LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 1/1 lup. 18-23
  • Muzimbibwe Okwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Muzimbibwe Okwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwagala Kye Ki?
  • Okwagala​—Engeri Enkulu Ennyo
  • Ekiruubirirwa Ekirungi Kituyamba Okugumiikiriza
  • Abakristaayo Basaanidde Kwagala Ani?
  • Tuyinza Tutya Okulaga Okwagala Kwaffe?
  • Bakubirizibwa Okwagala Yesu
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Okwagala Kwo Kukoma Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 1/1 lup. 18-23

Muzimbibwe Okwagala

“Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”​—MATAYO 22:37.

1. (a) Bintu ki ebimu ebikulaakulanyizibwa Omukristaayo? (b) Ngeri ki ey’Ekikristaayo esingayo obukulu, era lwaki?

OMUKRISTAAYO akulaakulanya ebintu bingi okusobola okubeera omuweereza omulungi. Ekitabo ky’Engero kiggumiza omuwendo gw’okumanya, okutegeera n’amagezi. (Engero 2:1-10) Omutume Pawulo yayogera ku bwetaavu bw’okukkiriza okunywevu n’essuubi ery’amaanyi. (Abaruumi 1:16, 17; Abakkolosaayi 1:5; Abaebbulaniya 10:39) Obugumiikiriza n’okwefuga nabyo bikulu. (Ebikolwa 24:25, NW; Abaebbulaniya 10:36) Kyokka waliwo ekintu kimu, nga singa tekibaawo, ebirala byonna bifeebezebwa era nga biyinza n’okufuuka ebitagasa. Ekintu ekyo kwe kwagala.​—1 Abakkolinso 13:1-3, 13.

2. Yesu yalaga atya obukulu bw’okwagala, era ekyo kireetawo bibuuzo ki?

2 Yesu yalaga obukulu bw’okwagala bwe yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Okuva okwagala bwe kuli akabonero akaawulawo Omukristaayo ow’amazima, twetaaga okubuuza ebibuuzo nga, Okwagala kye ki? Lwaki kukulu nnyo ne kiba nti Yesu yatuuka n’okugamba nti okusinga ebirala byonna, kwawulawo abayigirizwa be? Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala? Ani gwe tusaanidde okulaga okwagala? Ka twekenneenye ebibuuzo bino.

Okwagala Kye Ki?

3. Okwagala kuyinza kunnyonnyolebwa kutya, era lwaki kuzingiramu endowooza n’omutima?

3 Ennyinnyonnyola emu ey’okwagala eri ‘enneewulira ey’omukwano eri omulala.’ Ye ngeri ekubiriza abantu okukolera abalala ebirungi, emirundi egimu nga kitwaliramu n’okwerekereza okw’amaanyi. Okwagala, nga bwe kwogerwako mu Baibuli, kuzingiramu endowooza n’omutima. Endowooza oba okutegeera, birina kye bikola kubanga omuntu alaga okwagala akikola ng’amanyi nti ye n’abantu abalala baayagala, balina obunafu awamu n’engeri ennungi. Okutegeera kuzingirwamu kubanga waliwo abantu Omukristaayo baayagala​—emirundi egimu, oboolyawo nga yeewaliriza​—kubanga akimanyi okuva mu kusoma Baibuli nti Katonda ayagala akole bw’atyo. (Matayo 5:44; 1 Abakkolinso 16:14) Wadde kiri kityo, okwagala kusibuka mu mutima. Okwagala okwa nnamaddala okubikkulwa mu Baibuli tekwesigamye ku kutegeera kyokka. Kwetaagisa obwesimbu era kuzingiramu enneewulira ez’omunda.​—1 Peetero 1:22.

4. Mu ngeri ki okwagala gye kunyweza ennyo?

4 Abantu abeerowoozaako bokka tebatera kubeera na kwagala okwa nnamaddala kubanga omuntu alaga okwagala aba mwetegefu okukulembeza omuntu omulala by’ayagala. (Abafiripi 2:2-4) Ebigambo bya Yesu nti ‘mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kuweebwa’ bituufu naddala ng’okugaba kikolwa kya kwagala. (Ebikolwa 20:35) Okwagala kunywereza ddala. (Abakkolosaayi 3:14) Kutera okubaamu omukwano, naye okwagala kunyweza nnyo okusinga omukwano. Omukwano wakati w’omwami ne mukyala we emirundi egimu gwogerwako ng’okwagala; kyokka, okwagala Baibuli kw’etukubiriza okukulaakulanya kuwangaala okusinga okusikirizibwa endabika eyokungulu. Abafumbo bwe baba baagalanira ddala, basigala wamu wadde ng’okusikirizibwa endabika ey’okungulu tekukyaliwo olw’okukaddiwa oba kubanga omu ku bo anafuye mu ngeri emu.

