LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 7/1/05 lup. 22-27
  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Amawulire Buli Omu Ge Yeetaaga Okuwulira
  • Ensonga Lwaki Tubuulira Amawulire Amalungi
  • Obubaka Bwaffe​—Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda
  • Obubaka Obujja “Okusiba Abalina Emitima Egimenyese”
  • Engeri Obubaka bw’Obwakabaka Gye Buyambamu Abantu
  • “Kye Nsaba Katonda ku Lwabwe”
  • Amawulire Amalungi Gabuulirwa Gatya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Emiganyulo Egiva mu Mawulire Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • “Amawulire Amalungi”!
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Waliwo Amawulire Amalungi Abantu Bonna Ge Beetaaga Okuwulira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 7/1/05 lup. 22-27

‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’

‘Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire ag’ebigambo ebirungi.’​—ISAAYA 52:7.

1, 2. (a) Bintu ki eby’entiisa ebibaawo buli lunaku? (b) Abantu bangi bayisibwa batya bwe bawulira amawulire amabi?

OKWETOOLOOLA ensi, abantu bafuna amawulire agennyamiza. Bawulira ku rediyo amawulire ag’entiisa agakwata ku ndwadde ez’akabi eziri mu nsi. Balaba ku ttivi abaana abalumwa enjala nga beetaaga obuyambi. Basoma mu mpapula z’amawulire ku bizimbe ebikubiddwa bbomu ne mufiiramu abantu bangi abatalina musango.

2 Yee, buli lunaku wabaawo ebintu eby’entiisa. Embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka. (1 Abakkolinso 7:31) Akatabo akamu ak’amawulire ak’omu Bulaaya kaagamba nti ebiseera ebimu ensi yonna erabika “ng’enaatera okusaanawo.” Tekyewuunyisa nti abantu bangi beeraliikirivu! Mu kunoonyereza okwakolebwa mu Amerika okukwata ku mawulire agabeera ku ttivi, omuntu omu yayoleka endowooza y’obukadde n’obukadde bw’abantu bwe yagamba nti: ‘Bwe mmala okulaba amawulire ku ttivi, mpulira ennaku ya maanyi. Gonna gaba ga nnaku. Gamalamu nnyo amaanyi.’

Amawulire Buli Omu Ge Yeetaaga Okuwulira

3. (a) Mawulire ki amalungi agali mu Baibuli? (b) Lwaki amawulire amalungi ag’Obwakabaka ogatwala nga ga muwendo?

3 Mu nsi eno ejjudde ebizibu, tusobola okufuna amawulire amalungi? Yee, kisoboka! Kizzaamu amaanyi okukitegeera nti Baibuli erimu amawulire amalungi. Amawulire ago galaga nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo obulwadde, enjala, obumenyi bw’amateeka, entalo, n’okubonaabona kwonna. (Zabbuli 46:9; 72:12) Ago si mawulire malungi buli omu ge yandyagadde okuwulira? Abajulirwa ba Yakuwa bwe batyo bwe balowooza. N’olw’ensonga eyo, bamanyiddwa mu nsi yonna nti bafuba okubuulira abantu ab’amawanga gonna Obwakabaka bwa Katonda.​—Matayo 24:14.

4. Bintu ki ebikwata ku buweereza bwaffe bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino ne mu kitundu ekiddako?

4 Kati olwo, tuyinza kukola ki okusobola okweyongera okwenyigira mu kulangirira amawulire amalungi​—ne mu bitundu abantu gye batafaayo nnyo ku bubaka bwaffe? (Lukka 8:15) Ka twetegereze ebintu bisatu ebikulu ebikwata ku mulimu gw’okubuulira ebijja okutuyamba. (1) ebiruubirirwa byaffe, oba ensonga lwaki tubuulira; (2) obubaka bwaffe, oba kye tubuulira; ne (3) engeri gye tubuuliramu. Bwe tuba n’ebiruubirirwa ebirungi, nga n’obubaka bwaffe butegeerekeka bulungi, era nga n’engeri gye tubuuliramu nnungi, tujja kusobola okutuusa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ku bantu bonna.a

Ensonga Lwaki Tubuulira Amawulire Amalungi

5. (a) Nsonga ki enkulu etuleetera okwenyigira mu buweereza? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti bwe tugondera ekiragiro ky’omu Baibuli eky’okubuulira tuba tulaga Katonda nti tumwagala?

