Okuzuukira—Njigiriza Ekukwatako
“Nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye [balina], nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—EBIKOLWA 24:15.
1. Okuzuukira kwafuuka kutya ensonga enkulu mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya?
KU NKOMERERO y’olugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu mu 56 C.E., omutume Pawulo yali mu Yerusaalemi. Ng’Abaruumi bamaze okumukwata, yatwalibwa mu maaso g’olukiiko olukulu olw’Abayudaaya. (Ebikolwa 22:29, 30) Pawulo bwe yeetegereza abaali mu lukiiko olwo, yakizuula nti abamu baali Basaddukaayo ate ng’abalala Bafalisaayo. Abafalisaayo n’Abasaddukaayo baalina ekintu kye baali batakkiriziganyaako. Abasaddukaayo baali tebakkiririza mu kuzuukira; ate nga Abafalisaayo bo bakukkiririzaamu. Ng’awa endowooza ye ku nsonga eyo, Pawulo yagamba: “Abasajja ab’oluganda, nze ndi Mufalisaayo, mwana w’Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw’essuubi n’okuzuukira kw’abafu.” Bwe yayogera ebigambo ebyo, olukiiko lwonna ne lukyankalana!—Ebikolwa 23:6-9.
2. Lwaki Pawulo yali mwetegefu okwogera n’obuvumu ku nsonga y’okuzuukira?
2 Emyaka mingi emabega, Pawulo bwe yali agenda e Ddamasiko, yafuna okwolesebwa n’awulira eddoboozi lya Yesu. Pawulo yamubuuza: ‘Nkole ki Mukama wange?’ Yesu yamuddamu nti: “Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by’olagiddwa okukola.” Bwe yatuuka e Ddamasiko, Omukristaayo ayitibwa Ananiya, yamugamba nti: “Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by’ayagala, era olabe Omutuukirivu, [Yesu eyali yazuukizibwa] era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke.” (Ebikolwa 22:6-16) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Pawulo yali mwetegefu okwogera n’obuvumu ku nsonga y’okuzuukira.—1 Peetero 3:15.
Okubuulira Abalala ku Ssuubi ly’Okuzuukira
3, 4. Pawulo yalaga atya nti alina okukkiriza okw’amaanyi mu kuzuukira, era kiki kye tuyinza okumuyigirako?
3 Oluvannyuma Pawulo yatwalibwa mu maaso ga Gavana Ferikisi. Ku mulundi guno, “omwogezi” Terutuulo eyayanjula omusango Abayudaaya gwe baali bawawaabira Pawulo, yamuvunaana olw’okukulembera akabiina k’eddiini n’okusekeeterera gavumenti. Mu kwewozaako, Pawulo yagamba: “Kino nkyatula w’oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita [akabiina k’eddiini], bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe.” Awo bwe yatuuka ku nsonga enkulu yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye [balina], nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 23:23, 24; 24:1-8, 14, 15.
4 Nga wayiseewo emyaka ng’ebiri, Polukiyo Fesuto, eyadda mu bigere bya Ferikisi, yayita Kabaka Kerode Agulipa bawozese Pawulo eyali omusibe. Fesuto yannyonnyola Agulipa nti Abayudaaya baali tebakkiriziganya n’ebyo Pawulo bye yayogera nti waaliyo ‘omuntu ayitibwa Yesu eyafa era n’azuukira.’ Nga yeewozaako Pawulo yabuuza: “Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?” Oluvannyuma yagamba: “Nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n’abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja; bwe kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga.” (Ebikolwa 24:27; 25:13-22; 26:8, 22, 23) Nga Pawulo yalina okukkiriza kwa maanyi nnyo mu kuzuukira! Okufaananako Pawulo, naffe tusobola okubuulira abantu nga tuli bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira. Abantu baneeyisa batya nga tubabuulidde ku ssuubi eryo? Bayinza okukola ekintu kye kimu nga bwe kyali ku Pawulo.
5, 6. (a) Abantu beeyisa batya abatume bwe baababuulira ku kuzuukira? (b) Bwe tuba twogera ku ssuubi ly’okuzuukira, kintu ki ekikulu kye tulina okujjukira?
