LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w03 5/1 lup. 17-21
  • Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abo Abaanoonya Obulagirizi bwa Katonda
  • Baasaba Naye Tebaddibwamu
  • “Mufubenga Okumanya”
  • Teweerabira Kubuuza nti Yakuwa Ali Ludda Wa
  • Buuzanga nti ‘Yakuwa Ali ludda Wa?’
  • “Omulimu Gwammwe Guliweebwa Empeera”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Weeyise mu Ngeri ey’Amagezi mu Kiseera eky’Emirembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ab’oluganda Abavubuka—Muyinza Mutya Okuleetera Abalala Okubeesiga?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
w03 5/1 lup. 17-21

Obuuza Nti ‘Yakuwa Ali Ludda Wa?’

‘Bagenze wala okunvaako so tebayogera nti Yakuwa ali ludda wa?’​—YEREMIYA 2:5, 6, NW.

1. Abantu bwe babuuza nti “Katonda ali ludda wa?” kiki kye bayinza okuba nakyo mu birowoozo?

“KATONDA ali ludda wa?” Abantu bangi babuuzizza ekibuuzo ekyo. Abamu baagala bwagazi kumanya Omutonzi gy’abeera? Abalala beebuuza ekibuuzo ekyo oluvannyuma lw’akatyabaga ak’amaanyi okugwawo oba bo bennyini bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi ng’era tebategeera lwaki Katonda tayingira mu nsonga. Kyokka, abalala tebeebuuza kibuuzo ekyo kubanga tebakkiriza nti Katonda gyali.​—Zabbuli 10:4.

2. Baani abasobodde okuzuula Katonda?

2 Kya lwatu, waliwo bangi abakkiriza obujulizi obulaga nti Katonda gyali. (Zabbuli 19:1; 104:24) Abamu ku bano baba bamativu bwe babeera mu ddiini emu. Naye, okwagala ennyo amazima kuleetedde obukadde n’obukadde obw’abalala mu nsi yonna okunoonya Katonda ow’amazima. Okufuba kwabwe tekubadde kwa bwereere kubanga “tali wala wa buli omu ku ffe.”​—Ebikolwa 17:26-28.

3. (a) Ekifo Katonda gy’abeera kiri ludda wa? (b) Kiki ekizingirwa mu kibuuzo kino eky’omu byawandiikibwa nti ‘Yakuwa ali ludda wa?’

3 Ddala omuntu bw’azuula Yakuwa, akitegeera nti “Katonda Mwoyo” era tayinza kulabibwa bantu. (Yokaana 4:24) Yesu yayogera ku Katonda ow’amazima nga “Kitange ali mu ggulu.” Kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti ettwale Kitaffe ow’omu ggulu ly’abeeramu lya mwoyo, lya waggulu nnyo ng’eggulu bwe liri waggulu ennyo ku nsi. (Matayo 12:50; Isaaya 63:15) Newakubadde nga tetusobola kulaba Katonda, atusobozese okumumanya n’okuyiga bingi ebikwata ku bigendererwa bye. (Okuva 33:20; 34:6, 7) Addamu ebibuuzo ebibuuzibwa abantu abeesimbu abaagala okumanya ekigendererwa ky’obulamu. Ku bintu ebikwata ku bulamu bwaffe, atutegeeza bye tusinziirako okutegeera ekifo kye, kwe kugamba engeri gy’alabamu ebintu, era n’okulaba obanga ebiruubirirwa byaffe bituukana n’ebigendererwa bye. Ayagala twebuuze ku bintu ebikwata ku bulamu bwaffe era tufunvubire okuzuula eby’okuddamu. Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yanenya abantu b’omu Isiraeri ey’edda kubanga baalemwa okukola ekyo. Baali bamanyi erinnya lya Katonda naye tebaabuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’ (Yeremiya 2:6, NW) Ekigendererwa kya Yakuwa tebaakitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Baali tebanoonya bulagirizi bwe. Bw’oyolekagana n’eby’okusalawo, ka bibe bitono oba binene obuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’

Abo Abaanoonya Obulagirizi bwa Katonda

4. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Dawudi eky’okwebuuza ku Yakuwa?

