“Omuto” Afuuse “Lukumi”!
“Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi.”—ISAAYA 60:22.
1, 2. (a) Lwaki ekizikiza kibisse ensi leero? (b) Ekitangaala kya Yakuwa kyeyongedde kitya okwaka ku bantu be?
EKIZIKIZA kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama [alikwakako] n’ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.” (Isaaya 60:2) Ebigambo bino binnyonnyola bulungi embeera ebaddewo ku nsi okuva mu 1919. Kristendomu egaanye akabonero k’okubeerawo okw’ekitiibwa okwa Yesu Kristo, “ekitangaala ky’ensi.” (Yokaana 8:12, NW; Matayo 24:3, NW) ‘Olw’obusungu’ bwa Setaani, omukulu ‘w’abafuzi b’ensi ab’omu kizikiza kino,’ ekyasa 20 kye kikyasinze okubeera eky’obukambwe era eky’akabi ennyo mu byafaayo by’omuntu. (Okubikkulirwa 12:12; Abaefeso 6:12) Abantu abasinga bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo.
2 Wadde kiri kityo, ekitangaala kyaka leero. Yakuwa ‘ayaka’ ku baweereza be, ensigalira y’abaafukibwako amafuta, abakiikirira “omukazi” we ow’omu ggulu ku nsi. (Isaaya 60:1, NW) Naddala okuva bwe baasumululwa mu buwambe bwa Babulooni mu 1919, boolese ekitiibwa kya Katonda era ‘balese ekitangaala kyabwe okwaka mu maaso g’abantu.’ (Matayo 5:16, NW) Okuva mu 1919 okutuukira ddala mu 1931, ekitangaala ky’Obwakabaka kyeyongera okwaka nga beggyako endowooza y’Ekibabulooni gye baali bakyalina. Omuwendo gwabwe gweyongera ne batuuka mu mitwalo n’emitwalo nga Yakuwa atuukiriza ekisuubizo kye: “Sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng’endiga eza Bozula; ng’ekisibo ekiri wakati w’eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi.” (Mikka 2:12) Mu 1931, ekitiibwa kya Yakuwa ku bantu be kyeyongera okweyoleka bwe bakkiriza erinnya Abajulirwa ba Yakuwa.—Isaaya 43:10, 12.
3. Kyeyoleka kitya nti ekitangaala kya Yakuwa kyandyase ku balala ng’oggyeko abaafukibwako amafuta?
3 Yakuwa yandyase ku nsigalira ya “ekisibo ekitono” bokka? (Lukka 12:32) Nedda. The Watch Tower aka Ssebutemba 1, 1931 kaasonga ku kibiina ekirala. Nga kannyonnyola Ezeekyeri 9:1-11, kaalaga nti omusajja alina ekikompe ekya bwino ayogerwako mu nnyiriri ezo, akiikirira ensigalira y’abaafukibwako amafuta. Baani “omusajja” oyo b’ateekako akabonero ku byenyi? Be ‘b’endiga endala,’ abo abalina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 10:16; Zabbuli 37:29) Mu 1935 ekibiina kino ekya “endiga endala” baategeerwa okuba “ekibiina [e]kinene . . . [okuva] mu buli ggwanga” ekyalabibwa omutume Yokaana mu kwolesebwa. (Okubikkulirwa 7:9-14) Okuva mu 1935 okutuusa kati, essira liteekeddwa ku kukuŋŋaanya ekibiina kino ekinene.
4. “Bakabaka” ne “amawanga” aboogerwako mu Isaaya 60:3 be baluwa?
4 Omulimu guno ogw’okukuŋŋaanya guba gwogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya bwe bugamba nti: “Amawanga galijja eri ekitangaala kyo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kw’okwaka kwo.” (Isaaya 60:3, NW) “Bakabaka” aboogerwako wano be baani? Be b’ensigalira ya 144,000, bo awamu ne Yesu Kristo, bajja kufugira wamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu era be bawomye omutwe mu mulimu gw’okuwa obujulirwa. (Abaruumi 8:17; Okubikkulirwa 12:17; 14:1) Leero, enkumi n’enkumi z’ensigalira abaafukibwako amafuta ba- tono nnyo bw’obageraageranya n’omuwendo gwa “amawanga,” abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi abajja eri Yakuwa okuyigirizibwa era ne bayita n’abalala okukola kye kimu.—Isaaya 2:3.