Okwagala​—Engeri Enkulu Ennyo

5. Lwaki okwagala ngeri nkulu eri Omukristaayo?

5 Lwaki okwagala ngeri nkulu nnyo eri Omukristaayo? Okusooka, kubanga Yesu yalagira abagoberezi be okwagalananga. Yagamba: “Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. Mbalagidde bino, mwagalanenga.” (Yokaana 15:14, 17) Eky’okubiri, kubanga Yakuwa kwagala, era ng’abasinza be tusaanidde okumukoppa. (Abaefeso 5:1; 1 Yokaana 4:16) Baibuli egamba nti okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa ne Yesu kitegeeza obulamu obutaggwaawo. Tuyinza tutya okugamba nti tumanyi Katonda singa tetugezaako kubeera nga ye? Omutume Yokaana yannyonnyola: “Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.”​—1 Yokaana 4:8.

6. Okwagala kuyinza kutya okutuyamba obutagwa lubege mu mbeera ez’enjawulo mu bulamu bwaffe?

6 Okwagala kukulu olw’ensonga ey’okusatu: Kutuyamba obutagwa lubege mu mbeera zaffe ez’obulamu ez’enjawulo era kutusobozesa okubeera n’ekiruubirirwa ekirungi mu ebyo bye tukola. Ng’ekyokulabirako, kikulu nnyo okweyongera okufuna okumanya okw’Ekigambo kya Katonda. Eri Omukristaayo, okumanya ng’okwo kulinga emmere. Kumuyamba okukula mu by’omwoyo n’okukola Katonda by’ayagala. (Zabbuli 119:105; Matayo 4:4; 2 Timoseewo 3:15, 16) Kyokka, Pawulo yalabula: “Okutegeera [“okumanya,” NW] kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.” (1 Abakkolinso 8:1) Tewali kikyamu kyonna ku kumanya okutuufu. Omutawaana guli naffe​—tulina engeri z’ekibi. (Olubereberye 8:21) Okwagala okuyamba obutagwa lubege bwe kutabaawo, okumanya kuyinza okuleetera omuntu okwegulumiza, nga yeerowoozaako okusinga abalala. Ekyo tekibaawo singa aba akubirizibwa okwagala. “Okwagala . . . tekwekulumbaza, tekwegulumiza.” (1 Abakkolinso 13:4) Omukristaayo akubirizibwa okwagala tafuuka wa malala, wadde ng’afunye okumanya okw’omunda. Okwagala kumufuula omwetoowaze, era ne kumuziyiza okwagala okwekolera erinnya.​—Zabbuli 138:6; Yakobo 4:6.

7, 8. Okwagala kutuyamba kutya okusiima ebintu ebisingawo obukulu?

7 Pawulo yawandiikira Abafiripi: “Kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n’okwawula kwonna: mulyoke musiimenga ebisinga obulungi [“obukulu,” NW].” (Abafiripi 1:9, 10) Okwagala kw’Ekikristaayo kujja kutuyamba okugoberera okubuulirira kuno okw’okusiima ebintu ebisinga obukulu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Pawulo eri Timoseewo: “Omuntu bw’ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi.” (1 Timoseewo 3:1) Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000, omuwendo gw’ebibiina okwetooloola ensi yonna gweyongerako ebibiina 1,502, ne kireetawo omuwendo omuppya ogw’awamu 91,487. Bwe kityo waliwo obwetaavu bw’abakade abalala era abo abaluubirira enkizo eno basiimibwa nnyo.

8 Kyokka, abo abaluubirira enkizo ey’obulabirizi tebajja kugwa lubege singa bajjukira ekigendererwa eky’enkizo eyo. Okubeera obubeezi n’obuyinza oba ettuttumu si kye kintu ekikulu. Abakadde abasanyusa Yakuwa bakubirizibwa okwagala gy’ali n’eri baganda baabwe. Tebanoonya ttutumu oba buyinza. Omutume Peetero, oluvannyuma lw’okubuulirira abakadde okubeera n’endowooza ennungi, yaggumiza obwetaavu bw’okubeera ‘abawombeefu.’ Yabuulirira bonna mu kibiina: “Mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda.” (1 Peetero 5:1-6) Yenna aluubirira enkizo asaanidde okulowooza ku kyokulabirako ky’abakadde bangi okwetooloola ensi abakola ennyo, abeetoowaze, era n’olwekyo, ab’omuganyulo eri ebibiina byabwe.​—Abaebbulaniya 13:7.