5 Ka twetegereze ekisooka​—ebiruubirirwa byaffe. Lwaki tubuulira amawulire amalungi? Ensonga lwaki tubuulira y’emu n’eyo Yesu gye yalina. Yagamba: “Njagala Kitange.” (Yokaana 14:31; Zabbuli 40:8) N’olwekyo, ensonga enkulu lwaki tubuulira eri nti twagala Katonda. (Matayo 22:37, 38) Baibuli eraga nti waliwo akakwate wakati w’okwagala Katonda n’okubuulira ng’egamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3; Yokaana 14:21) Ebiragiro bya Katonda bizingiramu ‘n’eky’okugenda okufuula abantu abayigirizwa’? (Matayo 28:19) Yee. Wadde ng’ebigambo ebyo Yesu ye yabyogera, byali bya Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yesu yagamba: “Nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.” (Yokaana 8:28; Matayo 17:5) N’olwekyo, bwe tugondera ekiragiro ky’okubuulira, tuba tulaga Yakuwa nti tumwagala.

6. Mu ngeri ki okwagala kwe tulina eri Katonda gye kutukubiriza okubuulira?

6 Okugatta ku ekyo, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okubuulira kubanga twagala okulaga nti ebyo Setaani by’amwogerako bya bulimba. (2 Abakkolinso 4:4) Setaani yaleetawo okubuusabuusa obanga ddala Katonda afuga mu butuukirivu. (Olubereberye 3:1-5) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twagala okumanyisa abantu nti Setaani mulimba era n’okutukuza erinnya lya Katonda. (Isaaya 43:10-12) Ate era, tubuulira olw’okuba tutegedde engeri za Yakuwa n’amakubo ge. Tuwulira nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye era nga twagala okubuulira abalala ebikwata ku Katonda waffe. Mu butuufu, obulungi bwa Yakuwa n’obutuukirivu bwe bituleetera essanyu ne kiba nti tetusobola butamwogerako. (Zabbuli 145:7-12) Tuwulira nga tukubirizibwa okulangirira ekitiibwa kye ‘n’obulungi’ bwe eri bonna abaagala okuwuliriza.​—1 Peetero 2:9; Isaaya 43:21.

7. Ng’oggyeko okwagala Katonda, nsonga ki endala enkulu etuleetera okwenyigira mu kubuulira?

7 Ate era waliwo n’ensonga endala enkulu etuleetera okweyongera okwenyigira mu buweereza: Twagala okubudaabuda abo abaweddemu amaanyi olw’amawulire agennyamiza, n’abo ababonaabona mu ngeri emu oba endala. Bwe tukola bwe tutyo tuba tukoppa Yesu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebyo ebiri mu Makko essuula 6.

8. Ebiri mu Makko essuula 6 biraga bitya engeri Yesu gye yafaayo ku bantu?

8 Abatume bwe bakomawo okuva okubuulira, bategeeza Yesu byonna bye bakoze ne bye bayigirizza. Yesu akiraba ng’abatume bakooye era abagamba ‘bagende bawummuleko katono.’ Bwe kityo balinnya eryato ne bagenda mu kifo ekisirifu. Abantu bayita ku lubalama ne babasookayo. Yesu akola ki? Baibuli egamba: ‘N’alaba ekibiina ekinene, n’abasaasira, kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba; n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.’ (Makko 6:31-34) Wadde nga Yesu akooye nnyo, yeeyongera okubuulira abantu amawulire amalungi kubanga abakwatiddwa ekisa.

