LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 8/1 lup. 4-7
  • Gavumenti ya Katonda Weeri Leero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Gavumenti ya Katonda Weeri Leero
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omufuzi Omukulu owa Gavumenti y’Obwakabaka
  • Abo Abafugibwa Gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda
  • Obwakabaka bwa Katonda n’Eby’Enjigiriza
  • Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 4-7

Gavumenti ya Katonda Weeri Leero

“Ensi ennyingi ezaawukanira ddala mu buwangwa ne mu ngeri gye zikulaakulanamu zisobola zitya okukkaanya? Kigambiddwa nti singa wabaawo obulumbaganyi okuva ku pulaneti endala kye kintu ekiyinza okuleetera olulyo lw’omuntu okuba obumu.”​—The Age, olukubirwa mu Australia.

OBULUMBAGANYI okuva ku pulaneti endala? Wadde nga tetumanyidde ddala obanga obulumbaganyi ng’obwo bunaagatta wamu amawanga gonna ku nsi, obunnabbi bwa Baibuli bwogera ku katyabaga ak’amaanyi akabindabinda akanaaleetera amawanga gonna ku nsi okwegatta awamu. Mazima ddala, akatyabaga ako kajja kuleetebwa amagye agatali ga ku nsi.

Kabaka Dawudi ow’omu Isiraeri ey’edda yayogera mu ngeri ey’obunnabbi ku mbeera eno eyandibaddewo ku nsi. Ng’aluŋŋamiziddwa Katonda yawandiika bw’ati: “Bakabaka b’ensi beeteeseteese, n’abafuga bateesezza ebigambo wamu ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti Ka tumenyeemenye enjegere zaabwe, tusuule wala emigwa gyabwe.” (Zabbuli 2:2, 3; Ebikolwa 4:25, 26) Weetegereze nti abafuzi b’ensi bandibadde bumu nga balwanyisa Yakuwa, Omutonzi w’obutonde bwonna, n’oyo gwe yafukako amafuta, kwe kugamba, Yesu Kristo Kabaka. Ekyo kyandibaddewo kitya?

Okusinziira ku mbalirira y’ebiseera ey’omu Baibuli era n’obunnabbi obwatuukirizibwa, Obwakabaka bwa Katonda bwassibwawo mu ggulu mu 1914, era nga Yesu Kristo ye Kabaka waabwo.a Mu kiseera ekyo amawanga gaalina endowooza y’emu. Mu kifo ky’okugondera obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda obwali bwakkassibwawo, gaali genyigidde mu kulwanira buyinza, kwe kugamba, Ssematalo I. 

Yakuwa Katonda atunuulira atya abafuzi bwe beeyisa bwe batyo? “Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira. Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, alibateganya mu kiruyi kye ekingi.” Awo Yakuwa aligamba Omwana we Kabaka gwe yafukako amafuta nti: “[Nsaba] nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, n’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go. Oli[ga]menya n’omuggo ogw’ekyuma, oli[ga]sayasa ng’entamu ey’omubumbi.”​—Zabbuli 2:4, 5, 8, 9. 

Okuzikiriza amawanga n’omugo ogw’ekyuma kujja kubaawo ku Kalumagedoni. Ekitabo eky’Okubikkulirwa ekisembayo mu Baibuli, kyogera ku kiseera ekyo nga “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, bakabaka b’ensi zonna” kwe banaakuŋŋaanyizibwa. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Nga gakubirizibwa badayimooni, amawanga g’ensi gajja kwegatta wamu nga galina ekigendererwa kimu: Okulwana ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.

Ekiseera abantu lwe baneegatta awamu okulwanyisa obufuzi bwa Katonda kibindabinda. “Obumu” bwabwe tebujja kubaviiramu muganyulo. Mu kifo ky’ekyo, ekikolwa kyabwe kijja kututuusa ku kiseera eky’emirembe omuntu gy’abadde alindiridde okumala ebbanga. Mu ngeri ki? Mu lutalo olwo olunaasembayo, Obwakabaka bwa Katonda “bujja kuzikiriza Obwakabaka obwo bwonna [obw’ensi], era [bwo] bunaabeerera emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Bwakabaka bwa Katonda, so si kibiina kya bantu kyonna, ye gavumenti eneereta emirembe abantu gye babadde baagala.

Omufuzi Omukulu owa Gavumenti y’Obwakabaka

Obwo bwe Bwakabaka abantu abangi bwe babadde basaba nga bagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Mu kifo ky’okuba embeera ey’omu mutima, Obwakabaka bwa Katonda gavumenti yennyini ekoze ebintu eby’amaanyi okuva lwe yassibwawo mu ggulu mu 1914. Ka tulabe ensonga ezimu eziraga nti Obwakabaka bwa Katonda weebuli leero.