Ekiruubirirwa Ekirungi Kituyamba Okugumiikiriza

9. Lwaki Abakristaayo bajjukira emikisa Yakuwa gye yasuubiza?

9 Obukulu bw’okukubirizibwa okwagala bulabibwa mu ngeri endala. Eri abo abeemalira ku Katonda olw’okwagala, Baibuli ebasuubiza emikisa mingi kati n’emikisa egy’ekitalo mu biseera eby’omu maaso. (1 Timoseewo 4:8) Omukristaayo akkiririza ddala mu bisuubizo bino era omukakafu nti Yakuwa ‘awa empeera abamunoonya’ ayambibwa okunywerera mu kukkiriza. (Abaebbulaniya 11:6) Abasinga obungi ku ffe twesunga okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda era ne tukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Yokaana nti: “Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.” (Okubikkulirwa 22:20) Yee, okufumiitiriza ku mikisa gye tunaatera okufuna singa tunaasigala nga tuli beesigwa kitusobozesa okugumiikiriza, ng’okujjukira “essanyu eryateekebwa mu maaso ge” bwe kyayamba Yesu okugumiikiriza.​—Abaebbulaniya 12:1, 2.

10, 11. Okukubirizibwa okwagala kutuyamba kutya okugumiikiriza?

10 Kyokka, kiri kitya singa okwegomba okubeera mu nsi empya kye kiruubirirwa kyaffe kyokka eky’okuweereza Yakuwa? Olwo nno tuyinza okufuuka abatali bagumiikiriza oba ne twemulugunya bwe wabaawo ebizibu oba ebintu bwe bitabeera nga bwe tusuubira. Tuyinza okubeera mu kabi k’okuwaba n’okubivaako. (Abaebbulaniya 2:1; 3:12) Pawulo yayogera ku eyali munne ayitibwa Dema, eyamwabulira. Lwaki? Kubanga ‘yayagala emirembe egya kaakano.’ (2 Timoseewo 4:10) Bonna abaweereza olw’ensonga ez’okwerowoozaako baba mu kabi ak’okukola kye kimu. Bayinza okusikirizibwa emikisa egiriwo mu nsi ne balemererwa okwerekereza kati basobole okufuna emikisa egiri mu maaso.

11 Wadde nga kituufu era nga kya mu butonde okwegomba okufuna emikisa egy’omu biseera eby’omu maaso n’obuweerero okuva ku kugezesebwa, okwagala kutuyamba okusiima ekiteekwa okubeera ekikulu mu bulamu bwaffe. Yakuwa by’ayagala bye bisinga obukulu, so si ebyaffe. (Lukka 22:41, 42) Yee, okwagala kutuzimba. Kutusobozesa okubeera abamativu nga tulindirira Katonda waffe n’obugumiikiriza, okubeera abamativu na buli mikisa gyonna gy’atuwa era n’okubeera abakakafu nti mu kiseera kye ekituufu tujja kufuna byonna bye yasuubiza​—n’okusingawo. (Zabbuli 145:16; 2 Abakkolinso 12:8, 9) Ng’ebyo tebinnabaawo, okwagala kutuyamba okumuweereza awatali kwerowoozaako kubanga “okwagala . . . tekunoonya byakwo.”​—1 Abakkolinso 13:4, 5.

Abakristaayo Basaanidde Kwagala Ani?

12. Okusinziira ku Yesu, ani gwe tusaanidde okwagala?

12 Yesu yawa omusingi ku ani gwe tusaanidde okwagala bwe yajuliza ebiragiro bibiri okuva mu Mateeka ga Musa. Yagamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna” ne “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”​—Matayo 22:37-39.

