LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 10/1 lup. 3-5
  • Oli Mukristaayo ‘Akuze mu by’Omwoyo’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oli Mukristaayo ‘Akuze mu by’Omwoyo’?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Abakulu mu Kutegeera’
  • Ababuulizi n’Abayigiriza Abanyiikivu
  • Abakuuma Obugolokofu
  • Abeesigwa
  • Okulaga Okwagala ng’Oyitira mu Bikolwa
  • Okukozesa Ebintu Byaffe Okuwagira Okusinza Okulongoofu
  • Weeyongere Okukulaakulana!
  • ‘Fuba Okukula’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yoleka Okukulaakulana Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 10/1 lup. 3-5

Oli Mukristaayo ‘Akuze mu by’Omwoyo’?

“BWE nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto.” Bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. Mazima ddala, ffenna lumu twaliko abaana abawere. Kyokka, tetwasigala bwe tutyo ekiseera kyonna. Pawulo yagamba: “Bwe nnakula, ne ndeka eby’obuto.”​—1 Abakkolinso 13:11.

Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bonna batandika ng’abaana abato mu by’omwoyo. Naye bwe wayitawo ekiseera, bonna basobola ‘okutuuka mu bumu obw’okukkiriza n’obw’okutegeera Omwana wa Katonda, okutuuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky’obukulu eky’okutuukirira Kristo.’ (Abaefeso 4:13) Mu 1 Abakkolinso 14:20, tukubirizibwa: “Ab’oluganda, temubanga baana bato mu magezi . . . Mu magezi mubeerenga bakulu.”

Okubeerawo kw’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo mukisa gwa maanyi eri abantu ba Katonda leero, naddala olw’okuba waliwo abappya bangi. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo baleetera kibiina okuba ekinywevu. Babeera ba muganyulo nnyo eri buli kibiina gye bakuŋŋaanira.

Wadde ng’okukula okw’omubiri kubeerawo kwokka, okukula mu by’omwoyo kwetaagisa ebiseera n’okufuba. Tekyewuunyisa nti, mu kiseera kya Pawulo, Abakristaayo abamu baalemererwa ‘okukulaakulana’,’ yadde nga baali baweerezza Katonda okumala emyaka mingi. (Abaebbulaniya 5:12; 6:1, NW) Kiri kitya gy’oli? Ka kibe nti oweerezza Katonda okumala emyaka mingi oba okumala ekiseera kitono, kyandibadde kisaana weekebere mu ngeri ey’obwesimbu. (2 Abakkolinso 13:5) Oli omu ku abo abayinza okuyitibwa Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo? Bwe kitaba bwe kityo, oyinza otya okufuuka omu ku bo?

‘Abakulu mu Kutegeera’

Omuntu atannakula mu by’omwoyo ‘ayuugana ng’atwalibwa buli mpewo ey’okuyigiriza mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, olw’okugoberera okuteesa okw’obulimba.’ N’olwekyo Pawulo yakubiriza: ‘Ka tukule mu kwagalana okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.’ (Abaefeso 4:14, 15) Ekyo omuntu akikola atya? Abaebbulaniya 5:14 (NW) lugamba: “Emmere enkalubo ya bakulu, abo abatendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera olw’okubukozesanga okwawula ekituufu n’ekikyamu.”

Weetegereze nti abantu abakulu batendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera olw’okubukozesa, oba olw’okwemanyiiza okussa mu nkola emisingi gya Baibuli. Ddala, kya lwatu nti, omuntu tafuuka muntu mukulu mbagirawo, kitwala ekiseera omuntu okukula mu by’omwoyo. Wadde kiri kityo, oyinza okubaako ky’okola okutumbula okukulaakulana kwo mu by’omwoyo nga weeyigiriza wekka​—naddala ebintu eby’omunda ennyo eby’Ekigambo kya Katonda. Gye buvuddeko awo Omunaala gw’Omukuumi koogedde ku bintu bingi eby’omunda. Abakulu mu by’omwoyo tebeewala bintu ng’ebyo olw’okuba ‘bizibu okutegeera.’ (2 Peetero 3:16) Naye, baagalira ddala okulya emmere enkalubo eyo!

Ababuulizi n’Abayigiriza Abanyiikivu

Yesu yalagira abayigirizwa be: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo. 28:19, 20) Okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu nakyo kiyinza okutumbula okukulaakulana kwo mu by’omwoyo. Lwaki tofuba nnyo okugwenyigiramu ng’embeera zo bwe zikusobozesa?​—Matayo 13:23.

