Obukulu bwa Yakuwa Tebunoonyezeka
“Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo n’obukulu bwe tebunoonyezeka.”—ZABBULI 145:3.
1, 2. Dawudi yali muntu wa ngeri ki, era yeetwala atya mu maaso ga Katonda?
EYAYIIYA Zabbuli 145, y’omu ku basajja abamanyiddwa ennyo mu byafaayo. Ng’akyali muto, yayambalagana n’omuserikale omuwagguufu era n’amutta. Era, nga kabaka omulwanyi, omuwandiisi wa Zabbuli oyo yawangula abalabe bangi. Yali ayitibwa Dawudi, era ye yali kabaka ow’okubiri owa Isiraeri. Ebintu Dawudi bye yakola tebyerabirwa wadde n’oluvannyuma lw’okufa kwe, ne kiba nti ne leero, obukadde n’obukadde bw’abantu balina kye bamumanyiiko.
2 Wadde nga Dawudi yakola ebintu bingi eby’ekitalo, teyeegulumiza. Yayimba bw’ati ku Yakuwa: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, oba omwana w’omuntu, ggwe okumujjira?” (Zabbuli 8:3, 4) Mu kifo ky’okulowooza nti yali wa kitalo, Dawudi yagamba nti Yakuwa ye yali amuwonyezza abalabe be era yamwogerako bw’ati: “Ompadde engabo ey’obulokozi bwo: n’obuwombeefu bwo bungulumizizza.” (2 Samwiri 22:1, 2, 36) Yakuwa alaga obuwombeefu ng’asaasira aboonoonyi, era Dawudi yasiima nnyo ekisa kya Katonda.
‘Nnaagulumizanga Katonda Wange Kabaka’
3. (a) Ani Dawudi gwe yatwala okubeera kabaka wa Isiraeri? (b) Dawudi yayagala okutendereza Yakuwa kumala bbanga ki?
3 Wadde nga Dawudi yali kabaka alondeddwa Katonda, yakitwala nti Yakuwa kennyini ye yali Kabaka wa Isiraeri. Yagamba: “Obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna.” (1 Ebyomumirembe 29:11) Nga Dawudi yawa nnyo Katonda ekitiibwa ng’Omufuzi! Yagamba: ‘Nnaakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; era nneebazanga erinnya lyo emirembe n’emirembe. Buli lunaku nnaakwebazanga; Era nnaatenderezanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.’ (Zabbuli 145:1, 2) Dawudi yayagala nnyo okutendereza Yakuwa Katonda olunaku lwonna era n’emirembe gyonna.
4. Zabbuli 145 eyanika bulimba ki?
4 Zabbuli 145 eyamba okuddamu ebyo Setaani bye yakonjera Katonda nti mufuzi eyeerowoozaako yekka era atawa bitonde bye ddembe. (Olubereberye 3:1-5) Zabbuli eno era eyanika obulimba bwa Setaani nti abantu bagondera Katonda lwa kuba balina bye bamufunako, so si nti bamwagala. (Yobu 1:9-11; 2:4, 5) Okufaananako Dawudi, Abakristaayo ab’amazima leero nabo booleka nti ebyo Omulyolyomi bye yayogera bya bulimba. Essuubi lyabwe ery’okufuna obulamu obutaggwaawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka balitwala nga lya muwendo nnyo kubanga baagala okutendereza Yakuwa emirembe gyonna. Obukadde n’obukadde baatandika dda okukola ekyo nga bakkiririza mu kinunulo kya Yesu era nga baweereza Yakuwa olw’okuba bamwagala ng’abasinza be abeewaddeyo era ne babatizibwa.—Abaruumi 5:8; 1 Yokaana 5:3.
5, 6. Bintu ki ebitusobozesa okugulumiza n’okutendereza Yakuwa?
5 Lowooza ku nkizo ennyingi ze tulina ez’okutendereza Yakuwa ng’abaweereza be. Ekyo tusobola okukikola okuyitira mu kusaba bwe wabaawo ekintu ekitukutteko ennyo nga tusoma Ekigambo kye, Baibuli. Tusobola okutendereza n’okwebaza Yakuwa bwe tulowooza ku ngeri gy’akolaganamu n’abantu oba bwe wabaawo ekintu ekitusanyusizza ku bitonde bye. Era tugulumiza Yakuwa Katonda bwe tukubaganya ebirowoozo ku bigendererwa bye nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ne bakkiriza bannaffe oba bwe tuba tunyumya nabo. Mu butuufu, ‘ebintu ebirungi’ byonna ebikolebwa okuwagira Obwakabaka bwa Katonda, bimuweesa ekitiibwa.—Matayo 5:16.