5. (a) Bintu ki ebiraga nti obunyiikivu bw’abantu ba Yakuwa tebukendedde? (b) Nsi ki ezaafuna okweyongera okw’amaanyi mu 1999? (Laba ekipande ku mpapula 27 okutuuka ku 30.)
5 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino baanyiikira nnyo mu kyasa kyonna ekya 20! Era wadde nga beeyongera okunyigirizibwa, obunyiikivu bwabwe tebwakendeera ng’omwaka 2000 gugenda gusembera. Ekiragiro kya Yesu baakitwala nga kikulu nnyo: “Mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” (Matayo 28:19, 20) Omuwendo gw’ababuulizi b’amawulire amalungi mu mwaka gw’obuweereza ogwasembayo mu kyasa 20 gwatuuka ku ntikko empya eya 5,912,492. Baawaayo essaawa 1,144,566,849 nga boogera n’abalala ku Katonda n’ebigendererwa bye. Baakola okuddiŋŋana 420,047,796 nga bakyalira abaagala okuyiga era ne bayigiriza Baibuli abantu 4,433,884 ku bwereere mu maka gaabwe. Ng’obwo bwali bunyiikivu bwa maanyi nnyo mu buweereza!
6. Nteekateeka ki empya eyakolerwa bapayoniya, era yayanukulwa etya?
6 Jjanwali eyayita, Akakiiko Akafuzi kaalangirira enkyukakyuka mu ssaawa ezeetaagisibwa bapayoniya. Bangi beeyambisa enkyukakyuka eno ne batandika okuweereza nga bapayoniya ab’enkalakkalira oba abawagizi. Ng’ekyokulabirako, mu myezi ena egyasooka mu 1999, ofiisi y’ettabi ly’e Netherlands yafuna okusaba kw’abo abaagala okuweereza nga bapayoniya ab’enkalakkalira okwakubisaamu emirundi ena okwo okwaliwo mu kiseera kye kimu omwaka gumu emabega. Lipoota okuva mu Ghana egamba: “Okuva enteekateeka empya ey’essaawa ezeetaagisibwa bapayoniya bwe yatandika, omuwendo gw’abo abaweereza nga bapayoniya ab’enkalakkalira gweyongedde.” Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 1999, omuwendo gwa bapayoniya mu nsi yonna gwawera 738,343—ekyayoleka ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi.’—Tito 2:14.
7. Yakuwa awadde atya omukisa emirimu gy’abaweereza be?
7 Yakuwa awadde omukisa obunyiikivu buno? Yee. Okuyitira mu Isaaya agamba: “Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizzawamu, bajja gy’oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.” (Isaaya 60:4) “Batabani” ne “[a]bawala” abaafukibwako amafuta abakuŋŋaanyiziddwa bakyali banyiikivu mu kuweereza Katonda. Era kati, endiga endala eza Yesu zikuŋŋaanyizibwa ku ludda lwa “batabani” ne “bawala” ba Yakuwa abaafukibwako amafuta mu nsi 234 ne mu bizinga by’omu nnyanja.
“Buli Mulimu Omulungi”
8. Abajulirwa ba Yakuwa benyigidde mu ‘mirimu ki emirungi’?
8 Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era n’okuyamba abaagala okuyiga okufuuka abayigirizwa. Naye ‘balina byonna olwa buli mulimu omulungi.’ (2 Timoseewo 3:17) Bwe kityo, balabirira amaka gaabwe mu ngeri y’okwagala, basembeza abalala, era bakyalira abalwadde. (1 Timoseewo 5:8; Abaebbulaniya 13:16) Era bannakyewa beenyigira mu mirimu ng’okuzimba Kingdom Hall—omulimu oguwa obujulirwa. Mu Togo, oluvannyuma lwa Kingdom Hall emu okuzimbibwa, abantu ab’obuvunaanyizibwa mu kkanisa ey’omu kitundu ekyo baayagala okumanya lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baasobola okuzimba ebizimbe byabwe ng’ate yo ekkanisa yaabwe yalina okupangisa abantu okukikola! Lipoota okuva mu Togo egamba nti okuzimba Kingdom Hall ezirabika obulungi kirina ekirungi kye kikola ku b’omuliraano ne kiba nti abantu abamu bagezaako okupangisa oba okuzimba mu bitundu Kingdom Hall we zigenda okuzimbibwa.
