Okuwa ‘Obujulirwa mu Mawanga Gonna’
“Munaabanga bajulirwa bange . . . okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—EBIKOLWA 1:8.
1. Ddi abayigirizwa lwe baasooka okuwulira obunnabbi obuli mu Matayo 24:14 era baali ludda wa?
EBIGAMBO bya Yesu eby’obunnabbi ebiri mu Matayo 24:14 bikulu nnyo! Ebigambo ebyo bimanyiddwa nnyo ne kiba nti bangi ku ffe tusobola okubyogera nga tewali we tubisoma. Yesu lwe yasooka okubuulira abayigirizwa be ebigambo ebyo yali nabo mu Yerusaalemi. Gwali mwaka gwa 33 C.E era nga waakayita emyaka esatu kasookedde atandika okubeera nabo. Abayigirizwa abo baali balabye ebyamagero bye yakolanga era nga bawulidde n’ebyo bye yayigirizanga. Wadde baasiima amazima ag’omuwendo ge yabayigirizanga, baali bakimanyi nti waliwo abantu abamu abatagaagala era nti alina n’abalabe bangi. Lowooza ku ngeri abayigirizwa abo gye baawuliramu nga Yesu abagambye ebigambo ebyo.
2. Bizibu ki abayigirizwa bye baali bagenda okufuna?
2 Nga bali ku Lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa bana baawuliriza bulungi nga Yesu ababuulira ebizibu ebyandibatuuseeko. Emabegako, yali abagambye nti ajja kuttibwa. (Matayo 16:21) Ate ku mulundi guno, yababuulira kaati nti nabo baali bajja kwolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Yabagamba nti: “Balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta; nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” Kyokka, ebyo si bye byokka ebyandibatuuseeko. Yeeyongera n’abagamba nti, bangi bandikyamiziddwa bannabbi ab’obulimba, abalala bandyesitadde, bandiriddemu bannaabwe olukwe era bandikyawaganye. Ate era yagamba nti okwagala ‘kw’abasinga obungi’ eri Katonda n’Ekigambo kye kwandigenze kuwola.—Matayo 24:9-12.
3. Lwaki ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:14 biteekwa okuba byewuunyisa nnyo abayigirizwa?
3 Yesu bwe yamala okubuulira abayigirizwa be ebizibu ebyandibatuuseeko, yayogera ekintu ekiteekwa okuba nga kyabeewuunyisa. Yagamba nti: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Yee, ekiseera kyandituuse ‘amazima Yesu ge yategeeza’ abantu mu Isiraeri ne gabuna mu nsi yonna. (Yokaana 18:37) Ng’ekyo kiteekwa okuba kyewuunyisa nnyo abayigirizwa! Tekyandibabeeredde kyangu kuwa obujulirwa mu “mawanga gonna” kubanga Yesu yali abagambye nti “mulikyayibwa amawanga.” N’olwekyo, kyandibadde ng’ekyamagero okutuukiriza omulimu ogwo mu mbeera efaanana bw’etyo. Bwe bandifubye okutuukiriza omulimu ogwo, kyandireetedde abantu okutegeera nti Yakuwa ye mufuzi ow’oku ntikko era nti alina okwagala, ekisa n’obugumiikiriza. Ate era kyandiwadde abaweereza be omukisa okwoleka okukkiriza kwabwe n’okwagala kwe balina gyali.
4. Baani abaaweebwa omulimu gw’okubuulira era Yesu yabazzaamu atya amaanyi?
4 Abayigirizwa baali bakakafu nti omulimu ogwali gubaweereddwa mukulu nnyo. Nga tannaddayo mu ggulu, Yesu yabalabikira n’abagamba nti: “Muliweebwa amaanyi, [o]mwoyo [o]mutukuvu bw’alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Wadde nga wandibaddewo abalala ababeeyungako, abayigirizwa baali bakyali batono. N’olwekyo nga kiteekwa okuba kyabazzaamu amaanyi okumanya nti Katonda yandibawadde omwoyo gwe ne basobole okukola omulimu ogwo!