6 Ebikolwa ebirungi ng’ebyo ebyakabaawo bizingiramu okuzimba ebifo bingi eby’okusinzizaamu mu nsi enjavu. Bingi ku ebyo bizimbiddwa olw’obuyambi obw’eby’ensimbi eziweereddwayo bakkiriza bannaabwe abali mu nsi endala. Abakristaayo abamu bagenda kyeyagalire mu bitundu ng’ebyo okwenyigira mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Era n’ekikolwa ekisinga byonna obulungi, kye ky’okutendereza Yakuwa nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Matayo 24:14) Ng’ennyiriri eziddako mu Zabbuli 145 bwe ziraga, Dawudi yasiima obufuzi bwa Yakuwa era n’abugulumiza. (Zabbuli 145:11, 12) Naawe osiima engeri ey’okwagala Katonda gy’afugamu? Era otegeeza abantu Obwakabaka bwa Katonda obutayosa?
Ebyokulabirako Ebyoleka Obukulu bwa Katonda
7. Waayo ensonga emu enkulu etuleetera okutendereza Yakuwa.
7 Zabbuli 145:3 etuwa ensonga enkulu ennyo ey’okutendereza Yakuwa. Dawudi agamba: “Mukama mukulu era agwana okutenderezebwa ennyo n’obukulu bwe tebunoonyezeka.” Obukulu bwa Yakuwa tebukoma. Tebunoonyezeka, tebutegeerekeka era tebuyinza kupimibwa bantu. Naye kati tujja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya ebyokulabirako ebikwata ku bukulu bwa Yakuwa obutanoonyezeka.
8. Obwengula bwoleka ki ekikwata ku bukulu n’amaanyi ga Yakuwa?
8 Gezaako okujjukira lwe wali mu kitundu omutali mataala n’otunula ku ggulu okutaali bire. Teweewuunya nnyo bwe walaba olukunkumuli lw’emmunyeenye eziri ku ggulu? Bye walaba tebyakuleetera okutendereza Yakuwa olw’okutonda emmunyeenye ezo eziri mu bwengula? Kyokka, ze walaba, zaali ntono nnyo ku ezo eziri mu kibinja ky’emmunyeenye ensi yaffe mw’eri. Okugatta ku ekyo, kiteeberezebwa nti waliwo ebibinja by’emmunyeenye ebisukka mu buwumbi 100, era nga bisatu byokka ku byo bye biyinza okulabibwa awatali kukozesa kyuma ekizimbulukusa. Mazima ddala, emmunyeenye n’ebibinja by’emmunyeenye ebitabalika ebiri mu bwagguuga bw’obwengula, bujulizi obulaga amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda n’obukulu bwe obutanoonyezeka.—Isaaya 40:26.
9, 10. (a) Bintu ki ebikwata ku bukulu bwa Yakuwa ebyeyolese okuyitira mu Yesu Kristo? (b) Okuzuukira kwa Yesu kwandikutte kutya ku kukkiriza kwaffe?
9 Lowooza ku bintu ebirala ebyoleka obukulu bwa Yakuwa—ebyo ebikwata ku Yesu Kristo. Obukulu bwa Katonda bwalabikira mu kutonda Omwana we era n’okumukozesa okumala emyaka n’emyaka “ng’omukoza” we. (Engero 8:22-31) Okwagala kwa Yakuwa okungi kweyoleka bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka okuba ekinunulo ku lw’abantu. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16; 1 Yokaana 2:1, 2) Era n’ekisukka ku kutegeera kw’omuntu, gwe mubiri ogw’ekitiibwa ogw’omwoyo ogutayinza kuzikirizibwa Yakuwa gwe yawa Yesu mu kuzuukira kwe.—1 Peetero 3:18.