4 Bwe yali akyali muto, Dawudi mutabani wa Yese yakulaakulanya okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Yali amanyi nti Yakuwa ye “Katonda omulamu.” Dawudi kennyini yafunako obukuumi bwa Yakuwa. Ng’akubirizibwa okukkiriza n’okwagala kwe yalina eri “erinnya lya Yakuwa,” Dawudi yatta Omufirisuuti omuwagguufu eyalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi. (1 Samwiri 17:26, 34-51) Kyokka, obuwanguzi bwa Dawudi tebwamuleetera kwekakasa kisukkiridde. Teyalowooza nti okuva ku olwo, buli kimu kye yandikoze Yakuwa yandimuwadde omukisa. Enfunda n’enfunda mu myaka egyaddirira, Dawudi yeebuuzanga ku Yakuwa bwe yayolekagananga n’ebizibu. (1 Samwiri 23:2; 30:8; 2 Samwiri 2:1; 5:19) Yeeyongera n’asaba: “Ondage amakubo go ai Mukama; onjigirizenga empenda zo. Onnuŋŋamye mu mazima go onjigirize; kubanga ggwe oli Katonda ow’obulokozi bwange; ggwe gwe nnindiridde obudde okuziba.” (Zabbuli 25:4, 5) Nga kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli okugoberera!

5, 6. Yekosafaati yanoonya atya Yakuwa emirundi egy’enjawulo mu bulamu bwe?

5 Mu nnaku za Kabaka Yekosafaati, ng’ono ye yali ow’okutaano mu lunyiriri lwa Dawudi, amagye okuva mu mawanga asatu geegatta okulwanyisa Yuda. Bwe yayolekagana n’akabi kano akakwata ku ggwanga lyonna, Yekosafaati ‘yeeteekateeka okunoonya Yakuwa.’ (2 Ebyomumirembe 20:1-3) Guno si gwe gwali omulundi ogusooka Yekosofaati okunoonya Yakuwa. Kabaka ono yali yeesambye okusinza kwa Baali okwali kwettanirwa ennyo eggwanga kyewaggula erya Isiraeri oy’omu bukiika kkono, era yali asazeewo okutambulira mu makubo ga Yakuwa. (2 Ebyomumirembe 17:3, 4) N’olwekyo bwe yayolekagana n’ekizibu kino, Yekosafaati ‘yanoonya atya Yakuwa’?

6 Bwe yali asaba mu lujjudde mu Yerusaalemi mu kaseera kano akazibu, Yekosafaati yakiraga nti yali ajjukidde amaanyi ga Yakuwa omuyinza w’ebintu byonna. Yali alowoozezza nnyo ku kigendererwa kya Yakuwa ekyeyoleka bwe yagoba amawanga mu nsi, era ebitundu ebimu eby’ensi n’abiwa Abaisiraeri ng’obusika. Kabaka yakkiriza nti yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa. (2 Ebyomumirembe 20:6-12) Yakuwa yakkiriza okuzuulibwa ku mulundi ogwo? Mazima ddala yakkiriza. Ng’ayitira mu Yakaziyeeri Omuleevi, Yakuwa yawa obulagirizi obw’enjawulo, era olunaku olwaddako Yatuusa abantu be ku buwanguzi. (2 Ebyomumirembe 20:14-28) Osobola otya okuba omukakafu nti naawe Yakuwa anaakuleka okumuzuula bw’onoomusaba okukuwa obulagirizi?

