Weeyongere Okuweereza Yakuwa n’Omutima Omunywevu
“Omutima gwange gunywedde, ai Katonda omutima gwange gunywedde.”—ZABBULI 57:7.
1. Lwaki tuyinza okubeera n’endowooza ng’eya Dawudi?
YAKUWA asobola okutunyweza mu kukkiriza tusobole okusigala mu Bukristaayo obw’amazima ng’abaweereza be abeewaddeyo gy’ali. (Abaruumi 14:4) N’olwekyo, tuyinza okubeera n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyayimba: “Omutima gwange gunywedde, ai Katonda.” (Zabbuli 108:1) Singa omutima gwaffe gubeera munywevu, gujja kutukubiriza okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Katonda. Era bwe twesiga Katonda okutuwa obulagirizi n’amaanyi, tujja kubeera abantu abatasagaasagana, era abamalirivu okubeera abagolokofu, ‘nga tulina bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.’—1 Abakkolinso 15:58.
2, 3. Makulu ki agali mu kukubiriza kwa Pawulo okuli mu 1 Abakkolinso 16:13?
2 “Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yakubiriza abagoberezi ba Yesu mu kibuga ky’e Kkolinso eky’edda era ng’okukubiriza okwo kuganyula n’Abakristaayo ab’omu kiseera kino. (1 Abakkolinso 16:13) Mu Luyonaani, ebigambo bye yakozesa byali bibakubiriza okweyongera mu maaso. Makulu ki agali mu kukubiriza okwo?
3 Tusobola ‘okusigala nga tutunula’ mu by’omwoyo bwe tuziyiza Omulyolyomi era ne tufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Yakobo 4:7, 8) Okwesiga Yakuwa kutuyamba okusigala nga tuli bumu era ‘n’okunywerera mu kukkiriza okw’Ekikristaayo.’ Ffenna—nga mw’otwalidde n’abakazi abangi abali wakati mu ffe—‘tubeera ng’abasajja’ bwe tuweereza Katonda n’obuvumu ng’abalangirizi b’Obwakabaka. (Zabbuli 68:11) ‘Tubeera ba maanyi’ bwe tweyongera okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu okutuwa amaanyi tusobole okukola by’ayagala.—Abafiripi 4:13.
4. Mitendera ki egyatutuusa ku kubatizibwa ng’Abakristaayo?
4 Twakiraga nti tukkirizza amazima bwe twewaayo eri Yakuwa, era ekyo ne tukyoleka nga tunnyikibwa mu mazzi. Naye mitendera ki gye twayitamu okutuuka ku kubatizibwa? Okusooka, twafuna okumanya okutuufu okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. (Yokaana 17:3) Ekyo kyatuleetera okubeera n’okukkiriza, ne twenenya, era tunakuwala olw’ebibi byaffe eby’emabega. (Ebikolwa 3:19; Abaebbulaniya 11:6) Ekyaddirira, twakyuka ne tuleka ebikolwa ebikyamu okusobola okutambuliza obulamu bwaffe ku ebyo Katonda by’ayagala. (Abaruumi 12:2; Abaefeso 4:23, 24) Kino kyaddirirwa okwewaayo eri Yakuwa n’omutima gwonna nga tuyitira mu kusaba. (Matayo 16:24; 1 Peetero 2:21) Twasaba Katonda atuwe omuntu ow’omunda omulungi era ne tubatizibwa ng’akabonero akalaga nti twewaddeyo gy’ali. (1 Peetero 3:21) Okufumiitiriza ku mitendera egyo kijja kutuyamba okusigala nga tulowooza ku bwetaavu bw’okweyongera okufuba okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe era n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima omunywevu.
Weeyongere Okunoonya Okumanya Okutuufu
5. Lwaki twandyeyongedde okufuna okumanya okuva mu Byawandiikibwa?
5 Okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Katonda, tulina okweyongera okufuna okumanya okuzimba okukkiriza okuva mu Byawandiikibwa. Nga twasanyuka nnyo okulya emmere ey’eby’omwoyo bwe twasooka okumanya amazima agakwata ku Katonda! (Matayo 24:45-47) ‘Emmere’ eyo yali nnungi nnyo era yatuzimba nnyo mu by’omwoyo. Kaakano kikulu nnyo okweyongera okulya emmere ey’eby’omwoyo ezimba tusobole okubeera n’emitima eminywevu ng’abaweereza ba Katonda abeewaddeyo gy’ali.