Ebiseera ebimu, ebizibu mu bulamu biyinza okuleetawo okusoomooza mu ngeri y’okufunamu ebiseera eby’okubuulira. Kyokka, ‘bw’ofuba ennyo’ ng’omubuulizi, oyoleka nti “amawulire amalungi” ogatwala nga makulu. (Lukka 13:24; Abaruumi 1:16, NW) Mu ngeri eyo oyinza okutunuulirwa nga “eky’okulabirako eri abakkiriza.”​—1 Timoseewo 4:12.

Abakuuma Obugolokofu

Okufuuka omuntu akuze mu by’omwoyo era kitwaliramu okufuba okukuuma obugolokofu. Nga bwe kiri mu Zabbuli 26:1, Dawudi yagamba: “Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga n[na]atambuliranga mu butuukirivu bwange.” Obugolokofu kwe kukuuma empisa ezigwanidde, mu bujjuvu. Kyokka, tekitegeeza butukuvu. Dawudi yennyini yakola ebibi eby’amaanyi ebiwerako. Naye olw’okuba yakkiriza okukangavvulwa era n’atereeza amakubo ge, yakyoleka nti omutima gwe gwali gukyalimu okwagala okwa nnamaddala eri Yakuwa Katonda. (Zabbuli 26:2, 3, 6, 8, 11) Obugolokofu butwaliramu okuwaayo omutima gwo gwonna mu bujjuvu. Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani nti: “Tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima ogutuukiridde.”​—1 Ebyomumirembe 28:9.

Okukuuma obugolokofu kitwaliramu ‘obutaba kitundu kya nsi,’ obuteetaba mu by’obufuzi eby’ensi n’entalo zaamu. (Yokaana 17:16) Era olina obutenyigira mu mpisa embi, gamba ng’obukaba, obwenzi, era n’okwekamirira amalagala. (Abaggalatiya 5:19-21) Kyokka, okukuuma obugolokofu tekikoma ku kwewala obwewazi ebintu ebyo. Sulemaani yalabula bw’ati: “Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag’omugavu ag’omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n’ekitiibwa.” (Omubuulizi 10:1) Yee, wadde “obusirusiru obutono,” gamba ng’okubalaata n’okusaagirira okutasaana oba empisa ey’okuzannyirirazannyirira n’omuntu ow’ekikula ekirala, kiyinza okwonoona erinnya eddungi ery’omuntu “ow’amagezi.” (Yobu 31:1) N’olwekyo, kirage nti okuze mu by’omwoyo ng’ofuba okuba ekyokulabirako ekirungi mu mpisa zo zonna, “nga weewala buli ngeri ey’obubi.”​—1 Abasessaloniika 5:22, King James Version.

Abeesigwa

Omukristaayo akuze mu by’omwoyo era abeera mwesigwa. Nga bwe tusoma mu Abaefeso 4:24, omutume Pawulo akubiriza Abakristaayo: “Okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu [“obwesigwa,” NW] obw’amazima.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo eky’omu lulimu olwasooka ekivvuunulwa “obwesigwa” kirina amakulu ag’obutukuvu, obutuukirivu, okuwa ekitiibwa eky’okusinza. Omuntu omwesigwa aba munyiikivu mu by’eddiini; era atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe bwonna eri Katonda.

Ngeri ki ezimu mw’oyinza okukulaakulanyizaamu obwesigwa ng’obwo? Engeri emu kwe kukolaganira awamu n’abakadde b’omu kibiina kyo. (Abaebbulaniya 13:17) Olw’okuba bakitegeera nti Kristo ye yalondebwa okubeera Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo babeera beesigwa eri abo abalondeddwa ‘okulunda ekibiina kya Katonda.’ (Ebikolwa 20:28, NW) Nga tekyandisaanidde n’akamu okusoomooza oba okunyooma obuyinza bw’abakadde abalondeddwa! Era olina okubeera omwesigwa eri ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ era n’enteekateeka zonna ezikozesebwa okubunyisa ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’ (Matayo 24:45) Yanguwanga okusoma n’okukozesa ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebirala.

Okulaga Okwagala ng’Oyitira mu Bikolwa

Pawulo yawandiikira Abakristaayo mu Ssessaloniika nti: ‘Okwagala kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera.’ (2 Abasessaloniika 1:3) Okukula mu kwagala ngeri nkulu nnyo eyoleka okukulaakulana mu by’omwoyo. Yesu yagamba bw’ati, nga bwe kiri mu Yokaana 13:35: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” Okwagala kw’ab’oluganda ng’okwo tekukoma mu nneewulira mwokka. Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words kigamba: “Okwagala kuyinza okumanyibwa okuva ku bikolwa ebikuvaamu byokka.” Yee, weeyongere okukula mu by’omwoyo mu ngeri eno ng’ossa okwagala mu nkola!

