Wulira Omwoyo Kye Gugamba
“N’amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.”—ISAAYA 30:21.
1, 2. Yakuwa atuusizza atya obubaka ku bantu mu byafaayo byonna?
KU KIZINGA kya Puerto Rico y’esangibwa ekyuma ekisingayo obunene mu nsi ekyeyambisibwa okulaba ebintu ebiri ewala ennyo. Okumala amakumi g’emyaka, bannasayansi babadde basuubira okufuna obubaka okuva mu kifo ekirala ekitali kya ku nsi nga bakozesa ekyuma kino ekinene ennyo. Naye obubaka ng’obwo tebufunibwanga. Kyokka, waliwo obubaka obuva ebweru w’ettwale ly’abantu ffenna bwe tuyinza okufuna ekiseera kyonna—nga tetukozesezza kyuma kyonna. Buno buva eri Ensibuko esingira ewala eyo yonna eteeberezebwa etali ya ku nsi. Ani Nsibuko y’obubaka ng’obwo, era baani ababufuna? Obubaka bugamba ki?
2 Baibuli eyogera ku biseera abantu bwe baawulira obubaka okuva eri Katonda. Emirundi egimu obubaka buno bwaleetebwa ebitonde eby’omwoyo ebiweereza ng’ababaka ba Katonda. (Olubereberye 22:11, 15; Zekkaliya 4:4, 5; Lukka 1:26-28) Emirundi esatu, eddoboozi lya Yakuwa kennyini lyawulirwa. (Matayo 3:17; 17:5; Yokaana 12:28, 29) Katonda era yayogera okuyitira mu bannabbi be, bangi ku bo abaawandiika bye yabaluŋŋamya okwogera. Leero, tulina Baibuli, erimu obubaka buno bungi, awamu n’enjigiriza za Yesu n’abayigirizwa be. (Abaebbulaniya 1:1, 2) Mazima ddala Yakuwa abadde atuusa obubaka ku bantu be.
3. Ekigendererwa ky’obubaka bwa Katonda kye kiruwa, era kiki ekitusuubirwamu?
3 Obubaka buno bwonna obwaluŋŋamizibwa okuva eri Katonda bututegeeza kitono ku butonde obulabika. Bussa essira ku nsonga ezisingawo obukulu, ezikwata ku bulamu bwaffe kati era n’obwo obw’omu biseera eby’omu maaso. (Zabbuli 19:7-11; 1 Timoseewo 4:8) Yakuwa abukozesa okututegeeza ky’ayagala n’okutuwa obulagirizi. Obubaka obwo y’emu ku ngeri ebigambo bya nnabbi Isaaya gye bituukirizibwamu: “N’amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.” (Isaaya 30:21) Yakuwa tatukaka kuwuliriza ‘kigambo’ kye. Kiri eri ffe okugoberera obulagirizi bwa Katonda n’okutambulira mu kkubo lye. Olw’ensonga eyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza okuwuliriza obubaka obuva eri Yakuwa. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ebigambo nti ‘wulira omwoyo kye gugamba’ birabika emirundi musanvu.—Okubikkulirwa 2:7, 11, 17, 29; 3:6, 13, 22.
4. Kya magezi mu kiseera kyaffe okusuubira Katonda okututuusaako obubaka butereevu okuva mu ggulu?
4 Leero, Yakuwa takyayogera naffe butereevu okuva mu ttwale ery’omu ggulu. Ne mu biseera bya Baibuli, empuliziganya ng’eyo etali ya bulijjo teyateranga kubaawo. Mu byafaayo byonna, emirundi egisinga obungi Yakuwa tatuusizza bubaka ku bantu be buteerevu. Bwe kiri mu kiseera kyaffe. Ka twekenneenye engeri ssatu Yakuwa z’ayitiramu okututuusaako obubaka leero.