5. Ku bikwata ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, kiki abayigirizwa kye baali batamanyi?
5 Abayigirizwa baali bakimanyi nti balina okubuulira amawulire amalungi ‘n’okufuula amawanga gonna abayigirizwa.’ (Matayo 28:19, 20) Kyokka, kye baali batamanyi kyali nti amawulire ago bandigabuulidde kwenkana wa, na ddi enkomerero lwe yandizze. Okufaananako abayigirizwa abo, naffe ebyo tetubimanyi. Yakuwa yekka y’abimanyi. (Matayo 24:36) Yakuwa bw’anaalaba nti omulimu gutuuse ku kigero ky’ayagala, ajja kuleeta enkomerero aggyewo enteekateeka y’ebintu eno embi. Olwo Abakristaayo lwe bajja okukitegeera nti omulimu gw’okubuulira gutuuse ku kigero ky’ayagala. Abayigirizwa abaasooka baali tebasobola kuteebereza wa omulimu ogwo we gwandibadde gutuuse mu kiseera kino eky’enkomerero.
Obujulirwa Bwaweebwa mu Kyasa Ekyasooka
6. Kiki ekyaliwo ku Pentekoote 33 C.E. n’oluvannyuma lw’olunaku olwo?
6 Mu kyasa ekyasooka, omulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa, gwavaamu ebibala bingi. Ng’ekyokulabirako, ku Pentekoote 33 C.E., abayigirizwa nga 120 bwe baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi, omwoyo omutukuvu gwabakkakko. Omutume Peetero yannyonnyola amakulu g’ekyamagero ekyo era oluvannyuma abantu nga 3,000 bakkiriza amazima ne babatizibwa. Kyokka, eyo yali ntandika butandikwa. Wadde abakulembeze b’eddiini baagezaako okuyimiriza omulimu gw’abayigirizwa abo, “Mukama yabongerangako abo abaalokolebwanga.” Nga wayiseewo ekiseera kitono, “omuwendo gwabwe [gwawera] abasajja ng’enkumi ttaano.” Ate era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, “omuwendo gw’abasajja n’abakazi abakkiriza Mukama, [gwagenda] gweyongera.”—Ebikolwa 2:1-4, 8, 14, 41, 47; 4:4; 5:14, Baibuli y’Oluganda eya 2003.
7. Lwaki okukyuka kwa Koluneeriyo kwali kwa makulu nnyo?
7 Omwaka gwa 36 C.E. nagwo gwalimu ekintu ekirala ekyewuunyisa. Mu mwaka ogwo, Munnaggwanga ayitibwa Koluneeriyo yakkiriza Yesu n’abatizibwa. Mu kutuma Peetero okugenda ew’omusajja oyo eyali atya Katonda, Yakuwa yakyoleka nti ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula amawanga gonna abayigirizwa’ kyali tekikoma ku Bayudaaya bokka abaali babeera mu bitundu eby’enjawulo. Kyali kiraga nti ne bannaggwanga baalina okubuulirwa amawulire amalungi. (Ebikolwa 10:44, 45) Abo abaali batwala obukulembeze bwe baategeera ensonga eyo, kiki kye baakola? Abatume n’abakadde b’omu Buyudaaya bwe baakitegeera nti amawulire amalungi gaali ga kubuulirwa ne mu b’amawanga—abatali Bayudaaya—baagulumiza Katonda. (Ebikolwa 11:1, 18) Mu kiseera kye kimu, gwo omulimu gw’okubuulira Abayudaaya gweyongera okuvaamu ebibala. Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, oboolyawo awo nga mu 58 C.E., ng’oggyeko okuba nti waliwo bannaggwanga abaafuuka abakkiriza, waliwo “n’Abayudaaya nkumi na nkumi abaakyuka ne bakkiriza” amazima.—Ebikolwa 21:20, NW.
8. Kiki amawulire amalungi kye gakola ku bantu?
8 Wadde alipoota ziraga nti abantu bangi beegatta ku Bakristaayo abaasooka, waliwo kye tutalina kwerabira. Tetulina kwerabira nti amazima ga Baibuli abantu abo ge baawulira ge gaabaleetera okubaako kye bakolawo. (Abaebbulaniya 4:12) Gaabaleetera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Baaleka ebikolwa byabwe ebibi ne bambala omuntu omuggya, era ne batandika okusiimibwa mu maaso ga Katonda. (Abaefeso 4:22, 23) Ne leero, amazima ga Baibuli gakola kye kimu ku bantu, era abo bonna abakkiriza amawulire amalungi balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 3:16.