Ng’ekyokulabirako, mu Abaruumi 15:7, tusoma tuti: “Musembezaganyenga mwekka na mwekka.” Engeri emu ey’okulaga okwagala kwe kubuuzanga bakkiriza banno era n’abappya mu nkuŋŋaana z’ekibiina​—n’ebbugumu era n’essanyu! Bategeere kinnoomu. ‘Faayo’ ku balala. (Abafiripi 2:4, NW) Oboolyawo oyinza n’okwoleka omwoyo gw’okusembeza abagenyi ng’oyita abantu ab’enjawulo mu maka go. (Ebikolwa 16:14, 15) Obutali butuukirivu bw’abalala ebiseera ebimu buyinza okugezesa okwagala kwo we kukoma, naye bwe weeyongera okuyiga ‘okuzibiikirizanga mu kwagala,’ oba okyoleka nti okula mu by’omwoyo.​—Abaefeso 4:2.

Okukozesa Ebintu Byaffe Okuwagira Okusinza Okulongoofu

Mu biseera eby’edda, abantu ba Katonda bonna tebaatuukirizanga buvunaanyizibwa bwabwe okuwagira yeekaalu ya Yakuwa. Bwe kityo, Katonda yatuma bannabbi, nga Kaggayi ne Malaki, okukubiriza abantu Be mu nsonga eno. (Kaggayi 1:2-6; Malaki 3:10) Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo mu kiseera kino bakozesa ebintu byabwe okuwagira okusinza kwa Yakuwa. Koppa abalinga abo ng’ogoberera omusingi oguli mu 1 Abakkolinso 16:1, 2, ‘ng’obaako ky’ossa ku bbali’ obutayosa okusobola okuwaayo eri ekibiina era n’eri omulimu ogw’ensi yonna ogw’Abajulirwa ba Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kisuubiza: “Asiga ennyingi, alikungula nnyingi.”​—2 Abakkolinso 9:6.

Tobuusa maaso ebintu ebirala by’olina, gamba ng’ebiseera byo n’amaanyi. Gezaako ‘okugula ebiseera’ okuva ku bintu ebirala ebitali bikulu nnyo. (Abaefeso 5:15, 16; Abafiripi 1:10) Yiga okukozesa obulungi ebiseera byo. Bw’okola bw’otyo kiyinza okusobozesa okwenyigira mu mirimu egy’okuddaabiriza Kingdom Hall awamu n’emirimu emirala egiwagira okusinza kwa Yakuwa. Bw’okozesa ebintu byo mu ngeri eno kijja kwongera okuwa obukakafu nti oli Mukristaayo akulaakulana mu by’omwoyo.

Weeyongere Okukulaakulana!

Abasajja n’abakazzi abanyiikira okusoma era abafunye okumanya, ababuulira n’obunyiikivu, abakuumye obugolokofu bwabwe, abeesigwa era abalina okwagala, era abawagira omulimu gw’Obwakabaka nga bakozesa amaanyi gaabwe n’ebyo bye balina ba muwendo nnyo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti omutume Pawulo yakubiriza bw’ati: “Nga tumaze okuleka enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo, ka tweyongere okukula”!​—Abaebbulaniya 6:1, NW.

Oli Mukristaayo akuze mu by’omwoyo? Oba okyali muto mu by’omwoyo mu ngeri ezimu? (Abaebbulaniya 5:13) Mu buli ngeri yonna, beera mumalirivu okweyigiriza wekka, okubuulira, era n’okulaga baganda bo okwagala. Sanyukira okubuulirirwa n’okukangavvulwa kwonna okukuweebwa abo abakuze mu by’omwoyo. (Engero 8:33) Tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo bwonna obw’Ekikristaayo. Oluvannyuma lw’ekiseera awamu n’okuteekamu amaanyi, naawe oyinza ‘okutuuka ku bumu obw’okukkiriza, n’obw’okutegeerera ddala Omwana wa Katonda, okuba omuntu omukulu, okutuuka ku kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.’​—Abaefeso 4:13.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Abakuze mu by’omwoyo batumbula omwoyo gw’ekibiina nga bafaayo ku balala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share