Okusookera ddala, bulina abafuzi abakola obulungi emirimu gyabwe nga bakulemberwa Kabaka eyatuuzibwa ku ntebe, Yesu Kristo. Mu 33 C.E., Yakuwa Katonda yafuula Yesu Kristo omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (Abaefeso 1:22) Okuva olwo Yesu abadde afuga, era bw’atyo akiraze bulungi nti alina obusobozi. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa ekyasooka enjala ey’amaanyi bwe yagwa mu Buyudaaya, ab’ekibiina Ekikristaayo baasitukiramu okuyamba baganda baabwe. Enteekateeka ez’okudduukirira abo abaali mu bwetaavu zaakolebwa era Balunabba ne Sawulo baasindikibwa okuva mu Antiyokiya okutwala obuyambi.​—Ebikolwa 11:27-30.

Kati nga gavumenti ya Katonda emaze okuteekebwawo era ng’efuga, tuyinza okusuubira Yesu Kristo okukola ekisingawo ku ekyo. Buli lwe wagwawo akatyabaga, gamba nga musisi, enjala ey’amaanyi, amataba, embuyaga ez’amaanyi, oba ng’ensozi ziwandudde omuliro, Abakristaayo Abajulirwa ba Yakuwa banguwa okudduukirira bakkiriza bannaabwe mu bitundu ebiba bakoseddwa. Ng’ekyokulabirako, musisi ow’amaanyi bwe yayita mu El Salvador mu Jjanwali ne Febwali 2001, enteekateeka ez’okudduukirira abali mu bwetaavu zaakolebwa mu bitundu byonna eby’eggwanga, era Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu e Canada, Guatemala, ne Amerika baaweereza obuyambi. Mu banga ttono, bisatu ku bifo byabwe eby’okusinzizaamu byaddamu okuzimbibwa era nga kw’otadde n’amayumba agasukka mu 500.

Abo Abafugibwa Gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda

Okuviira ddala lwe bwateekebwawo mu 1914, Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bubadde bukuŋŋaanya abantu okuva mu bitundu byonna eby’ensi abanaabeera wansi w’obufuzi bwabwo. Kino kituukiriza obunnabbi bwa Isaaya obugamba nti: “Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama [okusinza kwe okugulumiziddwa] lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi, . . . era amawanga mangi agalyambuka.” Obunnabbi bulaga nti “abantu bangi” bandibadde bagenda ku lusozi olwo okuwuliriza amateeka ga Yakuwa.​—Isaaya 2:2, 3.

Kino kivuddemu ekibiina ky’abantu eky’amaanyi ennyo mu biseera bino, kwe kugamba, oluganda olw’ensi yonna omuli Abakristaayo abasukka mu 6,000,000 nga basangibwa mu nsi ezisukka mu 230. Ababeerawo mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa, beewuunya okulaba okwagala, emirembe, n’obumu ebibaawo mu bantu abangi awatali kusosolagana mu mawanga oba mu nnimi. (Ebikolwa 10:34, 35) Tewandikkiriza nti gavumenti okusobola okuleetawo obumu n’emirembe wakati w’ebikumi n’ebikumi by’ebika by’abantu eby’enjawulo eteekwa okuba ng’erina enkola ennungi, nga ntebenkevu, era nga ya ddala?

Obwakabaka bwa Katonda n’Eby’Enjigiriza

Buli gavumenti eba ne bye yeetaaza abatuuze baayo okutuukiriza era buli ayagala okufugibwa gavumenti eyo ateekwa okubituukiriza. Mu ngeri y’emu, Obwakabaka bwa Katonda nabwo bulina ebintu abo bonna ababa baagala okubeera wansi w’obufuzi bwabwo bye balina okutuukiriza. Kyokka, si kyangu okusobozesa abantu abangi ennyo bwe batyo abava mu bitundu eby’enjawulo okugoberera emitindo gye gimu. Era ekintu ekirala ekikakasa nti Obwakabaka bwa Katonda weebuli era nga bufuga kwe kuba nti bulina programu y’eby’enjigiriza esobozesa omuntu okukyusa endowooza ye n’omutima gwe.