Tukolera Wamu ne Katonda
9. Nkizo ki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baalina?
9 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaakitwala nti be baaleeta abantu abo bonna mu mazima. Baali bakimanyi nti ‘amaanyi g’omwoyo omutukuvu’ ge gaali gabasobozesezza okutuukiriza omulimu ogwo. (Abaruumi 15:13, 19) Mazima ddala Yakuwa ye yali asobozesezza omulimu gwabwe okukulaakulana. Ate era, Abakristaayo abo baali bakimanyi nti balina enkizo ‘ey’okukolera awamu ne Katonda.’ (1 Abakkolinso 3:6-9) N’olwekyo, baakolera ku kubuulirira kwa Yesu ne baanyiikirira okukola omulimu gwe yali abawadde.—Lukka 13:24.
10. Kufuba ki Abakristaayo abaasooka kwe baakola okusobola okuwa obujulirwa mu mawanga gonna?
10 Ng’oyo ‘eyatumibwa okubuulira ab’amawanga,’ Pawulo yatambula mayilo nnyingi ng’ayita ku nnyanja ne ku lukalu, n’atandikawo ebibiina bingi mu Asiya eky’omu Rooma ne mu Buyonaani. (Abaruumi 11:13) Ate era yagenda ne mu Rooma oboolyawo, ne mu Spain. Mu kiseera kye kimu, ye omutume Peetero eyatumibwa okubuulira “enjiri . . . [eri] abakomole,” yagenda mu Babulooni omwali mubeera Abayudaaya abangi mu kiseera ekyo. (Abaggalatiya 2:7-9; 1 Peetero 5:13) Abalala abaakola ennyo mu mulimu gwa Mukama waffe mwe mwali abakazi nga Terufayina, Terufoosa, wamu ne Perusi ayogerwako nga “eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe.”—Abaruumi 16:12.
11. Yakuwa yawa atya omukisa omulimu gw’abayigirizwa?
11 Yakuwa yawa omukisa okufuba kw’abatume abo aboogeddwako n’abalala abaali abanyiikivu mu mulimu gwa mukama waffe. Nga tewannayita myaka giwera 30 kasookedde Yesu ayogera ku ky’okufuula amawanga gonna abayigirizwa, Pawulo yalaga nti “enjiri” yali ‘ebuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ (Abakkolosaayi 1:23) Kati olwo enkomerero yajja mu kiseera ekyo? Tuyinza okugamba nti yee, kubanga enteekateeka y’Ekiyudaaya yazikirizibwa mu 70 C.E. Mu mwaka ogwo amagye g’Abaruumi gajja ne gazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo. Wadde kyali kityo, Yakuwa yali akyayagala obujulirwa buweebwe ku kigero ekisingawo nga tannazikiriza nteekateeka ya Setaani yonna.
Obujulirwa Buweebwa mu Kiseera Kino
12. Abayizi ba Baibuli baali bategeera batya amakulu g’ekiragiro ky’okubuulira?
12 Wadde nga waali wayiseewo ebbanga ddene nga waliwo amadiini ag’obulimba, okusinza okw’amazima kwazzibwawo ku nkomerero y’ekyasa eky’ekkumi n’omwenda. Mu kiseera ekyo, Abayizi ba Baibuli, kati abamanyiddwa nga Abajulirwa ba Yakuwa, baakitegeera nti balina omulimu gw’okufuula amawanga gonna abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20) N’olwekyo omwaka 1914 we gwatuukira, waaliwo ababuulizi nga 5,100, era amawulire amalungi gaali gabuuliddwa mu nsi nga 68. Kyokka, Abayizi ba Baibuli abo baali tebategeera bulungi makulu ga Matayo 24:14. Ng’ekyasa eky’ekkumi n’omwenda kinaatera okuggwaako, Baibuli erimu amawulire amalungi yali evvuunuddwa mu nnimi ez’enjawulo era ng’ebunyisiddwa mu bitundu bingi. Ekyo Abayizi ba Baibuli bwe baakiraba, baamala ebbanga ddene nga balowooza nti obujulirwa buweereddwa mu nsi yonna.