6. Wayambibwa otya okusiima amazima g’omu Baibuli mu mutima gwo?
6 Okufuba kwetaagisa okusobola okufuna okumanya okusingawo okuva mu Byawandiikibwa. Kiringa okunoonya eby’obugagga ebikusike. Okusobola okubinoonya kyetaagisa okufuba. Naye nga kiganyula nnyo “[oku]vumbula okumanya kwa Katonda”! (Engero 2:1-6) Omubuulizi w’Obwakabaka bwe yasooka okuyiga naawe Baibuli, ayinza okuba nga yakozesa akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Mwatwala ekiseera ekiwerako okwekenneenya buli ssuula, oboolyawo nga kyabeetaagisanga okugikubaganyaako ebirowoozo emirundi egiwera okusobola okugimalako. Waganyulwa nnyo bwe mwasoma ebyawandiikibwa ebijuliziddwa era ne mu bikubaganyaako ebirowoozo. Ensonga emu bwe yakuzibuwaliranga okutegeera, yakunnyonnyolebwanga. Oyo eyakuyigirizanga Baibuli, yategekanga bulungi, yasabanga omwoyo gwa Katonda, era n’akuyamba okusiima amazima mu mutima gwo.
7. Kiki ekisobozesa omuntu okufuna ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala amazima agakwata ku Katonda?
7 Okufuba okwo kwali kwetaagisa, kubanga Pawulo yawandiika: “Naye ayigirizibwanga ekigambo assenga ekimu n’oyo ayigiriza mu birungi byonna.” (Abaggalatiya 6:6) Ebigambo by’Oluyonaani ebikozeseddwa wano biraga nti enjigiriza z’Ekigambo kya Katonda zaatuukira ddala mu birowoozo ne mu mutima gw’oyo ‘ayigirizibwa.’ Olw’okuyigirizibwa mu ngeri eyo, kikusobozesa okufuna ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala. (Ebikolwa 18:25) Okusobola okutuukiriza okwewaayo kwo, olina okusigala ng’oli mulamu bulungi mu by’omwoyo era omunywevu, nga weeyongera okuyiga Ekigambo kya Katonda.—1 Timoseewo 4:13; Tito 1:13; 2:2.
Teweerabiranga Kwenenya Kwo n’Okukyuka
8. Kisoboka kitya okubeera n’empisa ennungi?
8 Ojjukira obuweerero bwe wafuna ng’oyize amazima, bwe weenenya, era n’owulira nga Katonda akusonyiye olw’okukkiriza kwe walina mu kinunulo kya Yesu? (Zabbuli 32:1-5; Abaruumi 5:8; 1 Peetero 3:18) Awatali kubuusabuusa tewandyagadde kuddayo mu bulamu obw’ekibi. (2 Peetero 2:20-22) Okusaba Yakuwa obutayosa kye kimu ku bintu ebijja okukuyamba okubeera n’empisa ennungi, okutuukiriza okwewaayo kwo, era n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.—2 Peetero 3:11, 12.
9. Oluvannyuma lw’okuleka ebikolwa ebikyamu, kkubo ki lye tulina okutambuliramu?
9 Oluvannyuma lw’okukyuka n’oleka ebikolwa ebikyamu, weeyongere okunoonya obuyambi bwa Katonda osobole okusigala ng’oli munywevu. Kiringa eyali akutte ekkubo ekkyamu naye n’okebera ku mmaapu eyeesigika era n’okyuka n’otandika okutambulira mu kkubo ettuufu. Kaakano tova mu kkubo eryo. Weeyongere okwesigama ku buyambi bwa Katonda, era obeere mumalirivu okusigala mu kkubo eryo erituusa mu bulamu.—Isaaya 30:20, 21; Matayo 7:13, 14.
Teweerabiranga Kwewaayo Kwo n’Okubatizibwa
10. Ku bikwata ku kwewaayo kwaffe, biki bye twandijjukidde?
10 Jjukira nti weewaayo eri Yakuwa mu kusaba ng’oyagala okumuweereza n’obwesigwa ebbanga lyonna. (Yuda 20, 21) Okwewaayo kitegeeza okwawulibwawo olw’obuweereza obutukuvu. (Eby’Abaleevi 15:31; 22:2) Teweewaayo kumala kaseera katono era teweewaayo okuba ng’ovunaanyizibwa buvunaanyizibwa eri abantu. Weewaayo emirembe gyonna eri Omufuzi w’Obutonde Bwonna, era okusobola okukituukiriza kyetaagisa okubeera omwesigwa gy’ali okutuusa okufa. Yee, ‘ka tubeere balamu oba bafu,’ tuli ba Yakuwa. (Abaruumi 14:7, 8) Ffe okubeera abasanyufu kyesigamye ku kukola ebyo Katonda by’ayagala era ne tweyongera okumuweereza n’omutima omunywevu.