Gavumenti ya Katonda esobola etya okutuukiriza omulimu guno ogw’amaanyi? Ng’eyitira mu nkola abatume gye beeyambisa ey’okubuulira ‘nnyumba ku nnyumba’ n’okuyigiriza abantu Ekigambo kya Katonda mu maka gaabwe. (Ebikolwa 5:42; 20:20) Mu ngeri ki engeri eno ey’okuyigiriza gy’eri ennungi? Jacques Johnson munnaddiini Omukatuliki yawandiika mu lupapula lw’amawulire olw’omu Canada olufuluma buli wiiki ng’alaga engeri gye yafuba okumalamu amaanyi omukazi omu eyali asoma n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba: “Nnasoberwa era ne nkitegeera nti nnali nneenyigidde mu lutalo lwe sigenda kuwangula. Nnakizuula nti okumala emyezi egiwerako abakyala bano Abajulirwa baali bataddewo enkolagana ennungi n’omukyala ono eyali tasobola kuva mu nju. Baamuyambanga bulijjo era mu ngeri eyo ne banyweza enkolagana gye baalina naye. Mangu, yeegatta ku ddiini yaabwe era nnali sirina nnyo ky’amaanyi kye nnali nsobola okukola okumuziyiza.” Empisa z’Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’obubaka bwa Baibuli bwe bayigiriza bisikiriza obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi okuyiga amazima mu ngeri y’emu ng’omukyala ono eyali Omukatuliki.

Programu eno, kwe kugamba, okuyigiriza kwa gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda, okwesigamiziddwa ku Baibuli, kulaga obukulu bw’okunywerera ku mitindo gyayo egy’empisa. Kuyigiriza abantu okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa awatali kusosola mu mawanga. (Yokaana 13:34, 35) Era kuyamba abantu okussaayo omwoyo ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino, naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala ebirungi ebisanyusa ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Nga bamaze okuleka engeri z’obulamu bwabwe obw’emabega era ne banywerera ku mateeka n’emisingi gya gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda, abantu bukadde na bukadde bazudde emirembe n’essanyu, era n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.​—Abakkolosaayi 3:9-11.

Ekintu eky’enkukunala ekiyamba mu kutuuka ku bumu mu nsi yonna ye magazini eno, Omunaala gw’Omukuumi. Okuyitira mu nkola ez’okuvvuunula entegeke obulungi era n’okukozesa ebyuma ebikuba ebitabo mu nnimi ezitali zimu, ebitundu ebikulu mu Omunaala gw’Omukuumi bifulumizibwa mu nnimi 135 mu kiseera kye kimu. Era, abasomi 95 ku buli kikumi okwetooloola ensi, basobola okusoma ebitundu bino mu nnimi zaabwe mu kiseera kye kimu.

Omuwandiisi omu ali mu ddiini y’Abamomoni yawandiika olukalala lw’ebintu ebisingayo okuba ebirungi ebituukiddwako mu mulimu gw’obuminsani ogukoleddwa amadiini amalala ng’oggyeko eyiye. Ku lukalala olwo yalaga nti magazini The Watchtower ne Awake!, ezikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa ze zikyasinzeeyo okubunyisa amawulire amalungi. Era yagattako nti: “Tewali ayinza kugamba nti magazini za Watchtower oba Awake! zireetedde abantu obuteefiirayo. Wabula, zireetera abantu okufaayo ku biseera bye tulimu mu ngeri gye sinnaba kusanga mu bitabo bya nzikiriza ndala yonna. Magazini za Watchtower ne Awake! zizzaamu amaanyi kubanga zibaamu ebitundu ebiba binoonyerezeddwako obulungi era ebituufu.”

Waliwo obujulizi bungi obulaga nti Obwakabaka bwa Katonda weebuli era nga bufuga. Nga basanyufu, Abajulirwa ba Yakuwa bakola n’amaanyi okubuulira baliraanwa baabwe “amawulire gano ag’Obwakabaka” era babakubiriza okubeera abo abanaafugibwa Obwakabaka buno. (Matayo 24:14) Wandyagadde okufugibwa Obwakabaka buno? Osobola okwegatta ku abo abayigirizibwa okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi gy’Obwakabaka naawe osobole okufuna emikisa gye bafuna. N’ekisinga ku ekyo, osobola okuba n’essuubi ery’okubeera omulamu wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka mu nsi ensuubize ‘obutuukirivu mwe bulituula.’​—2 Peetero 3:13.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okumanya ebisingawo, laba essuula 10 erina omutwe: “Obwakabaka bwa Katonda Bufuga,” mu katabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, empapula 90-7, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Mu 1914 amawanga geenyigira mu lutalo lw’ensi yonna

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Okudduukirira kyeyagalire abo ababa mu bwetaavu kabonero akalaga okwagala okw’Ekikristaayo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi baganyulwa mu programu y’emu ey’okuyigiriza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share