13, 14. Akatabo The Watch Tower akaafuluma mu 1928 kaayamba katya abantu ba Katonda okutegeera obulungi ekiragiro ky’okubuulira?
13 Mpolampola, Yakuwa yayamba abantu be okutegeera obulungi ekiragiro ky’okubuulira. (Engero 4:18) Akatabo The Watch Tower aka Ddesemba 1, 1928 kaagamba nti: “Eky’okuba nti Baibuli ebunyisiddwa mu nsi yonna, kyandituleetedde okulowooza nti omulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka gutuukiriziddwa? N’akatono! Wadde Baibuli zibunyisiddwa mu bitundu bingi, kikyetaagisa ab’akabiina k’Abajulirwa akatono abali ku nsi okukuba ebitabo ebinnyonnyola abantu ebigendererwa bya Katonda n’okukyalira abo abafunye Baibuli ezo. Ekyo bwe kiba tekikoleddwa, abantu tebajja kutegeera nti Obwakabaka bwa Masiya bwateekebwawo.”
14 Akatabo ako keeyongera ne kagamba nti: “Mu 1920, . . . Abayizi ba Baibuli baategeera amakulu g’obunnabbi bwa Baibuli obuli mu Matayo 24:14. Okuva olwo baakitegeera nti “enjiri” gye baalina okubuulira mu mawanga gonna, yali tegamba nti obwakabaka bunaatera okutuuka wabula yali egamba nti kati Masiya afuga.”
15. Okuva mu myaka gya 1920, omulimu gw’okubuulira gweyongedde gutya?
15 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ‘ab’akabiina’ ako abaaliwo mu myaka gya 1920 beeyongerako. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, baakitegeera nti waliwo ‘n’ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala’ era baatandika okubakuŋŋaanya. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Leero, waliwo ababuulizi b’amawulire amalungi 6,613,829 mu nsi 235. Ng’obunnabbi obwo butuukiriziddwa mu ngeri eyewuunyisa! N’okusinga bwe kyali kibadde, leero waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi era “enjiri eno ey’obwakabaka” ebuuliddwa ku kigero ekitabangawo.
16. Biki ebyakolebwa mu mwaka gw’obuweereza ogwayita? (Laba ekipande ku mpapula 23-26.)
16 Nga bali wamu n’ab’ekibiina ekinene, ‘ab’akabiina kano akatono’ baabuulira n’obunyiikivu mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2005. Mu mwaka ogwo, baamala essaawa ezisukka mu kawumbi nga babuulira amawulire amalungi mu nsi 235. Baddiŋŋana abantu emirundi bukadde na bukadde era ne bayigiriza abantu bukadde na bukadde. Ekisobozesezza Abajulirwa ba Yakuwa abo okutuukiriza omulimu guno, kwe kuba nti bawaddeyo ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okusobola okubuulira abalala Ekigambo kya Katonda. (Matayo 10:8) Ate era, Yakuwa yeeyongedde okubawa amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu ne basobola okukola obulungi omulimu gwe.—Zekkaliya 4:6.
Okunyiikirira Okuwa Obujulirwa
17. Abantu ba Yakuwa baanukudde batya omulanga gwa Yesu ogukwata ku kubuulira amawulire amalungi?
17 Wadde nga kati wayiseewo emyaka nga 2,000 kasookedde Yesu agamba nti amawulire amalungi galibuulirwa, abantu ba Katonda bakyali banyiikivu mu kukola omulimu ogwo. Bakimanyi nti bwe bagumiikiriza ne beeyongera okubuulira, baba booleka engeri za Yakuwa ng’okwagala, ekisa n’obugumiikiriza. Okufaananako Yakuwa, nabo tebaagala bantu kuzikirira wabula baagala beenenye basobole okufuna enkolagana ennungi naye. (2 Abakkolinso 5:18-20; 2 Peetero 3:9) Nga bajjudde omwoyo omutukuvu, Abajulirwa ba Yakuwa abo beeyongedde okulangirira amawulire amalungi mu nsi yonna. (Abaruumi 12:11) N’ekivuddemu, abantu bangi bakkirizza amazima, ne bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okutuukana n’ekyo Yakuwa ky’ayagala. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.
18, 19. Waayo ebyokulabirako eby’abantu abakkiriza amawulire amalungi?