9. Kiki kye tuyiga mu Makko essuula 6 ku bikwata ku kiruubirirwa kye tulina okuba nakyo nga tubuulira?

9 Kiki kye tuyigira ku ebyo ebiri mu ssuula eyo? Ng’Abakristaayo, tuwulira nga tuvunaanyizibwa okubuulira abantu amawulire amalungi n’okufuula abayigirizwa. Kino kiri bwe kityo olw’okuba Katonda ‘ayagala abantu bonna okulokolebwa.’ (1 Timoseewo 2:4) Tubuulira abantu si lwa kuba nti tuwulira nti tuvunaanyizibwa kyokka naye era lwa kuba tubakwatirwa ekisa. Singa naffe tukwatirwa abantu ekisa nga Yesu bwe yakola, kijja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola okweyongera okubabuulira amawulire amalungi. (Matayo 22:39) Bwe kiba nti ezo ze nsonga ezituviirako okwenyigira mu buweereza, tujja kubuulira amawulire amalungi awatali kuddirira.

Obubaka Bwaffe​—Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda

10, 11. (a) Isaaya annyonnyola atya obubaka bwe tubuulira? (b) Mu ngeri ki obubaka Yesu bwe yabuulira gye bwali amawulire ag’ebigambo ebirungi, era abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kyaffe bakoppye batya ekyokulabirako kye?

10 Ate kiri kitya ku kintu eky’okubiri ekizingirwa mu buweereza bwaffe​—obubaka bwaffe? Kiki kye tubuulira? Nnabbi Isaaya yannyonnyola bulungi obubaka bwe tubuulira: “Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, eby’obulungi alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga!”​—Isaaya 52:7.

11 Ebigambo “Katonda wo afuga” ebiri mu kyawandiikibwa ekyo, bitujjukiza nti obubaka bwe tulina okubuulira ge mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Makko 13:10) Ate era weetegereze nti olunyiriri luno lulaga nti obubaka bwe tubuulira buzzaamu amaanyi. Isaaya akozesa ebigambo “obulokozi,” “emirembe,” ne “ebigambo ebirungi.” Oluvannyuma lw’ebikumi by’emyaka nga Isaaya amaze okwogera ebigambo ebyo, Yesu Kristo yatuukiriza obunnabbi obwo mu ngeri ey’enkukunala mu kyasa ekyasooka C.E., ng’ateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okubuulira n’obunyikiivu amawulire ag’ebigambo ebirungi​—okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda. (Lukka 4:43) Mu kiseera kyaffe, naddala okuva mu 1919, Abajulirwa ba Yakuwa bagoberedde ekyokulabirako kya Yesu nga babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obufuga kati, n’emikisa gye bulireeta.

12. Abo abawuliriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka bakwatibwako batya?

12 Abo abawuliriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka bakwatibwako batya? Nga bwe kyali mu biseera bya Yesu, ne leero amawulire amalungi gawa essuubi era gabudaabuda. (Abaruumi 12:12; 15:4) Gawa essuubi abo abaagala okugawuliriza kubanga bayiga nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. (Matayo 6:9, 10; 2 Peetero 3:13) Essuubi ng’eryo liyamba abantu abatya Katonda obutaggwaamu maanyi. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti ‘tebaatyenga bigambo bibi.’​—Zabbuli 112:1, 7.

Obubaka Obujja “Okusiba Abalina Emitima Egimenyese”

13. Nnabbi Isaaya alaga atya emiganyulo abo abakkiriza amawulire amalungi gye bafuna?

13 Ate era, amawulire amalungi ge tubuulira gaganyula abo abagawuliriza. Mu ngeri ki? Emiganyulo egimu gyayogerwako nnabbi Isaaya bwe yagamba: “Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera. Okulanga omwaka gwa Mukama ogw’okukkiririzibwamu, n’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde.”​—Isaaya 61:1, 2; Lukka 4:16-21.

14. (a) Ebigambo ‘okusiba abalina emitima egimenyese’ byoleka ki ku bubaka bw’Obwakabaka? (b) Tusobola tutya okwoleka okufaayo Yakuwa kwalaga abo abalina emitima egimenyese?