‘Buli Kyawandiikibwa Kyaluŋŋamizibwa’
5. Kintu ki ekikulu Yakuwa ky’akozesa okututuusaako obubaka leero, era tuyinza tutya okukiganyulwamu?
5 Ekikozesebwa ekikulu mu mpuliziganya wakati wa Katonda n’abantu ye Baibuli. Yaluŋŋamizibwa Katonda, era buli kintu kyonna ekigirimu kiyinza okubeera eky’omuganyulo gye tuli. (2 Timoseewo 3:16) Baibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abaaliwo ddala abaakozesa eddembe lyabwe okusalawo obanga bandiwulirizza eddoboozi lya Yakuwa oba nedda. Ebyokulabirako ng’ebyo bitujjukiza lwaki kikulu okuwuliriza omwoyo gwa Katonda kye gugamba. (1 Abakkolinso 10:11) Baibuli era erimu amagezi ag’omugaso, ng’etubuulirira nga twolekaganye n’eby’okusalawo ebikulu mu bulamu. Kiringa Katonda ali emabega waffe, ng’ayogerera mu kutu kwaffe: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.”
6. Lwaki Baibuli esingira wala ebiwandiiko ebirala byonna?
6 Okusobola okuwulira omwoyo kye gugamba okuyitira mu Baibuli, tuteekwa okugisoma obutayosa. Baibuli si kitabo butabo ekiganzi, ekyawandiikibwa obulungi, ekimu ku bingi ebiriwo leero. Baibuli yaluŋŋamizibwa omwoyo era erimu ebirowoozo bya Katonda. Abaebbulaniya 4:12 lugamba: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” Nga tusoma Baibuli, ebigirimu biyingirira ddala mu birowoozo byaffe eby’omunda n’ebiruubirirwa ng’ekitala, ne kyoleka engeri obulamu bwaffe gye butuukanamu ne Katonda by’ayagala.
7. Lwaki kikulu okusoma Baibuli, era tukubirizibwa okugisoma buli ddi?
7 “Okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima” biyinza okukyuka ebiseera bwe bigenda biyitawo era nga twolekagana n’ebibaawo mu bulamu—ebirungi n’ebizibu. Singa twosa okusoma Ekigambo kya Katonda, ebirowoozo byaffe, endowooza, n’enneewulira ez’omunda bijja kulekera awo okuba obumu n’emisingi gy’okutya Katonda. Bwe kityo Baibuli etukubiriza: “Mweyongerenga okwekebera obanga muli mu kukkiriza, mweyongerenga okukakasa kye muli.” (2 Abakkolinso 13:5, NW) Bwe tuba ab’okweyongera okuwulira omwoyo kye gugamba, tusaanidde okugoberera okubuulirira okw’okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku.—Zabbuli 1:2.
8. Bigambo ki eby’omutume Pawulo ebituyamba okwekebera ku bikwata ku kusoma Baibuli?
8 Okujjukizibwa okukulu eri abasomi ba Baibuli kwe kuno: Waayo ebiseera ebimala okufumiitiriza ku by’osoma! Nga tufuba okugoberera okubuulirira okw’okusoma Baibuli buli lunaku, tetwandyagadde kuyita buyisi mu ssuula eziwera awatali kufuna makulu g’ebyo bye tusoma. Wadde kikulu okusoma Baibuli obutayosa, ekiruubirirwa kyaffe tekyandibadde kugoberera bugoberezi enteekateeka ey’okusoma; twandibadde twagalira ddala okuyiga ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. Ku nsonga eno, tuyinza okukozesa ebigambo bino eby’omutume Pawulo okwekebera. Ng’awandiikira Bakristaayo banne yagamba: “Nfukaamirira Kitaffe, abawe mmwe, . . . Kristo atuulenga mu mitima gy’ammwe olw’okukkiriza; mubeerenga n’emmizi munywezebwenga mu kwagala, mulyoke muweebwa amaanyi okukwatanga n’amagezi awamu n’abatukuvu bonna obugazi n’obuwanvu n’obugulumivu n’okugenda wansi bwe biri, n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.”—Abaefeso 3:14, 16-19.