5 Weetegereze ekyo ekyaliwo emabegako, Pawulo bwe yali ku lugendo lwe olw’okubiri (awo nga mu 49-52 C.E.) ng’akyadde mu Asene. Yayogera n’abantu abaali bakkiririza mu bakatonda ab’obulimba era n’abategeeza nti Katonda alina ekigendererwa eky’okusalira abantu bonna omusango ng’akozesa omuntu gw’alonze. Omuntu oyo ye Yesu. Pawulo yabannyonnyola nti Katonda yassaawo akakalu okukakasa ekyo ng’azuukiza Yesu. Abantu beeyisa batya bwe baawulira ebigambo ebyo? Tusoma: “Bwe baawulira okuzuukira kw’abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw’ekigambo ekyo.”—Ebikolwa 17:29-32.
6 Ekyo abantu kye baakola kifaananako n’ekyo ekyaliwo oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., nga Peetero ne Yokaana bababuulira. Ne ku mulundi ogwo Abasaddukaayo baawakana nnyo. Ebikolwa 4:1-4 walaga ekyaliwo: “Bwe baali nga boogera n’ekibiina, ne bajja gye baali bakabona n’omukulu wa yeekaalu n’Abasaddukaayo, nga banakuwadde nnyo kubanga baayigiriza ekibiina era baabuulira ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu.” Wadde kyali kityo, waliwo abamu abaasiima. “Bangi abaawulira ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw’abasajja ne baba ng’enkumi ttaano.” Mu ngeri y’emu, naffe twandisuubidde abantu okweyisa mu ngeri ezitali zimu nga tubabuulidde ku ssuubi ly’okuzuukira. N’olw’ensonga eyo, kikulu nnyo okunyweza okukkiriza kwaffe mu kuzuukira.
Okukkiriza n’Okuzuukira
7, 8. (a) Nga bwe kiragibwa mu bbaluwa eyawandiikirwa ekibiina ky’e Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka, kiki ekiyinza okufuula okukkiriza okuba okw’obwereere? (b) Okutegeera obulungi enjigiriza y’okuzuukira kitwawulawo kitya ng’Abakristaayo ab’amazima?
7 Si bonna abaafuuka Abakristaayo mu kyasa ekyasooka C.E. nti kyabanguyira okukkiririza mu kuzuukira. Abamu ku abo abaakisanga nga kizibu baali mu kibiina ky’e Kkolinso. Pawulo yabawandiikira: “Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw’ebibi byaffe ng’ebyawandiikibwa bwe byogera; era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw’okusatu ng’ebyawandiikibwa bwe byogera.” Yabakakasa nti Kristo yazuukizibwa era ‘n’alabikira ab’oluganda abasukka mu bitaano,’ era nga bangi ku bo baali bakyaliwo. (1 Abakkolinso 15:3-8) Yeeyongera n’abagamba: “Kristo bw’abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu? Naye, oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa; era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n’okukkiriza kwammwe tekuliimu.”—1 Abakkolinso 15:12-14.
8 Okuzuukira njigiriza nkulu nnyo ne kiba nti singa kuba tekuliiyo Obukristaayo buba bwa bwereere. N’olwekyo, okutegeera amazima agakwata ku kuzuukira kyawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Olubereberye 3:4; Ezeekyeri 18:4) Ye nsonga lwaki Pawulo ayogera ku njigiriza ey’okuzuukira ng’emu ku njigiriza ‘enkulu’ ez’Ekikristaayo. N’olwekyo, ka tufube ‘okukula mu by’omwoyo.’ Era nga Pawulo bw’atukubiriza, ‘ekyo kye tujja okukola, Katonda bw’anaaba atusobozesezza.’—Abaebbulaniya 6:1-3.
Essuubi ery’Okuzuukira
9, 10. Baibuli etegeeza ki bw’eyogera ku kuzuukira?