11. Lwaki wandijjukidde okubatizibwa kwo n’amakulu agakulimu?
11 Bulijjo jjukira nti, okubatizibwa kwo kabonero akalaga okwewaayo kwo n’omutima gwonna eri Katonda. Tewali yakukaka kubatizibwa, wabula weesalirawo wekka okubatizibwa. Kaakano oli mumalirivu okukola ebyo by’oyagala naye nga bituukana n’ebyo Katonda by’ayagala ekiseera kyonna eky’obulamu bwo? Wasaba Katonda akuwe omuntu ow’omunda omulungi era n’obatizibwa ng’akabonero akalaga nti weewaddeyo gy’ali. Kuuma omuntu wo ow’omunda nga mulungi ng’otuukiriza okwewaayo kwo, era mu ngeri eyo ojja kufuna emikisa gya Yakuwa mingi.—Engero 10:22.
By’Oyagala Bizingirwamu
12, 13. Bye twagala bikwataganyizibwa bitya n’okwewaayo kwaffe n’okubatizibwa?
12 Mazima ddala, okwewaayo n’okubatizibwa bireetedde obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi emikisa mingi. Bwe tulaga okwewaayo kwaffe eri Katonda nga tubatizibwa, tufa ku bikwata ku bulamu bwaffe obw’emabega, kyokka tetulekaayo byonna bye twagala. Ng’abakkiriza abayigiriziddwa obulungi, twayoleka ekyo kye twagala bwe twewaayo eri Katonda mu kusaba era ne tubatizibwa. Okwewaayo eri Katonda era ne tubatizibwa kyetaagisa okutegeera ekyo Katonda ky’ayagala era ne tusalawo okukikola. (Abaefeso 5:17) Mu ngeri eyo, tukoppa Yesu eyasalawo ky’ayagala ng’aleka omulimu gwe ogw’obubazzi, n’abatizibwa, era ne yeemalira ku ebyo Kitaawe ow’omu ggulu by’ayagala.—Zabbuli 40:7, 8; Yokaana 6:38-40.
13 Yakuwa Katonda yayagala Omwana we ‘okutuukirizibwa ng’ayitira mu kubonyaabonyezebwa.’ N’olwekyo, Yesu yalina okwesalirawo ky’ayagala ng’agumiikiriza okubonyaabonyezebwa okwo era n’asigala nga mwesigwa. Okusobola okukikola, “yawaayo okwegayirira n’okusaba . . . n’okukaaba ennyo n’amaziga, era [n’a]wulirwa olw’okutya kwe [eri] Katonda.” (Abaebbulaniya 5:7) Singa naffe tutya Katonda mu ngeri eyo, tuba bakakafu nti ‘tujja kuwulirwa,’ era tuyinza okuba abagumu nti Yakuwa ajja kutunyweza ng’Abajulirwa be abeewaddeyo gy’ali.—Isaaya 43:10.
Osobola Okubeera n’Omutima Omunywevu
14. Lwaki twandisomye Baibuli buli lunaku?
14 Kiki ekinaakuyamba okubeera n’omutima omunywevu, osobole okutuukiriza okwewaayo kwo eri Katonda? Soma Baibuli buli lunaku ng’olina ekigendererwa eky’okumanya obulungi Ekigambo kya Katonda. Kino kye kintu ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ ky’atukubiriza entakera. Tukubirizibwa okukola ekyo olw’okuba okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe kitwetaagisa okweyongera okutambulira mu mazima ga Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa tebandikubiriziddwa kusoma Baibuli wadde abo be babuulira singa ekibiina kya Yakuwa mu bugenderevu kyali kikkiririza mu njigiriza ez’obulimba.
15. (a) Kiki ekisaanidde okulowoozebwako nga tusalawo? (b) Lwaki kiyinzika okugambibwa nti omulimu ogusobozesa okufuna ebyetaago si kye kintu ekisingayo obukulu eri Omukristaayo?