9. Abajulirwa ba Yakuwa baanu- kudde batya ng’obutyabaga buguddewo?
9 Emirundi egimu, omulimu omulungi ogw’ekika ekirala guba gwetaagisa. Ensi nnyingi mu mwaka gw’obuweereza ogwayita zaagwamu obutyabaga, era emirundi mingi abaasookanga okutuuka okuwa obuyambi baali Abajulirwa ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ebitundu bingi mu Honduras byayonoonebwa Omuyaga oguyitibwa Mitch. Mangu ddala, ettabi lyateekawo obukiiko obukola ku bubenje busobole okutegeka okuwa obuyambi. Abajulirwa mu Honduras n’okuva mu nsi endala nnyingi baawaayo engoye, emmere, eddagala, n’ebintu ebirala ebyetaagisa. Obukiiko Obukola ku Kuzimba mu Bitundu bwakozesa obumanyirivu bwabwo okuzzaawo ennyumba ezoonooneddwa. Mangu ddala, baganda baffe abaakosebwa akatyabaga ako baayambibwa okuddamu okwenyigira mu mirimu gyabwe egya bulijjo. Mu Ecuador, Abajulirwa ba Yakuwa baayamba baganda baabwe amataba ag’amaanyi bwe gaayonoona ennyumba ezimu. Oluvannyuma lw’okulaba engeri ennungi gye baakwatamu embeera eyo, omukungu wa gavumenti yagamba: “Singa nnalina ekibinja kino, nandikoze ebyewuunyo! Abantu nga mmwe musaanidde okubeera mu bitundu byonna eby’ensi.” Omulimu omulungi ng’ogwo, guweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa era buba bujulizi obulaga nti ‘okwemalira ku Katonda kuganyula mu bintu byonna.’—1 Timoseewo 4:8, NW.
‘Babuuka Ng’Ekire’
10. Wadde ng’omuwendo gw’abaafukibwako amafuta gweyongedde okukendeera, lwaki erinnya lya Yakuwa lirangirirwa okusinga ne bwe kyali kibadde?
10 Yakuwa kati abuuza: “Bano be baani ababuuka ng’ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabyo? Mazima ebizinga birinnindirira, n’ebyombo eby’e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala . . . Bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza.” (Isaaya 60:8-10) Abaasooka okwanukula ‘okwaka’ kwa Yakuwa baali “batabani” be, Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Oluvannyuma, “bannaggwanga” ne bajja,ekibiina ekinene, abaweereza baganda baabwe abaafukibwako amafuta n’obwe- sigwa, nga bagoberera obukulembeze bwabwe mu kubuulira amawulire amalungi. Bwe kityo, wadde omuwendo gw’abaafukibwako amafuta gugenda gukendeera, erinnya lya Yakuwa libuulirwa okwetooloola ensi okusinga bwe kyali kibadde.
11. (a) Kiki ekikyeyongera mu maaso era kivuddemu ki mu 1999? (b) Nsi ki ezaalina abantu abangi abaabatizibwa mu 1999? (Laba ekipande ku mpapula 27 okutuuka ku 30.)
11 N’ekivuddemu, obukadde n’obukadde beekuluumulula “nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo,” nga bafuna obukuumi mu kibiina Ekikristaayo. Mitwalo na mitwalo bagattibwako buli mwaka, era ekkubo likyali liggule eri abalala. Isaaya agamba: “Enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo emisana n’ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw’amawanga.” (Isaaya 60:11) Omwaka ogwayita 323,439 babatizibwa ng’akabonero akalaga okwewaayo kwabwe eri Yakuwa, era tannaba kuggalawo nzigi. “Ebyegombebwa amawanga gonna,” ab’ekibiina ekinene, bakyaziyitamu. (Kaggayi 2:7) Tewali n’omu ayagala okuva mu kizikiza gwe bagaana okuyingira. (Yokaana 12:46) Abalinga abo bonna tebalekangayo okusiima ekitangaala!
Tebatya nga Boolekaganye n’Okuziyizibwa
12. Abo abaagala ekizikiza bagezezzaako batya okuzikiza ekitangaala?
12 Abo abaagala ekizikiza bakyawa ekitangaala kya Yakuwa. (Yokaana 3:19) Abamu bagezaako n’okuzikiza ekitangaala ekyo. Kino kisuubirwa. Ne Yesu, “ekitangaala eky’amazima ekyakira buli muntu,” yasekererwa, yaziyizibwa, era mu nkomerero n’attibwa abantu ab’eggwanga lye. (Yokaana 1:9, NW) Mu kyasa kyonna 20, Abajulirwa ba Yakuwa nabo banyoomeddwa, basibiddwa mu makomera, bawereddwa, era battiddwa, nga booleka ekitangaala kya Yakuwa n’obwesigwa. Mu myaka egyakayita, abalabe boogedde eby’obulimba mu mikutu gy’empuliziganya ku abo abooleka ekitangaala kya Katonda. Abamu baagala okukkirizisa abantu nti Abajulirwa ba Yakuwa ba kabi era nti basaanidde okukugirwa oba okuwerebwa. Abaziyiza ng’abo batuuse ku buwanguzi?