7. Katonda awulira kusaba kwa baani?

7 Yakuwa tasosola. Akubiriza abantu mu buli ggwanga okumunoonya nga bayitira mu kusaba. (Zabbuli 65:2; Ebikolwa 10:34, 35) Amanyi ebyo ebiri mu mitima gy’abo abamukoowoola. Atukakasa nti awulira okusaba kw’abatuukirivu. (Engero 15:29) Akkiriza okuzuulibwa abo okusooka abaali batamuliiko kyokka nga kati mu buwombeefu banoonya obulagirizi bwe. (Isaaya 65:1) Era awulira essaala z’abo ababa baalemererwa okukwata amateeka ge kyokka nga kati mu buwombeefu beenenya. (Zabbuli 32:5, 6; Ebikolwa 3:19) Kyokka, omutima gw’omuntu bwe guba nga tegugondera Katonda, essaala z’omuntu oyo ziba za bwereere. (Makko 7:6, 7) Weetegereze ebimu ku byokulabirako ebiddirira.

Baasaba Naye Tebaddibwamu

8. Kiki ekyaviirako essaala za Kabaka Sawulo obutakkirizibwa Yakuwa?

8 Oluvannyuma lwa nnabbi Samwiri okugamba Kabaka Sawulo nti Katonda yali amugaanyi olw’obujeemu bwe, Sawulo yavuunamira Yakuwa. (1 Samwiri 15:30, 31) Naye okwo kwali kutuukiriza butuukiriza mukolo. Sawulo yali tayagala kugondera Katonda wabula yali ayagala kufuna kitiibwa mu maaso g’abantu. Oluvannyuma, Abafirisuuti bwe balwana ne Isiraeri, Sawulo yeebuuza ku Yakuwa. Kyokka bw’ataddibwamu, yagenda ne yeebuuza ku musamize newakubadde nga yali amanyi nti kino Yakuwa takikkiriza. (Ekyamateeka 18:10-12; 1 Samwiri 28:6, 7) Mu kuwumbawumbako ensonga eyo, 1 Ebyomumirembe 10:14 (NW) woogera bwe wati ku Sawulo: “Teyeebuuza ku Yakuwa.” Lwaki? Lwakuba essaala za Sawulo tezaava mu mutima. N’olwekyo, yali ng’atasabidde ddala.

9. Kikyamu ki ekyali mu ngeri Zeddekiya gye yeegayiriramu Yakuwa okumuwa obulagirizi?

9 Mu ngeri y’emu, ng’enkomerero y’obwakabaka bwa Yuda egenda esembera, essaala nyingi zaasabibwanga era bannabbi ba Yakuwa beebuuzibwangako. Kyokka, abantu baagambanga nti bassaamu Yakuwa ekitiibwa ng’ate mu kiseera kye kimu basinza ebifaananyi. (Zeffaniya 1:4-6) Wadde nga beebuuza ku Katonda, tebaateekateeka mitima gyabwe okukola by’ayagala. Kabaka Zeddekiya yeegayirira Yeremiya abuuze Yakuwa ku lulwe. Yakuwa yali amaze okubuulira kabaka kye yali alina okukola. Naye olw’obutaba na kukkiriza era n’okutya abantu, kabaka teyagondera ddoboozi lya Yakuwa, era Yakuwa talina kirala kyonna kye yayongera kumugamba, oboolyawo kabaka kye yandyagadde okuwulira.​—Yeremiya 21:1-12; 38:14-19.

10. Kikyamu ki ekyali mu ngeri Yokanani gye yanoonyamu obulagirizi bwa Yakuwa, era kiki kye tuyigira ku nsobi eyo?

10 Nga Yerusaalemi kimaze okuzikirizibwa era nga n’amagye ga Babulooni gatutte Abayudaaya mu buwaŋŋanguse, Yokanani yateekateeka okutwala mu Misiri ekibiina ekitono eky’Abayudaaya abaali basigaddewo mu Yuda. Enteekateeka zaabwe zaakolebwa, naye nga tebannagenda, baasaba Yeremiya abasabire era abanoonyeze obulagirizi okuva eri Yakuwa. Kyokka, bwe bataddibwamu mu ngeri gye baali baagala, baagenda mu maaso n’enteekateeka zaabwe. (Yeremiya 41:16–43:7) Mu byaliwo bino olabamu eby’okuyiga ebiyinza okukuganyula ne kiba nti bw’onoonoonya Yakuwa anakkiriza omuzuule?