18 Mu 1998, omulimi ayitibwa Charles ow’omu bugwanjuba bwa Kenya yatunda kilo za taaba ezisukka mu 8,000. Olw’okuba ye yali asinze okulima taaba mu mwaka ogwo, yaweebwa ebbaluwa eraga nti y’anywedde mu banne akendo. Bwe yatandika okuyiga Baibuli, yakitegeera nti okulima taaba kikontana n’etteeka lya Yesu ery’okwagala muliraanwa. (Matayo 22:39) Olw’okuba yakitegeera nti ‘omuntu asinga okutunda taaba’ aba ‘mussi nnamba emu,’ Charles yasalawo okuzikiriza omusiri gwe ng’agufuuyira eddagala ery’obutwa. Nga wayiseewo ekiseera, yakulaakulana mu by’omwoyo ne yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa. Mu kiseera kino, Charles akola nga payoniya era akola ng’omuweereza mu kibiina.
19 Obujulirwa bwe buweebwa mu nsi yonna, Yakuwa aba ng’akankanya amawanga era ebyegombebwa—abantu—beeyongera okujja mu kibiina kye. (Kaggayi 2:7) Ng’ekyokulabirako, Pedro, ow’omu Portugal, yagenda mu Seminaliyo nga wa myaka 13. Mu kukola kino, yalina ekigendererwa eky’okufuuka omuminsani asobole okusomesa abalala Baibuli. Olw’okuba baali tebatera kubasomesa Baibuli, Pedro yasalawo okuva mu ssomero eryo. Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga, yagenda mu yunivasite ey’omu Lisbon okusoma ebikwata ku bwongo n’enneeyisa y’abantu. Mu kiseera ekyo, Pedro yali abeera ne maama we omuto eyali Omujulirwa wa Yakuwa, era maama we oyo yamukubirizanga okusoma Baibuli. Pedro yali abuusabuusa nti Katonda gyali, era nga tasalawo kusoma Baibuli. Lumu bwe yali ayogerako n’omusomesa we ku nsonga y’obutasalawo, omusomesa yamugamba nti omuntu atasalawo aba ateeka obulamu bwe mu kabi. Ekyo olwali okukiwulira, Pedro yasalawo okutandika okuyiga Baibuli. Gye buvuddeko awo, Pedro yabatizibwa era kati naye alina abantu b’ayigiriza Baibuli.
20. Lwaki tuli basanyufu nti amawulire amalungi gabuuliddwa ku kigero ekitabangawo?
20 Ne leero, tetumanyi ddi Yakuwa lw’aligamba nti omulimu gutuuse ku kigero ky’ayagala, na ddi enkomerero lw’erijja. Kye tumanyiiko kiri nti, ekiseera ekyo kinaatera okutuuka. Tuli basanyufu nti amawulire amalungi gabuuliddwa ku kigero ekitabangawo era ng’ekyo kye kimu ku bintu ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja budde mu kifo kya gavumenti z’abantu. (Danyeri 2:44) Buli mwaka, abantu bangi bakkiriza amazima era kino kiweesa Yakuwa Katonda waffe ekitiibwa. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa era tukolere wamu ne baganda baffe mu mulimu gw’okuwa obujulirwa mu mawanga gonna. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kwerokola awamu n’abo abatuwuliriza.—1 Timoseewo 4:16.
Ojjukira?
• Lwaki obunnabbi obuli mu Matayo 24:14 bukulu nnyo?
• Kufuba ki Abakristaayo abaasooka kwe baakola okusobola okubuulira amawulire amalungi era birungi ki ebyavaamu?
• Abayizi ba Baibuli baatuuka batya okutegeera obukulu bw’okuwa obujulirwa mu mawanga gonna?
• Kiki ekikusanyusizza mu alipoota y’omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ey’omwaka gw’obuweereza ogwayita?
[Ekipande ekiri ku lupapula 23-26]
LIPOOTA Y’OBUWEEREZA EY’ENSI YONNA EY’ABAJULIRWA BA YAKUWA EYA 2006
(Laba omuzingo gwa magazini)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Yakuwa yatuma Peetero okubuulira Koluneeriyo n’ab’omu maka ge
[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Pawulo yatambula mayilo nnyingi ng’ayita ku nnyanja ne ku lukalu ng’agenda okubuulira amawulire amalungi