13. Tuyinza tutya okuyiga okwagala Yakuwa wadde nga tetuyinza kumulaba?

13 Okuva mu bigambo bya Yesu, kyeyoleka bulungi nti okusookera ddala tusaanidde okwagala Yakuwa. Kyokka tetuzaalibwa nga twagala Yakuwa. Ekyo kye kintu kye tuteekwa okukulaakulanya. Bwe twasooka okuwulira ebimukwatako, twasikirizibwa gy’ali olw’ebyo bye twawulira. Mpolampola, twayiga engeri gye yategekeramu abantu ensi. (Olubereberye 2:5-23) Twayiga engeri gye yakolaganamu n’abantu, n’atatwabulira ekibi bwe kyasooka okuyingirira olulyo lw’omuntu, naye n’akola enteekateeka okutununula. (Olubereberye 3:1-5, 15) Yakolagana nabo abaali abeesigwa mu ngeri ey’ekisa, era mu nkomerero yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ebibi byaffe okusobola okusonyiyibwa. (Yokaana 3:16, 36) Okumanya kuno okwagenda kweyongera kwatusobozesa okweyongera okusiima Yakuwa. (Isaaya 25:1) Kabaka Dawudi yagamba nti yayagala Yakuwa olw’okuba Yakuwa yamufaako mu ngeri ey’okwagala. (Zabbuli 116:1-9) Leero, Yakuwa atufaako, atuwa obulagirizi, atunyweza era n’atuzzaamu amaanyi. Gye tukoma okuyiga ebimukwatako, okwagala kwaffe gye kukoma okweyongera.​—Zabbuli 31:23; Zeffaniya 3:17; Abaruumi 8:28.

Tuyinza Tutya Okulaga Okwagala Kwaffe?

14. Mu ngeri ki mwe tuyinza okulaga nti okwagala kwaffe eri Katonda kwa mazima?

14 Kya lwatu, bangi okwetooloola ensi bagamba nti baagala Katonda, naye engeri gye beeyisaamu eraga nti kye bagamba si kituufu. Tuyinza tutya okumanya nti ddala twagala Yakuwa? Tuyinza okwogera naye mu kusaba ne tumugamba engeri gye tuwuliramu. Era tuyinza okweyisa mu ngeri eyoleka okwagala kwaffe. Omutume Yokaana yagamba: “Buli akwata ekigambo [kya Katonda], mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye.” (1 Yokaana 2:5; 5:3) Awamu n’ebintu ebirala, Ekigambo kya Katonda kitugamba okukuŋŋaana awamu n’okutambulira mu bulamu obuyonjo, obw’empisa ennungi. Twewala obunnanfuusi, ne twogera amazima, era ne tukuuma endowooza yaffe nga nnyonjo. (2 Abakkolinso 7:1; Abaefeso 4:15; 1 Timoseewo 1:5; Abaebbulaniya 10:23-25) Tulaga okwagala nga tuwa obuyambi abo abali mu bwetaavu. (1 Yokaana 3:17, 18) Era tetulekaayo kubuulira balala ebikwata ku Yakuwa. Ekyo kitwaliramu okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. (Matayo 24:14; Abaruumi 10:10) Obuwulize eri Ekigambo kya Katonda mu bintu ng’ebyo bujulizi nti okwagala kwaffe eri Yakuwa kwa mazima.

15, 16. Okwagala eri Yakuwa kwakwata kutya ku bulamu bw’abantu bangi omwaka ogwayita?

15 Okwagala eri Yakuwa kuyamba abantu okusalawo obulungi. Omwaka ogwayita okwagala ng’okwo kwaleetera abantu 288,907 okuwaayo obulamu bwabwe gy’ali era n’okulaga okusalawo okwo nga babatizibwa mu mazzi. (Matayo 28:19, 20) Okwewaayo kwabwe kwali kwa makulu. Kwayoleka enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Gazmend yali omu ku bazannyi ba basketball abatutumufu mu Albania. Okumala emyaka, ye ne mukyala we baayiga Baibuli, era wadde nga waaliwo obuzibu, mu nkomerero baatuukiriza ebisaanyizo eby’okubeera ababuulizi b’Obwakabaka. Omwaka ogwayita, Gazmend yabatizibwa, n’abeera omu ku bantu 366 abaabatizibwa mu Albania mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000. Olupapula lw’amawulire lwamuwandiikako nga lugamba: “Obulamu bwe bulina amakulu, era olw’ensonga eyo, ye n’ab’omu maka ge bafunye essanyu erisingayo mu bulamu bwabwe. Kati ekikulu gy’ali kwe kuyamba abantu abalala so si okuganyulwa mu bulamu.”