9 Okusobola okunyweza essuubi lyaffe ery’okuzuukira, ka twetegereze ebibuuzo bino: Baibuli etegeeza ki bw’eyogera ku kuzuukira? Mu ngeri ki enjigiriza y’okuzuukira gy’eraga okwagala kwa Yakuwa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kunyweza enkolagana yaffe ne Katonda era bituyambe okuyigiriza abalala ebikwata ku kuzuukira.—2 Timoseewo 2:2; Yakobo 4:8.
10 Ekigambo “okuzuukira” kiva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “okuddamu okuyimirira.” Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Okusinziira ku Baibuli, okuba n’essuubi ly’okuzuukira kwe kuba omukakafu nti omuntu afudde ajja kuddamu okuba omulamu. Era Baibuli eyongera n’eraga nti mu kuzuukira omuntu aweebwa omubiri ogw’ennyama oba ogw’omwoyo, nga kino kisinziira ku ssuubi ly’aba nalyo, kwe kugamba, ery’okubeera ku nsi oba ery’okugenda mu ggulu. Okwagala kwa Yakuwa, amagezi ge n’amaanyi ebyeyolekera mu ssuubi lino ery’okuzuukira bituwuniikiriza.
11. Abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta baweebwa ki nga bazuukidde?
11 Okuzuukira kwa Yesu ne baganda be abaafukibwako amafuta kubasobozesa okufuna emibiri egy’omwoyo ne basobola okuweereza mu ggulu. (1 Abakkolinso 15:35-38, 42-53) Bajja kufugira wamu mu Bwakabaka bwa Masiya obujja okufuula ensi Olusuku lwa Katonda. Abo abaafukibwako amafuta bajja kukola nga bakabona wansi w’obulagirizi bwa Yesu, Kabona Omukulu. Bajja kuyamba abantu okuganyulwa mu kinunulo kya Kristo mu nsi empya ey’obutuukirivu. (Abaebbulaniya 7:25, 26; 9:24; 1 Peetero 2:9; Okubikkulirwa 22:1, 2) Mu kiseera kino, abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi bafuba okusigala nga basiimibwa Katonda. Bwe bafa, baweebwa ‘ekibasaanira’ nga bazuukizibwa mu bulamu obutasobola kuzikirizibwa, mu ggulu. (2 Abakkolinso 5:1-3, 6-8, 10; 1 Abakkolinso 15:51, 52; Okubikkulirwa 14:13) Pawulo yawandiika: “Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky’okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky’okuzuukira kwe.” (Abaruumi 6:5) Ate kiri kitya eri abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi? Essuubi ly’okuzuukira liyinza litya okubayamba okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda? Ka tulabe kye tuyinza okuyigira ku Ibulayimu.
Okuzuukira n’Okuba Mukwano gwa Katonda
12, 13. Ibulayimu yasinziira ku ki okukkiririza mu kuzuukira?
12 Ibulayimu, eyayogerwako nga ‘mukwano gwa Yakuwa,’ yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Yakobo 2:23) Ng’ayogera ku basajja n’abakazi abaalina okukkiriza mu kitabo ky’Abaebbulaniya essuula 11, Pawulo yayogera ku kukkiriza kwa Ibulayimu emirundi esatu. (Abaebbulaniya 11:8, 9, 17) Ku mulundi ogw’okusatu w’ayogerera ku kukkiriza kwa Ibulayimu, ayogera ku buwulize bwe yalaga bwe yali omwetegefu okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Ibulayimu yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okumuwa ezzadde okuyitira mu Isaaka. N’olwekyo, Isaaka ne bwe yandiweereddwayo nga ssaddaaka, Ibulayimu yali mukakafu nti ‘Katonda asobola okumuzuukiza mu bafu.’
13 Yakuwa bwe yalaba nga Ibulayimu alina okukkiriza okw’amaanyi, yamuwa ensolo n’agiwaayo nga ssaddaaka mu kifo kya Isaaka. Wadde kyali kityo, ebyo ebyatuuka ku Isaaka byalaga nti eriyo okuzuukira, nga Pawulo bwe yagamba: “Ibulayimu yaddizibwa Isaaka ng’alinga avudde mu bafu.” (Abaebbulaniya 11:19, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Ate era, Ibulayimu yalina ensonga ennungi kwe yali asinziira okukkiririza mu kuzuukira. Yakuwa yali azizza buggya obusobozi bwabwe obw’okuzaala bwe yabasobozesa okuzaala Isaaka nga bakaddiye.—Olubereberye 18:10-14; 21:1-3; Abaruumi 4:19-21.