13. Kiki ekivudde mu kutegeeza ab’emikutu gy’empuliziganya amazima agakwata ku mulimu gwaffe?
13 Nedda. Nga kisaanira, Abajulirwa ba Yakuwa bakozesezza emikutu gy’empuliziganya okunnyonnyola ekituufu. N’ekivuddemu, erinnya lya Yakuwa lyogeddwako nnyo mu mpapula z’amawulire ne mu magazini era ne ku leediyo ne ttivi. Kino kivuddemu ebibala ebirungi mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu Denmark, programu ku ttivi y’eggwanga yayogera ku mutwe “Lwaki okukkiriza kwa bannansi b’omu Denmark kuddirira.” Awamu n’abalala, Abajulirwa ba Yakuwa baabuuzibwa ebibuuzo. Oluvannyuma, omukyala eyalaba programu eyo yagamba: “Kyeyoleka bulungi nnyo ani eyalina omwoyo gwa Katonda.” Baatandika okuyiga naye.
14. Nga batoowaziddwa, mangu ddala abaziyiza banaategeera ki?
14 Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti bangi mu nsi eno bajja kubaziyiza. (Yokaana 17:14) Wadde kiri kityo, banywezebwa obunnabbi bwa Isaaya: “N’abaana b’abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n’abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky’Omutukuvu owa Isiraeri.” (Isaaya 60:14) Nga batoowaziddwa, mangu ddala abaziyiza bajja kutegeera nti, ddala babadde balwanyisa Katonda yennyini. Ani ayinza okuwangula olutalo ng’olwo?
15. Abajulirwa ba Yakuwa, ‘bayonka batya amata ag’ab’amawanga,’ era kino kyeyolese kitya mu kuyigiriza kwabwe n’omulimu gwabwe ogw’okubuulira?
15 Yakuwa ayongera n’asuubiza: “Ndikufuula okuba obulungi obungi [emirembe gyonna] . . . N’okuyonka oliyonka amata ag’amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era [o]mununuzi wo.“ (Isaaya 60:15, 16) Yee, Yakuwa ye Mununuzi w’abantu be. Singa bamwesiga, bajja kuwangaala “emirembe gyonna.” Era bajja ‘kuyonka amata g’amawanga,’ nga beeyambisa eby’obugagga ebiriwo okukulaakulanya okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, okukozesa kompyuta ne tekinoologiya mu by’empuliziganya kisobozesa okufulumya Omunaala gw’Omukuumi mu nnimi 121 ne Awake! mu nnimi 62 mu kiseera kye kimu. Programu ya kompyuta ekoleddwa okuyamba okuvvuunula New World Translation mu nnimi empya, era okuvvuunula ng’okwo kuleeta essanyu ppitirivu. Enkyusa y’Olukolowaati ey’Ebyawandiikibwa by’Ekikristaayo mu Luyonaani bwe yafulumizibwa mu 1999, enkumi n’enkumi baakaaba amaziga ag’essanyu. Ow’oluganda omu nnamukadde yagamba: “Nninze Baibuli eno okumala ekiseera kiwanvu nnyo. Kati nnyinza okufa mu mirembe!” New World Translation ezifulumizibwa, mu bulambirira oba mu bitundu, kati zisusse obukadde 100 mu nnimi 34.
Emitindo gy’Empisa Egya Waggulu
16, 17. (a) Wadde nga kizibu, lwaki kikulu nnyo okukuuma emitindo gya Yakuwa egya waggulu? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti abavubuka bayinza okwewala okwonoonebwa ensi?