“Mufubenga Okumanya”

11. Lwaki twetaaga okukolera ku Abaefeso 5:10?

11 Okusinza okw’amazima kusingawo ku kwoleka okwewaayo kwaffe nga tunnyikibwa mu mazzi, okubeerangawo mu nkuŋŋaana era n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Obulamu bwaffe bwonna buzingirwamu. Buli lunaku twolekagana n’ebizibu ebiyinza okutujja mu kkubo ery’okutya Katonda. Ebizibu ebimu si byangu bya kulaba kyokka ebirala byo byeyolekerawo. Tunaasobola tutya okwaŋŋanga ebizibu bino? Ng’awandiikira Abakristaayo abeesigwa mu Efeso, omutume Pawulo yabagamba: “Mufubenga okumanya ekikkirizibwa Yakuwa.” (Abaefeso 5:10, NW) Emiganyulo egiri mu kukola kino giragibwa mu mbeera nnyingi ezoogerwako mu Byawandiikibwa.

12. Lwaki Yakuwa teyasanyuka Dawudi bwe yatwala essanduuko e Yerusaalemi?

12 Oluvannyuma lw’essanduuko y’endagaano okukomezebwawo mu Isiraeri, era ng’okumala emyaka yali eterekeddwa e Kiriyasuyalimu, Kabaka Dawudi yayagala okugitwala e Yerusaalemi. Yeebuuza ku baami n’abakulu b’ebika n’abagamba nti Essanduuko yanditwaliddwa singa baali ‘bakisiima era nga kikkirizibwa Yakuwa Katonda waabwe.’ Naye teyanoonya kimala okuzuula ki Yakuwa kye yali ayagala ku nsonga eyo. Singa yali akikoze, Essanduuko teyanditeekeddwa ku ggaali. Yandibadde esitulibwa Abaleevi Abakokasi ku bibegabega byabwe nga Katonda bwe yali alagidde. Wadde ng’emirundi mingi Dawudi yeebuuzanga ku Yakuwa, ku mulundi guno yalemererwa okukikola. Ebyavaamu byali bibi nnyo. Oluvannyuma Dawudi yagamba: “Mukama Katonda waffe kye yava atuwamattukirako, kubanga tetwamunoonya ng’ekiragiro kye bwe kyali.”​—1 Ebyomumirembe 13:1-3; 15:11-13; Okubala 4:4-6, 15; 7:1-9.

13. Oluyimba olwayimbibwa Essanduuko bwe yatwalibwa lwalimu kujjukizibwa ki?

13 Oluvannyuma, Essanduuko bwe yasitulibwa Abaleevi okuva mu nnyumba ya Obededomu okugitwala e Yerusaalemi, oluyimba olwayiiyizibwa Dawudi lwayimbibwa. Lwalimu okujjukizibwa okuva mu mutima: “Munoonye Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna. Mujjukire eby’amagero bye yakola; eby’ekitalo bye n’emisango egy’akamwa ke.”​—1 Ebyomumirembe 16:11, 12.

14. Tusobola tutya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Sulemaani ekirungi era n’ensobi ze yakola oluvanyuma mu bulamu bwe?

14 Nga tannafa, Dawudi yabuulirira mutabani we Sulemaani: ‘Bw’onaanoonyanga Yakuwa, anaalabikanga gy’oli.’ (1 Ebyomumirembe 28:9) Oluvannyuma lw’okufuuka kabaka, Sulemaani yagenda e Gibyoni awaali eweema ey’okusisinkanirangamu, n’awaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Ng’ali eyo, Yakuwa yamugamba: “Saba kye mba nkuwa.” Mu kuddamu okusaba kwa Sulemaani, Yakuwa yamuwa amagezi n’okumanya asobole okulamula Isiraeri, era yamuwa obugagga n’ekitiibwa. (2 Ebyomumirembe 1:3-12) Ng’akolera ku pulaani Yakuwa gye yawa Dawudi, Sulemaani yazimba yeekaalu ennene ennyo. Naye ku bikwata ku by’obufumbo, Sulemaani yalemererwa okunoonya Yakuwa. Yawasa abakazi abataali basinza ba Yakuwa. Mu myaka gye egy’oluvannyuma, baasendasenda omutima gwe okuguggya ku Yakuwa. (1 Bassekabaka 11:1-10) Ka tube nti tuli bamanyifu, bagezi oba abalina okumanya okungi, ‘kikulu nnyo okufubanga okumanya ekikkirizibwa Yakuwa!’