14 Okusinziira ku bunnabbi obwo, Yesu bwe yandibuulidde amawulire amalungi, yandibadde ‘asiba abalina emitima egimenyese.’ Ng’ebigambo ebyo Isaaya bye yakozesa bituukirawo bulungi nnyo! Okusinziira ku nkuluze emu ennyonnyola amakulu g’ebigambo by’omu Baibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okusiba” “kitera okukozesebwa okutegeeza ‘okusiba’ ekiwero ku kiwundu ne kisobozesa omulwadde okuwona.” Omusawo afaayo asobola okusiba ekiwero ku bbwa ly’omuntu. Mu ngeri y’emu, bwe baba babuulira obubaka bw’Obwakabaka, ababuulizi abafaayo bagumya abo ababawuliriza ababonaabona mu ngeri emu oba endala. Bwe bayamba abo abali mu bwetaavu, booleka okufaayo kwa Yakuwa. (Ezeekyeri 34:15, 16) Omuwandiisi wa zabbuli yayogera bw’ati ku Katonda: “Awonya abalina emitima egimenyese era asiba ebiwundu byabwe.”​—Zabbuli 147:3.

Engeri Obubaka bw’Obwakabaka Gye Buyambamu Abantu

15, 16. Byakulabirako ki ebiraga nti obubaka bw’Obwakabaka buzzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese?

15 Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga engeri obubaka bw’Obwakabaka gye buyambyemu abo abalina emitima egimenyese. Ng’ekyokulabirako, Oreanna nnamukadde omu abeera mu South America yali yeetamiddwa obulamu. Omujulirwa wa Yakuwa yamukyalira era n’atandika okumusomera Baibuli ne Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli.b Mu kusooka, nnamukadde oyo eyali omwennyamivu yawulirizanga agalamidde ku kitanda kye, ng’azibiridde, era ng’assa ebikowe enfunda n’enfunda. Nga wayise ekiseera, yeekakabanga n’atuula ku kitanda kye bwe baabanga bamusomera. Ebiseera bwe byagenda biyitawo, yatandika okutuula mu ntebe ye mu ddiiro ng’alindirira oyo amusomesa Baibuli. Oluvannyuma , omukazi ono yatandika okugenda mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bye yayiga mu nkuŋŋaana byamuleetera okutandika okugabira buli eyayitanga mu lujja lwe ebitabo ebyogera ku Baibuli. Ng’aweza emyaka 93, Oreanna yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Obubaka bw’Obwakabaka bwamuleetera okwagala okweyongera okuba omulamu.​—Engero 15:30; 16:24.

16 Obubaka bw’Obwakabaka bubudaabuda nnyo abo abamanyi nti essaawa yonna bayinza okufa olw’obulwadde. Twala ekyokulabirako kya Maria abeera mu Bulaaya. Yali mulwadde nnyo era nga takyalina ssuubi lya kuwona. Ekiseera Abajulirwa ba Yakuwa we baamusangira yali mwennyamivu nnyo. Kyokka, bwe yayiga ku bigendererwa bya Katonda, yafuna ekigendererwa mu bulamu. Yabatizibwa era n’atandika okubuulira n’obunyiikivu. Mu myaka ebiri egyasembayo egy’obulamu bwe, amaaso ge gaali galaga essanyu n’essuubi. Maria yafa ng’alina essuubi ekkakafu ery’okuzuukira.​—Abaruumi 8:38, 39.

17. (a) Mu ngeri ki obubaka bw’Obwakabaka gye buyambye abo ababukkiriza? (b) Gwe ku lulwo olabye ki ekikukakasa nti Yakuwa ‘awanirira abo bonna abagwa’?