15 Bw’oba ng’osalawo, lowooza ku ngeri ekyo ky’osalawo gye kiyinza okukwata ku kutuukiriza okwewaayo kwo eri Yakuwa. Kiyinza okuba kikwata ku mulimu gw’okola. Ofuba okukozesa omulimu ogwo okugaziya okusinza okw’amazima? Wadde ng’okutwalira awamu abo abakozesa Abakristaayo abeewaddeyo bakizudde nti beesigika era nga bakola bulungi emirimu gyabwe, ate era bakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakulembeza kufuna bintu era tebavuganya n’abalala basobole okufuna ebifo ebya waggulu. Kino kiri bwe kityo kubanga ekigendererwa ky’Abajulirwa tekiri kufuna bya bugagga, ttutumu, kitiibwa, oba obuyinza. Ekintu ekisingayo obukulu eri abo abatuukiriza okwewaayo kwabwe eri Katonda, kwe kukola by’ayagala. Omulimu ogubasobozesa okufuna ebyetaago eby’obulamu si kye kintu ekisingayo obukulu. Okufaananako omutume Pawulo, omulimu gwabwe omukulu bwe buweereza obw’Ekikristaayo. (Ebikolwa 18:3, 4; 2 Abasessaloniika 3:7, 8; 1 Timoseewo 5:8) Okulembeza ebikwata ku Bwakabaka mu bulamu bwo?—Matayo 6:25-33.
16. Kiki kye tuyinza okukola singa okweraliikirira ekisukkiridde kyagala kutulemesa okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Katonda?
16 Abamu bayinza okuba nga baalina ebibeeraliikiriza bingi nga tebannayiga mazima. Naye nga baafuna essanyu ppitirivu era ne beeyongera okwagala Katonda bwe baayiga essuubi erikwata ku Bwakabaka! Bwe bafumiitiriza ku miganyulo gye bafunye okuva ku olwo kiyinza okubayamba okutuukiriza okwewaayo kwabwe eri Yakuwa. Ku luuyi olulala, kiri kitya singa okweraliikirira ekisukkiridde ebizibu eby’omu bulamu kirabika nga ekigenda okuzisa ‘ekigambo kya Katonda,’ ng’amaggwa bwe gayinza okulemesa ebimera okukula? (Lukka 8:7, 11, 14; Matayo 13:22; Makko 4:18, 19) Bw’okiraba nti kino kitandise okukutuukako oba ab’omu maka go, ebikweraliikiriza bikwase Yakuwa era omusabe akuyambe weeyongere okukulaakulana mu kwagala n’okusiima. Bw’omutikka omugugu gwo, ajja kukuwanirira era akuwe amaanyi weeyongere okumuweereza n’essanyu era n’omutima omunywevu.—Zabbuli 55:22; Abafiripi 4:6, 7; Okubikkulirwa 2:4.
17. Kisoboka kitya okwaŋŋanga ebigezo eby’amaanyi?
17 Weeyongere okusaba Yakuwa Katonda obutayosa, era nga bwe wamusaba nga weewaayo gy’ali. (Zabbuli 65:2) Bw’okemebwa okukola ekikyamu oba singa oyolekagana n’ekigezo eky’amaanyi, noonya obulagirizi bwa Katonda era omusabe akuyambe okubukolerako. Jjukira obukulu bw’okubeera n’okukkiriza, kuba omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Naye oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi [okusobola okwaŋŋanga ekigezo], asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky’abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng’ejjengo ery’ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng’aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; omuntu ow’emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.” (Yakobo 1:5-8) Ekigezo bwe kirabika ng’ekikusukkiriddeko, tuyinza okuba abakakafu ku kino: “Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.”—1 Abakkolinso 10:13.
18. Kiki kye tuyinza okukola singa ekibi eky’amaanyi ekikwekeddwa kinafuya obumalirivu bwaffe obw’okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Yakuwa?
18 Ate kiri kitya singa ekibi eky’amaanyi ekikwekeddwa kirumiriza omuntu wo ow’omunda era nga kinafuya obumalirivu bwo obw’okutuukiriza okwewaayo kwo eri Katonda? Bw’oba nga weenenyezza, osobola okubudaabudibwa okumanya nti Yakuwa ‘tagaya mmeeme zimenyese.’ (Zabbuli 51:17) Noonya obuyambi bw’abakadde Abakristaayo abaagazi ng’okimanyi nti okufaananako Yakuwa—tebajja kunyooma bumalirivu bw’olina obw’okuzzaawo enkolagana ennungi ne Kitaawo ow’omu ggulu. (Zabbuli 103:10-14; Yakobo 5:13-15) Bwe kityo nno, bw’oddamu amaanyi mu by’omwoyo era n’oddamu okufuna omutima omunywevu, ojja kusobola okutereeza amakubo go era okisange nga kisoboka okutuukiriza okwewaayo kwo eri Katonda.—Abaebbulaniya 12:12, 13.