9. Tuyinza tutya okukulaakulanya n’okunyweza okwagala kwaffe okw’okuyiga ebiva eri Yakuwa?
9 Kyo kituufu nti abamu ku ffe mu butonde tetunyumirwa kusoma, ng’ate abalala basomi abanyiikivu. Kyokka, ka tubeere nga tuli mu mbeera ki, tuyinza okukulaakulanya n’okunyweza okwagala kwaffe okw’okuyigira ku Yakuwa. Omutume Peetero yannyonnyola nti twandyegombye okufuna okumanya kwa Baibuli, era yakitegeera nti okwegomba ng’okwo kuyinza okukulaakulanyizibwa. Yawandiika: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag’omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu.” (1 Peetero 2:2, italiki zaffe) Okwefuga kukulu nnyo bwe tuba ‘ab’okwegomba’ okuyiga Baibuli. Nga bwe tuyinza okutandika okwagala emmere empya oluvannyuma lw’okugiregako emirundi egiwera, endowooza yaffe eri okusoma n’okuyiga eyinza okulongooka singa twefuga ne tubaako n’enteekateeka gye tugoberera obutayosa.
‘Emmere mu Kiseera Kyayo’
10. Baani abakola ekibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ era Yakuwa abakozesa atya leero?
10 Engeri endala Yakuwa gy’akozesa okwogera gye tuli leero, Yesu yagyogerako mu Matayo 24:45-47. Awo yayogera ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta—‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ eyalondebwa okugaba ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’ Ng’abantu kinnoomu, ab’omu kibiina kino be ‘b’omu nju’ ya Yesu. Bano awamu ‘n’ekibiina ekinene’ ekya “endiga endala,” bazzibwamu amaanyi era baweebwa obulagirizi. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Nnyingi ku mmere eno egabulwa mu kiseera kyayo okuyitira mu bitabo gamba nga Omunaala gw’Omukuumi, Awake!, n’ebitabo ebirala. Emmere endala ey’eby’omwoyo egabulwa okuyitira mu mboozi n’ebyokulabirako ebibaawo mu nkuŋŋaana ennene n’enkuŋŋaana z’ekibiina.
11. Tulaga tutya nti tukkiriza omwoyo kye gugamba okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’?
11 Obubaka obutuweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bulina ekigendererwa eky’okunyweza okukkiriza kwaffe era n’okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera. (Abaebbulaniya 5:14) Okubuulirira ng’okwo kuyinza obutabaako gwe kusongako bwe kityo ne kisobozesa buli omu okukugoberera ye kennyini. Enfunda n’enfunda, tufuna okubuulirirwa okukwata ku ngeri ezitali zimu ze tweyisaamu. Twandibadde na ndowooza ki singa ddala tuwuliriza omwoyo kye gugamba okuyitira mu kibiina ky’omuddu? Omutume Pawulo addamu: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga.” (Abaebbulaniya 13:17) Kyo kituufu nti, bonna abazingirwamu mu nteekateeka eno basajja abatatuukiridde. Wadde kiri kityo, Yakuwa asanyuka okukozesa abaweereza be, wadde tebatuukiridde, okutuwa obulagirizi mu kiseera kino eky’enkomerero.
Obulagirizi Okuva eri Omuntu Waffe ow’Omunda
12, 13. (a) Nsibuko ki endala etuwa obulagirizi Yakuwa gy’atuteereddewo? (b) Omuntu ow’omunda ayinza atya okuganyula n’abantu abatalina kumanya kutuufu okukwata ku Kigambo kya Katonda?
12 Yakuwa atuteereddewo ensibuko endala ey’obulagirizi—omuntu waffe ow’omunda. Yatonda omuntu ng’alina obusobozi bw’okusalawo ekituufu n’ekikyamu. Kiri mu butonde bwaffe. Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, omutume Pawulo yannyonnyola: “Ab’amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby’amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka: kubanga balaga omulimu gw’amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe [“omuntu waabwe ow’omunda,” NW] nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka.”—Abaruumi 2:14, 15.