17 Ebyokulabirako ng’ebyo bikakasa nti obubaka bw’Obwakabaka buyamba abo abaagala amazima ga Baibuli. Abo ababa bafiiriddwa omwagalwa waabwe baddamu amaanyi bwe bayiga ebikwata ku ssuubi ly’okuzuukira. (1 Abasessaloniika 4:13) Abantu abali mu bwavu era nga abalafubana okulabirira ab’omu maka gaabwe bazzibwamu amaanyi bwe bakimanya nti Yakuwa tajja kubaleka ttayo singa basigala nga beesigwa gyali. (Zabbuli 37:28) Abantu bangi abennyamivu Yakuwa abayambye okufuna amaanyi ne basobola okugumiikiriza embeera eyo, oluusi ne bagivvuunukira ddala. (Zabbuli 40:1, 2) Ng’ayitira mu Kigambo kye, Yakuwa kati ‘awanirira abo bonna abagwa.’ (Zabbuli 145:14) Bwe twetegereza engeri amawulire amalungi gye gabudaabudamu abo abalina emitima egimenyese mu kitundu gye tubuulira ne mu kibiina Ekikristaayo, kitujjukiza buli kiseera nti tulina amawulire agasingayo okuba amalungi leero!​—Zabbuli 51:17.

“Kye Nsaba Katonda ku Lwabwe”

18. Pawulo yakwatibwako atya Abayudaaya bwe baagaana amawulire amalungi, era lwaki?

18 Wadde ng’amawulire ge tubuulira ge gasingayo obulungi, bangi tebagakkiriza. Kino kiyinza kutukwatako kitya? Mu ngeri y’emu ng’omutume Pawulo bwe yawulira. Wadde ng’emirundi mingi yabuulira Abayudaaya, abasinga obungi ku bo baagaana obubaka obw’obulokozi. Kino kyamunakuwaza nnyo. Yagamba: “Nnina ennaku nnyingi n’okulumwa okutamala mu mutima gwange.” (Abaruumi 9:2) Pawulo yakwatirwa ekisa Abayudaaya abo be yali abuulidde. Yanakuwala nnyo olw’okuba baali bagaanye amawulire amalungi.

19. (a) Lwaki oluusi bwe tuggwaamu amaanyi kitegeerekeka? (b) Kiki ekyayamba Pawulo okweyongera okubuulira?

19 Naffe tubuulira amawulire amalungi olw’okuba tukwatirwa abantu ekisa. N’olwekyo, bwe tuggwaamu amaanyi ng’abantu bagaanyi okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka, kitegeerekeka. Kiba kiraga nti tufaayo ku mbeera y’eby’omwoyo ey’abo be tubuulira. Kyokka, tusaanidde okujjukira ekyokulabirako kya Pawulo. Kiki ekyamuyamba okweyongera okubuulira? Wadde ng’Abayudaaya baamukwasa ennaku bwe baagaana okuwuliriza, Pawulo teyaggwaamu maanyi. Yalina essuubi nti abamu bandikkirizza Kristo. Yawandiika: “Kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke.”​—Abaruumi 10:1.

20, 21. (a) Ku bikwata ku buweereza bwaffe, tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Pawulo? (b) Kintu ki ekikwata ku buweereza bwaffe kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

20 Weetegereze ebintu bibiri Pawulo bye yayogerako. Yali ayagala abantu bafune obulokozi, era yasaba Katonda akituukirize. Naffe leero tugoberera ekyokulabirako kya Pawulo. Twagala okusanga abo abaagala okuwuliriza amawulire amalungi. Tusaba Yakuwa atuyambe okusanga abalinga abo tusobole okubayamba okutambulira mu kkubo erinaabatuusa mu bulokozi.​—Engero 11:30; Ezeekyeri 33:11; Yokaana 6:44.

21 Kyokka, okusobola okutuusa obubaka bw’Obwakabaka ku bantu bangi nga bwe kisoboka, tetwandikomye ku kufaayo ku nsonga lwaki tubuulira ne kye tubuulira kyokka naye era tulina n’okufaayo ku ngeri gye tubuuliramu. Ekyo kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebintu bibiri ebisooka. Mu kitundu ekiddako tujja kwetegereza ekintu eky’okusatu.

b Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Biki by’Oyize?

• Tulina nsonga ki okwenyigira mu buweereza?

• Obubaka obukulu bwe tubuulira bwe buluwa?

• Mikisa ki abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka gye bafuna?

• Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuweereza?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Okusaba kutuyamba okweyongera okubuulira awatali kuddirira

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share