Weeyongere Okuweereza Yakuwa n’Omutima Omunywevu
19, 20. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okutuukiriza okwewaayo kwaffe?
19 Mu biro bino eby’okulaba ennaku, tuteekwa okukola n’amaanyi okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe era n’okweyongera okuweereza Katonda n’omutima omunywevu. Yesu yagamba: “[Oyo] agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.” (Matayo 24:13) Okuva bwe kiri nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma,” enkomerero eyinza okujja ekiseera kyonna. (2 Timoseewo 3:1) Ate era, tewali n’omu ku ffe amanyi oba ng’enkya anaaba mulamu. (Yakobo 4:13, 14) N’olwekyo, kikulu nnyo okuba nti tutuukiriza okwewaayo kwaffe kati!
20 Kino omutume Peetero yakiggumiza mu bbaluwa ye ey’okubiri. Yagamba nti ng’abantu abatatya Katonda bwe baazikirizibwa mu Mataba, n’ensi ey’akabonero, kwe kugamba abantu ababi, ejja kuzikirizibwa ku ‘lunaku lwa Yakuwa.’ N’olwekyo, Peetero yabuuza: “Mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda”? Era yabakubiriza: “Abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuum[e]nga [okutwalirizibwa abayigiriza ab’obulimba n’abantu abatatya Katonda] muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe.” (2 Peetero 3:5-17) Nga kyandibadde kya nnaku nnyo singa omuntu omubatize atwalirizibwa mu ngeri eyo n’atuuka ku nkomerero y’obulamu bwe ng’omutima gwe si munywevu!
21, 22. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 57:7 byatuukirira bitya eri Dawudi, era bituukiridde bitya eri Abakristaayo ab’amazima?
21 Obumalirivu bwo obw’okweyongera okutuukiriza okwewaayo kwo eri Katonda busobola okunywezebwa singa olowooza ku kiseera eky’essanyu lwe wabatizibwa era n’onoonya obulagirizi bwe osobole okusanyusa omutima gwe mu bigambo ne mu bikolwa. (Engero 27:11) Yakuwa talekerera bantu be, era naffe twandibadde beesigwa gy’ali. (Zabbuli 94:14) Yalaga ekisa n’obusaasizi ng’agootaanya enteekateeka z’abalabe ba Dawudi era n’amununula. Nga musanyufu olw’ekyo, Dawudi yamalirira okunywerera ku Mununuzi we era n’okumwagala. Ng’akwatiddwako nnyo, yayimba bw’ati: “Omutima gwange gunywedde, ai Katonda omutima gwange gunywedde: ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby’okutendereza.”—Zabbuli 57:7.
22 Okufaananako Dawudi, Abakristaayo ab’amazima tebaleseeyo kwemalira ku Katonda. Nga balina omutima omunywevu batendereza Yakuwa nga bamuyimbira ennyimba kubanga ye yabanunula. Omutima gwo bwe guba omunywevu, gujja kwesiga Katonda, era ajja kukuyamba osobole okutuukiriza okwewaayo kwo. Yee, osobola okubeera ‘ng’omutuukirivu’ omuwandiisi wa Zabbuli gwe yayimbako: “Taatyenga bigambo bya bubi: omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.” (Zabbuli 112:6, 7) Ng’okkiririza mu Katonda era ng’omwesigira ddala, osobola okutuukiriza okwewaayo kwo era ne weeyongera okumuweereza n’omutima omunywevu.
Ojjukira?
• Lwaki twandyeyongedde okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Baibuli?
• Lwaki tetwandyerabidde kwenenyakwaffe n’okukyuka?
• Tuganyulwa tutya bwe tujjukira okwewaayo kwaffe n’okubatizibwa?
• Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima omunywevu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Okukulembeza obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo kituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima omunywevu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Okuuma embeera ennungi ey’eby’omwoyo nga weeyongera okuyiga Ekigambo kya Katonda buli lunaku?