13 Bangi abatamanyi Yakuwa bayinza, mu ngeri ezimu, okutuukanya ebirowoozo n’ebikolwa byabwe n’emisingi gya Katonda egy’ekituufu n’ekikyamu. Kiba nga abawulira eddoboozi ery’omunda eribakulembera mu kkubo ettuufu. Bwe kiba bwe kityo eri abo abatalina kumanya kutuufu okw’Ekigambo kya Katonda, ng’ate kyandisinzewo nnyo eri Abakristaayo ab’amazima! Mazima ddala, omuntu ow’omunda ow’Omukristaayo alongooseddwa okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda era akolera awamu n’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu ayinza okutuwa obulagirizi obwesigika.—Abaruumi 9:1.
14. Omuntu ow’omunda eyatendekebwa Baibuli ayinza atya okutuyamba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa?
14 Omuntu w’omunda omulungi, oyo atendekeddwa Baibuli, ayinza okutujjukiza ekkubo omwoyo lye gwagala tutambuliremu. Emirundi egimu, Ebyawandiikibwa oba ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Baibuli biyinza okuba nga tebyogera ku mbeera emu gye tuyinza okubeeramu. Wadde kiri kityo, omuntu waffe ow’omunda ayinza okutulabula ku kkubo ery’akabi. Mu mbeera ng’ezo, okubuusa amaaso omuntu waffe ow’omunda ky’agamba, kiyinza okutegeeza okubuusa amaaso omwoyo gwa Yakuwa kye gugamba. Ku luuyi olulala, bwe tuyiga okwesiga omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa, tuyinza okusalawo mu ngeri ey’amagezi wadde nga tewaliiwo bulagirizi obuli mu buwandiike obukwata ku nsonga etukwatako. Kyokka, kikulu nnyo okujjukira nti, bwe watabaawo musingi oba tteeka okuva eri Katonda, kyandibadde tekisaanira okukakaatika ku Bakristaayo bannaffe bye tusazeewo okusinziira ku muntu waffe ow’omunda, ku nsonga ezikwata ku buli muntu kinnoomu.—Abaruumi 14:1-4; Abaggalatiya 6:5.
15, 16. Kiki ekiyinza okuleetera omuntu waffe ow’omunda obutakola bulungi, era ekyo tuyinza tutya okukiziyiza?
15 Omuntu ow’omunda, omuyonjo atendekeddwa Baibuli kirabo kirungi okuva eri Katonda. (Yakobo 1:17) Naye tuteekwa okukuuma ekirabo kino okuva ku mbeera ezoonoona bwe kiba eky’okutuwa obulagirizi mu mpisa. Singa tugoberera obulombolombo n’empisa eby’omu kitundu ebikontana n’emisingi gya Katonda, kiyinza okuleetera omuntu waffe ow’omunda obutakola bulungi n’alemererwa okutuwa obulagirizi mu kkubo ettuufu. Tuyinza okulemererwa okusalawo mu ngeri entuufu era ne twerimba nga tulowooza nti ekikolwa ekibi ddala kirungi.—Geraageranya Yokaana 16:2.
16 Singa tweyongera okubuusa amaaso okulabula kw’omuntu waffe ow’omunda, eddoboozi lye lijja kukendeera amaanyi okutuusa lw’aba nga takyatulumiriza. Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera ku bantu ng’abo bwe yagamba: “Emitima gyabwe tegikyawulira kulumwa kwonna ng’amasavu.” (Zabbuli 119:70, NW) Abamu ababuusa amaaso okulabula kw’omuntu w’omunda balekera awo okulowooza obulungi. Baba tebakyakulemberwa misingi gya Katonda era baba tebasobola kusalawo mu ngeri esaanira. Okwewala embeera ng’eyo, twandibadde tufaayo ku bulagirizi bw’omuntu waffe ow’omunda ne bwe kiba ng’ensonga ezikwatibwako zirabika ng’entono.—Lukka 16:10.
Balina Essanyu Abo Abawuliriza era Abawulize
17. Bwe tuwuliriza ‘ekigambo ekituvaako ennyuma’ era ne tugoberera omuntu waffe ow’omunda eyatendekebwa Baibuli, tunaafuna ki?