16 Yesu yagamba: “Buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa [“ekitangaala“, NW].” (Yokaana 3:20) Ku luuyi olulala, abo abasigala mu kitangaala baagala emitindo gya Yakuwa egya waggulu. Okuyitira mu Isaaya, Yakuwa agamba: “N’abantu bo banaabanga batuukirivu bonna.” (Isaaya 60:21a) Kuyinza okubeera okusoomooza okw’amaanyi okukuuma emitindo egy’obutuukirivu mu nsi ejjudde empisa ez’obugwenyufu, obulimba, omululu, n’amalala. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezimu, embeera y’eby’enfuna nnungi era kyangu nnyo okuwugulibwa n’oluubirira okufuna ebintu. Kyokka, Pawulo yalabula: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.” (1 Timoseewo 6:9) Nga kiba kya nnaku nnyo omuntu bwe yeemalira ku by’obusuubuzi ne yeefiiriza ebintu ebikulu ennyo, gamba ng’okubeera awamu ne Bakristaayo banne, obuweereza obutukuvu, emisingi egy’empisa ennungi, n’obuvunaanyizibwa bw’omu maka!
17 Okukuuma emitindo egy’obutuukirivu kuyinza okubeera okuzibu ennyo naddala eri abato, nga bannabwe bangi benyigidde mu kwekamirira amalagala n’empisa ez’obugwenyufu. Mu Suriname, omuwala ow’emyaka 14, yatuukirirwa omulenzi afaanana obulungi ku ssomero era omulenzi n’amusaba yeetabe naye. Yagaana, era n’annyonnyola nti Baibuli egaana ebintu ng’ebyo nga toli mufumbo. Abawala abalala ku ssomero baamukiina ne bagezaako okumupikiriza okukyusa ebirowoozo bye, nga bamugamba nti buli omu yali ayagala okwetaba n’omulenzi oyo. Wadde kyali kityo, omuwala oyo yanywerera ku kye yali asazeewo. Nga wayiseewo wiiki ntono, bakisanga ng’omulenzi alina akawuka ka HIV era n’alwala nnyo. Omuwala oyo yali musanyufu nti yagondera ekiragiro kya Yakuwa ‘eky’okwewala obwenzi.’ (Ebikolwa 15:28, 29) Abajulirwa ba Yakuwa beenyumiriza nnyo mu baana baabwe abato abanyweredde ku kituufu. Okukkiriza kwabwe, n’okw’abazadde baabwe, ‘kulungiya’—kuweesa ekitiibwa—erinnya lya Yakuwa Katonda.—Isaaya 60:21b, NW.
Yakuwa Aleeseewo Okweyongera
18. (a) Kintu ki ekikulu Yakuwa ky’akoledde abantu be? (b) Bujulizi ki obulaga nti okweyongera kukyagenda mu maaso, era ssuubi ki eririndiridde abo abasigala mu kitangaala?
18 Yee, Yakuwa awa abantu be ekitangaala, abawa omukisa, obulagirizi, era abazzaamu amaanyi. Mu kyasa ekya 20, baalaba okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Isaaya: “Omuto alifuuka ggwanga lya maanyi; nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.” (Isaaya 60:22) Okuva ku bantu abatono ennyo mu 1919, “omuto” asusse mu “lukumi.” Era okweyongera okwo kukyagenda mu maaso! Omwaka ogwayita abantu 14,088,751 be baaliwo ku kukuza Ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu. Bangi ku bano tebaali Bajulirwa. Tuli basanyufu nti baaliwo ku mukolo ogwo omukulu, era tubaaniriza okweyongera okwolekera ekitangaala. Yakuwa akyayaka ku bantu be. Oluggi oluyingira mu ntegeka ye lukyali luggule. N’olwekyo ka bonna, babeere bamalirivu okusigala mu kitangaala kya Yakuwa. Ekyo nga kituviiramu emikisa mingi nnyo leero! Era ekyo nga kijja kuleeta essanyu lingi nnyo mu biseera eby’omu maaso ng’ebitonde byonna bitendereza Yakuwa era nga bisanyukira mu kitiibwa kye!—Okubikkulirwa 5:13, 14.
Osobola Okunnyonnyola?
• Baani aboolese ekitangaala kya Yakuwa mu nnaku zino ez’enkomerero?
• Kiki ekiraga nti obunyiikivu bw’abantu ba Yakuwa tebukendedde?
• Mirimu ki emirungi Abajulirwa ba Yakuwa mwe benyigidde?
• Wadde waliwo okuziyiza okw’amaanyi ennyo, tuli bakakafu ku ki?
[Ekipande ekiri ku lupapula 27-30]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 1999
(Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2000)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Abantu bakyekuluumulula eri entegeka ya Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Tuli basanyufu nti Yakuwa alese oluggi nga luggule eri abo abaagala ekitangaala