14. (a) Okusinziira ku Abaebbulaniya 11:9, 10, Ibulayimu yalindirira ki? (b) Kiki ekirina okutuuka ku Ibulayimu bw’anaaba wa kufuna emikisa gy’Obwakabaka mu nsi empya? (c) Tuyinza tutya okufuna emikisa gy’Obwakabaka?
14 Pawulo yayogera ku Ibulayimu ng’omugwira era omuntu eyabeeranga mu weema ‘ng’alindirira ekibuga ekirina emisingi emigumu, ekyazimbibwa Katonda.’ (Abaebbulaniya 11:9, 10) Kino tekyali kibuga kyennyini nga Yerusaalemi, omwali yeekaalu ya Katonda. Wabula kyali kibuga eky’akabonero. Ekibuga ekyo kikiikirira Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu obufugibwa Yesu Kristo ne banne 144,000. Abantu abo 144,000 nga bali mu kitiibwa kyabwe mu ggulu, era boogerwako nga “ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya,” ‘omugole’ wa Kristo. (Okubikkulirwa 21:2) Mu 1914, Yakuwa yatuuza Yesu ku nnamulondo nga Kabaka era n’amulagira okutandika okufugira wakati mu balabe be. (Zabbuli 110:1, 2; Okubikkulirwa 11:15) Okusobola okufuna emikisa gy’Obwakabaka, Ibulayimu, “mukwano gwa Yakuwa,” alina okuddamu okuba omulamu. Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okufuna emikisa gy’Obwakabaka, tulina okuba abalamu mu nsi ya Katonda empya, ng’abamu ku b’ekibiina ekinene ekiwonyeewo ku Kalumagedoni oba ng’abo abazuukiziddwa. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Naye, essuubi ly’okuzuukira lyesigamiziddwa ku ki?
Essuubi ery’Okuzuukira Lyesigamiziddwa ku Kwagala
15, 16. (a) Mu ngeri ki obunnabbi obwasooka okuwandiikibwa mu Baibuli gye bwesigamizibwako essuubi ly’okuzuukira? (b) Mu ngeri ki okukkiririza mu kuzuukira gye kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
15 Bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, okukkiriza okunywevu ng’okwa Ibulayimu, n’okugondera amateeka ge, ebyo kw’asinziira okutuyita abatuukirivu era mikwano gye. Era ekyo kijja kutusobozesa okufuna emikisa gy’Obwakabaka. Obunnabbi obwasooka okuwandiikibwa mu Kigambo kya Katonda, obuli mu Olubereberye 3:15, buwa ekisinziirwako okuba n’essuubi ly’okuzuukira n’okufuuka mikwano gya Katonda. Ng’oggyeko okuba nti obunnabbi obwo bwogera ku kubetenta omutwe gwa Setaani, era bwogera ne ku kubetenta ekisinziiro ky’Ezzadde ly’omukazi wa Katonda. Yesu bwe yafiira ku muti, mu ngeri ey’akabonero yabetentebwa ekisinziiro. Bwe yazuukizibwa ku lunaku olw’okusatu, ekiwundu kye kyawona era ne kimusobozesa okubaako ky’akola ku ‘Setaani, oyo alina amaanyi ag’okufa.’—Abaebbulaniya 2:14.
16 Pawulo atujjukiza nti “Katonda alagira ddala nga bwe yatwagala, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” (Abaruumi 5:8) Singa tusiima ekisa kya Katonda ekitatusaanira, kijja kituleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yesu wamu ne Kitaffe omwagazi ow’omu ggulu.—2 Abakkolinso 5:14, 15.