10 Okuzuukira kwa Yesu kwazingiramu ebintu bingi ebiwuniikiriza era ebyoleka obukulu bwa Yakuwa obutanoonyezeka. Awatali kubuusabuusa, Katonda yasobozesa Yesu okujjukira omulimu ogukwata ku kutonda ebintu ebirabika n’ebitalabika. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Ebintu ebyo bizingiramu ebitonde eby’omwoyo ebirala, obwengula, ensi, n’ebintu byonna ebirina obulamu ebiri ku nsi. Ng’oggyeko okusobozesa Omwana we okujjukira byonna ebikwata ku bulamu obw’omu ggulu n’obw’oku nsi nga tannajja ku nsi ng’omuntu, Yakuwa era yamujjukiza n’ebyo bye yayitamu ku nsi ng’omuntu atuukiridde. Yee, obukulu bwa Yakuwa obutanoonyezeka bulabikira mu kuzuukira kwa Yesu. Ate era, ekikolwa ekyo eky’ekitalo bukakafu obulaga nti n’abalala basobola okuzuukira. Era kisaanidde okunyweza okukkiriza kwaffe nti Katonda asobola okuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa.—Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 17:31.
Ebikolwa eby’Ekitalo
11. Kikolwa ki eky’ekitalo Yakuwa kye yakola ku Pentekoote 33 C.E.?
11 Okuva ku kuzuukira kwa Yesu, Yakuwa akoze ebikolwa ebirala bingi eby’ekitalo. (Zabbuli 40:5) Ku Pentekoote 33 C.E., Yakuwa yassaawo eggwanga eppya, “Isiraeri wa Katonda,” eririmu abayigirizwa ba Kristo abaafukibwako omwoyo omutukuvu. (Abaggalatiya 6:16) Mu ngeri ey’ekitalo, eggwanga lino eppya lyabuna mu nsi yonna eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. Wadde nga waaliwo obwewagguzi obwasibukamu Kristendomu oluvannyuma lw’okufa kw’abatume ba Yesu, Yakuwa yeeyongera okukola ebintu eby’ekitalo okusobola okukakasa nti ebigendererwa bye bituukirizibwa.
12. Olw’okuba Baibuli eri mu nnimi ezikozesebwa ennyo mu nsi leero, ekyo kiraga ki?
12 Ng’ekyokulabirako, Baibuli yonna yakuumibwa era oluvannyuma n’evvuunulwa mu nnimi zonna ezikozesebwa ennyo mu nsi leero. Baibuli yavvuunulwa mu mbeera enzibu era abantu ba Setaani baatiisatiisa okutta abaali bagivvuunula. Mazima ddala, Baibuli teyandisobose kuvvuunulwa mu nnimi ezisukka mu 2,000 singa okwo tekwali kwagala kwa Yakuwa, Katonda atanoonyezeka!
13. Okuva mu 1914, obukulu bwa Yakuwa bweyolekedde butya mu bigendererwa bye eby’Obwakabaka bwe?
13 Obukulu bwa Yakuwa bweyolekedde mu bigendererwa by’Obwakabaka bwe. Ng’ekyokulabirako, mu mwaka 1914, yafuula Omwana we, Yesu Kristo, okuba Kabaka ow’omu ggulu. Amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yalwanyisa Setaani ne balubaale be. Baagobebwa mu ggulu ne basuulibwa ku nsi, era nga kati balindirira okusuulibwa mu bunnya obutakoma. (Okubikkulirwa 12:9-12; 20:1-3) Okuva olwo, abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta, beeyongedde okuyigganyizibwa. Kyokka, Yakuwa abakuumye mu kiseera kino eky’okubeerawo kwa Kristo okutalabika.—Matayo 24:3; Okubikkulirwa 12:17.
14. Mulimu ki omukulu Yakuwa gwe yakola mu 1919, era ekyo kyatuukiriza ki?
14 Mu mwaka 1919, Yakuwa yakola ekintu ekirala ekyewuunyisa ekyayoleka obukulu bwe. Abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta abaali batakyabuulira, baddamu okubuulira. (Okubikkulirwa 11:3-11) Mu myaka egyaddirira okuva olwo, abaafukibwako amafuta babuulidde n’obunyiikivu amawulire amalungi agakwata ku kussibwawo kw’Obwakabaka obw’omu ggulu. Abaafukibwako amafuta abalala bakuŋŋaanyiziddwa okusobola okumalayo omuwendo omujjuvu ogwa 144,000. (Okubikkulirwa 14:1-3) Era okuyitira mu bagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, Yakuwa yateekawo omusingi ‘ogw’ensi empya,’ olubu lw’abantu abatuukirivu. (Okubikkulirwa 21:1) Naye kiki ekijja okutuuka ku ‘nsi empya’ ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna bamaze okugenda mu ggulu?