16 Mu ngeri y’emu, mwannyinaffe eyali yaakabatizibwa ng’akolera kampuni y’amafuta mu Guam, yaweebwa ekifo eky’amaanyi. Oluvannyuma lw’okugenda ng’akuzibwa okumala emyaka, mu nkomerero yaweebwa omukisa ogw’okubeera omukazi asookedde ddala mu byafaayo bya kampuni eyo okufuuka omumyuka wa prezidenti. Kyokka, kati yali awaddeyo obulamu bwe eri Yakuwa. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga n’omwami we, mwannyinaffe omuppya yagaana ekifo ekyo era n’akola enteekateeka okukola omulimu ogutali gwa kiseera kyonna asobole okukulaakulana okufuuka omuweereza ow’ekiseera kyonna, payoniya. Okwagala eri Yakuwa kwamuleetera okwagala okumuweereza nga payoniya mu kifo ky’okuluubirira ebintu mu nsi eno. Mu butuufu, okwagala ng’okwo kw’aleetera abantu 805,205 mu nsi yonna okwenyigira mu ngeri ez’enjawulo ez’obuweereza bwa payoniya mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000. Nga bapayoniya abo baayoleka okwagala n’okukkiriza okw’amaanyi ennyo!

Bakubirizibwa Okwagala Yesu

17. Kyakulabirako ki ekirungi eky’okwagala kye tulaba mu Yesu?

17 Yesu kyakulabirako kirungi nnyo eky’omuntu akubirizibwa okwagala. Mu bulamu bwe nga tannafuuka muntu, yayagala Kitaawe era n’abantu. Ng’oyo akiikirira amagezi, yagamba: “Nze nga ndi awo [ne Yakuwa] ng’omukoza: era bulijjo yansanyukiranga, nga njaguliza bulijjo mu maaso ge; nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; n’essanyu lyange lyali n’abaana b’abantu.” (Engero 8:30, 31) Okwagala kwa Yesu kwamuleetera okuleka amaka ge ag’omu ggulu n’azaalibwa ng’omwana. Yali mugumiikiriza era wa kisa eri abawombeefu n’abeetoowaze era n’abonyaabonyezebwa abalabe ba Yakuwa. Mu nkomerero, yafa ku lw’abantu bonna ku muti ogw’okubonyaabonya. (Yokaana 3:35; 14:30, 31; 15:12, 13; Abafiripi 2:5-11) Nga kyakulabirako kirungi nnyo ekitukubiriza okukola ebirungi!

18. (a) Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala eri Yesu? (b) Mu ngeri ki mwe tuyinza okulaga nti twagala Yesu?

18 Abo abalina omutima omulungi bwe basoma ebikwata ku bulamu bwa Yesu mu Njiri ne bafumiitiriza ku mikisa emingi ekkubo lye ery’obwesigwa gye lyabaleetera, kibaleetera okumwagala ennyo. Naffe leero tulinga abo Peetero be yagamba: ‘Wadde temwalaba Yesu mumwagala.’ (1 Peetero 1:8) Okwagala kwaffe kulagibwa bwe tumukkiriza era ne tukoppa obulamu bwe obw’okwerekereza. (1 Abakkolinso 11:1; 1 Abasessaloniika 1:6; 1 Peetero 2:21-25) Nga Apuli 19, 2000, abantu 14,872,086 abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwe ekibaawo buli mwaka, bajukizibwa ensonga lwaki twandyagadde Yesu. Ogwo nga gwali muwendo munene nnyo! Era nga kizzaamu amaanyi okumanya nti bangi nnyo baagala obulokozi okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu! Mazima ddala tuzimbibwa okwagala Yakuwa ne Yesu kwe batulaga era n’okwagala naffe kwe tubalaga.

19. Bibuuzo ki ebikwata ku kwagala bye tujja okukubaganyako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?

19 Yesu yagamba nti tusaanidde okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna n’amaanyi gaffe gonna. Naye era yagamba tusaanidde okwagala muliraanwa waffe nga bwe tweyagala. (Makko 12:29-31) Ekyo kitwaliramu ani? Era okwagala muliraanwa waffe kutuyamba kutya obutagwa lubege era n’okubeera n’ekiruubirirwa ekirungi? Ebibuuzo bino bijja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.

Ojjukira?

• Lwaki okwagala ngeri nkulu nnyo?

• Tuyinza tutya okuyiga okwagala Yakuwa?

• Enneeyisa yaffe ekakasa etya nti twagala Yakuwa?

• Tuyinza tutya okwoleka okwagala kwaffe eri Yesu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20, 21]

Okwagala kutuyamba okulindirira n’obugumiikiriza obuweerero

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Ssaddaaka ya Yesu etuleetera okumwagala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share