15. Zeera Omwesiyopiya bwe yalumba Yuda, lwaki Asa yali asobola okusaba ng’alina obwesige nti Yakuwa ajja kununula Yuda?

15 Obwetaavu bwa kino buggumizibwa ebyo ebikwata ku bwakabaka bwa Asa muzzukulu wa Sulemaani. Oluvannyuma lw’emyaka 11 ng’amaze okufuuka kabaka, Zeera Omwesiyopiya yakulembera akakadde kalamba ak’amagye okulumba Yuda. Yakuwa yandiwonyezawo Yuda? Emyaka 500 emabega, Yakuwa yali alaze bulungi ekyo abantu be kye bandisuubidde singa baawuliriza eddoboozi lye era ne bakwata n’amateeka ge, era n’ekyo kye bandisuubidde singa baajeema. (Ekyamateeka 28:1, 7, 15, 25) Ku ntandikwa y’obufuzi bwe, Asa yaggya mu twale lye ebyoto n’empagi ebyakozesebwanga mu kusinza okw’obulimba. Yali akubirizza abantu ‘okunoonya Yakuwa’ era kino yakikola nga tannayolekagana na kabi konna. N’olwekyo, ng’alina okukkiriza okunywevu mu Yakuwa, Asa yali asobola okumusaba abayambe. Biki ebyavaamu? Yuda yaweebwa obuwanguzi obwewuunyisa ennyo.​—2 Ebyomumirembe 14:2-12.

16, 17. (a) Wadde nga Asa yali atuuse ku buwanguzi, Yakuwa yamujjukiza ki? (b) Asa bw’ateeyisa mu ngeri ey’amagezi yaweebwa buyambi ki, naye yeeyisa atya? (c) Tusobola tutya okuganyulwa mu kwekenneenya enneeyisa ya Asa?

16 Kyokka, Asa bwe yatuuka ku buwanguzi, Yakuwa yasindika Azaliya okumusisinkana era amugambe bw’ati: “Mumpulire mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.” (2 Ebyomumirembe 15:2) Ng’aziddwamu amaanyi, Asa yatumbula okusinza okw’amazima. Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka 24, Asa bwe yaddamu okwolekagana n’olutalo, yalemererwa okunoonya Yakuwa. Teyeebuuza ku Kigambo kya Katonda era teyajjukira ekyo Yakuwa kye yali akoze amagye g’Abesiyopiya bwe gaali galumbye Yuda. Eky’obusiru, yakolagana na Busuuli.​—2 Ebyomumirembe 16:1-6.

17 Olw’okukola ekyo, Yakuwa yasindika nnabbi Kanani okuwabula Asa. Ne mu kiseera ekyo, ng’engeri Yakuwa gye yali alabyemu ensonga ennyonnyolwa, Asa yandibadde aganyulwa. Mu kifo ky’ekyo, Asa yasunguwala era n’ateeka Kanani mu nju ey’ekkomera. (2 Ebyomumirembe 16:7-10) Nga kyali kinnakuwaza nnyo! Kiri kitya gye tuli? Tunoonya Katonda, kyokka ate ne tutakkiriza kuwabulibwa? Abakadde abafaayo bwe bakozesa Baibuli okutuwabula kubanga tutwalirizibwa ensi, tusiima obuyambi ng’obwo obutuweebwa okusobola okumanya ekyo ‘ekikkirizibwa Yakuwa’?