15. Mulimu ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe bawomyemu omutwe, era biki ebivuddemu?
15 Mu 1935, Watchtower eya Agusito 1 ne Agusito 15, zaalimu ebitundu ebyali bikwata ku ‘kibiina ekinene’ ekyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 7. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baatandika okunoonya basinza bannaabwe abo okuva mu mawanga gonna, n’ebika, n’abantu n’ennimi. “Ekibiina ekinene” kino kijja kuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” ekibindabinda, era balina essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna ku “nsi.” (Okubikkulirwa 7:9-14) Olw’okuba abaafukibwako amafuta bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa, kati abantu abasukka mu bukadde mukaaga balina essuubi ery’okufuna obulamu ku nsi emirembe gyonna. Ani agwanidde okutenderezebwa olw’okweyongerayongera okwo okubaddewo wakati mu kuziyizibwa okw’amaanyi okuleeteddwa Setaani n’ensi eno embi? (1 Yokaana 5:19) Yakuwa yekka ye yandisobodde okutuukiriza ekyo, ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.—Isaaya 60:22; Zekkaliya 4:6.
Ekitiibwa n’Obukulu bwa Yakuwa
16. Lwaki abantu tebasobola kulaba ‘kitiibwa na bukulu bwa Yakuwa’?
16 ‘Emirimu egy’ekitalo n’ebikolwa eby’amaanyi’ ebya Yakuwa ka bibe nga bya ngeri ki, tebijja kwerabirwa. Dawudi yawandiika: “Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, era ginaatendanga ebikolwa byo eby’amaanyi. Ku bukulu obw’ekitiibwa obw’ettendo lyo, ne ku mirimu gyo egy’ekitalo, kwe nnaalowoozanga. Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby’entiisa nga bya maanyi; nange naategeezanga obukulu bwo.” (Zabbuli 145:4-6) Dawudi yandisobodde kumanya byenkana wa ku kitiibwa kya Yakuwa eky’ekitalo okuva ‘Katonda bw’ali omwoyo’ era ng’abantu tebasobola kumulaba?—Yokaana 1:18; 4:24.
17, 18. Dawudi yandisobodde atya okweyongera okusiima ekitiibwa n’obukulu bwa Yakuwa?
17 Wadde yali tasobola kulaba Katonda, waaliwo ebyandisobozesezza Dawudi okweyongera okusiima ekitiibwa kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, yali asobola okusoma Ebyawandiikibwa ebikwata ku bikolwa bya Katonda eby’amaanyi, gamba ng’okuzikirizibwa kw’ensi embi ng’akozesa amataba. Dawudi ayinza okuba nga yamanya engeri bakatonda ab’obulimba ab’omu Misiri gye baafeebezebwa nga Katonda anunula Abaisiraeri okuva mu buddu bw’Abamisiri. Ebintu ng’ebyo biwa obujulizi ku bukulu n’ekitiibwa kya Yakuwa.
18 Awatali kubuusabuusa, Dawudi yeeyongera okusiima ekitiibwa kya Katonda si mu kusoma busomi Ebyawandiikibwa kyokka, wabula n’okubifumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba yafumiitiriza ku ebyo ebyaliwo nga Yakuwa awa Abaisiraeri Amateeka ge. Waaliwo okubwatuka, ebimyanso, ekire ekikutte, n’okuvuga kw’ekkondeere. Olusozi Sinaayi lwakankana era ne lunyooka omukka. Abaisiraeri abaali bakuŋŋaanye ku Lusozi, baawulira “Ebigambo Ekkumi” nga biva mu muliro wakati ne mu kire nga Yakuwa ayogera nabo okuyitira mu malayika we. (Ekyamateeka 4:32-36; 5:22-24; 10:4; Okuva 19:16-20; Ebikolwa 7:38, 53) Ebyo nga byayolesa nnyo ekitiibwa kya Yakuwa! Abantu abaagala Ekigambo kya Katonda era abafumiitiriza ku bintu ebyo bakwatibwako nnyo ‘ekitiibwa n’obukulu bwa Yakuwa.’ Kya lwatu, leero, tulina Baibuli yonna erimu okwolesebwa kwa Yakuwa okw’ekitalo okutuleetera okuwuniikirira olw’obukulu bwe.—Ezeekyeri 1:26-28; Danyeri 7:9, 10; Okubikkulirwa essuula 4.