17. (a) Ssuubi ki Yobu lye yalina? (b) Yobu 14:15 lututegeeza ki ku Yakuwa, era kino kikuleetera kuwulira otya?
17 Yobu, omusajja eyaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, naye yalina essuubi ery’okuzuukira. Setaani yamubonyaabonya nnyo. Okwawukana ku abo abaali beefuula okuba mikwano gye abataayogera ku kuzuukira, Yobu yabudaabudibwa nnyo essuubi ly’okuzuukira era n’abuuza: ‘Omuntu bw’afa asobola okuba omulamu nate?’ Yeddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: ‘Nja kulindirira ennaku zonna ez’olutabaalo lwange okutuusa lwe nditeebwa.’ Yagamba bw’ati Katonda we Yakuwa: “Ojja kumpita, nange nja kukuyitaba.” Ng’ayogera ku nneewulira y’Omutonzi waffe ku nsonga eyo, Yobu yagamba: ‘Ojja kwagala nnyo omulimu gw’emikono gyo.’ (Yobu 14:14, 15) Yee, Yakuwa yeesunga nnyo ekiseera abaweereza be abeesigwa lwe balikomezebwawo mu bulamu nga bazuukizibwa. Bwe tufumiitiriza ku kwagala n’ekisa ekitatusaanira Katonda ky’atulaze, kituleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye wadde nga tetutuukiridde.—Abaruumi 5:21; Yakobo 4:8.
18, 19. (a) Ssuubi ki Danyeri ly’alina? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
18 Nnabbi Danyeri, malayika wa Katonda gwe yayogerako ‘ng’omusajja omwagalwa ennyo,’ yaweereza n’obwesigwa okumala ebbanga ddene. (Danyeri 10:11, 19) Yali mwesigwa eri Yakuwa okuviira ddala mu 617 B.C.E. lwe yatwalibwa mu buddu, okutuusa bwe yafa nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa mu 536 B.C.E., mu mwaka gw’obufuzi bwa kabaka Kuulo owa Buperusi. (Danyeri 1:1; 10:1) Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo, Danyeri yafuna okwolesebwa okukwata ku bufuzi kirimaanyi obwandizze bubaawo okutuusiza ddala ku kibonyoobonyo ekinene. (Danyeri 11:1–12:13) Olw’okuba Danyeri teyategeera bulungi bunnabbi obwo, yabuuza malayika eyamuwa okwolesebwa okwo nti: “Ai Mukama wange, ebiriva mu ebyo biriba bitya?” Mu kumuddamu, malayika yayogera ku ‘kiseera eky’enkomerero,’ abo ‘abalina amagezi lwe balitegeera.’ Kati olwo, ye Danyeri yalina ssuubi ki? Malayika yamugamba: “Oliwummula, era oliyimirira [n’ofuna o]mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.” (Danyeri 12:8-10, 13) Danyeri ajja kukomawo mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu,’ mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.—Lukka 14:14.
19 Tuli mu kiseera eky’enkomerero era ng’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi buli kumpi nnyo n’okusinga bwe kyali nga twakafuuka abakkiriza. N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza, ‘Nnaabeerayo mu nsi empya ndabe ku Ibulayimu, Yobu, Danyeri, n’abasajja n’abakazi abalala abeesigwa?’ Ekyo kijja kusoboka singa tukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa nga nnungi, era ne tugondera ebiragiro bye. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya ebisingawo ku ssuubi ly’okuzuukira tusobole okumanya abo abanaazuukizibwa.
Ojjukira?
• Abantu beeyisa batya Pawulo bwe yababuulira ku ssuubi ly’okuzuukira?
• Lwaki essuubi ly’okuzuukira lyawulawo Obukristaayo obw’amazima?
• Tusinziira ku ki okugamba nti Ibulayimu, Yobu ne Danyeri bakkiririza mu kuzuukira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Pawulo bwe yali mu maaso ga Gavana Ferikisi, yayogera n’obuvumu ku ssuubi ery’okuzuukira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Lwaki Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Yobu yabudaabudibwa essuubi ly’okuzuukira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Danyeri ajja kukomawo mu kuzuukira kw’abatuukirivu