Teweerabira Kubuuza nti Yakuwa Ali Ludda Wa

18. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ebyo Eriku bye yagamba Yobu?

18 Mu mbeera enzibu n’omuntu aweerezza Yakuwa n’obwesigwa ayinza okulemererwa okukola ekyo Yakuwa ky’asiima. Yobu bwe yakwatibwa endwadde ey’akabi, n’afiirwa abaana be n’ebintu bye era ne mikwano gye ne bamulumiriza eby’obulimba, kyamuleetera okwerowoozako ennyo. Eriku yamujjukiza: ‘Tewali n’omu agambye nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa.’ (Yobu 35:10) Yobu yali yeetaaga okwesiga Yakuwa era n’okwetegereza engeri gye yali atunuuliramu embeera eyo. Mu buwombeefu, Yobu yakkiriza okuwabulwa okwo era ekyokulabirako kye ekirungi kisobola okutuyamba ne tukola kye kimu.

19. Emirundi mingi abantu b’omu Isiraeri baalemererwa kukola ki?

19 Abantu b’omu Isiraeri baali bamanyi bulungi engeri Katonda gye yakolaganamu n’eggwanga lyabwe. Naye emirundi mingi bwe baabeeranga n’ensonga ez’okukolako mu bulamu bwabwe, tebajjukiranga ebyo Yakuwa bye yali akoze mu biseera eby’emabega. (Yeremiya 2:5, 6, 8) Bwe baayolekagananga n’eby’okusalawo mu bulamu, baakolanga ebyo ebyali ebirungi mu maaso gaabwe mu kifo ky’okubuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’​—Isaaya 5:11, 12.

Buuzanga nti ‘Yakuwa Ali ludda Wa?’

20, 21. (a) Baani leero abalaze omwoyo gwa Erisa mu kunoonya obulagirizi bwa Yakuwa? (b) Tusobola tutya okukoppa era ne tuganyulwa mu kyokulabirako kyabwe eky’okukkiriza?

20 Obuweereza bwa Eriya bwe bwakomekkerezebwa, Erisa omuweereza we yatwala ekyambalo kya Eriya eky’obuweereza n’agenda ku mugga Yoludaani n’akikuba ku mazzi n’agamba nti: “Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya?” (2 Bassekabaka 2:14) Yakuwa yaddamu ng’alaga nti omwoyo gwe kati gwali ku Erisa. Kiki kye tuyinza okuyigira ku kino?

21 Ekintu ekikifaananako kyabaawo mu kiseera kyaffe. Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta abaali bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira baafa. Abo abaaweebwa obuvunaanyizibwa mu kiseera ekyo beekenneenya Ebyawandiikibwa era ne basaba Yakuwa obulagirizi. Tebaalemererwa kubuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’ N’ekivuddemu, Yakuwa yeeyongedde okukulembera abantu be, era n’awa omulimu gwabwe emikisa. Tukoppa okukkiriza kwabwe? (Abaebbulaniya 13:7) Bwe kiba bwe kityo, tujja kunywerera ku kibiina kya Yakuwa, tukolere ku bulagirizi bwakyo era twenyigire mu bujjuvu mu mulimu gwe kikola wansi w’obulagirizi bwa Yesu Kristo.​—Zekkaliya 8:23.

Wandizzeemu Otya?

• Tusaanidde kuba na kigendererwa ki mu kubuuza nti ‘Yakuwa ali ludda wa?’

• Leero tuyinza tutya okuzuula eky’okuddamu mu kibuuzo ‘Yakuwa ali ludda wa?’

• Lwaki essaala nyingi abantu ze basaba okufuna obulagirizi bwa Katonda teziddibwamu?

• Byakulabirako ki okuva mu Baibuli ebiraga obwetaavu ‘bw’okufubanga okumanya ekikkirizibwa Yakuwa’?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Lwaki Sawulo yeebuuza ku musamize?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

Saba, weesomese, era fumiitiriza okusobola okuzuula ‘wa Yakuwa gy’ali’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share