19. Kiki ekijja okutuyamba okweyongera okusiima ekitiibwa kya Yakuwa?
19 Ekintu ekirala ekiyinza okuba nga kyaleetera Dawudi okuwuniikirira olw’ekitiibwa kya Katonda, kwe kusoma amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri. (Ekyamateeka 17:18-20; Zabbuli 19:7-11) Okugondera amateeka ga Yakuwa kyaweesa eggwanga lya Isiraeri ekitiibwa era ne kibaawula ku bantu abalala bonna. (Ekyamateeka 4:6-8) Nga bwe kyali eri Dawudi, okusoma Ebyawandiikibwa obutayosa, n’okubifumiitirizaako ennyo, kijja kutuleetera okweyongera okusiima ekitiibwa kya Yakuwa.
Engeri za Yakuwa Zigulumiza Obukulu Bwe
20, 21. (a) Zabbuli 145:7-9 zigulumiza zitya obukulu bwa Yakuwa? (b) Engeri za Katonda ezoogeddwako wano zisobola kukola ki ku abo bonna abamwagala?
20 Nga bwe tumaze okulaba, ennyiriri omukaaga ezisooka mu Zabbuli 145 zituwa ensonga ennungi ez’okutendereza Yakuwa olw’ebintu ebikwataganyizibwa n’obukulu bwe obutanoonyezeka. Olunyiriri 7 okutuuka ku 9 zigulumiza obukulu bwa Katonda nga zoogera ku ngeri ze. Dawudi yagamba: “Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, era banaayimbanga ku butuukirivu bwo. Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi. Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.”
21 Mu kyawandiikibwa ekyo Dawudi asooka kwogera ku bulungi bwa Yakuwa n’obutuukirivu bwe era ng’ezo ze ngeri Setaani Omulyolyomi ze yaleetako okubuusabuusa. Engeri ezo zisobola kukola ki ku abo bonna abaagala Katonda era abagondera obufuzi bwe? Mazima ddala, obulungi bwa Yakuwa n’engeri gy’afugamu mu butuukirivu, bireetera abamusinza okubugaana essanyu ne kiba nti tebayinza kulekera awo okumutendereza. Okugatta ku ekyo, obulungi bwa Yakuwa butuuka “ku bonna.” Kisuubirwa nti, kino kijja kuyamba abantu abalala bangi okwenenya era n’okufuuka abasinza ba Katonda ow’amazima ng’ekiseera tekinnaggwaayo.—Ebikolwa 14:15-17.
22. Yakuwa ayisa atya abaweereza be?
22 Dawudi era yasiima engeri Katonda kennyini ze yayogerako bwe “yayita mu maaso ga [Musa] ng’agamba: Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 34:6) N’olwekyo, Dawudi yasobola okugamba: ‘Yakuwa ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi.’ Wadde ng’obukulu bwa Yakuwa tebunoonyezeka, assa ekitiibwa mu bantu abamuweereza ng’abalaga ekisa. Musaasizi era mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi abeenenya okuyitira mu kinunulo kya Yesu. Era Yakuwa alwawo okusunguwala, kubanga awa abaweereza be omukisa okuvvuunuka obunafu obuyinza okubalemesa okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu.—2 Peetero 3:9, 13, 14.
23. Ngeri ki ennungi ennyo gye tujja okukubaganyaako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
23 Dawudi atendereza ekisa kya Katonda ekyesigamiziddwa ku kwagala. Mu butuufu, ennyiriri ezisigaddeyo mu Zabbuli 145 ziraga engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri eno era n’ekyo abaweereza be abeesigwa kye bakolawo olw’okusaasira kwe. Ensonga zino zijja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• Mikisa ki gye tulina egitusobozesa okutendereza Yakuwa “olunaku lwonna”?
• Byakulabirako ki ebiraga nti obukulu bwa Yakuwa tebunoonyezeka?
• Tusobola tutya okweyongera okusiima ekitiibwa kya Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Ebibinja by’emmunyeenye ebiri mu bwengula biwa obujulizi ku bukulu bwa Yakuwa
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Courtesy of Anglo-Australian Observatory, photograph by David Malin
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Obukulu bwa Yakuwa bweyolese butya okuyitira mu Yesu Kristo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Abaisiraeri bwe baafuna Amateeka ku Lusozi Sinaayi, baalaba ebintu eby’enjawulo ebyoleka ekitiibwa kya Yakuwa