17 Nga tuwuliriza ‘ekigambo ekituvaako ennyuma’—okuyitira mu Byawandiikibwa n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi—era nga tugoberera okujjukizibwa kw’omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Baibuli, Yakuwa ajja kutuwa omwoyo gwe. Omwoyo omutukuvu nagwo gujja kutusobozesa okumanya n’okutegeera Yakuwa ky’atugamba.
18, 19. Obulagirizi bwa Yakuwa buyinza butya okutuganyula mu buweereza bwaffe ne mu bulamu bwaffe?
18 Omwoyo gwa Yakuwa era gujja kutunyweza twolekagane n’embeera enzibu n’amagezi era n’obuvumu. Nga bwe kyali eri abatume, omwoyo gwa Katonda guyinza okukubiriza obusobozi bwaffe obw’okutegeera ne gutuyamba okweyisa n’okwogera mu ngeri etuukana n’emisingi gya Baibuli. (Matayo 10:18-20; Yokaana 14:26; Ebikolwa 4:5-8, 13, 31; 15:28) Omwoyo gwa Yakuwa awamu n’okufuba kwaffe bijja kutusobozesa okutuuka ku buwanguzi nga tusalawo ebintu ebikulu mu bulamu, nga gutuwa obuvumu okugoberera kye tusazeewo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba olowooza ku kukyusa engeri gy’otambuzamu obulamu bwo oweeyo ebiseera ebisingawo eri ebintu eby’eby’omwoyo. Oba oyinza okuba oyolekaganye n’okusalawo okukulu okuyinza okukyusa obulamu bwo, gamba ng’okulondawo omuntu ow’okufumbiriganwa naye, oba omulimu ogw’okukola, oba okugula ennyumba. Mu kifo ky’okwesigama ku nneewulira zaffe zokka okusalawo, tusaanidde okuwuliriza ekyo omwoyo gwa Katonda kye gugamba era ne tugoberera obulagirizi bwagwo.
19 Tusiima nnyo nnyini okujjukizibwa okw’okwagala n’okubuulirira bye tufuna okuva eri Bakristaayo bannaffe, nga mw’otwalidde n’abakadde. Kyokka, buli kiseera tetwetaaga kulindirira balala kututegeeza nsonga zitukwatako. Bwe tuba tumanyi ekkubo ery’amagezi ery’okukwata n’enkyukakyuka ze twetaaga okukola mu ndowooza yaffe n’enneeyisa okusobola okusanyusa Katonda, tubeeko kye tukolawo. Yesu yagamba: “Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.”—Yokaana 13:17.
20. Abo abawuliriza ‘ekigambo ekibavaako ennyuma’ bafuna mikisa ki?
20 Kya lwatu nti, okusobola okusanyusa Katonda, Abakristaayo tebeetaaga kuwulira ddoboozi lya ddala okuva mu ggulu, oba okukyalirwa malayika. Balina Ekigambo kya Katonda ekiri mu buwandiike n’obulagirizi obw’okwagala okuyitira mu kibiina ky’abo be yafukako amafuta ku nsi. Singa bagoberera ‘ekigambo ekibavaako ennyuma’ era ne bagoberera obulagirizi bw’omuntu waabwe ow’omunda eyatendekebwa Baibuli, bajja kusobola okukola Katonda by’ayagala. Olwo nno bajja kulaba okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ky’omutume Yokaana: “Akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
Okwejjukanya Okuli mu Bufunze
• Lwaki Yakuwa awa abantu obubaka?
• Tuyinza tutya okuganyulwa mu nteekateeka ey’okusoma Baibuli obutayosa?
• Twandyanukudde tutya obulagirizi okuva eri ekibiina ky’omuddu?
• Lwaki tetwandibuusizza maaso okulabula kw’omuntu ow’omunda eyatendekebwa Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Omuntu teyetaaga byuma ebikoleddwa abakugu okufuna obubaka okuva eri Katonda
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Courtesy Arecibo Observatory/David Parker/Science Photo Library
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Yakuwa ayogera gye tuli okuyitira mu Baibuli ‘n’omuddu omwesigwa ow’amagezi’