu?

Abantu ne bwe bagezaako okukola ebintu ebirungi, tebaba na busobozi kukola buli kimu kye bandyagadde okukolera abo be bafuga. Ate n’abo ababaddira mu bigere bayinza okuba nga beefaako bokka era nga tebaagala kuyamba abo be bafuga. Naye Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, tewali ajja kumuddira mu bigere. Katonda ‘yassaawo obwakabaka obutalizikirizibwa.’ (Danyeri 2:44) Yesu ajja kufuga ensi yonna era tajja kubaako muntu yenna gw’asosola. Yesu ayagala nnyo abantu, wa kisa, era mwenkanya. Ajja kuyigiriza abantu okuyisa abalala mu ngeri y’emu.​—Soma Isaaya 11:9.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki Obwakabaka bwa Katonda busingira wala gavumenti z’abantu.

Yesu Kristo ng’afuga ensi ng’asinziira mu ggulu. Abo b’afuga nabo nga batudde emabega we. Ekitangaala kya Yakuwa kibaakira.

4. Obufuzi obw’amaanyi bujja kufuga ensi yonna

Yesu Kristo alina amaanyi mangi okusinga omufuzi omulala yenna eyali abaddewo ku nsi. Soma Matayo 28:18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Mu ngeri ki Yesu gy’alina obuyinza obungi okusinga abafuzi b’ensi?

Gavumenti z’abantu zikyukakyuka, era buli mufuzi afugako ensi emu yokka. Ate bwo Obwakabaka bwa Katonda? Soma Danyeri 7:14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki kirungi nnyo okuba nti Obwakabaka bwa Katonda “tebulizikirizibwa”?

  • Lwaki kirungi nnyo okuba nti bujja kufuga ensi yonna?

5. Obufuzi bw’abantu bulina okuggibwawo

Lwaki Obwakabaka bwa Katonda bwe bulina okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: Yaggibwa mu vidiyo, Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? (1:41)

  • Bizibu ki ebivudde mu bufuzi bw’abantu?

Soma Omubuulizi 8:9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Ggwe naawe okiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe busaanidde okudda mu kifo kya gavumenti z’abantu? Lwaki ogamba bw’otyo?

6. Abafuzi mu Bwakabaka bwa Katonda bategeera bye tuyitamu

Olw’okuba Kabaka waffe Yesu yaliko omuntu, asobola ‘okutulumirirwa mu bunafu bwaffe.’ (Abebbulaniya 4:15) Abasajja n’abakazi 144,000 abajja okufugira awamu ne Yesu, Yakuwa abalonda “okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga.”​—Okubikkulirwa 5:9.

  • Tekikuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yesu n’abo b’agenda okufuga nabo bamanyi ebizibu abantu bye bayitamu? Lwaki ogamba bw’otyo?

Abasajja n’abakazi abaafukibwako amafuta okuva mu mawanga eg’enjawulo era abaaliwo mu biseera eby’enjawulo.

Yakuwa alonze abasajja n’abakazi okuva mu buli ggwanga okufugira awamu ne Yesu

7. Obwakabaka bwa Katonda bulina amateeka agasingayo obulungi

Gavumenti ziteekawo amateeka ge zirowooza nti gajja kuganyula abantu baazo. Obwakabaka bwa Katonda nabwo bulina amateeka abo abanaafugibwa Obwakabaka obwo ge balina okugoberera. Soma 1 Abakkolinso 6:9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olowooza obulamu bwandibadde butya singa buli muntu agoberera emitindo gya Katonda egikwata ku mpisa?a

  • Olowooza Yakuwa alina obuyinza okuteerawo abantu amateeka ku ngeri gye balina okweyisaamu? Lwaki ogamba bw’otyo?

  • Kiki ekiraga nti abantu abatakola Katonda by’ayagala basobola okukyuka?​—Laba olunyiriri 11.

Omusirikale ng’ayimiridde mu masaŋŋanzira ng’ayirimiza emmotoka. Abantu ab’emyaka egy’enjawulo nga basala oluguudo.

Gavumenti zissaawo amateeka ge zirowooza nti gajja kuganyula abantu baazo. Obwakabaka bwa Katonda bulina amateeka agasingira ewala ag’abantu, era agaganyula abantu abanaafugibwa Obwakabaka obwo

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Obwakabaka bwa Katonda kye ki?”

  • Oyinza kuddamu otya?

MU BUFUNZE

Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala eri mu ggulu era ejja kufuga ensi yonna.

Okwejjukanya

  • Baani abanaafuga mu Bwakabaka bwa Katonda?

  • Lwaki Obwakabaka bwa Katonda busingira wala gavumenti z’abantu?

  • Ebimu ku ebyo Yakuwa by’asuubira mu abo abanaafugibwa Obwakabaka bwe bye biruwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Weetegereze Yesu kye yayogera ku kifo Obwakabaka bwa Katonda gye bunaasinziira okufuga.

“Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?” (Kiri ku mukutu)

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagondera Obwakabaka bwa Katonda okusinga gavumenti z’abantu?

Tuwagira Bwakabaka bwa Katonda (1:43)

Laba Bayibuli ky’eyogera ku bantu 144,000 Yakuwa b’alonda okufugira awamu ne Yesu.

“Baani Abagenda mu Ggulu?” (Kiri ku mukutu)

Kiki ekyaleetera omukazi eyali mu kkomera okukakasa nti Katonda yekka y’asobola okuleetawo obwenkanya mu nsi?

“Nnategeera Engeri Obutali Bwenkanya Gye Bujja Okumalibwawo” (Awake!, Noovemba 2011)

a Egimu ku mitindo egyo egikwata ku mpisa gijja kwogerwako mu Kitundu 3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share